OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Febwali 2025

Omunaala guno gulimu ebitundu eby’okusoma mu kibiina okuva nga Apuli 14–​Maayi 4, 2025.

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6

Ensonga Lwaki Tusiima Nnyo Yakuwa olw’Okutusonyiwa Ebibi Byaffe

Kya kusomebwa okuva nga Apuli 14-20, 2025.

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7

Oganyulwa Otya Yakuwa bw’Akusonyiwa?

Kya kusomebwa okuva nga Apuli 21-27, 2025.

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8

Tuyinza Tutya Okukoppa Engeri Yakuwa gy’Asonyiwamu?

Kya kusomebwa okuva nga Apuli 28–​Maayi 4, 2025.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

“Sibeerangako Nzekka”

Soma olabe ensonga lwaki Angelito Balboa yali mukakafu nti Yakuwa yalinga naye, ne bwe yabanga ayita mu bizibu eby’amaanyi.

Weewale Okwetwala Nti Oli wa Kitalo ng’Abantu Bangi Bwe Beetwala

Abantu bangi baagala nnyo okuweebwa ebitiibwa oba okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo ku balala. Weetegereze egimu ku misingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okwewala endowooza ng’eyo.

Tuyinza Tutya Okuba ab’Emikwano aba Nnamaddala

Bayibuli eraga obukulu bw’okuba n’emikwano egya nnamaddala mu biseera ebizibu.

Ekibuuzo Ekyangu Buli Omu ky’Asobola Okubuuza

Okufaananako Mary, naawe osobola okutandika okuyigiriza abantu bangi Bayibuli ng’obabuuza ekibuuzo ekyangu.

Beera Muvumu ng’Opikirizibwa

Kiki kye tuyigira ku ngeri Yeremiya ne Ebedumereki gye baayolekamu obuvumu?