Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

Tuyinza Tutya Okukoppa Engeri Yakuwa gy’Asonyiwamu?

Tuyinza Tutya Okukoppa Engeri Yakuwa gy’Asonyiwamu?

“Nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”BAK. 3:13.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino kigenda kutuyamba okumanya bye tusaanidde okukola okusobola okusonyiwa abo ababa bakoze ebintu ebitulumya.

1-2. (a) Okusingira ddala ddi lwe kiyinza okutubeerera ekizibu okusonyiwa omuntu? (b) Denise yakiraga atya nti mwetegefu okusonyiwa?

 OZIBUWALIRWA okusonyiwa? Bangi ku ffe tuzibuwalirwa okusonyiwa abalala naddala omuntu bw’aba ng’ayogedde oba ng’akoze ekintu ekitulumizza ennyo. Kyokka waliwo bye tusobola okukola ebiyinza okutuyamba okulekera awo okuwulira obubi ne tusonyiwa ababa batulumizza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwannyinaffe Denise a eyasonyiwa omuntu eyamukola ekintu ekibi ennyo. Mu 2017, Denise n’ab’omu maka ge bwe baali bava okukyala ku Kitebe Ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa, omugoba w’emmotoka omu yalemererwa n’atomera emmotoka mwe baali. Mu kabenje ako, Denise yazirika. Bwe yadda engulu, yakitegeera nti abaana be baali bafunye ebisago eby’amaanyi era nti omwami we, Brian, yali afudde. Ng’ayogera ku kiseera ekyo, Denise agamba nti: “Nnawulira nga nnennyamidde era nga nsobeddwa nnyo.” Oluvannyuma bwe yakitegeera nti omugoba w’emmotoka oyo okubatomera tekyava ku kuba nti yalina obuzibu oba nti yali awuguliddwa, yasaba Yakuwa amuwe emirembe ku mutima.

2 Omusajja eyabatomera yavunaanibwa omusango gw’okutta omuntu mu butali bugenderevu. Bwe gwandimusse mu vvi, yandibadde asibibwa. Kyokka waliwo eyagamba Denise nti omusajja oyo okusibibwa oba obutasibibwa kyandisinzidde ku bujulizi bwe yandimuwaddeko. Denise agamba nti: “Mu kaseera ako nnawulira nga gwe baali bayiye omunnyo omungi mu kiwundu, olw’okuba nnalina okuddamu okwogera ku bintu ebyali bibaddewo ebikyasinzeeyo okundeetera obulumi mu bulamu bwange.” Nga wayise wiiki ntono, Denise yagenda mu kkooti okuwa obujulizi ku musajja eyali amuleetedde obulumi obw’amaanyi. Biki bye yayogera? Yasaba omulamuzi asaasire omusajja oyo. b Bwe yamala okwogera, omulamuzi yatulika n’akaaba. Yagamba nti: “Emyaka 25 gye mmaze nga nkola omulimu guno, siwulirangako kintu bwe kiti. Siwulirangako abo ababa batuusiddwako obuzibu nga basaba omulamuzi asaasire oyo aba abatuusizzaako obuzibu. Mu mulimu guno siwulira bantu nga boogera ebigambo ebyoleka okwagala wadde okusonyiwa.”

3. Kiki ekyayamba Denise okusonyiwa?

3 Kiki ekyayamba Denise okusonyiwa? Yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu. (Mi. 7:18) Bwe tuba nga tusiima engeri Yakuwa gy’atusonyiwamu, kituleetera okuba abeetegefu okusonyiwa bannaffe.

4. Kiki Yakuwa ky’ayagala tukole? (Abeefeso 4:32)

4 Yakuwa ayagala tusonyiwe abalala nga naye bw’atusonyiwa. (Soma Abeefeso 4:32.) Atusuubira okusonyiwa abo abakola ebintu ebitulumya. (Zab. 86:5; Luk. 17:4) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu ebinaatuyamba okweyongera okuba abeetegefu okusonyiwa abalala.

TOZIBIIKIRIZA NNEEWULIRA YO

5. Okusinziira ku Engero 12:​18, tuyinza kuwulira tutya ng’omuntu ayogedde oba akoze ekintu ekitulumya?

5 Tuyinza okuwulira obulumi obw’amaanyi olw’ekyo omuntu ky’aba ayogedde oba ky’aba akoze, nnaddala bw’aba nga mukwano gwaffe ow’oku lusegere oba omu ku b’eŋŋanda zaffe. (Zab. 55:​12-14) Oluusi obulumi obwo buyinza okuba obw’amaanyi ennyo nga tuwulira ng’abafumitiddwa akaso. (Soma Engero 12:18.) Tuyinza okugezaako okubuzibiikiriza, naye okukola ekyo kiba ng’okufumitibwa akaso ne tukaleka mu kiwundu. Mu ngeri y’emu, okugezaako okuzibiikiriza obulumi tekisobola kubumalawo.

6. Tuyinza kweyisa tutya ng’omuntu akoze ekintu ekitulumya?

6 Omuntu bw’akola ekintu ekitulumya, okusookera ddala tuyinza okuwulira obusungu. Bayibuli eraga nti kisoboka okuwulira obusungu. Kyokka etulabula obutasigala nga tusunguwadde. (Zab. 4:4; Bef. 4:26) Lwaki? Kubanga obusungu buyinza okutuviirako okubaako kye tukolawo, era emirundi mingi kye tukolawo tekiba kirungi. (Yak. 1:20) Kijjukire nti omuntu bw’akola ekintu ekitulumya kiyinza obuteebeereka kusunguwala, naye ffe tusalawo obanga tunaasigala tusunguwadde oba nedda.

Omuntu bw’akola ekintu ekitulumya kiyinza obuteebeereka kusunguwala, naye ffe tusalawo obanga tunaasigala tusunguwadde oba nedda

7. Ngeri ki endala gye tuyinza okuwuliramu ng’omuntu atukoze ekintu ekitulumya?

7 Bwe tuyisibwa obubi, waliwo engeri endala gye tulumizibwamu. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Ann agamba nti: “Bwe nnali nkyali muto, taata wange yalekawo maama wange n’awasa omukazi gwe baali baleese okundabirira. Nnawulira nga njabuliddwa. Taata n’omukyala oyo bwe baazaala abaana, nnawulira nga sikyalina kifo waka. Nnakula mpulira nti saagalibwa.” Mwannyinaffe ayitibwa Georgette ayogera ku ngeri gye yawuliramu bwe yakizuula nti omwami we yali ayenda. Agamba nti: “Twali tubadde ba mukwano okuviira ddala mu buto, era twali tuweererezza wamu nga bapayoniya! Ekyo bwe kyabaawo nnawulira obulumi obutagambika.” Ate mwannyinaffe ayitibwa Naomi agamba nti: “Nnali sikirowoozangako nti omwami wange asobola okukola ekintu ekinnumya. N’olwekyo bwe yaŋŋamba nti yalinga alaba ebifaananyi eby’obuseegu mu bubba, nnawulira nga ndiiriddwamu olukwe.”

8. (a) Ezimu ku nsonga lwaki tusaanidde okusonyiwa abalala ze ziruwa? (b) Miganyulo ki egiva mu kusonyiwa abalala? (Laba akasanduuko “ Watya Singa Omuntu Yatukola Ekintu Ekibi Ennyo?”)

8 Tetulina buyinza ku ebyo abalala bye bakola oba bye boogera, naye tulina obuyinza ku ekyo kye tusalawo okukolawo. Emirundi mingi ekisinga obulungi kye tusaanidde okukola kwe kusonyiwa. Lwaki? Kubanga twagala Yakuwa, ate ayagala tusonyiwe abalala. Singa tusigala tusunguwadde ne tutasonyiwa balala, tuyinza okukola ekintu eky’obusiru oboolyawo ekikosa n’obulamu bwaffe. (Nge. 14:​17, 29, 30) Lowooza ku mwannyinaffe Christine. Agamba nti: “Bwe mba nnina obusungu, tekimbeerera kyangu kussaako kamwenyumwenyu. Nneesanga nga ndya eby’okulya ebikosa obulamu bwange, seebaka kimala, era kimbeerera kizibu okufuga enneewulira yange. Ekyo kikosa obufumbo bwange n’enkolagana yange n’abalala.”

9. Lwaki tusaanidde okweggyamu obusungu?

9 Omuntu eyatukola ekintu ekyatulumya ne bw’aba nga teyeetonda, tusobola okukendeeza ku bulumi bwe tuba nabwo. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Georgette, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Kyatwala ekiseera, naye oluvannyuma nnalekera awo okusunguwalira oyo eyali omwami wange. N’ekyavaamu, nnawulira emirembe mingi.” Bwe tweggyamu obusungu, kituyamba obutayisa balala mu ngeri embi. Ate era naffe tuba twekolera ekintu ekirungi, kwe kugamba, tulekera awo okulowooza ku ebyo ebyaliwo, ne tugenda mu maaso n’obulamu era ne tuddamu okuba abasanyufu. (Nge. 11:17) Naye kiki ky’osaanidde okukola singa owulira nti tonnaba kuba mwetegefu kusonyiwa?

ENGERI GY’OYINZA OKULEKERA AWO OKUWULIRA OBUSUNGU

10. Lwaki tusaanidde okuleka ekiseera okuyitawo okusobola okuggwaako obusungu? (Laba n’ebifaananyi.)

10 Kiki ekiyinza okukuyamba okulekera awo okuwulira obusungu? Ekintu ekimu ekiyinza okukuyamba kwe kuleka ekiseera okuyitawo. Omuntu afunye ebisago eby’amaanyi bw’amala okufuna obujjanjabi, aba yeetaaga ekiseera okuyitawo ekiwundu okuwona. Mu ngeri y’emu, kiyinza okwetaagisa ekiseera okuyitawo ne tulyoka tuba abeetegefu okusonyiwa abalala okuviira ddala ku mutima.—Mub. 3:3; 1 Peet. 1:22.

Ng’ekiwundu bwe kyetaaga okujjanjabibwa era n’ekiseera okuyitawo okusobola okuwona, bwe kityo bwe kiri ne ku bulumi bwe tufuna mu nneewulira yaffe (Laba akatundu 10)


11. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okuba abeetegefu okusonyiwa?

11 Saba Yakuwa akuyambe okuba omwetegefu okusonyiwa. c Ann, ayogeddwako waggulu, ayogera ku ngeri okusaba gye kwamuyambamu. Agamba nti: “Nnasaba Yakuwa okutusonyiwa ffenna olw’ebintu bye twayogera oba bye twakola ebitaali birungi. Oluvannyuma nnawandiikira taata ne mukyala we ebbaluwa ne mbagamba nti nnali mbasonyiye.” Ann agamba nti ekyo tekyali kyangu. Kyokka era agattako nti: “Nsuubira nti olw’okuba nfubye okukoppa Yakuwa ne mba mwetegefu okusonyiwa, ekyo kiyinza okukwata ku taata ne mukyala we nabo ne baagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa.”

12. Lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa mu kifo ky’okwesiga enneewulira yaffe? (Engero 3:​5, 6)

12 Weesige Yakuwa so si nneewulira yo. (Soma Engero 3:​5, 6.) Bulijjo Yakuwa amanyi ekyo ekisingayo obulungi gye tuli. (Is. 55:​8, 9) Tayinza kutugamba kukola kintu ekiyinza okutukosa. N’olwekyo bw’atugamba okusonyiwa, bwe tukikola tuba tujja kuganyulwa. (Zab. 40:4; Is. 48:​17, 18) Ku luuyi olulala, bwe twesiga enneewulira yaffe, kiyinza okutulemesa okusonyiwa abalala. (Nge. 14:12; Yer. 17:9) Naomi, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Mu kusooka nnali mpulira nti nnali mutuufu obutasonyiwa mwami wange olw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Nnali ntya nti yandizzeemu okukola ekintu ekinnumya, oba nti yandyerabidde engeri gye yannumyamu. Era muli nnagambanga nti Yakuwa yali ategeera enneewulira yange. Naye oluvannyuma nnakiraba nti okuba nti Yakuwa yali ategeera enneewulira yange kyali tekitegeeza nti yali akkiriziganya nayo. Yakuwa amanyi engeri gye nneewuliramu era akimanyi nti kitwala ekiseera okuwona, naye era ayagala nsonyiwe.” d

FUBA OKUFUNA ENNEEWULIRA ENNUNGI

13. Okusinziira ku Abaruumi 12:​18-21, kiki kye tusaanidde okukola?

13 Bwe tusonyiwa omuntu aba yatukola ekintu ekyatulumya, tetusaanidde kukoma ku kwewala kwogera ku ekyo ekyaliwo. Omuntu oyo bw’aba mukkiriza munnaffe, tusaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okuzzaawo emirembe. (Mat. 5:​23, 24) Mu kifo ky’okusigala nga tusunguwadde, tusaanidde okumusonyiwa. (Soma Abaruumi 12:​18-21; 1 Peet. 3:9) Kiki ekiyinza okutuyamba okukola ekyo?

14. Kiki kye tusaanidde okufuba okukola, era lwaki?

14 Abo ababa batukoze ekintu ekitulumizza, tusaanidde okubatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira. Yakuwa asalawo okulaba ebirungi mu bantu. (2 Byom. 16:9; Zab. 130:3) Emirundi mingi kye tunoonya mu muntu kye tulaba, ka kibe kirungi oba kibi. Bwe tunoonya ebirungi mu balala, kitwanguyira okubasonyiwa. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda Jarrod agamba nti: “Kinnyanguyira okusonyiwa mukkiriza munnange bwe ngeraageranya ekyo ky’aba ankoze ku bintu ebingi bye mmwagalako.”

15. Lwaki kiba kirungi okugamba omuntu nti omusonyiye?

15 Ekintu ekirala ekikulu ky’osaanidde okukola kwe kugamba omuntu nti omusonyiye. Lwaki? Lowooza ku ekyo mwannyinaffe Naomi ayogeddwako waggulu ky’agamba: “Omwami wange yambuuza nti, ‘Onsonyiye?’ Bwe nnayagala okumugamba nti, ‘Nkusonyiye,’ nnalemererwa okwogera ekigambo ekyo. Nnakiraba nti nnali sinnamusonyiwa kuva ku mutima. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnasobola okumugamba nti, ‘Nkusonyiye.’ Bwe nnamugamba ekigambo ekyo, yafuna obuweerero obw’amaanyi era n’ajja n’ebiyengeyenge. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo, era nange kennyini nnafuna obuweerero obw’amaanyi. Okuva olwo nnaddamu okumwesiga, era kati tuli ba mukwano nnyo.”

16. Kiki ky’oyize ku bikwata ku kusonyiwa?

16 Yakuwa ayagala tusonyiwe abalala. (Bak. 3:13) Kyokka kiyinza obutatwanguyira kubasonyiwa. Naye tusobola okubasonyiwa singa tetuzibiikiriza nneewulira yaffe era singa tufuba okubaako kye tukolawo okulekera awo okuwulira obusungu. Mu ngeri eyo tusobola okufuna enneewulira ennungi.—Laba akasanduuko “ Ebintu Bisatu Bye Tulina Okukola Okusonyiwa.”

LOWOOZA KU MIGANYULO EGIVA MU KUSONYIWA

17. Bwe tusonyiwa abalala tuganyulwa tutya?

17 Tulina ensonga nnyingi ze tusinziirako okusonyiwa abalala. Lowooza ku zimu ku zo. Esooka, tuba tukoppa Yakuwa Kitaffe omusaasizi, era ekyo kimusanyusa. (Luk. 6:36) Ey’okubiri, tuba tulaga nti tusiima Yakuwa olw’okutusonyiwa. (Mat. 6:12) Ate ey’okusatu, tuba balamu bulungi era tuba n’enkolagana ennungi n’abalala.

18-19. Bwe tusonyiwa abalala kiki ekiyinza okuvaamu?

18 Bwe tusonyiwa abalala tuyinza okufuna emikisa gye tuba tutasuubira. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo ku Denise eyayogeddwako waggulu. Wadde nga mu kiseera ekyo yali takimanyi, omusajja eyabatomera yali ateeseteese okwetta oluvannyuma lw’okuwozesebwa. Kyokka yakwatibwako nnyo oluvannyuma lwa Denise okumusonyiwa era n’atandika n’okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.

19 Tuyinza okuwulira nga tukaluubirirwa okusonyiwa omuntu, naye bwe tukikola kiyinza okuvaamu ebirungi. (Mat. 5:7) N’olwekyo, ka tufube okukoppa engeri Yakuwa gy’asonyiwamu.

OLUYIMBA 125 “Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Mu mbeera ng’eyo buli Mukristaayo alina okwesalirawo ky’asaanidde okukola.

c Laba ku jw.org/lg vidiyo zʼennyimba zino: “Tusonyiwagane,” “Sonyiwanga,” ne “Tuzzeewo Omukwano.”

d Wadde ng’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kibi kya maanyi era kireeta obulumi bungi, oyo alina munne mu bufumbo alaba ebifaananyi ebyo tayinza kukisinziirako kugattululwa naye.