Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

“Sibeerangako Nzekka”

“Sibeerangako Nzekka”

EBINTU bingi mu bulamu ebisobola okutuleetera ekiwuubaalo eky’amaanyi, gamba ng’okufiirwa omuntu gwe twagala, okubeera mu kitundu kye tutamanyidde, oba okuba nga tubeera ffekka. Embeera ezo zonna nziyiseemu. Naye bwe ndowooza ku bulamu bwange, nkiraba nti sibeerangako nzekka. Ka mbabuulire ensonga lwaki ŋŋamba bwe ntyo.

EKYOKULABIRAKO BAZADDE BANGE KYE BANTEERAWO

Taata ne maama baali Bakatoliki abakuukuutivu. Naye bwe baayiga mu Bayibuli nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, baafuuka abaweereza ba Yakuwa abanyiikivu. Taata yalekera awo okubajja ebifaananyi bya Yesu. Mu kifo ky’ekyo, obumanyirivu bwe yalina mu kubajja yabukozesa okukyusa omwaliiro ogusooka ogw’ennyumba yaffe n’agufuula Ekizimbe ky’Obwakabaka, era ekyo kye Kizimbe ky’Obwakabaka ekyasooka mu kabuga San Juan del Monte, akali ku njegoyego za Manila, ekibuga ekikulu ekya Philippines.

Nga ndi ne bazadde bange n’abamu ku b’eŋŋanda zange

Bwe nnazaalibwa mu 1952, bazadde bange baatandika okunjigiriza ebikwata ku Yakuwa nga bwe baalinga bayigiriza bakulu bange, abalenzi bana n’abawala basatu. Bwe nnakula, taata yankubiriza okusomanga essuula emu mu Bayibuli buli lunaku, era yasomeranga wamu nange ebitabo ebitali bimu ebikubibwa ekibiina kyaffe. Oluusi bazadde bange baakyazanga mu maka gaffe abalabirizi abakyalira ebibiina n’ab’oluganda abaabanga bakiikiridde ettabi. Ffenna awaka twafunanga essanyu lingi era twazzibwangamu nnyo amaanyi okuwulira ebyo ab’oluganda abo bye baatunyumizanga, era ekyo kyatuleetera okukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwaffe.

Bazadde bange baalina okukkiriza okw’amaanyi era nnabayigirako nnyo. Oluvannyuma lwa maama okulwala n’afa, nze ne taata twatandika okuweerereza wamu nga bapayoniya mu 1971. Kyokka mu 1973 nga nnina emyaka 20, taata naye yafa. Okufiirwa bazadde bange kyandeetera ennaku ey’amaanyi, ekiwuubaalo, era nnawulira nga mpeddemu amaanyi. Naye essuubi ‘ekkakafu era erinywevu’ eriri mu Bayibuli lyannyamba okusigala nga nnina endowooza ennuŋŋamu, obutennyamira, era n’okusigala nga nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (Beb. 6:19) Nga wayise ekiseera kitono nga taata amaze okufa, nnakkiriza okugenda okuweereza nga payoniya ow’enjawulo ku kizinga Coron, ekisangibwa mu ssaza ly’e Palawan.

MPULIRA EKIWUUBAALO EKY’AMAANYI NGA NDI MU BUWEEREZA OBUTALI BWANGU

We nnatuukira ku kizinga Coron, nnalina emyaka 21. Olw’okuba nnakulira mu kibuga, nneewuunya nnyo okukiraba nti ku kizinga ekyo waaliyo amasannyalaze n’amazzi ga ttaapu matono, era emmotoka ne ppikippiki nabyo byali bitono ddala. Wadde nga waaliyo ab’oluganda abatonotono, ssaalina gwe mpeereza naye nga payoniya era oluusi nnabuuliranga nzekka. Mu mwezi ogwasooka, nnalowoozanga nnyo ku b’ewaffe ne mu mikwano gyange era nnawuliranga nga nsaalirwa okubeera nabo. Ekiro nnatunuuliranga eggulu eryabanga lijjudde emmunyeenye ng’eno bwe nkaaba. Nnayagala okulekayo obuweereza obwo nzireyo eka.

Mu biseera ebyo nga ndi nzekka, nnatuukiriranga Yakuwa mu kusaba ne mmutegeeza ebyambanga ku mutima. Nnajjukiranga ebintu ebizzaamu amaanyi bye nnali nnasoma mu Bayibuli ne mu bitabo byaffe. Emirundi mingi nnalowoozanga nnyo ku bigambo ebiri mu Zabbuli 19:14. Nnakitegeera nti Yakuwa yandibadde ‘Lwazi lwange era Omununuzi wange’ bwe nnandifumiitirizza ku bintu ebimusanyusa, gamba ng’ebyo bye yakola, era n’engeri ze. Ekitundu kye nnasoma mu Watchtower ekyalina omutwe, “Toli Wekka” (“You Are Never Alone”) a kyannyamba nnyo. Nnakisoma enfunda n’enfunda. Nnyinza okugamba nti mu biseera ebyo nnabeeranga wamu ne Yakuwa, era nnakozesanga akakisa ako okusabanga, okwesomesa, n’okufumiitiriza.

Nga wayise ekiseera kitono nga mmaze okutuuka mu Coron, nnalondebwa okuweereza ng’omukadde. Olw’okuba nze nzekka eyali aweereza ng’omukadde mu kitundu ekyo, buli wiiki nnalinanga okukubiriza olukuŋŋaana lw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, olw’Obuweereza, olw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina, n’Olw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Ate era nnalinanga okuwa emboozi buli wiiki. Ekituufu kiri nti kati nnali sikyalina budde kuwulira kiwuubaalo.

Nnanyumirwa nnyo okubuulira mu Coron, era oluvannyuma abamu ku bayizi bange aba Bayibuli baabatizibwa. Naye era nnafuna n’ebyansoomooza. Oluusi okusobola okutuuka gye nnabanga ndaga, nnalina okutambulanga okumala ekitundu ky’olunaku, nga simanyi na wa gye nnandisuze. Ekitundu ekibiina kyaffe kye kyalina okubuuliramu kyali kizingiramu n’obuzinga obulala obutono bungi. Okusobola okutuuka ku buzinga obwo, emirundi mingi nnalina kusaabalira mu lyato, era oluusi ennyanja yafuukuukanga ate nga simanyi kuwuga. Mu kiseera ekyo kyonna, Yakuwa yankuuma era n’andabirira. Oluvannyuma nnakitegeera nti Yakuwa yali annyamba okweteekerateekera obuweereza obulala obwali bugenda okumpeebwa, obwali obuzibu ennyo n’okusingawo.

PAPUA NEW GUINEA

Mu 1978, nnasindikibwa okuweereza mu Papua New Guinea, ensi esangibwa ebukiikakkono wa Australia. Ensi eyo ya nsozi, era kyenkana yenkana Sipeyini obunene. Nneewuunya nnyo okukitegeera nti wadde ng’ensi eyo yalimu abantu ng’obukadde busatu, baali boogera ennimi ezisukka mu 800. Ekirungi, abantu abasinga obungi baali basobola okwogera olulimu oluyitibwa Melanesian Pidgin, oba olumanyiddwa ennyo nga Tok Pisin.

Nnasooka ne nsindikibwa mu kibiina ekyali kyogera Olungereza mu kibuga ekikulu, Port Moresby. Naye oluvannyuma nnagenda mu kibiina ekyali kyogera Olutokipisini, era ne ntandika okuyigirizibwa olulimi olwo. Ebyo bye nnayigirizibwanga nnabikozesanga nga njogera n’abantu mu mulimu gw’okubuulira. Ekyo kyannyamba okuyiga amangu olulimi olwo. Mu kiseera kitono nnali nsobola okuwa emboozi mu Lutokipisini. Nneewuunya nnyo bwe nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina nga tewannayita na mwaka gumu bukyanga ntuuka mu Papua New Guinea. Nnasindikibwa kuweereza mu bibiina ebyali byogera Olutokipisini, era byali bisangibwa mu masaza mangi.

Olw’okuba ebibiina byali byesudde nnyo, nnalina okuteekateekanga enkuŋŋaana ennene nnyingi era nnatambulanga nnyo. Mu kusooka nnawulira ekiwuubaalo, kubanga nnali mu nsi mpya, mu bantu ab’obuwangwa bwe simanyi, era abaali boogera olulimi lwe simanyi. Nnalinga sisobola kuyita ku lukalu okuva mu kibiina ekimu okugenda mu kirala, kubanga ekitundu ekyo kirimu ensozi nnyingi nnyo n’enkonko. N’olwekyo, kyenkana buli wiiki nnalinanga kulinnya nnyonyi. Oluusi nze musaabaze nzekka eyabanga mu nnyonyi ezo, era tezaabanga mu mbeera nnungi. Bwe nnabanga mu nnyonyi ezo nnatyanga nnyo nga bwe kyabanga nga ndi mu lyato.

Olw’okuba abantu batono nnyo abaalina essimu, nnawuliziganyanga n’ebibiina nga mbiwandiikira mabaluwa. Emirundi mingi nnatuukanga mu bitundu omwabanga ebibiina ebyo nga n’ebbaluwa gye nnabanga mbiwaandiikidde tennatuukayo, era nnalinanga kubuuliriza okusobola okuzuula ababuulizi gye baalinga babeera. Kyokka buli lwe nnazuulanga ab’oluganda, bannyanirizanga n’essanyu lingi, era ekyo kyannyambanga okujjukira ensonga lwaki nnali nfuba okuweereza Yakuwa mu ngeri eyo. Nnalaba engeri Yakuwa gye yali annyambamu mu ngeri nnyingi, era ekyo kyanyweza nnyo enkolagana yange naye.

Mu lukuŋŋaana lwe nnasooka okugendamu ku kizinga Bougainville, omwami omu ne mukyala we bantuukirira nga basanyufu nnyo ne bambuuza nti: “Otujjukira?” Nnajjukira nti nnali nnababuulira nga nnaakatuuka mu kibuga Port Moresby. Nnali ntandise okuyiga nabo Bayibuli naye oluvannyuma ne mbawa ow’oluganda eyali abeera mu kitundu ekyo. Kati bombi baali baabatizibwa! Ogwo gwe gumu ku mikisa emingi gye nnafuna mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu gye nnamala mu Papua New Guinea.

AMAKA AGAALINA EBY’OKUKOLA EBINGI

Nga ndi ne Adel

Bwe nnali sinnava ku kizinga Coron 1978, nnali nnasisinkana mwannyinaffe ayitibwa Adel, eyalina omwoyo gw’okwefiiriza era eyali asikiriza ennyo. Yali aweereza nga payoniya owa bulijjo nga bw’alabirira abaana be babiri, Samuel ne Shirley. Ate era yali alabirira ne maama we eyali akaddiye. Mu Maayi 1981, nnaddayo mu Philippines okuwasa Adel. Oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, twaweerereza wamu nga bapayoniya aba bulijjo nga bwe tulabirira amaka gaffe.

Nga ndi mu Palawan, nga mpeerereza wamu ne Adel n’abaana baffe, Samuel, ne Shirley

Wadde nga kati nnalina amaka ag’okulabirira, mu 1983 nnaddamu okulondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo ku kizinga Linapacan, mu ssaza ly’e Palawan. Ffenna ng’amaka twasenguka ne tugenda ku kizinga ekyo ekyali kyesudde era ekitaaliko Bajulirwa ba Yakuwa. Nga wayise omwaka nga gumu, maama wa Adel yafa. Naye tweyongera okubuulira n’obunyiikivu, ekyo ne kituyamba okugumira obulumi bw’okufiirwa. Ku kizinga ekyo twatandika okuyigiriza abantu bangi Bayibuli era ne bakulaakulana. Mu kiseera kitono twali twetaaga Ekizimbe ky’Obwakabaka ekitonotono. N’olwekyo, twezimbira ekizimbe ekyo. Nga wayise emyaka esatu gyokka bukyanga tutuuka ku kizinga ekyo, twasanyuka nnyo okulaba nti abantu 110 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo, era bangi ku bo oluvannyuma baakulaakulana ne babatizibwa nga tumaze okuvaayo.

Mu 1986, nnasindikibwa okuweereza ku kizinga Culion, ekyali kibeerako abalwadde b’ebigenge. Oluvannyuma Adel naye yalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Mu kusooka twali tutya okubuulira abalwadde b’ebigenge. Naye ababuulizi ab’omu kitundu ekyo baatugamba nti abalwadde abo baali baafuna obujjanjabi era nga tebasobola kusiiga bantu balala. Abamu ku balwadde abo baali babaawo mu nkuŋŋaana mu maka ga mwannyinaffe omu. Mu kiseera kitono twamanyiira, era abantu abo abaali bawulira nti abalala tebabaagala era nti ne Katonda tabaagala, twazzibwamu nnyo amaanyi okubabuulira ku bisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli. Twasanyuka nnyo okulaba ng’abantu abo abaali abalwadde bafuna essanyu lingi olw’okukimanya nti ekiseera kijja kutuuka baddemu okuba abalamu obulungi.—Luk. 5:​12, 13.

Kiki ekyayamba abaana baffe okumanyiira obulamu mu Culion? Nze ne Adel twayita bannyinnaffe abato babiri okuva mu Coron okubeera naffe, abaana baffe basobole okuba n’emikwano emirungi. Samuel, Shirley, ne bannyinaffe abo abato, baanyumirwa nnyo omulimu gw’okubuulira. Baalina abaana bangi abato be baali bayigiriza, era nze ne Adel ffe twali tuyigiriza bazadde b’abaana abo. Mu butuufu, waliwo ekiseera lwe kyatuuka nga tuyigiriza abantu Bayibuli okuva mu maka 11. Mu kiseera kitono twali tuyiga n’abayizi ba Bayibuli bangi nnyo abaali bakulaakulana, ne kiba nti twasobola kutandikawo ekibiina mu kitundu ekyo!

Mu kusooka nze mukadde nzekka eyali mu kitundu ekyo. N’olwekyo, ofiisi y’ettabi yansaba okukubirizanga enkuŋŋaana eza wakati mu wiiki mu Culion awaali ababuulizi munaana, era n’okukola kye kimu mu kyalo ekyali kiyitibwa Marily awaali ababuulizi mwenda. Okutuukayo twalinanga kugendera mu lyato era ng’olugendo lutwala essaawa ssatu. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, ffenna ng’amaka twalinanga okutambula okumala essaawa eziwera nga tuyita mu nsozi okugenda okuyigiriza abayizi ba Bayibuli abaali babeera mu kyalo ekiyitibwa Halsey.

Oluvannyuma abantu bangi nnyo mu Marily ne mu Halsey baakulaakulana ne babatizibwa, era twazimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu byalo ebyo byombi. Ab’oluganda n’abayizi ba Bayibuli ku kizinga Linapacan be baaleeta ebintu ebisinga obungi ebyakozesebwa mu kuzimba, era be baakola omulimu ogusinga obunene ogw’okuzimba. Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’omu Marily kyali kituuza abantu 200 era kyali kisobola okugaziyizibwa ne kituuza enkuŋŋaana ennene.

NFUNA ENNAKU EY’AMAANYI N’EKIWUUBAALO, ATE NZIRAMU OKUFUNA ESSANYU

Mu 1993 ng’abaana bamaze okukula, nze ne Adel twatandika okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina mu Philippines. Oluvannyuma mu 2000, nnagenda mu Ssomero Eritendeka Ab’Oluganda Abali Obwannamunigina nsobole okutendekebwa okuyigiriza mu ssomero eryo. Nnawulira nti sisobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo, naye Adel yanzizangamu amaanyi. Yanzijukiza nti Yakuwa yali ajja kumpa amaanyi nsobole okutuukiriza obuweereza obwo obupya. (Baf. 4:13) Ekyo Adel yali akyogera nga takirinaamu kubuusabuusa kwonna, kubanga wadde nga yali atawaanyizibwa obulwadde, yali akyeyongera okutuukiriza obuweereza bwe.

Mu 2006 bwe nnali nga nsomesa mu ssomero eryo, Adel yazuulwamu obulwadde obukosa obusimu bw’omubiri. Ekyo kyatukuba wala nnyo. Bwe nnamugamba nti nnali ŋŋenda kulekayo obuweereza bwange nsobole okumulabirira, yanziramu nti: “Funayo omusawo anaasobola okunzijanjaba. Nkimanyi nti Yakuwa ajja kutuyamba tusobole okugenda mu maaso n’obuweereza bwaffe.” Emyaka omukaaga egyaddako, Adel yeeyongera okuweereza Yakuwa awatali kwemulugunya. Bwe yali nga takyasobola kutambula, yabuuliranga ng’ali mu kagaali. Bwe yali ng’azibuwalirwa okwogera, yabangako ky’addamu mu lukuŋŋaana mu kigambo kimu oba bibiri. Okutuukira ddala lwe yafa mu 2013, Adel yafunanga obubaka abalala bwe baamuweerezanga nga bamusiima olw’ekyokulabirako ekirungi kye yassaawo mu kuba omugumiikiriza. Nnali mmaze emyaka egisukka mu 30 ne mukyala wange oyo eyali omwesigwa era eyalina okwagala okungi. Bwe yafa, nnaddamu okuwulira ennaku ey’amaanyi n’ekiwuubaalo.

Adel yali ayagala nnyo ŋŋende mu maaso n’obuweereza bwange, era ekyo kyennyini kye nnakola. Nnabanga n’eby’okukola bingi, era ekyo kyannyamba obutawulira nnyo kiwuubaalo. Okuva mu 2014 okutuuka mu 2017, nnasindikibwa okukyalira ebibiina ebyali byogera Olutagalogu mu nsi ez’enjawulo omulimu gwaffe gye gwali gukugirwa. Oluvannyuma nnakyaliranga ebibiina ebyogera olulimi olwo mu Taiwan, mu Amerika, ne mu Canada. Mu 2019, nnasomesa mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka mu Buyindi ne mu Thailand eryali mu Lungereza. Obuweereza obwo bwonna bundeetedde essanyu lingi. Bwe nneenyigira mu bujjuvu mu buweereza bwa Yakuwa, mba mpulira nga nze muntu asingayo okuba omusanyufu.

BULIJJO TUBA N’OBUYAMBI BWE TWETAAGA

Mu bitundu byonna bye nzize mpeererezaamu, nkoze omukwano ogw’oku lusegere ne bakkiriza bannange. Kimbeereddenga kizibu nnyo okubaleka ne ŋŋenda okuweereza awalala. Mu biseera ng’ebyo, njize okwesigira ddala Yakuwa. Ndabye engeri gy’azze annyambamu, era ekyo kinnyambye okukkiriza n’omutima gwange gwonna enkyukyuka yonna ebaawo. Mu kiseera kino mpeereza nga payoniya ow’enjawulo mu Philippines. Mmanyidde ekibiina kye ndimu, era ab’oluganda mu kibiina ekyo bannyambye nnyo era bandabirira bulungi. Ate era kinsanyusa nnyo okukiraba nti Samuel ne Shirley baakoppa okukkiriza kwa maama waabwe.—3 Yok. 4.

Ab’oluganda mu kibiina bandabirira bulungi nnyo

Nfunye ebigezo bingi mu bulamu, omuli okulaba mukyala wange ng’alwala obulwadde obw’amaanyi era oluvannyuma n’afa. Ate era emirundi mingi kibadde kinneetaagisa okumanyiira ebitundu ebipya bye nzize nsindikibwamu. Naye nkirabye nti Yakuwa “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Bik. 17:27) Omukono gwe “si mumpi”; ayamba abaweereza be era abazzaamu amaanyi, ka babe nga babeera mu bitundu ebyesudde ennyo.(Is. 59:1) Yakuwa, Olwazi lwange, abaddenga nange mu bulamu bwange bwonna era mmusiima nnyo. Sibeerangako nzekka.

a Laba Watchtower eya Ssebutemba 1, 1972, lup. 521-527.