EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA
Okuzuula Eby’Obugagga Eby’Eby’Omwoyo By’Oyinza Okukolerako
Bwe tusoma Bayibuli, tusobola okuzuula eby’obugagga eby’eby’omwoyo nga tunoonyereza ku ebyo bye tuba tusomye. Naye tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu?
Saayo omwoyo ku ebyo Bayibuli by’eyogerako. Ng’ekyokulabirako, fuba okumanya eyawandiika ebyo by’oba osoma, yabiwandiikira baani, era ddi lwe yabiwandiika. Weebuuze, mbeera ki ezaaliwo ng’abiwandiika, biki ebyaliwo nga tannabiwandiika, era biki ebyaliwo oluvannyuma lw’okubiwandiika?
Lowooza ku by’okuyiga ebibirimu ng’onoonyereza ku bibuuzo nga bino: ‘Abantu aboogerwako baakwatibwako batya? Ngeri ki ze baayoleka? Lwaki nsaanidde okukoppa engeri ezo oba okuzeewala?’
Ebyo by’oba oyize bikolereko, oboolyawo ng’okola omulimu gw’okubuulira oba ng’okolagana n’abantu abalala. Bw’okola bw’otyo, oba oyoleka amagezi agava eri Katonda, nga Bayibuli bw’egamba nti: “Ebintu bino buli alina amagezi ajja kubissaako omwoyo.”—Zab. 107:43.
-
Ky’oyinza okukola: Weetegereze engeri ebyo ebiba mu kitundu Ekigambo kya Katonda kya Bugagga ekiba mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki gye bituyamba okukolera ku ebyo bye tuba tuyize mu Bayibuli. Ekitundu ekyo kibaamu ebibuuzo bye tuyinza okwebuuza, ensonga ze tuyinza okufumiitirizaako, n’ebyokulabirako bye tusobola okulowoozaako.