Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Lwaki kyali kirungi okuba nti Yakuwa yakkiriza Abayisirayiri okuwangayo amayiba n’enjiibwa ng’ebiweebwayo?

MU MATEEKA Katonda ge yawa Abayisirayiri, amayiba n’enjiibwa byombi byali bikkirizibwa okuweebwayo nga ssaddaaka eri Yakuwa. Ebinyonyi bino ebibiri byayogerwangako wamu mu Mateeka era omuntu yali asobola okuwaayo ekimu ku byo. (Leev. 1:14; 12:8; 14:30) Ekyo kyaganyulanga kitya abantu? Ensonga emu eri nti, amayiba oluusi tegaabanga mangu kufuna. Lwaki?

Ejjiba

Amayiba gasangibwa mu Isirayiri yonna mu myezi egy’ebbugumu. Mu mwezi gw’Okitobba gagenda ebukiikaddyo mu nsi ez’ebbugumu, era gakomawo mu Isirayiri ng’ekiseera ky’obutiti kiweddeko. (Luy. 2:11, 12; Yer. 8:7) Ekyo kitegeeza nti mu Isirayiri ey’edda, kyabanga kizibu eri Abayisirayiri okuwaayo amayiba nga ssaddaaka mu kiseera eky’obutiti.

Enjiibwa ey’omu njazi

Ku luuyi olulala, enjiibwa zaabeeranga mu Isirayiri ekiseera kyonna mu mwaka. Ate era abantu baazirundanga. (Geraageranya Yok. 2:14, 16) Ekitabo ekiyitibwa Bible Plants and Animals, kigamba nti: “Mu bibuga byonna ne mu byalo eby’omu Palestine abantu baalundanga enjiibwa. Buli maka gaabeerangamu ekiyumba, oba ekituli mu kisenge ebinyonyi ebyo mwe byabeeranga.”​—Geraageranya Is. 60:8.

Enjiibwa ng’eri mu kituli kyayo

N’olwekyo, Yakuwa yakiraga nti alina okwagala kungi era nti si mukakanyavu bwe yakkiriza Abayisirayiri okuwaayo ebinyonyi ebyali ebyangu okufuna ekiseera kyonna mu mwaka.