EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7
‘Wuliriza Ebigambo ab’Amagezi Bye Boogera’
“Tega okutu owulire ebigambo ab’amagezi bye boogera.”—NGE. 22:17.
OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo
OMULAMWA *
1. Lwaki ebiseera ebimu twetaaga okuwabulwa?
FFENNA ebiseera ebimu twetaaga okuwabulwa. Oluusi tuyinza okusaba omuntu gwe tussaamu ekitiibwa okutuwa ku magezi. Ate mu mbeera ezimu mukkiriza munnaffe ayinza okutugamba nti tunaatera ‘okukwata ekkubo ekkyamu,’ kwe kugamba, nti tunaatera okukola ekintu kye tujja okwejjusa. (Bag. 6:1) Ate oluusi tuwabulwa oluvannyuma lw’okukola ensobi ey’amaanyi. K’ebe nsonga ki eyinza okutuviirako okuwabulwa, tusaanidde okukuwuliriza. Bwe tukolera ku kuwabulwa okutuweebwa tuganyulwa, era kiyinza n’okutaasa obulamu bwaffe.—Nge. 6:23.
2. Okusinziira ku Engero 12:15 n’obugambo obuli wansi, lwaki tusaanidde okuwuliriza okuwabulwa okutuweebwa?
2 Ekyawandiikibwa ekitundu kino kwe kyesigamiziddwa kitukubiriza ‘okuwuliriza ebigambo ab’amagezi bye boogera.’ (Nge. 22:17) Tewali amanyi buli kimu. Bulijjo wabaawo omuntu amanyi okutusinga, oba alina obumanyirivu okutusinga. (Soma Engero 12:15 n’obugambo obuli wansi.) N’olwekyo bwe tuwuliriza okuwabulwa kiba kiraga nti tuli beetoowaze. Kiraga nti tukkiriza nti ebintu ebimu tetubimanyi, era nti twetaaga obuyambi okusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Bwe wabaawo abawi b’amagezi [oba abawabuzi, obugambo obuli wansi] abangi wabaawo ekituukibwako.”—Nge. 15:22.
3. Mu ngeri ki gye tuyinza okuwabulwa?
3 Tuyinza okuwabulwa mu ngeri enneekusifu oba okuwabulwa obutereevu. Kitegeeza ki okuwabulwa mu ngeri enneekusifu? Tuyinza okusoma ku kintu ekimu mu Bayibuli oba mu bitabo byaffe ne kituleetera okufumiitiriza ku ngeri gye tweyisaamu era ne tukiraba nti twetaaga okukyusaamu. (Beb. 4:12) Bwe tukola tutyo tuyinza okugamba nti tuba tuwabuddwa mu ngeri enneekusifu. Ate kitegeeza ki okuwabulwa obutereevu? Omukadde oba mukkiriza munnaffe omulala omukulu mu by’omwoyo ayinza okutugamba nti waliwo kye twetaaga okutereezaamu. Mu mbeera ng’eyo tuba tuwabuddwa butereevu. Omuntu bw’atulaga okwagala, n’abaako ky’atuwabula ng’asinziira ku Byawandiikibwa, tusaanidde okumusiima nga tukolera ku ekyo ky’aba atugambye.
4. Okusinziira ku Omubuulizi 7:9, bwe tuba nga tuwabuddwa, kiki kye tusaanidde okwewala?
4 Ekituufu kiri nti kiyinza obutatubeerera kyangu kukolera ku kuwabulwa okutuweebwa obutereevu. Tuyinza n’okunyiiga nga batuwabudde. Lwaki? Wadde nga tukimanyi bulungi nti tetutuukiridde, kiyinza okutubeerera ekizibu okukkiriza okuwabulwa bwe wabaawo atugamba nti waliwo kye twetaaga okutereezaamu. (Soma Omubuulizi 7:9.) Tuyinza okwekwasa obusongasonga. Tuyinza n’okugamba nti oyo atuwabudde tabadde na kigendererwa kirungi, oba tuyinza okunyiiga olw’engeri gy’atuwabuddemu. Tuyinza okumunoonyaamu ensobi nga tugamba nti: ‘Tasaanidde kumpabula. Naye kennyini alina bye yeetaaga okutereeza!’ Era bwe tuba nga tetwagadde kuwabulwa okuba kutuweereddwa, tuyinza obutakukolerako ne tusaba omuntu omulala atuwabule nga tusuubira nti ajja kutuwabula mu ngeri gye twagala.
5. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
5 Mu kitundu kino tugenda kulabayo abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaagaana okukolera ku kuwabulwa okwabaweebwa, era n’abo abaakukolerako. Ate era tugenda kulaba ekinaatuyamba okukkiriza okuwabulwa okutuweebwa tusobole okuganyulwa.
BAAGAANA OKUKOLERA KU KUWABULWA OKWABAWEEBWA
6. Kiki kye tuyigira ku ngeri Kabaka Lekobowaamu gye yakolera ku magezi agaamuweebwa?
6 Lowooza ku Lekobowaamu. Bwe yafuuka kabaka wa Isirayiri, abantu be yali afuga bajja gy’ali ne bamusaba abakendeereze ku mugugu kitaawe Sulemaani gwe yali abatisse. Lekobowaamu yakola eky’amagezi ne yeebuuza ku basajja abakadde ab’omu Isirayiri okusobola okumanya kye yandizzeemu abantu abo. Abakadde baagamba Kabaka Lekobowaamu nti bwe yandiwulirizza abantu n’akola kye baali bamusabye, bandibadde bamuwagira. (1 Bassek. 12:3-7) Kyokka kirabika Lekobowaamu teyasanyukira ekyo abakadde kye baamugamba, era bw’atyo yagenda ne yeebuuza ku basajja ab’emyaka gye. Abasajja abo baali mu myaka nga 40, n’olwekyo bateekwa okuba nga baalina ku bumanyirivu. (2 Byom. 12:13) Naye ku luno amagezi ge baawa Lekobowaamu tegaali malungi. Baamugamba okwongera ku mugugu abantu gwe baali beetisse. (1 Bassek. 12:8-11) Okuva bwe kiri nti Lekobowaamu yali aweereddwa amagezi ga mirundi ebiri ag’enjawulo, yandibadde asaba Yakuwa okumuyamba okumanya magezi ki ge yandibadde akolerako. Mu kifo ky’ekyo, yakolera ku magezi abasajja ab’emyaka gye ge baamuwa, olw’okuba yali awulira nti g’ayagala. Ebyavaamu tebyali birungi eri ye n’eri abantu ba Isirayiri. Naffe oluusi amagezi agatuweebwa gayinza okuba nga si ge twandyagadde. Kyokka bwe gaba nga geesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda tusaanidde okugakolerako.
7. Kiki kye tuyigira ku Kabaka Uzziya?
7 Kabaka Uzziya naye yagaana okukolera ku kuwabulwa okwamuweebwa. Yayingira mu kitundu kya yeekaalu ya Yakuwa ekyali kikkirizibwamu bakabona bokka, era n’agezaako okwotereza obubaani. Bakabona ba Yakuwa baamugamba nti: “Uzziya, tosaanidde kwoterereza Yakuwa bubaani! Bakabona bokka be basaanidde okwotereza obubaani.” Kiki Uzziya kye yakola? Singa yali yeetoowazza, n’akolera ku kuwabulwa okwo, n’ava mangu mu yeekaalu, oboolyawo Yakuwa yandimusonyiye. Mu kifo ky’ekyo, ‘Uzziya yasunguwala.’ Lwaki yagaana okukolera ku kuwabulwa okwamuweebwa? Kirabika yalowooza nti olw’okuba ye yali kabaka, yali asobola okukola kyonna kye yali ayagala. Naye Yakuwa ekyo tekyamusanyusa. Era olw’okuba Uzziya yeetulinkiriza, yakubibwa ebigenge era n’asigala nga “mugenge okutuusa lwe yafa.” (2 Byom. 26:16-21) Ekyokulabirako kya Uzziya kituyamba okulaba nti, ka tube baani, oba ka tube na nkizo ki, singa tugaana okukolera ku kubuulirira Bayibuli kw’etuwa, tufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa.
BAKKIRIZA OKUWABULWA OKWABAWEEBWA
8. Kiki Yobu kye yakola ng’awabuddwa?
8 Bayibuli eyogera ne ku bantu abaakolera ku kuwabulwa okwabaweebwa, era ne baweebwa emikisa. Lowooza ku Yobu. Wadde nga yali atya Katonda, yali tatuukiridde. Olw’embeera enzibu gye yalimu, waliwo lwe yayoleka endowooza etaali nnungi. N’ekyavaamu, yafuna okuwabulwa okuva eri Eriku, n’okuva eri Yakuwa. Kiki kye yakola? Yakkiriza okuwabulwa okwo, era n’agamba nti: “Nnayogera, naye nga sitegeera . . . mmenyawo bye nnayogera, era nneenenya mu nfuufu n’evvu.” Yakuwa yawa Yobu emikisa olw’okuba yeetoowaza n’akolera ku kuwabulwa okwamuweebwa.—Yob. 42:3-6, 12-17.
9. Kyakulabirako ki ekirungi Musa kye Yassaawo?
9 Musa naye yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Yakkiriza okuwabulwa okwamuweebwa oluvannyuma lw’okukola ensobi ey’amaanyi. Lumu yalemererwa okuwa Yakuwa ekitiibwa olw’okuba yali anyiize. Olw’ensobi eyo Musa gye yakola, yafiirwa enkizo ey’okugenda mu nsi ensuubize. (Kubal. 20:1-13) Musa bwe yasaba Yakuwa amuddiremu olw’ekyo kye yali asazeewo, Yakuwa yamugamba nti: “Toddangamu okwogera nange ku nsonga eyo.” (Ma. 3:23-27) Musa teyasunguwala, mu kifo ky’ekyo, yakkiriza ekyo Yakuwa kye yali asazeewo era Yakuwa yeeyongera okumukozesa okukulembera Abayisirayiri. (Ma. 4:1) Yobu ne Musa baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku bikwata ku kukkiriza okuwabulwa. Yobu yakyusa endowooza ye era teyeekwasa busongasonga. Olw’okuba Musa yasigala nga mwesigwa n’oluvannyuma lw’okufiirwa enkizo gye yali ayagala ennyo, kiraga nti yakkiriza okuwabulwa okwamuweebwa.
10. (a) Okusinziira ku Engero 4:10-13, miganyulo ki gye tufuna bwe tukkiriza okuwabulwa? (b) Ndowooza ki ennungi abamu gye boolese nga bawabuddwa?
10 Tuganyulwa nnyo bwe tukoppa abantu abeesigwa nga Musa ne Yobu abassaawo ekyokulabirako ekirungi. (Soma Engero 4:10-13.) Waliwo baganda baffe ne bannyinnaffe bangi ababakoppye. Lowooza ku ekyo ow’oluganda ayitibwa Emmanuel abeera mu Congo ky’ayogera ku kuwabulwa okwamuweebwa. Agamba nti: “Ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo mu kibiina kyange bwe baakiraba nti nnali ŋŋenda kukola ekintu ekyandyonoonye enkolagana yange ne Yakuwa, bannyamba. Nnakolera ku kuwabulwa kwe bampa era kyannyamba okwewala ebizibu bingi.” * Payoniya omu ayitibwa Megan abeera mu Canada ayogera bw’ati ku kuwabulwa okuzze kumuweebwa: “Oluusi okuwabulwa okwo mbaddenga sikwagala, kyokka nga kwe nneetaaga.” Ate ow’oluganda ayitibwa Marko abeera mu Croatia agamba nti: “Nnafiirwa enkizo yange naye bwe ndowooza ku kiseera ekyo, nkiraba nti okuwabulwa kwe nnaweebwa kwannyamba okuddamu okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.”
11. Kiki ow’oluganda Karl Klein kye yayogera ku bikwata ku kukkiriza okuwabulwa?
11 Omuntu omulala eyassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukkiriza okuwabulwa ye w’oluganda Karl Klein, eyali aweereza ku Kakiiko Akafuzi. Bwe yali ayogera ku byafaayo bye, yayogera ku kuwabulwa ow’oluganda Joseph F. Rutherford, kwe yamuwa. Ow’oluganda Rutherford yali mukwano gwe ow’oku lusegere. Ow’oluganda Klein agamba nti mu kusooka yawulira bubi olw’okuwabulwa okwo. Agamba nti: “Ow’oluganda Rutherford bwe yansanga, yambuuza nga musanyufu nti, ‘Oli otya Karl!’ Naye olw’okuba nnali nkyawulira obusungu, nnamuddamu nga mmuumuunya bumuumuunya. Yaŋŋamba nti, ‘Karl, weegendereze! Omulyolyomi ayagala kukukwasa mu mutego gwe!’ Nnawulira nga nswadde era ne mmugamba nti, ‘Ow’oluganda Rutherford tewali buzibu.’ Naye yali akiraba nti waaliwo obuzibu, era yaddamu n’aŋŋamba nti, ‘Kale, naye weegendereze. Omulyolyomi ayagala kukukwasa mu mutego gwe.’ Mazima ddala yali mutuufu nnyo! Bwe tunyiigira ow’oluganda, naddala ng’ekintu ky’ayogedde abadde asaanidde okukyogera, kiba kyangu Omulyolyomi okutukwasa mu mutego gwe.” * (Bef. 4:25-27) Ow’oluganda Klein yakkiriza okuwabulwa ow’oluganda Rutherford kwe yamuwa, era baasigala ba mukwano.
KIKI EKIYINZA OKUTUYAMBA OKUKKIRIZA OKUWABULWA OKUTUWEEBWA?
12. Obwetoowaze buyinza butya okutuyamba okukkiriza okuwabulwa? (Zabbuli 141:5)
12 Kiki ekiyinza okutuyamba okukkiriza okuwabulwa okutuweebwa? Tusaanidde okuba abeetoowaze ne tukijjukira nti tetutuukiridde era nti oluusi tweyisa mu ngeri etali ya magezi. Nga bwe twalabye waggulu, Yobu yalina endowooza etaali nnungi. Naye oluvannyuma yakyusa endowooza ye era Yakuwa yamuwa emikisa. Lwaki? Kubanga yali mwetoowaze. Ekyo yakiraga ng’akkiriza okuwabulwa Eriku kwe yamuwa, wadde nga Eriku yali muto nnyo ku ye. (Yob. 32:6, 7) Naffe obwetoowaze bujja kutuyamba okukkiriza okuwabulwa okutuweebwa ne bwe tunaaba tuwulira nti tetusaanidde kuwabulwa, oba ng’oyo atuwabula muto ku ffe. Omukadde omu abeera mu Canada agamba nti: “Okuva bwe kiri nti tetweraba ng’abalala bwe batulaba, tetusobola kulongoosaamu we kyetaagisa bwe watabaawo atuwabula.” Ffenna twetaaga okwongera okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, n’okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu ne gye tuyigirizaamu.—Soma Zabbuli 141:5.
13. Tusaanidde kutwala tutya okuwabulwa okutuweebwa?
13 Okuwabulwa kwoleka okwagala Yakuwa kw’alina gy’oli. Yakuwa atwagaliza ekisingayo obulungi. (Nge. 4:20-22) Bw’atuwabula okuyitira mu Kigambo kye, mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, oba ng’ayitira mu mukkiriza munnaffe, aba akiraga nti atwagala. Abebbulaniya 12:9, 10 wagamba nti: “Atukangavvula olw’okutuganyula.”
14. Bwe tuwabulwa kiki kye tusaanidde okussaako ebirowoozo?
14 Ebirowoozo bisse ku kuwabulwa okukuweereddwa so si ku ngeri gye bakuwabuddemu. Oluusi tuyinza okuwulira nti tetuwabuddwa mu ngeri nnungi. Kya lwatu nti buli abaako omuntu gw’awabula asaanidde okumuwabula mu ngeri ekifuula ekyangu gy’ali okukolera ku ky’amugamba. * (Bag. 6:1) Naye bwe tuba nga ffe tuwabulwa, kiba kirungi okussa ebirowoozo byaffe ku ekyo ekitugambibwa, so si ku ngeri oyo atuwabula gy’ayogeramu naffe. Tuyinza okwebuuza: ‘Wadde ng’engeri gye mpabuddwamu sigyagadde, waliwo kye nnyinza okuyiga mu biŋŋambiddwa? Nsobola okubuusa amaaso obutali butuukirivu bw’oyo ampabudde ne ŋŋanyulwa mu ebyo by’aŋŋambye?’ Kiba kya magezi okufuba okulaba nti tubaako kye tuyiga mu kuwabulwa okuba kutuweereddwa.—Nge. 15:31.
SABA ABALALA OKUKUWABULA OSOBOLE OKUGANYULWA
15. Lwaki tusaanidde okusaba abalala okutuwabula?
15 Bayibuli etukubiriza okusaba abalala okutuwabula. Engero 13:10 wagamba nti: “Abanoonya okubuulirirwa baba n’amagezi.” Ekyo kituufu! Abo abasaba abalala okubawabula mu kifo ky’okulinda omuntu okubatuukirira abawabule, batera okukulaakulana mu by’omwoyo okusinga abo abatasaba kuweebwa magezi. N’olwekyo, weebuuzenga ku balala.
16. Mbeera ki mwe tuyinza okusaba abalala okutuwabula?
16 Ddi lwe tuyinza okusaba bakkiriza bannaffe okutuwabula? Lowooza ku mbeera zino. (1) Mwannyinaffe asaba mwannyinaffe omulala alina obumanyirivu okugenda naye okuyigiriza omuyizi we owa Bayibuli era oluvannyuma amubuuza wa w’ayinza okulongoosaamu. (2) Mwannyinaffe alina olugoye lw’ayagala okugula, era abuuza mwannyinaffe omukulu mu myaka amubuulire endowooza gy’alina ku lugoye olwo. (3) Ow’oluganda agenda okuwa emboozi ye esooka, asaba ow’oluganda alina obumanyirivu mu kuwa emboozi okumuwuliriza obulungi ng’awa emboozi eyo amubuulire we yeetaaga okulongoosaamu. N’ow’oluganda amaze emyaka ng’awa emboozi asaanidde okusaba aboogezi abalina obumanyirivu okumubuulira we yeetaaga okulongoosaamu era n’akolera ku ebyo bye bamugamba.
17. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kuwabulwa?
17 Mu wiiki eziddako oba mu myezi egiddako, ffenna tujja kuwabulwa butereevu oba mu ngeri enneekusifu. Ekyo bwe kinaabaawo, jjukira ebyo bye tuyize mu kitundu kino era ba mwetoowaze. Ebirowoozo bisse ku kuwabulwa, so si ku ngeri gy’onooba owabuddwamu. Era fuba okulaba ng’okolera ku kuwabulwa okwo. Tewali n’omu ku ffe azaalibwa nga mugezi. Naye bwe ‘tuwuliriza okuwabulwa era ne tukkiriza okukangavvulwa,’ Bayibuli egamba nti ‘tuba ba magezi.’—Nge. 19:20.
OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa
^ lup. 5 Abantu ba Yakuwa bakimanyi nti kikulu nnyo okukolera ku kuwabulwa okubaweebwa okwesigamiziddwa ku Bayibuli. Kyokka oluusi tekiba kyangu kukkiriza kuwabulwa. Lwaki kiri bwe kityo? Era kiki ekiyinza okutuyamba okuganyulwa mu kuwabulwa okutuweebwa?
^ lup. 10 Amannya agamu gakyusiddwa.
^ lup. 11 Laba Watchtower eya Okitobba 1, 1984, lup. 21-28.
^ lup. 14 Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri abo abawabula abalala gye basobola okukikolamu mu ngeri ey’amagezi.