OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Janwali 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Febwali 26 okutuuka nga Apuli 1, 2018.

BEEWAAYO KYEYAGALIRE

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Madagascar

Manya ebikwata ku bamu ku babuulizi abava mu nsi endala ne bannansi abagenze okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako mu Madagascar.

“Oyo Akooye Amuwa Amaanyi”

Enkomerero ng’egenda esembera ebizibu bijja kweyongera. Ekyawandiikibwa kyaffe eky’Omwaka 2018 kitukubiriza okwesiga Yakuwa okutuwa amaanyi.

Obumu Obubaawo ku Mukolo gw’Ekijjukizo Buleeta Essanyu

Omukolo gw’Ekijjukizo guleetawo gutya obumu mu bantu ba Katonda? Omukolo gw’Ekijjukizo gulikwatibwa ddi omulundi ogusembayo?

Lwaki Tuwa Oyo Alina Buli Kimu?

Engeri emu gye tulagamu nti twagala Katonda kwe kubaako kye tumuwa. Tuganyulwa tutya bwe tuwa Yakuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo?

Kwagala kwa Ngeri Ki Okuleeta Essanyu Erya Nnamaddala?

Okwagala okwa nnamaddala kwawukana kutya ku kwagala okwogerwako mu 2 Timoseewo 3:2-4? Eby’okuddamu mu kibuuzo ekyo bisobola okutuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala.

Laba Enjawulo Eriwo mu Bantu

Abantu abaliwo mu nnaku zino ez’enkomerero baawukana batya ku bantu ba Katonda?

Obadde Okimanyi?

Emisingi egiri mu Mateeka ga Musa Abayisirayiri baagyesigamangako nga bakola ku misango gy’abantu mu bulamu obwa bulijjo?