Ab’Oluganda Babiri Abapya Abaweereza ku Kakiiko Akafuzi
KU LW’OKUSATU nga Jjanwali 18, 2023, ekirango kyafulumira ku jw.org, nga kigamba nti ow’Oluganda Gage Fleegle n’ow’Oluganda Jeffrey Winder baali balondeddwa okuweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Ab’oluganda abo bombi bamaze ekiseera kiwanvu nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa.
Ow’Oluganda Fleegle yakulira mu bugwanjuba bw’essaza Pennsylvania, mu Amerika, era bazadde be bombi baweereza ba Yakuwa. Bwe yali omutiini, ye ne bazadde be baasengukira mu kabuga akatono awaali obwetaavu obusingawo. Waayita ekiseera kitono n’abatizibwa nga Noovemba 20, 1988.
Bazadde b’ow’Oluganda Fleegle baamukubirizanga okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Baateranga okukyaza mu maka gaabwe abalabirizi abakyalira ebibiina n’Ababeseri, era ow’Oluganda Fleegle yakirabanga nti baabeeranga basanyufu. Nga wayise ekiseera kitono ng’amaze okubatizibwa, yatandika okuweereza nga payoniya nga Ssebutemba 1, 1989. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, yatuuka ku kiruubirirwa kye yali yeeteerawo nga wa myaka 12, era ng’ekiruubirwa ekyo kyali kya kuweereza ku Beseri. Yatandika okuweereza ku Beseri y’e Brooklyn mu Okitobba 1991.
Ku Beseri, ow’Oluganda Fleegle yakola mu kyuma ekikuba ebitabo okumala emyaka munaana oluvannyuma n’asindikibwa mu Kitongole ky’Obuweereza. Mu kiseera ekyo yaweerereza mu kibiina ekyogera Olulasa okumala emyaka mitonotono. Mu 2006 yawasa mukyala we Nadia eyamwegattako ku Beseri. Bombi baaweererezaako mu kibiina ekyogera Olupotugo, era kati bamaze emyaka kkumi nga baweerereza mu kibiina ekyogera Olusipanisi. Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi ng’ow’Oluganda Fleegle aweerereza mu Kitongole ky’Obuweereza, yatandika okuweerereza mu ofiisi y’Akakiiko Akayigiriza ate oluvannyuma mu
ofiisi y’Akakiiko k’Obuweereza. Mu Maaki 2022 yalondebwa okuba omuyambi ku Kakiiko k’Obuweereza akakolera wansi w’Akakiiko Akafuzi.Ow’Oluganda Winder yakulira mu kibuga Murrieta, mu ssaza ly’e California, mu Amerika. Bazadde be be baamuyigiriza amazima, era yabatizibwa nga Maaki 29, 1986. Omwezi ogwaddako yasalawo okuweereza nga payoniya omuwagizi. Yanyumirwa nnyo era n’asalawo okweyongera okuweereza nga payoniya omuwagizi. Oluvannyuma lw’emyezi egiwera ng’akola nga payoniya omuwagizi, yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo nga Okitobba 1, 1986.
Oluganda Winder bwe yali mu myaka gy’obutiini, yakyalira bakulu be babiri abaali baweerereza ku Beseri mu kiseera ekyo. Ekyo kyamuleetera okwagala okuweereza ku Beseri ng’atuusizza emyaka gy’okuweererezaayo. Mu Maayi 1990, yayitibwa okuweerereza ku Beseri y’e Wallkill.
Ku Beseri, ow’Oluganda Winder yakolera mu bitongole eby’enjawulo, gamba ng’Ekitongole Ekikola ogw’Okuyonja, yakolako ku faamu, ne mu Ofiisi erabirira Ababeseri. Yawasa mukyala we Angela, mu 1997, era okuva olwo bombi babadde baweerereza ku Beseri. Mu 2014 baagenda e Warwick, ow’Oluganda Winder gye yayambako mu kuzimba ebizimbe by’ekitebe kyaffe ekikulu. Mu 2016 baagenda ku Beseri y’e Patterson, ow’Oluganda Winder gye yaweerereza mu kitongole ekikola ku by’amaloboozi ne vidiyo. Oluvannyuma lw’emyaka ena, baddayo e Warwick, era ow’Oluganda Winder yalondebwa okuweereza mu ofiisi y’Akakiiko Akalabirira Ababeseri. Mu Maaki 2022 yalondebwa okuba omuyambi ku Kakiiko Akalabirira Ababeseri akakolera wansi w’Akakiiko k’Ettabi.
Tusaba Yakuwa yeeyongera okuwa emikisa ab’oluganda abo, ‘ebirabo mu bantu,’ nga beeyongera okukola n’obunyiikivu omulimu gw’Obwakabaka.—Bef. 4:8.