Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6

“Omutwe gw’Omukazi Ye Musajja”

“Omutwe gw’Omukazi Ye Musajja”

“Omutwe gw’omukazi ye musajja.”​—1 KOL. 11:3.

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

OMULAMWA *

1. Mwannyinaffe bw’aba alowooza ku w’oluganda ow’okufumbirwa, bibuuzo ki by’alina okwebuuza?

ABAKRISTAAYO bonna bali wansi w’obuyinza bwa Yesu Kristo, omukulembeze atuukiridde. Kyokka omukazi Omukristaayo bw’afumbirwa, abeera wansi w’obuyinza bw’omusajja atatuukiridde. Ekyo kireetawo okusoomooza. N’olwekyo, mwannyinaffe bw’aba alowooza ku w’oluganda ow’okufumbirwa, asaanidde okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Kiki ekiraga nti ow’oluganda ono ajja kuba mutwe gwa maka mulungi? Ebintu eby’omwoyo abitwala nga bikulu? Bwe kiba nti nedda, kiki ekindeetera okulowooza nti ajja kusobola okunkulembera obulungi mu by’omwoyo nga mmaze okumufumbirwa?’ Ate era mwannyinaffe alina n’okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Ngeri ki ze nnina ezijja okuganyula obufumbo bwaffe? Ndi mugumiikiriza era ndi mugabi? Nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?’ (Mub. 4:9, 12) Ebyo omukazi by’asalawo nga tannafumbirwa birina kinene kye bikola ku ssanyu ly’asobola okufuna mu bufumbo bwe.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Bannyinaffe bangi bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kugondera abaami baabwe era beebazibwa nnyo! Kituleetera essanyu okuweerereza awamu ne bannyinaffe abo abeesigwa! Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: (1) Okumu ku kusoomooza abakyala kwe boolekagana nakwo kwe kuliwa? (2) Lwaki omukyala asalawo okugondera omwami we? (3) Kiki abaami n’abakyala Abakristaayo kye bayinza okuyigira ku Yesu, Abbigayiri, ne Maliyamu, mukyala wa Yusufu era maama wa Yesu bwe kituuka ku kuba abawulize?

KUSOOMOOZA KI ABAKYALA ABAKRISTAAYO KWE BOOLEKAGANA NAKWO?

3. Lwaki teriiyo bufumbo butuukiridde?

3 Obufumbo kirabo ekituukiridde okuva eri Katonda, naye abantu tebatuukiridde. (1 Yok. 1:8) Eyo ye nsonga lwaki Ekigambo kya Katonda kigamba nti abafumbo bajja kwolekagana n’ebizibu ebitali bimu oba ‘okubonaabona mu mibiri gyabwe.’ (1 Kol. 7:28) Ka tulabe okumu ku kusoomooza omukyala kw’ayinza okwolekagana nakwo.

4. Lwaki omukyala ayinza okuwulira nti kimufeebya okuba wansi w’obuyinza bw’omwami we?

4 Oboolyawo olw’embeera gye yakuliramu, omukyala ayinza okuwulira nti okuba wansi w’obuyinza bw’omwami we kimufeebya. Marisol abeera mu Amerika agamba nti: “Mu kitundu gye nnakulira, abakazi baagambibwanga nti balina okwenkanankana n’abasajja mu buli kintu. Nkimanyi nti Yakuwa ye yassaawo enteekateeka y’obukulembeze, era nti abakyala balina okugondera abaami baabwe, kyokka era nti abakyala nabo balina okuweebwa ekitiibwa. Naye si kyangu kubeera na ndowooza etagudde lubege ku nteekateeka ey’obukulembeze.”

5. Ndowooza ki etali ya mu Byawandiikibwa abamu gye balina ku bakazi?

5 Ku luuyi olulala, omukazi ayinza okuba nga yafumbirwa omusajja alowooza nti abakazi ba wansi ku basajja. Ivon abeera mu Amerika ow’ebukiikaddyo agamba nti: “Mu kitundu kyaffe, abasajja be basooka okulya oluvannyuma abakazi ne balyoka balya. Abaana abawala basuubirwa okufumba n’okulongoosa, naye bo abaana abalenzi basuubirwa okuba nga bamaama baabwe ne bannyinaabwe be babakolera buli kimu, era abalenzi bagambibwa nti ‘bakabaka mu nnyumba.’” Mwannyinaffe ayitibwa Yingling, abeera mu Asiya agamba nti: “Mu lulimi lwange waliwo enjogera eraga nti abakazi tekibeetaagisa kuba na magezi oba na busobozi bwonna. Be balina okukola emirimu gyonna egya waka, era tebakkirizibwa kuwa baami baabwe ndowooza yaabwe.” Omusajja alina endowooza ng’ezo akaluubiriza nnyo mukyala we, takoppa Yesu, era tasanyusa Yakuwa.​—Bef. 5:28, 29; 1 Peet. 3:7.

6. Kiki abakyala kye basaanidde okukola okusobola okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa?

6 Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, Yakuwa asuubira abaami Abakristaayo okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe eby’omwoyo n’eby’omubiri n’okufaayo ku nneewulira yaabwe. (1 Tim. 5:8) Naye abakazi abafumbo balina okufissangawo obudde buli lunaku okusoma Ekigambo kya Katonda, okukifumiitirizaako, n’okusaba Yakuwa. Ekyo kiyinza obutaba kyangu. Abakazi abafumbo baba n’eby’okukola bingi era oluusi bakoowa nnyo. Wadde kiri kityo, balina okufissangawo akadde okukola ebintu ebyo. Lwaki? Kubanga Yakuwa ayagala buli omu ku ffe okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye n’okugikuuma.​—Bik. 17:27.

7. Kiki ekiyinza okukifuula ekyangu eri omukazi okussaamu bbaawe ekitiibwa n’okumugondera?

7 Omukazi kiyinza okumwetaagisa okufuba ennyo okusobola okugondera omwami we n’okumussaamu ekitiibwa. Naye ayinza okukisanga nga kyangu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo Katonda bwe yamuwa singa ategeera bulungi ensonga lwaki Ebyawandiikibwa bimukubiriza okussaamu omwami we ekitiibwa n’okumugondera.

LWAKI OMUKAZI ASAANIDDE OKUGONDERA OMWAMI WE?

8. Nga bwe kiragibwa mu Abeefeso 5:22-24, lwaki Omukazi Omukristaayo asalawo okugondera omwami we?

8 Omukazi Omukristaayo asalawo okugondera omwami we kubanga ekyo Yakuwa ky’amwetaagisa. (Soma Abeefeso 5:22-24.) Yeesiga Kitaawe ow’omu ggulu ng’akimanyi nti amwagala era nti ebintu byonna by‘amugamba okukola biba bimuganyula.​—Ma. 6:24; 1 Yok. 5:3.

9. Kiki ekibaawo omukazi Omukristaayo bw’agondera omwami we?

9 Ensi ekubiriza abakazi obutakolera ku mitindo gya Yakuwa n’okutwala eky’okugondera abaami baabwe ng’ekifeebya. Kya lwatu nti abo abatumbula endowooza ng’ezo tebamanyi Katonda waffe. Yakuwa tasobola kuwa bawala be b’ayagala ennyo kiragiro ekibafeebya. Mwannyinaffe afuba okugondera omwami we nga Yakuwa bw’agamba ayambako mu kuleetawo emirembe mu maka. (Zab. 119:165) Omwami we aganyulwa, ye kennyini aganyulwa, n’abaana baabwe baganyulwa.

10. Kiki kye tuyigira ku ebyo Carol bye yayogera?

10 Omukyala agondera bbaawe atatuukiridde, aba akiraga nti ayagala era assa ekitiibwa mu Yakuwa, oyo eyassaawo enteekateeka y’obukulembeze. Carol abeera mu Amerika ow’ebukiikaddyo agamba nti: “Nkimanyi nti omwami wange akola ensobi. Era nkimanyi nti engeri gye nneeyisaamu ng’akoze ensobi eraga obanga enkolagana yange ne Yakuwa ngitwala nga ya muwendo. N’olwekyo, nfuba okusigala nga ŋŋondera omwami wange kubanga njagala okusanyusa Kitange ow’omu ggulu.”

11. Kiki ekiyamba mwannyinaffe ayitibwa Aneese okusonyiwa, era kiki kye tuyinza okuyigira ku ebyo bye yayogera?

11 Omukazi kiyinza obutamubeerera kyangu kugondera mwami we singa awulira nti omwami we tafaayo ku nneewulira ye. Naye weetegereze ekyo mwannyinaffe Aneese ky’akola mu mbeera ng’eyo. Agamba nti: “Nfuba obutasiba busungu. Nkijjukira nti ffenna tukola ensobi. Nfuba okulaba nti nsonyiwa nga Yakuwa bw’atusonyiwa. Bwe nsonyiwa nziramu okufuna emirembe ku mutima.” (Zab. 86:5) Omukazi asonyiwa emirundi mingi kimwanguyira okugondera omwami we.

KIKI KYE TUYIGIRA KU BYOKULABIRAKO EBIRI MU BAYIBULI?

12. Byakulabirako bya baani ebiri mu Bayibuli?

12 Abamu balowooza nti omuntu agondera abalina obuyinza aba munafu. Naye ekyo si kituufu. Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi eby’abo abaagondera abo abaali babalinako obuyinza, kyokka nga tebaali banafu. Ka tulabe kye tuyinza okuyigira ku Yesu, Abbigayiri, ne Maliyamu.

13. Lwaki Yesu agondera Yakuwa? Nnyonnyola.

13 Yesu agondera Yakuwa, naye tekiri nti talina magezi oba nti talina bumanyiririvu. Okuba nti Yesu yayigirizanga mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi kiraga nti mugezi nnyo. (Yok. 7:45, 46) Yakuwa yali akimanyi nti Yesu yalina obusobozi bungi ne kiba nti yamukkiriza okukolera awamu naye ng’atonda eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu. (Nge. 8:30; Beb. 1:2-4) Ate Yesu bwe yazuukizibwa, Yakuwa yamuwa “obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” (Mat. 28:18) Wadde nga Yesu alina obusobozi bungi, yeesigama ku Yakuwa okumuwa obulagirizi. Lwaki? Kubanga ayagala nnyo Kitaawe.​—Yok. 14:31.

14. Kiki abasajja kye basobola okuyigira ku (a) engeri Yakuwa gy’atwalamu abakazi? (b) ku ebyo ebiri mu Engero 31?

14 Ebyo abasajja bye bayiga. Yakuwa okulagira abakyala okugondera abaami baabwe yali talaga nti abakazi ba wansi ku basajja. Ekyo Yakuwa yakyoleka bwe yasalawo okulonda abakazi awamu n’abasajja okufugira awamu ne Yesu. (Bag. 3:26-29) Yakuwa yakiraga nti yeesiga Omwana we ng’abaako obuyinza bw’amuwa. Mu ngeri y’emu, omusajja ow’amagezi abaako obuyinza bw’awa mukazi we. Bayibuli eyogera ku bintu ebitali bimu omukyala omulungi by’asobola okukola. Ng’ekyokulabirako, asobola okulabirira emirimu egikolebwa awaka, okugula ettaka n’okulitunda, n’okukola bizineesi. (Soma Engero 31:15, 16, 18.) Si muddu atalina ddembe kuwa ndowooza ye. Mu kifo ky’ekyo, omwami we amwesiga era awuliriza endowooza ye. (Soma Engero 31:11, 26, 27.) Omwami bw’ayisa bw’atyo mukyala we, omukyala kimwanguyira okugondera omwami we.

Kiki abakyala abafumbo kye basobola okuyigira ku ngeri Yesu gy’agonderamu Yakuwa? (Laba akatundu 15)

15. Kiki abakazi kye bayinza okuyigira ku Yesu?

15 Ebyo abakazi bye bayiga. Wadde nga Yesu yakola ebintu eby’amaanyi bingi, takitwala nti kimufeebya okugondera Yakuwa. (1 Kol. 15:28; Baf. 2:5, 6) Mu ngeri y’emu, omukazi omulungi akoppa Yesu, takitwala nti kimufeebya okugondera omwami we. Agondera omwami we olw’okuba amwagala, naye n’okusingira ddala amugondera olw’okuba ayagala Yakuwa era amussaamu ekitiibwa.

Oluvannyuma lw’okuweereza emmere eri Dawudi n’abasajja be, Abbigayiri atuukirira Dawudi. Avunnama mu maaso ga Dawudi era n’amusaba obutawoolera ggwanga kwereetako musango gwa kuyiwa musaayi (Laba akatundu 16)

16. Okusinziira ku 1 Samwiri 25:3, 23-28, kusoomooza ki Abbigayiri kwe yayolekagana nakwo? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

16 Abbigayiri yalina mwami we ayitibwa Nabbali. Nabbali yali yeefaako yekka, yali wa malala, era nga tasiima. Kyokka Abbigayiri teyagezaako kudduka mu bufumbo bwe. Yali asobola okusirika obusirisi Dawudi n’abasajja be ne batta omwami we n’amuwona. Naye ekyo si kye yakola. Mu kifo ky’ekyo, alina kye yakolawo okutaasa Nabbali awamu n’abalala abaali mu maka gaabwe. Lowooza ku buvumu Abbigayiri bwe yayoleka okusobola okutuukirira abasajja 400 abaalina eby’okulwanyisa era n’annyonnyola Dawudi ensonga mu ngeri eraga nti yali amussaamu ekitiibwa. Yatuuka n’okusaba Dawudi nti ye gw’aba anenya olw’ensobi y’omwami we. (Soma 1 Samwiri 25:3, 23-28.) Dawudi yakirabirawo nti Yakuwa yali akozesezza omukazi oyo omuvumu okumuwa amagezi agaamuyamba okwewala okukola ensobi ey’amaanyi.

17. Kiki abaami kye basobola okuyigira ku ekyo ekyaliwo wakati wa Dawudi ne Abbigayiri?

17 Ebyo abaami bye bayiga. Abbigayiri yali mukazi wa magezi. Dawudi yamuwuliriza era ekyo kyali kya magezi. Ekyo kyamuyamba okwewala okukola ekintu ekyandimuviiriddeko okubaako omusango ogw’okuyiwa omusaayi. Mu ngeri y’emu, omusajja ow’amagezi alowooza ku ndowooza ya mukyala we ng’agenda okusalawo ebintu ebikulu. Oluusi amagezi mukyala we g’amuwa gayinza okumuyamba okwewala okusalawo mu ngeri etali ya magezi.

18. Biki abakazi bye basobola okuyigira ku Abbigayiri?

18 Ebyo abakazi bye bayiga. Omukazi ayagala Yakuwa era amussaamu ekitiibwa aganyula nnyo ab’omu maka ge, omwami we ne bw’aba nga taweereza Yakuwa oba nga tatambulira ku mitindo gye. Tagezaako kunoonya nsonga zitali za mu Byawandiikibwa kuva mu bufumbo bwe. Mu kifo ky’ekyo, assaamu omwami we ekitiibwa era amugondera, era ekyo kiyinza okuleetera omwami we okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. (1 Peet. 3:1, 2) Naye omwami we ne bw’aba nga tasazeewo kuweereza Yakuwa, Yakuwa asanyuka nnyo okuba nti omukyala oyo agondera omwami we era nti mwesigwa eri Yakuwa.

19. Ddi omukyala lw’atalina kugondera mwami we?

19 Kyokka omukyala Omukristaayo tagondera mwami we singa omwami we amugamba okukola ekintu ekikontana n’amateeka oba emisingi gya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, watya singa omwami wa mwannyinaffe atali muweereza wa Yakuwa agamba mwannyinaffe okulimba, okubba, oba okukola ekintu ekirala ekikontana n’Ebyawandiikibwa. Abakristaayo bonna, nga mw’otwalidde ne bannyinaffe abafumbo, bwe kituuka ku buwulize, Yakuwa Katonda gwe balina okukulembeza. Singa mwannyinaffe agambibwa okukola ekintu ekikontana n’emisingi egiri mu Bayibuli, ekyo talina kukikola, era mu ngeri ey’ekisa alina okunnyonnyola oyo aba amugambye ensonga lwaki tasobola kukikola.​—Bik. 5:29.

Laba akatundu 20 *

20. Tumanya tutya nti Maliyamu yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

20 Maliyamu yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa. Mu mboozi gye yanyumya ne Erizabeesi, maama wa Yokaana Omubatiza, Maliyamu yajuliza ebyawandiikibwa ebisukka mu 20 okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Luk. 1:46-55) Ate lowooza ku kino: Wadde nga Maliyamu yali ayogerezebwa Yusufu, malayika wa Yakuwa teyasooka kulabikira Yusufu. Malayika yasooka kwogera butereevu ne Maliyamu n’amugamba nti yali agenda kuzaala Omwana wa Katonda. (Luk. 1:26-33) Yakuwa yali amanyi bulungi Maliyamu era yali mukakafu nti yali ajja kwagala Omwana we era amulabirire bulungi. Tewali kubuusabuusa nti Maliyamu yeeyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa n’oluvannyuma lwa Yesu okufa n’azuukizibwa era n’addayo mu ggulu.​—Bik. 1:14.

21. Kiki abasajja kye basobola okuyigira ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku Maliyamu?

21 Ebyo abasajja bye bayiga. Omusajja ow’amagezi kimusanyusa nnyo mukazi we bw’aba amanyi bulungi Ebyawandiikibwa. Tadda awo kulowooza nti mukyala we ayinza okutwala ekifo kye ng’omutwe gw’amaka. Aba akimanyi nti omukyala amanyi obulungi Bayibuli n’emisingi egigirimu aganyula nnyo ab’omu maka ge. Kya lwatu nti obuyigirize bw’omukazi ne bwe buba nga businga obw’omusajja, omusajja y’alina okukulembera ab’omu maka ge mu kusinza Yakuwa ne mu bintu ebirala eby’omwoyo.​—Bef. 6:4.

Biki abakyala abafumbo bye basobola okuyigira ku Maliyamu, maama wa Yesu, bwe kituuka ku kwesomesa n’okufumiitiriza? (Laba akatundu 22) *

22. Biki abakazi bye basobola okuyigira ku Maliyamu?

22 Ebyo abakazi bye bayiga. Wadde ng’omukazi alina okugondera bba, ye kennyini avunaanyizibwa okuzimba enkolagana ye ne Yakuwa n’okuginyweza. (Bag. 6:5) N’olwekyo, alina okufissaawo ebiseera okwesomesa n’okufumiitiriza. Ekyo kimuyamba okusigala ng’ayagala Yakuwa era ng’amuwa ekitiibwa, era kimuyamba okufuna essanyu mu kugondera bba.

23. Abakazi abagondera abaami baabwe baganyulwa batya, baganyula batya ab’omu maka gaabwe, era baganyula batya ekibiina?

23 Abakazi abagondera abaami baabwe olw’okuba baagala Yakuwa, baba basanyufu era baba bamativu okusinga abo abatagondera nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze. Bassaawo ekyokulabirako ekirungi eri abasajja abato n’abakazi abato. Ate era bayambako mu kuleetawo emirembe n’essanyu mu maka gaabwe ne mu kibiina. (Tit. 2:3-5) Leero abaweereza ba Yakuwa abasinga obungi bakazi. (Zab. 68:11) Ffenna, ka tube basajja oba bakazi, tulina kinene kye tusobola okukola okuleetawo essanyu mu kibiina. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri ekyo buli omu ku ffe gy’ayinza okukikolamu.

OLUYIMBA 131 “Katonda ky’Agasse Awamu”

^ lup. 5 Mu nteekateeka ey’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo, omukazi alina okugondera omwami we n’okumussaamu ekitiibwa. Ekyo kizingiramu ki? Abaami n‘abakyala Abakristaayo balina bingi bye bayinza okuyigira ku Yesu n’abamu ku bakazi aboogerwako mu Bayibuli ku ky’okuba abawulize n’okugondera abo abaweereddwa obuyinza.

^ lup. 68 EBIFAANANYI: Maliyamu bwe yali anyumya ne Erizabeesi, maama wa Yokaana Omubatiza, yajuliza ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebiwerako okuva mu mutwe.

^ lup. 70 EBIFAANANYI: Okusobola okusigala nga munywevu mu by’omwoyo, omukyala Omukristaayo afissaawo ekiseera okwesomesa Bayibuli.