Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8

Noonya Emirembe nga Weewala Obuggya

Noonya Emirembe nga Weewala Obuggya

“Tukole ebyo ebireeta emirembe era ebituyamba okuzimbagana.”​—BAR. 14:19.

OLUYIMBA 113 Emirembe Gye Tulina

OMULAMWA *

1. Obuggya bwakwata butya ku maka Yusufu mwe yali?

YAKOBO yali ayagala batabani be bonna, naye yali asinga kwagala mutabani we Yusufu eyali ow’emyaka 17. Ekyo kyakwata kitya ku baganda ba Yusufu? Baamukwatirwa obuggya era ne bamukyawa. Yusufu yali talina ky’akoze kyandireetedde baganda be okumukwatirwa obuggya. Wadde kyali kityo, baganda be baamutunda mu buddu era ne balimbalimba taata waabwe nti ensolo enkambwe yali esse omwana we oyo gwe yali ayagala ennyo. Obuggya bwabaleetera okugootaanya emirembe egyaliwo mu maka gaabwe n’okunakuwaza ennyo taata waabwe.​—Lub. 37:3, 4, 27-34.

2. Okusinziira ku Abaggalatiya 5:19-21, lwaki obuggya oba ensaalwa bya kabi nnyo?

2 Mu Byawandiikibwa, obuggya oba ensaalwa * kye kimu ku ‘bikolwa eby’omubiri’ ebisobola okulemesa omuntu okusikira Obwakabaka bwa Katonda. (Soma Abaggalatiya 5:19-21.) Obuggya bwe butera okuviirako ebintu nga empalana, okuyomba, n’obusungu.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Ebyo bye tusoma ku baganda ba Yusufu biraga nti obuggya busobola okwonoona enkolagana abantu gye balina n’okumalawo emirembe mu maka. Wadde nga tetusobola kukola ekyo baganda ba Yusufu kye baakola, ffenna emitima gyaffe tegituukiridde era mikuusa. (Yer. 17:9) N’olwekyo tekyewuunyisa nti oluusi tuyinza okukwatirwa abalala obuggya. Kati ka tulabeyo ebyokulabirako mu Bayibuli ebituyamba okumanya ensonga lwaki oluusi tuyinza okufuna obuggya mu mitima gyaffe. Era tugenda kulaba bye tuyinza okukola okulwanyisa obuggya n’okuleetawo emirembe.

BIKI EBIREETA OBUGGYA?

4. Lwaki Abafirisuuti baakwatirwa Isaaka obuggya?

4 Ng’omuntu mugagga. Isaaka yali musajja mugagga era ekyo kyaleetera Abafirisuuti okumukwatirwa obuggya. (Lub. 26:12-14) Baatuuka n’okuziba enzizi Isaaka mwe yali aggya amazzi g’ensolo ze. (Lub. 26:15, 16, 27) Okufaananako Abafirisuuti, abantu abamu bakwatirwa obuggya abo ababasinga obugagga. Ng’oggyeeko okweyagaliza ebintu abantu abo bye baba balina, era baba tebaagala bantu abo babe na bintu ebyo.

5. Lwaki abakulembeze b’eddiini baakwatirwa Yesu obuggya?

5 Ng’omuntu ayagalibwa abantu bangi. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baakwatirwa Yesu obuggya olw’okuba abantu bangi baali bamwagala nnyo. (Mat. 7:28, 29) Yesu yali akiikiridde Katonda era yali ayigiriza amazima. Wadde kyali kityo, abakulembeze b’eddiini baamwogerako eby’obulimba okusobola okwonoona erinnya lye eddungi. (Mak. 15:10; Yok. 11:47, 48; 12:12, 13, 19) Ekyo kituyigiriza ki? Tulina okwewala okukwatirwa obuggya abo abalina engeri ezibaleetera okwagalibwa abalala mu kibiina. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okufuba okubakoppa.​—1 Kol. 11:1; 3 Yok. 11.

6. Diyotuleefe yayoleka atya obuggya?

6 Ng’omuntu aweereddwa enkizo mu kibiina. Mu kyasa ekyasooka, Diyotuleefe yakwatirwa obuggya abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo. Olw’okuba yali ayagala okuba “mu kifo ekisooka” mu kibiina, yayogereranga bubi omutume Yokaana n’ab’oluganda abalala abaalina obuvunaanyizibwa mu kibiina okusobola okwonoona erinnya lyabwe. (3 Yok. 9, 10) Wadde nga tetusobola kweyisa nga Diyotuleefe, tuyinza okukwatirwa obuggya mukkiriza munnaffe aba afunye enkizo gye twali tusuubira okuweebwa, naddala singa naffe tuwulira nti tulina ebisaanyizo okugifuna.

Omutima gwaffe gulinga ettaka, era engeri zaffe ennungi ziringa ebimuli ebirungi. Naye obuggya bulinga omuddo ogw’omutawaana. Obuggya buyinza okutulemesa okwoleka engeri ennungi, gamba ng’okwagala, obusaasizi, n’ekisa (Laba akatundu 7)

7. Obuggya buyinza kutukolako ki?

7 Obuggya bulinga omuddo ogw’omutawaana. Kasita ensigo yaabwo emera mu mutima gwaffe, kiba kizibu okubukuulamu. Ebintu ng’ensaalwa, amalala, n’okwefaako ffekka, bisobola okuviirako obuggya okukula. Obuggya busobola okutulemesa okukulaakulanya engeri ennungi gamba ng’okwagala, obusaasizi, n’ekisa. Amangu ddala nga twakakimanya nti obuggya bumeze mu mutima gwaffe, tusaanidde okubukuulamu. Tuyinza tutya okulwanyisa obuggya?

KULAAKULANYA OBWETOOWAZE N’OBUMATIVU

Tuyinza tutya okwewala obuggya? Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okweggyamu obuggya ne twoleka obwetoowaze era ne tuba bamativu ne bye tulina (Laba akatundu 8-9)

8. Ngeri ki ezisobola okutuyamba okulwanyisa obuggya?

8 Tusobola okulwanyisa obuggya nga tufuba okuba abeetoowaze n’okuba abamativu ne bye tulina. Bwe tuba abeetoowaze era nga tuli bamativu ne bye tulina, obuggya tebusobola kukula mu mitima gyaffe. Obwetoowaze butuyamba obuteetwala nti tuli ba kitalo. Omuntu omwetoowaze takitwala nti y’agwanira okusinga abalala. (Bag. 6:3, 4) Omuntu omumativu aba musanyufu n’ekyo ky’alina era teyeegeraageranya ku balala. (1 Tim. 6:7, 8) Omuntu omwetoowaze era omumativu ne by’alina bw’alaba omulala afunye ebirungi amusanyukirako.

9. Okusinziira ku Abaggalatiya 5:16 ne Abafiripi 2:3, 4, omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya?

9 Twetaaga omwoyo gwa Katonda omutukuvu okutuyamba okwewala obuggya n’okutuyamba okuba abeetoowaze era abamativu. (Soma Abaggalatiya 5:16; Abafiripi 2:3, 4.) Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gutuyamba okwekebera ne tusobola okumanyira ddala ekyo ekiri mu birowoozo byaffe awamu ebiruubirirwa byaffe. Katonda asobola okutuyamba ne tweggyamu ebirowoozo ebibi n’enneewulira embi ne tujjuza mu mitima gyaffe ebintu ebirungi. (Zab. 26:2; 51:10) Lowooza ku Musa ne Pawulo abaasobola okwewala obuggya.

Omuvubuka Omuyisirayiri azze eri Musa ne Yoswa n’abagamba nti abasajja babiri mu lusiisira beeyisa nga bannabbi. Yoswa agamba Musa okukoma ku basajja abo naye Musa agaana. Mu kifo ky’ekyo, Musa agamba Yoswa nti musanyufu okuba nti Yakuwa awadde abasajja abo ababiri omwoyo gwe (Laba akatundu 10)

10. Mbeera ki eyali eyinza okuleetera Musa okufuna obuggya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

10 Musa yalina obuyinza bungi ku bantu ba Katonda naye teyagezaako kulemesa balala kufuna ku buyinza obwo. Ng’ekyokulabirako, lumu Yakuwa yaggya ku Musa ogumu ku mwoyo omutukuvu n’aguwa abakadde ba Isirayiri abaali bayimiridde okumpi ne weema ey’okusisinkaniramu. Nga waakayita ekiseera kitono Musa yawulira nti abakadde babiri abaali batagenze ku weema nabo baali bafunye omwoyo omutukuvu era nga batandise okweyisa nga bannabbi. Kiki Musa kye yakola Yoswa bwe yamugamba okukoma ku basajja abo? Abasajja abo ababiri Yakuwa be yali awadde omwoyo omutukuvu Musa teyabakwatirwa buggya. Mu kifo ky’ekyo, yabasanyukirako olw’okufuna enkizo eyo. (Kubal. 11:24-29) Kiki kye tuyigira ku Musa?

Abakadde bayinza batya okwoleka obwetoowaze nga Musa? (Laba akatundu 11-12) *

11. Abakadde bayinza batya okukoppa Musa?

11 Bw’oba ng’oli mukadde mu kibiina, wali osabiddwako okutendeka omuntu asobole okutandika okukola omulimu ogumu gw’oyagala ennyo? Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’oyagala nnyo enkizo ey’okukubiriza okusoma Omunaala gw’Omukuumi buli wiiki. Bw’oba mwetoowaze nga Musa, tojja kuwulira bubi singa osabibwa okutendeka ow’oluganda omulala asobole okuba nga gye buggya y’akubiriza ekitundu ky’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Mu kifo ky’ekyo, ojja kuba musanyufu okumuyamba.

12. Abakristaayo leero bakyoleka batya nti bamativu era nti beetoowaze?

12 Lowooza ku mbeera endala ekwata ku b’oluganda bangi abakaddiye. Bamaze emyaka mingi nga baweereza ng’abakwanaganya b’obukiiko bw’abakadde. Naye bwe baweza emyaka 80, obuvunaanyizibwa obwo babukwasa abalala. Abalabirizi abakyalira ebibiina bwe baweza emyaka 70 balekera awo okuweereza mu kiti ekyo era ne bakkiriza obuweereza obulala bwonna obubaweebwa. Mu myaka egiyise, ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abaali baweereza ku Beseri baasindikibwa mu buweereza obulala. Ab’oluganda ne bannyinaffe abo abeesigwa tebakwatirwa buggya abo abadda mu bifo byabwe.

13. Kiki ekyali kiyinza okuleetera Pawulo okukwatirwa abatume 12 obuggya?

13 Omutume Pawulo naye yali mumativu ne bye yalina era nga mwetoowaze. Pawulo teyakwatirwa balala buggya. Wadde nga yaweereza n’obunyiikivu, yagamba nti: “Nze nsembayo mu batume era sisaanira kuyitibwa mutume.” (1 Kol. 15:9, 10) Abatume 12 baagoberera Yesu mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi, naye Pawulo teyafuuka Mukristaayo okutuusa nga Yesu amaze okufa n’okuzuukizibwa. Wadde ng’oluvannyuma yalondebwa okuba “omutume eri amawanga,” Pawulo teyafuna nkizo ya kubeera omu ku batume 12. (Bar. 11:13; Bik. 1:21-26) Mu kifo ky’okukwatirwa obuggya abatume 12 abaafuna akakisa okubeera awamu ne Yesu, Pawulo yali mumativu n’enkizo gye yalina.

14. Bwe tuba abamativu era abeetoowaze, kiki kye tujja okukola?

14 Okufaananako Pawulo, bwe tuba abamativu ne bye tulina era nga tuli beetoowaze, tujja kussa ekitiibwa mu abo Yakuwa b’akwasizza obuyinza. (Bik. 21:20-26) Yakuwa ataddewo abakadde okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo. Wadde nga tebatuukiridde, Yakuwa abatwala ‘ng’ebirabo mu bantu.’ (Bef. 4:8, 11) Bwe tussa ekitiibwa mu bakadde era ne tukolera ku bulagirizi bwe batuwa, tuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era tuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe.

“TUKOLE EBYO EBIREETA EMIREMBE”

15. Biki bye tulina okukola?

15 Bwe tukwatirwa abalala obuggya oba abalala bwe batukwatirwa obuggya, tewasobola kubaawo mirembe. Tulina okweggyamu obuggya n’okwewala okukola ebintu ebireetera abalala okukwatibwa obuggya. Tulina okukola ebintu ebyo bwe tuba ab’okugondera obulagirizi buno: “Tukole ebyo ebireeta emirembe era ebituyamba okuzimbagana.” (Bar. 14:19) Biki bye tuyinza okukola okusobola okuyamba abalala okwewala okuba n’obuggya, era tuyinza tutya okuleetawo emirembe?

16. Tuyinza tutya okuyamba abalala okwewala okuba n’obuggya?

16 Endowooza gye tulina awamu n’ebikolwa byaffe birina kinene kye bikola ku balala. Ensi eyagala ‘twerage olw’ebintu bye tulina.’ (1 Yok. 2:16) Naye endowooza eyo eviirako abalala okufuna obuggya. Tusobola okuyamba abalala obutakwatibwa buggya singa twewala okwogera buli kiseera ku bintu bye tulina oba bye tuteekateeka okugula. Era tusobola okwewala okuleetera abalala okukwatibwa obuggya singa twewala okwetwala ng’ab’ekitalo olw’enkizo ze tulina mu kibiina. Bwe tuba nga buli kiseera twogera ku nkizo ze tulina mu kibiina, kisobola okuleetera abalala okufuna obuggya. Bwe tufaayo ku balala era ne tuba nga tusiima ebirungi bye bakola, kibaleetera okuba abamativu ne bye balina era kitumbula emirembe n’obumu mu kibiina.

17. Kiki baganda ba Yusufu kye baasobola okukola, era lwaki?

17 Tusobola okweggyamu obuggya! Lowooza nate ku baganda ba Yusufu. Nga wayise emyaka mingi okuva lwe baayisa obubi Yusufu, baamusisinkana e Misiri. Yusufu bwe yali tannaba kwemanyisa baganda be, yasooka kubagezesa okulaba obanga baali bakyuse. Yateekateeka ekijjulo era ku kijjulo ekyo n’afaayo nnyo ku Benyamini, muganda waabwe omuto, okusinga bwe yafaayo ku balala. (Lub. 43:33, 34) Naye tewaliiwo kiraga nti baganda be baakwatirwa Benyamini obuggya. Mu kifo ky’ekyo, baalaga nti baali bafaayo nnyo ku muganda waabwe oyo ne ku kitaabwe, Yakobo. (Lub. 44:30-34) Olw’okuba baganda ba Yusufu baali tebakyalina buggya, baasobola okuyamba mu kuzzaawo emirembe mu maka gaabwe. (Lub. 45:4, 15) Naffe bwe tweggyamu obuggya, tuleetawo emirembe mu maka gaffe ne mu kibiina.

18. Okusinziira ku Yakobo 3:17, 18, kiki ekinaabaawo singa tufuba okuleetawo emirembe?

18 Yakuwa ayagala tweggyemu obuggya era tunoonye emirembe. Ekyo kitwetaagisa okufuba ennyo. Nga bwe tulabye mu kitundu, kyangu gye tuli okufuna obuggya. (Yak. 4:5) Ate era twetooloddwa abantu abalina obuggya. Naye bwe tufuba okuba abeetoowaze, okuba abamativu ne bye tulina, n’okusiima abalala, kijja kutuyamba okwewala okuba n’obuggya. Tujja kusobola okuleetawo emirembe, tusobole okubala ekibala eky’obutuukirivu.​—Soma Yakobo 3:17, 18.

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

^ lup. 5 Ekibiina kya Yakuwa kirimu emirembe. Naye bwe tukwatirwa abalala obuggya oba ensaalwa, kisobola okugootaanya emirembe egyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebireetera omuntu okukwatirwa abalala obuggya. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulwanyisaamu obuggya oba ensaalwa n’engeri gye tusobola okuleetawo emirembe.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Nga bwe kiragibwa mu Bayibuli, obuggya buleetera omuntu okweyagaliza ebintu abalala bye balina oba obutabaagaliza bye balina.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Mu lukuŋŋaana lw’abakadde, ow’oluganda akuze mu myaka era akubiriza Omunaala gw’Omukuumi asabibwa okutendeka ow’oluganda omuto abe nga y’atwala obuvunaanyizibwa obwo. Wadde ng’ow’oluganda oyo akuze mu myaka ayagala nnyo enkizo ye eyo, akola ekyo ekisaliddwawo abakadde n’atendeka bulungi ow’oluganda omuto era n’amusiima.