Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8

Okusigala nga Tuli Basanyufu nga Twolekagana n’Ebizibu

Okusigala nga Tuli Basanyufu nga Twolekagana n’Ebizibu

“Musanyukenga baganda bange bwe mwolekagananga n’okugezesebwa okutali kumu.”​—YAK. 1:2.

OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu

OMULAMWA *

1-2. Okusinziira ku Matayo 5:11, tusaanidde kutunuulira tutya ebizibu bye twolekagana nabyo?

YESU yagamba nti abagoberezi be bandibadde n’essanyu erya nnamaddala. Kyokka era yagamba nti abo abamwagala bandyolekaganye n’ebizibu. (Mat. 10:22, 23; Luk. 6:20-23) Tufuna essanyu mu kubeera abagoberezi ba Kristo. Naye tuwulira tutya bwe tuba nga tuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zaffe oba gavumenti, oba nga tupikirizibwa bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe okukola ekintu ekikyamu? Kya lwatu nti ebintu ng’ebyo biyinza okutuleetera okweraliikirira.

2 Abantu abasinga obungi tebakitwala nti okuyigganyizibwa kusobola okuleetera omuntu okusanyuka. Kyokka ekyo Ekigambo kya Katonda kye kitugamba okukola nga tuyigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Yakobo yagamba nti bwe tuba twolekagana n’ebizibu, tusaanidde okusanyuka mu kifo ky’okweraliikirira. (Yak. 1:2, 12) Ne Yesu yagamba nti tusaanidde okuba abasanyufu ne bwe tuba nga tuyigganyizibwa. (Soma Matayo 5:11.) Tuyinza tutya okusigala nga tuli basanyufu bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu? Waliwo bingi bye tusobola okuyiga mu bbaluwa Yakobo gye yawandiikira Abakristaayo abaasooka. Ka tusooke tulabe ebizibu Abakristaayo abo bye baayolekagana nabyo.

BIZIBU KI ABAKRISTAAYO AB’OMU KYASA EKYASOOKA BYE BAAYOLEKAGANA NABYO?

3. Kiki ekyaliwo nga waakayita ekiseera kitono nga Yakobo afuuse omuyigirizwa wa Yesu?

3 Bwe waali waakayita ekiseera kitono nga Yakobo, muganda wa Yesu, afuuse omuyigirizwa, Abakristaayo mu Yerusaalemi baatandika okuyigganyizibwa. (Bik. 1:14; 5:17, 18) Era omuyigirizwa Siteefano bwe yattibwa, Abakristaayo bangi badduka mu kibuga ekyo ne “basaasaanira mu bitundu by’e Buyudaaya n’e Samaliya,” era baasaasaanira ne mu bitundu eby’ewala gamba nga Kupulo ne Antiyokiya. (Bik. 7:58–8:1; 11:19) Tewali kubuusabuusa nti abayigirizwa abo baayolekagana n’ebizibu bingi. Wadde kyali kityo, baabuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi yonna gye baagenda, era ebibiina byatandikibwawo mu bitundu ebitali bimu eby’Obwakabaka bwa Rooma. (1 Peet. 1:1) Naye Abakristaayo abo baali bagenda kwolekagana n’ebizibu ebirala eby’amaanyi ennyo.

4. Bizibu ki ebirala Abakristaayo abaasooka bye baayolekagana nabyo?

4 Abakristaayo abaasooka baayolekagana n’ebizibu ebirala. Ng’ekyokulabirako, awo nga mu mwaka gwa 50 E.E., Empula Omuruumi Kulawudiyo yalagira Abayudaaya bonna okuva mu Rooma. N’olwekyo, Abayudaaya abaali bafuuse Abakristaayo baawalirizibwa okuleka amaka gaabwe okugenda okubeera awalala. (Bik. 18:1-3) Awo nga mu mwaka gwa 61 E.E., omutume Pawulo yagamba nti Bakristaayo banne baali bavumiddwa mu lujjudde, basibiddwa mu kkomera, era nga banyagiddwako ebyabwe. (Beb. 10:32-34) Ate era okufaananako abantu abalala, Abakristaayo abamu baayolekagana n’obwavu n’obulwadde.​—Bar. 15:26; Baf. 2:25-27.

5. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

5 Yakobo we yawandiikira ebbaluwa ye, ng’omwaka 62 E.E. tegunnatuuka, yali amanyi bulungi ebizibu bakkiriza banne bye baali boolekagana nabyo. Yakuwa yaluŋŋamya Yakobo okuwandiikira Abakristaayo abo okubawa amagezi agandibayambye okusigala nga basanyufu nga boolekagana n’ebizibu ebyo. Kati tugenda kwekenneenya ebbaluwa ya Yakobo tuddemu ebibuuzo bino: Ssanyu ki Yakobo lye yawandiikako? Kiki ekiyinza okumalako Omukristaayo essanyu eryo? Era amagezi, okukkiriza, n’obuvumu, bisobola bitya okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu ka tube nga twolekagana na kizibu ki?

KIKI EKIREETERA OMUKRISTAAYO OKUBA OMUSANYUFU?

Ng’akaliro bwe kaakira munda mu kirawuli nga tekazikira, n’essanyu Yakuwa ly’awa Omukristaayo lisigala lyaka mu mutima gwe (Laba akatundu 6)

6. Okusinziira ku Lukka 6:22, 23, lwaki Omukristaayo asobola okuba omusanyufu ng’ayolekagana n’ebizibu?

6 Abantu abamu balowooza nti okusobola okuba abasanyufu, balina okuba nga balamu bulungi, nga balina ssente nnyingi, oba nga bakolagana bulungi mu maka. Naye essanyu Yakobo lye yayogerako kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda era terisinziira ku mbeera omuntu gy’abaamu. (Bag. 5:22) Omukristaayo afuna essanyu eryo olw’okuba aba akimanyi nti asanyusa Yakuwa era nti akoppa Yesu. (Soma Lukka 6:22, 23; Bak. 1:10, 11) Okufaananako akaliro akaakira mu ttaala ey’ekirawuli, essanyu eryo lyakira munda mu mutima gw’Omukristaayo. Essanyu eryo terizikira k’abe ng’alwadde oba nga ssente zikendedde. Ate era okuyigganyizibwa okuva eri ab’eŋŋanda oba abantu abalala, tekulizikiza. Mu kifo ky’okuzikira, lyeyongera bweyongezi kwaka buli lwe wabeerawo okuyigganyizibwa. Ebizibu bye twolekagana nabyo olw’okukkiriza kwaffe bukakafu obulaga nti tuli bayigirizwa ba Kristo ab’amazima. (Mat. 10:22; 24:9; Yok. 15:20) Eyo ye nsonga lwaki Yakobo yagamba nti: “Musanyukenga baganda bange bwe mwolekagananga n’okugezesebwa okutali kumu.”​—Yak. 1:2.

Lwaki ebizibu biyinza okugeraageranyizibwa ku muliro ogukozesebwa okuweesa ekitala eky’ekyuma? (Laba akatundu 7) *

7-8. Lwaki okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera bwe tugezesebwa?

7 Yakobo yayogera ekintu ekirala ekireetera Abakristaayo okuba abeetegefu okugumira ebizibu. Yagamba nti: “Okukkiriza kwammwe okugezeseddwa kuvaamu obugumiikiriza.” (Yak. 1:3) Ebizibu biyinza okugeraageranyizibwa ku muliro ogukozesebwa okuweesa ekitala. Ekyuma bwe kiteekebwa mu muliro ne kiweesebwamu ekitala, ekitala ekyo bwe kiwola kiba kigumu nnyo. Mu ngeri y’emu, bwe tugumira ebizibu, okukkiriza kwaffe kunywezebwa. Eyo ye nsonga lwaki Yakobo yagamba nti: “Muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo, mulyoke mubeere abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna.” (Yak. 1:4) Bwe tukiraba nti ebigezo bye tufuna byeyongera okunyweza okukkiriza kwaffe, tusobola okubigumira n’essanyu.

8 Ate era mu bbaluwa ye, Yakobo yalaga ebintu ebisobola okutumalako essanyu. Bintu ki ebyo era tuyinza tutya okubivvuunuka?

BYE TUSOBOLA OKUKOLA OBUTAGGWEBWAKO SSANYU

9. Lwaki twetaaga amagezi?

9 Okusoomooza: Bwe tuba nga tetumanyi kya kukola. Bwe tuba twolekagana n’ebizibu, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okusalawo mu ngeri emusanyusa, mu ngeri eganyula baganda baffe, era atuyambe okusigala nga tuli beesigwa gyali. (Yer. 10:23) Twetaaga amagezi okusobola okumanya kye tusaanidde okukola ne kye tusaanidde okugamba abo ababa batuyigganya. Bwe tuba nga tetumanyi kya kukola, tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi, era ekyo kiyinza okutumalako essanyu.

10. Yakobo 1:5 walaga nti tusaanidde kukola ki okusobola okufuna amagezi?

10 Eky’okukola: Saba Yakuwa akuwe amagezi. Bwe tuba ab’okugumira ebizibu nga tuli basanyufu, tulina okusooka okusaba Yakuwa atuwe amagezi ge twetaaga okusobola okusalawo mu ngeri ennungi. (Soma Yakobo 1:5.) Twandikoze ki singa tuwulira nti Yakuwa tazzeemu ssaala zaffe mangu? Yakobo yalaga nti tusaanidde okweyongera okusaba Katonda. Bwe tusaba Yakuwa enfunda n’enfunda atuwe amagezi, tanyiiga era tatukambuwalira. Kitaffe ow’omu ggulu atuwa amagezi bwe tumusaba agatuwe nga twolekagana n’ebizibu. (Zab. 25:12, 13) Ebizibu bye tuba tuyitamu abiraba, atulumirirwa, era mwetegefu okutuyamba. Mazima ddala ekyo kituleetera essanyu! Naye Yakuwa atuwa atya amagezi?

11. Kiki ekirala kye tulina okukola okusobola okufuna amagezi?

11 Yakuwa atuwa amagezi okuyitira mu Kigambo kye. (Nge. 2:6) Okusobola okufuna amagezi ago, tulina okusoma Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikinnyonnyola. Naye tetulina kumanya bumanya kya kukola. Tulina okukola ebyo Katonda by’atugamba okukola. Yakobo yagamba nti: “Mubeere bakozi ba kigambo so si abawulira obuwulizi.” (Yak. 1:22) Bwe tukolera ku magezi Katonda g’atuwa, tweyongera okuba abantu abaleetawo emirembe, abatali bakakanyavu, era abasaasizi. (Yak. 3:17) Engeri ezo zitusobozesa okusigala nga tuli basanyufu ka tube nga twolekagana na kizibu ki.

12. Lwaki tusaanidde okumanya Bayibuli obulungi?

12 Ekigambo kya Katonda kiringa endabirwamu etuyamba okumanya kye tusaanidde okukolako. (Yak. 1:23-25) Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okusoma Ekigambo kya Katonda, tuyinza okukiraba nti twetaaga okufuga obusungu. Yakuwa asobola okutuyamba ne tusigala nga tuli bakkakkamu nga tukolagana n’abantu abatunyiiza oba nga twolekagana n’ebizibu ebiyinza okutuleetera okuva mu mbeera. Obukkakkamu butusobozesa okukwata obulungi embeera enzibu ze tuba twolekagana nazo. Tuba tusobola okulowooza obulungi n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Yak. 3:13) Mazima kikulu nnyo okumanya obulungi Bayibuli!

13. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli?

13 Oluusi tumala kukola nsobi ne tulyoka tumanya ekyo kye tusaanidde okwewala. Naye eyo si ngeri nnungi omuntu gye yandibadde ayigamu, kubanga etera okujjirako obulumi. Engeri esingako obulungi ey’okufunamu amagezi kwe kuyigira ku ebyo abalala bye baakola, ebirungi n’ebibi. Eyo ye nsonga lwaki Yakobo atukubiriza okufumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli, gamba nga Ibulayimu, Lakabu, Yobu, ne Eriya. (Yak. 2:21-26; 5:10, 11, 17, 18) Abaweereza ba Yakuwa abo abeesigwa baagumira ebizibu ebyali bisobola okubamalako essanyu. Okuba nti baagumiikiriza, kiraga nti naffe Yakuwa asobola okutuyamba ne tugumiikiriza.

14-15. Lwaki tulina okukola ku kubuusabuusa kwe tuba tulina?

14 Okusoomooza: Okubuusabuusa kwe tuba tulina. Oluusi wayinza okubaawo ebintu ebituzibuwalira okutegeera mu Kigambo kya Katonda. Oba Yakuwa ayinza obutaddamu kusaba kwaffe nga bwe tubadde tusuubira. Ekyo kiyinza okutuleetera okufuna okubuusabuusa. Okubuusabuusa okwo bwe tukubuusa amaaso, kusobola okunafuya okukkiriza kwaffe n’okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Yak. 1:7, 8) Kuyinza n’okutuleetera okulekera awo okwesiga ebisuubizo bya Katonda.

15 Essuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso, omutume Pawulo yaligeraageranya ku nnanga. (Beb. 6:19) Bwe wabaayo omuyaga ogw’amaanyi, ennanga ekuumira emmeeri mu kifo kimu n’etatwalibwa kutomera njazi. Naye ennanga eba ya mugaso ng’olujegere olugiyunga ku mmeeri lunywevu. Ng’obutalagge bwe bunafuya olujegere lw’ennanga, okubuusabuusa kwe tuba nakwo kunafuya okukkiriza kwaffe. Omuntu abuusabuusa bw’ayolekagana n’okuyigganyizibwa, okukkiriza kw’alina mu bisuubizo bya Yakuwa kusobola okuggwaawo. Okukkiriza kwaffe bwe kuggwaawo, n’essuubi lyaffe liggwaawo. Nga Yakobo bwe yagamba, omuntu abuusabuusa “alinga ejjengo ly’ennyanja eritwalibwa embuyaga, ng’erizza eno n’eri.” (Yak. 1:6) Kizibu omuntu ali bw’atyo okuba omusanyufu!

16. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tubaamu okubuusabuusa?

16 Eky’okukola: Baako ky’okolawo okweggyamu okubuusabuusa era nyweza okukkiriza kwo. Toba muntu atasalawo. Mu kiseera kya nnabbi Eriya, abantu ba Yakuwa baali bafuuse abatasalawo. Eriya yabagamba nti: “Mulituusa wa okutta aga n’aga? Yakuwa bw’aba nga ye Katonda ow’amazima, mumugoberere; naye Bbaali bw’aba nga ye Katonda ow’amazima, ye gwe muba mugoberera!” (1 Bassek. 18:21) Bwe kityo bwe kiri ne leero. Tulina okunoonyereza, ffe kennyini tukakase nti Yakuwa ye Katonda, nti Bayibuli Kigambo kye, era nti Abajulirwa ba Yakuwa bantu be. (1 Bas. 5:21) Ekyo bwe tukikola, tuggwaamu okubuusabuusa era tunyweza okukkiriza kwaffe. Bwe tuba nga twetaaga obuyambi okusobola okuggwaamu okubuusabuusa, tusaanidde okutegeeza abakadde batuyambe. Tulina okubaako kye tukolawo mu bwangu bwe tuba ab’okusigala nga tuweereza Yakuwa n’essanyu!

17. Kiki ekibaawo bwe tulekera awo okuba abavumu?

17 Okusoomooza: Okuggwaamu amaanyi. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.” (Nge. 24:10) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa nga ‘okuterebuka’ kiyinza okutegeeza “okulekera awo okuba omuvumu.” Bw’olekera awo okuba omuvumu, essanyu likuggwaako.

18. Kitegeeza ki okugumiikiriza?

18 Eky’okukola: Weesige Yakuwa okukuwa obuvumu bwe weetaaga okugumiikiriza. Bwe tuba ab’okugumira ebizibu, twetaaga okuba abavumu. (Yak. 5:11) Ekigambo Yakobo kye yakozesa ekyavvuunulwa nga “okugumiikiriza” kirina amakulu g’omuntu asigala ng’anyweredde mu kifo. Tuyinza okulowooza ku musirikale asigala ng’ayimiridde mu kifo kye, n’atadduka ng’omulabe amulumba.

19. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo?

19 Omutume Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kwoleka obuvumu n’obugumiikiriza. Oluusi yawuliranga ng’aweddemu amaanyi. Naye yasobola okugumiikiriza kubanga yeesiga Yakuwa okumuwa amaanyi ge yali yeetaaga. (2 Kol. 12:8-10; Baf. 4:13) Naffe tusobola okufuna amaanyi ago n’obuvumu bwe tukikkiriza nti twetaaga Yakuwa okutuyamba.​—Yak. 4:10.

SEMBERERA KATONDA OSIGALE NG’OLI MUSANYUFU

20-21. Tuli bakakafu ku ki?

20 Tuli bakakafu nti bwe tuba twolekagana n’ebizibu Yakuwa si y’aba atubonereza. Yakobo yagamba nti: “Omuntu yenna bw’agezesebwanga tagambanga nti: ‘Katonda y’angezesa.’ Kubanga Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna.” (Yak. 1:13) Bwe tuba abakakafu ku ekyo, tweyongera okusemberera Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo.​—Yak. 4:8.

21 Yakuwa “takyukakyuka.” (Yak. 1:17) Yayamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nga boolekagana n’ebizibu era naffe kinnoomu ajja kutuyamba. Nnyiikira okusaba Yakuwa akuwe amagezi, okukkiriza, n’obuvumu. Ajja kuddamu essaala zo. Mazima ddala, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa asobola okukuyamba okusigala ng’oli musanyufu ng’oyolekagana n’ebizibu!

OLUYIMBA 128 Okugumiikiriza Okutuusa ku Nkomerero

^ lup. 5 Ekitabo kya Yakobo kirimu amagezi mangi agakwata ku ngeri gye tusobola okwaŋŋangamu ebizibu. Ekitundu kino kiraga agamu ku magezi Yakobo ge yawa. Amagezi ago gasobola okutuyamba okugumira ebizibu ne tusigala nga tuweereza Yakuwa n’essanyu.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Abasirikale bazze mu maka g’ow’oluganda ne bamukwata. Mukyala we ne muwala we bamutunuulira nga bamutwala. Ng’omwami wa mwannyinaffe ali mu kkomera, ab’oluganda bajja eri mwannyinaffe ne muwala we ne bafunira wamu nabo okusinza kw’amaka. Mwannyinaffe oyo ne muwala we basaba Yakuwa enfunda n’enfunda okubawa amaanyi okusobola okugumira ekizibu kye boolekagana nakyo. Yakuwa abawa emirembe n’obuvumu. Ekyo kyongera okunyweza okukkiriza kwabwe ne basobola okugumiikiriza nga basanyufu.