Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

Ensonga Lwaki Tusiima Nnyo Yakuwa olw’Okutusonyiwa Ebibi Byaffe

Ensonga Lwaki Tusiima Nnyo Yakuwa olw’Okutusonyiwa Ebibi Byaffe

“Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.”YOK. 3:16.

EKIGENDERERWA

Twagala okweyongera okusiima Yakuwa olw’okutusonyiwa ebibi byaffe. Okumanya ekyo Yakuwa kye yakola okusobola okutusonyiwa ebibi byaffe kijja kutuyamba okweyongera okumusiima.

1-2. Embeera abantu gye balimu efaananako etya n’ey’omuvubuka ayogeddwako mu katundu akasooka?

 LOWOOZA ku muvubuka akulidde mu maka amagagga. Naye lumu afuna amawulire nti bazadde be bafiiridde mu kabenje. Amawulire ago gamuleetera obulumi bungi. Kyokka waliwo n’ekintu ekirala ekimuleetera obulumi. Akitegeera nti bazadde be baakozesa bubi eby’obugagga byabwe, era nti balese ebbanja ddene nnyo ly’alina okusasula. Kirowoozeeko, mu kifo ky’omuvubuka oyo okusikira eby’obugagga asikira mabanja, era abo ababanja baagala ssente zaabwe. Amabanja ago manene nnyo ne kiba nti tasobola kugasasula.

2 Mu ngeri emu oba endala, embeera yaffe efaananako ey’omuvubuka oyo. Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baali batuukiridde era nga babeera mu kifo ekirabika obulungi ennyo. (Lub. 1:27; 2:​7-9) Baalina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna nga bali mu bulamu obweyagaza. Naye buli kintu kyakyuka. Baafiirwa olusuku Edeni mwe baali babeera, era baafiirwa n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. Kya busika ki kye bandirekedde abaana baabwe? Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu [Adamu] ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Bar. 5:12) Eky’obusika Adamu kye yatulekera kye kibi, era ng’ekibi ekyo kireeta okufa. Ekibi ekyo kye twasikira kiringa ebbanja eddene ennyo, era tewali n’omu ku ffe asobola kulisasula.—Zab. 49:8.

3. Lwaki ebibi byaffe biyinza okugeraageranyizibwa ku ‘mabanja’?

3 Yesu yageraageranya ebibi ku ‘mabanja.’ (Mat. 6:12; Luk. 11:4) Bwe twonoona tuba ng’abafunye ebbanja lye tulina okusasula Yakuwa. Singa Yakuwa teyakola nteekateeka yonna ya kusasulira bbanja eryo, twandibadde tulina kufa okusobola okulisasulira era nga tetulina ssuubi lyonna lya kuddamu kuba balamu.—Bar. 6:​7, 23.

4. (a) Singa tetwayambibwa, kiki ekyanditutuuseeko ffenna? (Zabbuli 49:​7-9) (b) Mu Bayibuli, ekigambo “ekibi” kitegeeza ki? (Laba akasanduuko “ Ekibi.”)

4 Ku lwaffe tetusobola kuzzaawo ebyo byonna Adamu ne Kaawa bye baatufiiriza. (Soma Zabbuli 49:​7-9.) Singa tetwayambibwa, tetwandibadde na ssuubi lya kubaawo mirembe gyonna oba ery’okuzuukira. Okufaananako ensolo, bwe twandifudde tetwandibadde na ssuubi lyonna lya kuddamu kuba balamu.—Mub. 3:19; 2 Peet. 2:12.

5. Kitaffe atwagala ennyo yatuyamba atya okusasulira ekibi kye twasikira? (Laba ku ddiba.)

5 Lowooza nate ku muvubuka ayogeddwako ku ntandikwa. Yandiwulidde atya singa wajjawo omusajja omwetegefu okusasula amabanja ge gonna? Kya lwatu omuvubuka oyo yandisiimye nnyo, era yandikkirizza obuyambi obwo. Mu ngeri y’emu, Yakuwa Kitaffe atwagala ennyo, yatuwa ekirabo ekisasulira ekibi kye twasikira ku Adamu. Ekirabo ekyo Yesu yakyogerako bw’ati: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Ate era, ekirabo ekyo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.

Yesu yabuulira abantu amawulire amalungi nti Yakuwa asobola okubasonyiwa ebibi byabwe ng’asinziira ku kinunulo. (Yok. 3:16) Oluvannyuma yawaayo obulamu bwe okusobola okusasula ekinunulo ekyo (Laba akatundu 5)


6. Bigambo ki ebyogerwako mu Bayibuli bye tugenda okulaba mu kitundu kino, era lwaki?

6 Tuyinza tutya okuganyulwa mu kirabo kino eky’omuwendo ne tusonyiyibwa ebibi byaffe, oba “amabanja” gaffe? Eky’okuddamu mu kibuuzo kino kisangibwa mu bigambo ebikozesebwa mu Bayibuli gamba nga okutabagana, okutangirira, ekinunulo, okununula, ne okuyitibwa abatuukirivu. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya amakulu ga buli kimu ku bigambo ebyo. Okufumiitiriza ku makulu g’ebigambo ebyo kijja kutuyamba okweyongera okusiima ekyo Yakuwa ky’asinziirako okutusonyiwa.

EKIGENDERERWA: OKUTABAGANYA

7. (a) Kintu ki ekirala Adamu ne Kaawa kye baafiirwa? (b) Kintu ki bazzukulu ba Adamu ne Kaawa kye baali beetaaga ennyo? (Abaruumi 5:​10, 11)

7 Ng’oggyeeko okuba nti Adamu ne Kaawa baafiirwa obulamu obutaggwaawo, era baafiirwa n’enkolagana gye baalina ne Kitaabwe, Yakuwa. Mu kusooka Adamu ne Kaawa baali mu maka ga Yakuwa. (Luk. 3:38) Naye bwe baayonoona, Yakuwa yabagoba mu maka ge nga tebannazaala baana. (Lub. 3:​23, 24; 4:1) N’olwekyo, bazzukulu baabwe baali beetaaga okutabaganyizibwa ne Yakuwa. (Soma Abaruumi 5:​10, 11.) Mu ngeri endala, twetaaga okufuna enkolagana ennungi naye. Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okutabaganya’ kiyinza okutegeeza “okufuula mulabe wo mukwano gwo.” Ekyewuunyisa kiri nti, Yakuwa ye yabaako ne kyakolawo okusobozesa kino okubaawo. Mu ngeri ki?

ENTEEKATEEKA: OKUTANGIRIRA

8. Okutangirira kye ki?

8 Okutangirira ye nteekateeka Yakuwa gye yassaawo okuzzaawo enkolagana ennungi wakati we n’abantu aboonoonyi. Ezingiramu okuwaanyisaamu ekintu ekimu n’ofunamu ekirala ekikyenkana. Mu ngeri eyo, ekyo ekiba kyabula oba ekyayonoonebwa kisobola okuddamu okufunibwa oba okuzzibwawo. Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani nabyo byogera ku nteekateeka Yakuwa gye yakola okusobozesa abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.—Bar. 3:25.

9. Nteekateeka ki etaali ya nkalakkalira Yakuwa gye yassaawo okusobola okusonyiwa Abayisirayiri ebibi byabwe?

9 Okusobozesa Abayisirayiri okuba n’enkolagana ennungi naye, Yakuwa yassaawo enteekateeka etaali ya nkalakkalira mwe yandiyitidde okusonyiwa ebibi byabwe. Mu Isirayiri, Olunaku olw’Okutangirira Ebibi lwakwatibwanga omulundi gumu buli mwaka. Ku lunaku olwo, kabona asinga obukulu yawangayo ssaddaaka z’ensolo ku lw’abantu. Kya lwatu, ssaddaaka z’ensolo zaali tezisobola kutangirira mu bujjuvu bibi bya muntu yenna kubanga ensolo za wansi ku bantu. Naye Abayisirayiri bwe beenenyanga ne bawaayo ssaddaaka Yakuwa ze yali abeetaagisa, yabanga mwetegefu okubasonyiwa ebibi byabwe. (Beb. 10:​1-4) Ssaddaaka ze baawangayo ku lunaku olw’okutangirira ne ze baawangayo mu biseera ebirala, zaayambanga Abayisirayiri okukijjukira nti baali boonoonyi era nti baali beetaaga ekintu ekisingawo okusobola okutangirira ebibi byabwe mu bujjuvu.

10. Nteekateeka ki ey’enkalakkalira Yakuwa gye yakola okusobola okusonyiwa ebibi by’abantu?

10 Nteekateeka ki ey’enkalakkalira Yakuwa gye yakola okusobola okusonyiwa ebibi by’abantu? Yasindika omwana we gw’ayagala ennyo okwewaayo “omulundi gumu okwetikka ebibi by’abangi.” (Beb. 9:28) Yesu ‘yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Mat. 20:28) Ekinunulo kye ki?

OMUWENDO: EKINUNULO

11. (a) Okusinziira ku Bayibuli, ekinunulo kye ki? (b) Kiki ekyali kyetaagisa ekinunulo ekyo okusobola okusasulwa?

11 Okusinziira ku Bayibuli, ekinunulo gwe muwendo ogusasulwa okusobola okutangirira oba okutabaganya. a Yakuwa atwala ekinunulo okuba nga kye kisinziirwako okuzzaawo ekyo kye twali tufiiriddwa. Mu ngeri ki? Kijjukire nti Adamu ne Kaawa baafiirwa obulamu obutuukiridde awamu n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. N’olwekyo, omuwendo gw’ekinunulo gwali gulina okuba nga gwenkana n’ekyo kye baatufiiriza. (1 Tim. 2:6) Gwali gusobola kusasulwa muntu omukulu (1) atuukiridde; (2) asobola okubeerawo emirembe gyonna ku nsi; era (3) nga mwetegefu okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe. Olwo obulamu bw’omuntu oyo bwandibadde busobola okusasulira, oba okutangirira obulamu bwe twali tufiiriddwa.

12. Lwaki Yesu yasobola okusasula omuwendo gw’ekinunulo ogwali gwetaagisa?

12 Weetegereze ensonga ssatu lwaki Yesu yasobola okusasula omuwendo gw’ekinunulo. (1) Yali atuukiridde, “teyakola kibi.” (1 Peet. 2:22) (2) Olw’okuba yali atuukiridde, yali asobola okubeera ku nsi emirembe gyonna. (3) Yali mwetegefu okufa n’awaayo obulamu obwo ku lwaffe. (Beb. 10:​9, 10) Olw’okuba Yesu yali atuukiridde, yali yenkanankana ne Adamu nga tannayonoona. (1 Kol. 15:45) Yesu bwe yafa yasobola okutangirira ekibi kya Adamu, kwe kugamba, okuzzaawo ekyo Adamu kye yali atufiirizza. (Bar. 5:19) N’olwekyo, Yesu yafuuka “Adamu ow’oluvannyuma.” Tekyetaagisa muntu mulala atuukiridde okujja asasulire ekyo Adamu kye yali atufiirizza. Yesu yafa “omulundi gumu.”—Beb. 7:27; 10:12.

13. Njawulo ki eriwo wakati w’enteekateeka y’okutangirira n’ekinunulo?

13 Kati olwo, njawulo ki eriwo wakati w’enteekateeka y’okutangirira n’ekinunulo? Enteekateeka y’okutangirira ky’ekyo Katonda ky’akolawo abantu okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye. Ekinunulo gwe muwendo ogusasulwa okusobozesa ebibi by’abantu aboonoonyi okutangirirwa. Omuwendo ogwo gukiikirirwa omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa ku lwaffe.—Bef. 1:7; Beb. 9:14.

EBYAVAAMU: OKUNUNULIBWA N’OKUYITIBWA ABATUUKIRIVU

14. Biki bye tugenda okulaba, era lwaki?

14 Biki ebyava mu nteekateeka y’okutangirira? Bayibuli ekozesa ebigambo ebiwerako okulaga emiganyulo egyavaamu. Wadde ng’amakulu g’ebigambo ebyo gaagala okufaanagana, buli kimu byo kituyamba okutegeera engeri Yakuwa gye yatusonyiwamu. Nga twekenneenya ebigambo ebyo, tugenda kulaba engeri naffe kinnoomu gye tukwatibwako.

15-16. (a) Mu Bayibuli, ekigambo “okununulibwa” kitegeeza ki? (b) Tukwatibwako tutya olw’okununulibwa?

15 Mu Bayibuli okununulibwa kitegeeza okuteebwa oba okusumululwa. Okusumululwa okwo kwasoboka olw’okuba ekinunulo kyasasulwa. Ekyo omutume Peetero yakyogerako bw’ati: “Mukimanyi nti ffeeza oba zzaabu, ebintu ebiggwaawo, si bye byabanunula okuva mu mpisa ezitaliimu ze mwafuna ku bajjajjammwe. Naye mwanunulibwa omusaayi ogw’omuwendo, ogwa Kristo, ogulinga ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo wadde ebbala.”—1 Peet. 1:​18, 19.

16 Olw’ekinunulo ekyaweebwayo, tusobola okusumululwa mu buddu bw’ekibi n’okufa. (Bar. 5:21) Mazima ddala, tusiima nnyo Yakuwa ne Yesu olw’okutununula okuyitira mu musaayi gwa Yesu ogw’omuwendo.—1 Kol. 15:22.

17-18. (a) Kitegeeza ki okuyitibwa abatuukirivu? (b) Era ekyo kitukwatako kitya?

17 Okuyitibwa abatuukirivu kitegeeza nti omusango ogwali gutuvunaanibwa gwatuggibwako, era nti twejjeerezebwa. Yakuwa okukola ekyo teyasambajja mitindo gye egy’obwenkanya. Atuyita batuukirivu si lwa kuba nti ekyo twakikolerera; ate era tawagira bibi bye tukola. Naye olw’okuba tukkiririza mu nteekateeka y’okutangirira ne mu kinunulo ekyasasulwa, Yakuwa alina ky’asinziirako okusazaamu amabanja gaffe.—Bar. 3:24; Bag. 2:16.

18 Ekyo kirina makulu ki gye tuli? Abo abaalondebwa okufugira awamu ne Yesu mu ggulu baamala dda okuyitibwa abatuukirivu ne bafuuka abaana ba Katonda. (Tit. 3:7; 1 Yok. 3:1) Baasonyiyibwa ebibi byabwe. Mu ngeri endala, balinga abatakolanga bibi, era bwe kityo bagwanira okufuga mu Bwakabaka. (Bar. 8:​1, 2, 30) Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, bayitibwa batuukirivu nga mikwano gya Katonda era ebibi byabwe byasonyibwa. (Yak. 2:​21-23) Ab’ekibiina ekinene, abanaawonawo ku Amagedoni, balina essuubi ery’obutalega ku kufa. (Yok. 11:26) “Abatuukirivu” ‘n’abatali batuukirivu’ abaafa bajja kuzuukizibwa. (Bik. 24:15; Yok. 5:​28, 29) Oluvannyuma abaweereza ba Yakuwa bonna abawulize abanaabeera ku nsi bajja kufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:21) Mazima ddala twesunga nnyo ekiseera lwe tujja okuba n’enkolagana eyo ne kitaffe ow’omu ggulu!

19. Embeera yaffe yatereera etya? (Laba akasanduuko “ Engeri Yakuwa gy’Atusonyiwamu.”)

19 Mu butuufu, embeera yaffe yali ng’ey’omuvubuka eyayogeddwako ku ntandikwa eyafiirwa buli kimu ate n’asikira ebbanja eddene lye yali tasobola kusasula. Naye twebaza nnyo Yakuwa okuba nti yatuyamba. Embeera yaffe yakyuka olw’enteekateeka y’okutangirira n’olw’ekinunulo okusasulibwa. Okukkiriza kwe tulina mu Yesu Kristo kutusobozesa okununulibwa, oba okusumululwa mu buddu bw’ekibi n’okufa. Ebibi byaffe bisobola okusazibwamu ne twejjeerezebwa. Naye ekisinga obukulu kiri nti, kati tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo.

20. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Bwe tufumiitiriza ku ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera, tweyongera okubasiima ennyo. (2 Kol. 5:15) Singa tebaatuyamba, tetwandibadde na ssuubi lyonna! Naye okuba nti Yakuwa yatusonyiwa, kirina makulu ki gye tuli kinnoomu? Ekyo kye kijja okwogerwako mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 10 Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!

a Mu nnimi ezimu, ekigambo “ekinunulo” obutereevu kitegeeza “omuwendo gw’obulamu.”