Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekibuuzo Ekyangu Buli Omu ky’Asobola Okubuuza

Ekibuuzo Ekyangu Buli Omu ky’Asobola Okubuuza

Mary n’omwami we, John, a babeera mu nsi erimu abantu bangi abava mu Philippines ababa bazze okukola oba okubeerayo, era bafuna essanyu lingi okubabuulira. Mu kiseera kya COVID-19 Mary yatandika okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi mw’abeera era ne mu nsi endala. Ekyo yakikola atya?

Yabuuzanga abayizi be aba Bayibuli nti: “Olinayo omuntu omulala gw’omanyi eyandyagadde okuyiga Bayibuli?” Omuyizi bwe yagambanga nti yee, Mary yamubuuzanga nti, “Oyinza okukola enteekateeka ne njogerako naye?” Okubuuza ekibuuzo ekyo ekyangu kitera okuvaamu ebirungi bingi. Lwaki? Kubanga emirundi mingi abantu abasiima Ekigambo kya Katonda baba baagala okubuulirako ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe ebyo bye bayiga. Biki ebivudde mu kubuuza ekibuuzo ekyo?

Omuyizi wa Mary ayitibwa Jasmin yamuyamba okufuna abayizi ba Bayibuli abalala bana. Omu ku bayizi abo ayitibwa Kristine, yanyumirwa nnyo ebyo bye yali ayiga, n’asaba Mary ayigenga naye emirundi ebiri mu wiiki. Mary bwe yabuuza Kristine obanga yali amanyiiyo omuntu omulala eyandyagadde okuyiga Bayibuli, yaddamu nti “Yee, nninayo mikwano gyange.” Mu wiiki ntono Kristine yafunira Mary abayizi ba Bayibuli bana. Oluvannyuma Kristine yamufunira mikwano gye abalala era nabo ne bamufunira abalala abaali baagala okuyiga.

Ate era Kristine yayagala abantu be mu Philippines nabo okuyiga Bayibuli. Bwe kityo yayogerako ne muwala we, Andrea. Mu kusooka Andrea muli yagamba nti, ‘Abajulirwa ba Yakuwa kadiinidiini akatakkiririza mu Yesu, era bakozesa Ndagaano Nkadde yokka.’ Naye oluvannyuma lw’okuyiga naye omulundi gumu gwokka, endowooza enkyamu gye yalina ku Bajulirwa ba Yakuwa yakyuka. Bwe baabanga bamuyigiriza yagambanga nti, “Kino olw’okuba Bayibuli y’ekyogera, kiteekwa okuba nga kituufu!”

Oluvannyuma Andrea yafunira Mary mikwano gye babiri n’omu ku bakozi banne, nabo ne batandika okuyiga Bayibuli. Ate era Mary yali takimanyi nti Andrea bwe yalinga ayiga, senga we omuzibe w’amaaso ayitibwa Angela naye yabangawo awo ng’awuliriza. Lumu Angela yagamba Andrea agambe Mary naye atandike okumuyigiriza. Angela yayagala nnyo ebyo bye yali ayiga. Mu bbanga lya mwezi gumu gwokka Angela yali akutte ebyawandiikibwa bingi mu mutwe, era yali ayagala bayige emirundi ena buli wiiki! Andrea yamuyambako n’atandika okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa ng’akozesa zoom.

Mary bwe yakitegeera nti Joshua, omwami wa Kristine, yabanga kumpi awo nga Kristine ayiga Bayibuli, yasaba omwami oyo okubeegattako mu kuyiga. Joshua yamugamba nti, “Nja kuwuliriza buwuliriza, naye tobaako kibuuzo kyonna ky’ombuuza. Bw’onoobaako ky’ombuuza, nja kuvaawo ŋŋende.” Mu ddakiika ettaano ezaasooka nga bayiga, Joshua yabuuza ebibuuzo bingi okusinga ebyo Kristine bye yabuuza, era yayagala okweyongera okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli.

Ekibuuzo ekyangu Mary kye yabuuza kyamuviirako okufuna abayizi ba Bayibuli bangi. Bangi ku bo yabakolera enteekateeka bakkiriza banne abalala beeyongere okubayigiriza. Abantu Mary be yatandika okuyigiriza Bayibuli baali ba mu nsi nnya, era bonna awamu baali 28.

Jasmin, omuyizi eyasoose okwogerwako mu kitundu kino, yabatizibwa mu Apuli 2021. Kristine yabatizibwa mu Maayi 2022 era yaddayo mu Philippines okubeera awamu n’ab’omu maka ge. Abayizi abalala babiri Kristine be yafunira Mary nabo baabatizibwa. Angela yabatizibwa nga wayiseewo emyezi mitono era kati aweereza nga Payoniya owa bulijjo. Ate ye Joshua, omwami wa Kristine ne muwala waabwe, Andrea, awamu n’abayizi ba Bayibuli abalala abawerako, bakulaakulana mu by’omwoyo.

Mu kyasa ekyasooka, amawulire amalungi gaasaasaana mu bwangu, kubanga abantu bangi baabuulirangako ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe ebyo bye baabanga bayize. (Yok. 1:​41, 42a; Bik. 10:​24, 27, 48; 16:​25-33) Naawe osobola okubuuza abayizi bo aba Bayibuli oba omuntu omulala ayagala okumanya ebisingawo, obanga alina gw’amanyiiyo eyandyagadde okuyiga Bayibuli. Ekyo kiyinza okuviirako abantu bangi okutandika okuyiga Bayibuli.

a Amannya gakyusiddwa.