BY’OYINZA OKWESOMESA
Beera Muvumu ng’Opikirizibwa
Soma Yeremiya 38:1-13 olabe engeri ekyokulabirako kya Yeremiya n’omulaawe eyali ayitibwa Ebedumereki gye kisobola okukuyamba okuba omuvumu.
Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Yeremiya yayoleka atya obuvumu ng’alangirira obubaka bwa Yakuwa? (Yer. 27:12-14; 28:15-17; 37:6-10) Abo abaawulira obubaka bwe baakwatibwako batya?—Yer. 37:15, 16.
Noonyereza ku bintu ebyogerwako. Kupikirizibwa ki Yeremiya kwe yayolekagana nakwo? (jr-E 26-27 ¶20-22) Noonyereza omanye ebikwata ku nzizi ez’edda. (it-1-E 471) Yeremiya ayinza kuba nga yawulira atya ng’ali mu luzzi olwalimu ebitosi? Kiki ekiyinza okuba nga kyatiisa Ebedumereki?—w12-E 5/1 31 ¶2-3.
Lowooza ku ebyo by’oyigamu. Weebuuze:
-
‘Ebyo bye nsoma ku Yeremiya ne Ebedumereki binjigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’akuumamu abaweereza be abeesigwa?’ (Zab. 97:10; Yer. 39:15-18)
-
‘Mbeera ki eziyinza okunneetaagisa okuba omuvumu?’
-
‘Kiki kye nnyinza okukola okweyongera okuba omuvumu nsobole okukola ekituufu nga mpikirizibwa?’ (w11-E 3/1 30) a
a Ebirala ebikwata ku kwesomesa, laba “By’Oyinza Okwesomesa” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 2023.