Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obumu Obubaawo ku Mukolo gw’Ekijjukizo Buleeta Essanyu

Obumu Obubaawo ku Mukolo gw’Ekijjukizo Buleeta Essanyu

‘Nga kirungi era nga kisanyusa okubeera awamu nga tuli bumu!’​—ZAB. 133:1.

ENNYIMBA: 18, 14

1, 2. Mukolo ki ogujja okusingayo okugatta awamu abantu mu 2018, era lwaki? (Laba ekifaananyi waggulu.)

NGA Maaki 31, 2018, enjuba bw’eneeba enaatera okugwa, abantu ba Katonda awamu n’abalala bangi mu nsi yonna bajja kukuŋŋaana wamu okukwata omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Buli mwaka omukolo ogwo gwe gusingayo okugatta awamu abantu mu nsi yonna!

2 Yakuwa ne Yesu bateekwa okuba nga basanyuka nnyo okulaba ng’abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi bakuŋŋaana okukwata omukolo ogwo. Bayibuli yagamba nti “ekibiina ekinene omuntu yenna [ky’atandisobodde] kubala, nga bava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” bandyogeredde waggulu nga bagamba nti: “Obulokozi bwaffe buva eri Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’eri Omwana gw’Endiga.” (Kub. 7:9, 10) Nga kisanyusa nnyo okulaba nti Yakuwa ne Yesu bassibwamu ekitiibwa mu ngeri eyo ku mukolo gw’Ekijjukizo!

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: (1) Ffe kinnoomu tuyinza tutya okweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo tusobole okuguganyulwamu? (2) Omukolo gw’Ekijjukizo guleetera gutya abantu ba Katonda okuba obumu? (3) Buli omu ku ffe kiki ky’ayinza okukola okwongera okuleetawo obumu? (4) Ekiseera kirituuka omukolo gw’Ekijjukizo ne gukwatibwa omulundi ogusembayo? Bwe kiba kityo, ekyo kiribaawo ddi?

TUYINZA TUTYA OKWETEEKATEEKA N’OKUGANYULWA MU MUKOLO OGWO?

4. Lwaki kikulu okukola kyonna ekisoboka okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

4 Lowooza ku nsonga lwaki kikulu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Kijjukire nti okubaawo mu nkuŋŋaana kye kimu ku bintu bye tukola okusinza Yakuwa. N’olwekyo Yakuwa ne Yesu balaba buli omu afuba okubaawo ku lukuŋŋaana olwo olusingayo obukulu mu mwaka. Twagala Yakuwa ne Yesu bakirabe nti tukola kyonna ekisoboka okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo okuggyako nga tufunye ebizibu ebiteebeereka. Bwe tukiraga nti enkuŋŋaana tuzitwala nga nkulu nnyo, Yakuwa ajja kukuumira amannya gaffe mu ‘kitabo eky’okujjukiza’ oba ‘ekitabo eky’obulamu,’ ekirimu amannya gaabo abagenda okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Mal. 3:16; Kub. 20:15.

5. Ng’olunaku lw’Ekijjukizo lunaatera okutuuka, tuyinza tutya ‘okwekebera okulaba obanga tuli mu kukkiriza’?

5 Olunaku lw’Ekijjukizo bwe lunaaba lunaatera okutuuka, tusaanidde okufunayo akadde okufumiitiriza ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. (Soma 2 Abakkolinso 13:5.) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tusaanidde ‘okwekebera tulabe obanga tukyali mu kukkiriza.’ Ekyo okusobola okukikola tuyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ddala nkikkiriza nti ndi mu kibiina Yakuwa ky’asiima era ky’akozesa okutuukiriza ebigendererwa bye? Nkola kyonna ekisoboka okubuulira n’okuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka? Bye nkola biraga nti nkikkiriza nti tuli mu nnaku ez’enkomerero era nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa? Nkyesiga Yakuwa ne Yesu nga bwe nnali mbeesiga ku lunaku lwe nneewaayo eri Yakuwa Katonda?’ (Mat. 24:14; 2 Tim. 3:1; Beb. 3:14) Okufumiitiriza ku by’okuddamu mu bibuuzo ebyo kijja kutuyamba okumanya ekyo ddala kye tuli.

6. (a) Engeri yokka gye tusobola okufunamu obulamu obutaggwaawo y’eruwa? (b) Ow’oluganda omu yeetegekera atya Ekijjukizo buli mwaka, era tuyinza tutya okumukoppa?

6 Soma era ofumiitirize ku byawandiikibwa ebiraga ensonga lwaki omukolo gw’Ekijjukizo mukulu nnyo. (Soma Yokaana 3:16; 17:3.) Engeri yokka gye tusobola okufunamu obulamu obutaggwaawo kwe ‘kumanya’ Yakuwa ‘n’okukkiririza’ mu Yesu. Era okusobola okweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo, oyinza okusoma ku bintu ebisobola okukuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa ne Yesu. Lowooza ku w’oluganda omu amaze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde. Emyaka bwe gizze giyitawo akuŋŋaanyizza ebitundu ebitali bimu okuva mu Omunaala gw’Omukuumi ebyogera ku mukolo gw’Ekijjukizo ne ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga. Ng’ebula wiiki ntono omukolo gw’Ekijjukizo gutuuke, asoma ebitundu ebyo era n’afumiitiriza ku bukulu bw’okubaawo ku mukolo ogwo. Era buli luvannyuma lwa kiseera afunayo ekitundu ekirala kimu oba bibiri n’abyongereza ku by’alina. Ow’oluganda oyo akirabye nti bw’addamu okusoma ebitundu ebyo era n’afumiitiriza ne ku byawandiikibwa ebituweebwa okusoma mu kiseera ky’Ekijjukizo, ayiga ebintu ebipya buli mwaka. N’ekisinga obukulu, akirabye nti okwagala kw’alina eri Yakuwa ne Yesu kweyongera buli mwaka. Naawe bw’okola bw’otyo, kisobola okukuyamba okwongera okwagala Yakuwa ne Yesu era kisobola okukuyamba okuganyulwa mu mukolo gw’Ekijjukizo.

EKIJJUKIZO KITULEETERA OKUBA OBUMU

7. (a) Kiki Yesu kye yasaba ku lunaku omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe lwe gwatandikibwawo? (b) Kiki ekiraga nti Yakuwa azzeemu essaala ya Yesu?

7 Ku lunaku omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe lwe gwatandikibwawo, Yesu yasaba Katonda ayambe abagoberezi be bonna babe bumu nga ye ne Kitaawe bwe bali obumu. (Soma Yokaana 17:20, 21.) Yakuwa azzeemu essaala y’Omwana we eyo era kati abantu bangi bakkiriza nti Yakuwa yatuma Yesu. Omukolo gw’Ekijjukizo bukakafu bwa maanyi obulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu. Abantu ab’amawanga ag’enjawulo era aba langi ez’enjawulo okwetooloola ensi yonna bakuŋŋaana wamu okukwata omukolo ogwo. Mu bitundu ebimu eby’ensi abantu beewuunya nnyo bwe balaba abantu ab’amawanga ag’enjawulo nga bakuŋŋaanidde wamu okusinza, era abamu banyooma abantu ng’abo. Naye obumu ng’obwo busanyusa nnyo Yakuwa ne Yesu!

8. Bunnabbi ki Yakuwa bwe yawa okuyitira mu Ezeekyeri?

8 Abantu ba Yakuwa tekitwewuunyisa kuba nti tuli bumu. Ekyo Yakuwa yakiraga nti kyandibaddewo. Lowooza ku bunnabbi bwe yayogera okuyitira mu Ezeekyeri obukwata ku kugatta awamu emiggo ebiri, omuggo gwa “Yuda” n’omuggo gwa “Yusufu.” (Soma Ezeekyeri 37:15-17.) Ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 2016 kyagamba nti: “Yakuwa yawa Ezeekyeri obubaka obwali bulaga nti eggwanga lya Isirayiri lyandizzeemu okuba obumu oluvannyuma lw’okukomezebwawo ku butaka mu Nsi Ensuubize. Obunnabbi obwo era bwali bulaga obumu obwandibaddewo mu bantu ba Katonda mu nnaku ez’enkomerero.”

9. Buli mwaka ku mukolo gw’Ekijjukizo tulaba tutya obumu nnabbi Ezeekyeri bwe yayogerako?

9 Okuva mu 1919, Yakuwa yaddamu okutegeka n’okugatta awamu abaafukibwako amafuta abakiikirirwa omuggo gwa “Yuda.” Era ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, abakiikirirwa omuggo gwa “Yusufu,” beegatta ku baafukibwako amafuta, era ebibinja byombi ne bifuuka “ekisibo kimu.” (Yok. 10:16; Zek. 8:23) Yakuwa yasuubiza nti yandigasse wamu emiggo egyo ebiri ne gifuuka omuggo gumu mu mukono gwe. (Ezk. 37:19) Kati abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala baweerereza wamu era balina Kabaka omu, Yesu Kristo, ayogerwako mu bunnabbi nga ‘omuweereza wa Katonda, Dawudi.’ (Ezk. 37:24, 25) Obumu obwo bweyoleka bulungi buli mwaka, abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bwe bakuŋŋaana awamu okukwata omukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo! Naye kiki buli omu ku ffe ky’asobola okukola okukuuma n’okwongera okuleetawo obumu?

ENGERI GYE TUYINZA OKUKUUMA OBUMU

10. Tuyinza tutya okwongera okuleetawo obumu mu kibiina?

10 Engeri emu gye tuyinza okwongera okuleetawo obumu mu kibiina kya Katonda kwe kuba abeetoowaze. Yesu bwe yali ku nsi yakubiriza abayigirizwa be okubeera abeetoowaze. (Mat. 23:12) Bwe tuba abeetoowaze, tetujja kutwalirizibwa mwoyo gwa nsi oguleetera abantu okwegulumiza. Bwe tuba abeetoowaze kituyamba okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina, era ekyo kiyamba ekibiina okuba obumu. N’ekisinga obukulu, bwe tuba abeetoowaze kisanyusa Katonda kubanga “alwanyisa ab’amalala naye abawombeefu abalaga ekisa eky’ensusso.”​—1 Peet. 5:5.

11. Okufumiitiriza ku makulu g’omugaati n’envinnyo ebikozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo kituyamba kitya okuba obumu?

11 Ekintu eky’okubiri ekisobola okutuyamba okwongera okuba obumu kwe kufumiitiriza ku makulu g’omugaati n’envinnyo ebikozesebwa ku Kijjukizo. Ng’olunaku olwo terunnatuuka ne ku lunaku olwo lwennyini fumiitiriza ku makulu g’omugaati ogutali muzimbulukuse n’envinnyo emmyufu. (1 Kol. 11:23-25) Omugaati ogwo gukiikirira omubiri ogutaalina kibi Yesu gwe yawaayo, ate envinnyo ekiikirira omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Naye tetulina kukoma bukomi ku kutegeera makulu ga mugaati na nvinnyo. Kijjukire nti ekinunulo ekyaweebwayo kyalaga okwagala okungi ennyo Yakuwa kw’alina gye tuli bwe yawaayo Omwana we ku lwaffe, era kyalaga okwagala Yesu Kristo kw’alina gye tuli bwe yawaayo obulamu bwe kyeyagalire okutufiirira. Bwe tufumiitiriza ku kwagala kwe baatulaga kituleetera naffe okubaagala. Ate okwagala buli omu ku ffe kw’alina eri Yakuwa kutuleetera okuba obumu.

Bwe tusonyiwa abalala tuba tuleetawo obumu (Laba akatundu 12, 13)

12. Mu lugero olukwata ku kabaka n’abaddu be, Yesu yakiraga atya nti Yakuwa atusuubira okusonyiwa abalala?

12 Ekintu eky’okusatu ekisobola okutuyamba okuba obumu kwe kusonyiwa abalala. Bwe tusonyiwa abo ababa batunyiizizza, tuba tukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okutusonyiwa ebibi byaffe ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu. Lowooza ku lugero Yesu lwe yagera oluli mu Matayo 18:23-34. Weebuuze nti: ‘Nkolera ku ekyo Yesu kye yayigiriza mu lugero olwo? Ngumiikiriza bakkiriza bannange era nfuba okubategeera? Ndi mwetegefu okusonyiwa ababa bansobezza?’ Kyo kituufu nti ebibi tebyenkana era ebimu si byangu kusonyiwa. Naye olugero lwa Yesu olwo lutulaga ekyo Yakuwa ky’atusuubira okukola. (Soma Matayo 18:35.) Yesu yakiraga kaati nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa singa naffe tetusonyiwa bakkiriza bannaffe nga waliwo ensonga kwe twandisinzidde okubasonyiwa. Ekyo tetusaanidde kukyerabira. Bwe tusonyiwa abalala nga Yesu bwe yatuyigiriza, kituyamba okuba obumu.

13. Bwe tufuba okuleetawo emirembe kituyamba kitya okuba obumu?

13 Bwe tusonyiwa abalala, tuba tukiraga nti twagala okuleetawo emirembe. Omutume Pawulo yatugamba ‘okufuba ennyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egitugatta.’ (Bef. 4:3) Mu kiseera ky’Ekijjukizo, naddala ku lunaku lw’Ekijjukizo, fumiitiriza ku ngeri gy’oyisaamu abalala. Weebuuze: ‘Nneewala okusibira abalala ekiruyi? Mmanyiddwa ng’omuntu afuba okuleetawo emirembe ne bwe kiba nga kinkosa?’ Kikulu okufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo mu kiseera ky’Ekijjukizo.

14. Tuyinza tutya okukiraga nti ‘tuzibiikiriza baganda baffe mu kwagala’?

14 Ekintu eky’okuna kye tuyinza okukola okuleetawo obumu kwe kwoleka okwagala nga Yakuwa bw’akola. (1 Yok. 4:8) Bwe kituuka ku kwagala baganda baffe tetulina kugamba nti: “Nnina okwagala baganda bange naye sirina kubalaga mukwano.” Endowooza eyo ekontana n’okubuulirira Pawulo kwe yawa, bwe yagamba nti: ‘Buli omu azibiikirize munne mu kwagala.’ (Bef. 4:2) Weetegereze nti Pawulo teyagamba bugambi nti ‘buli omu azibiikirize munne.’ Wabula yagamba nti buli omu azibiikirize munne “mu kwagala.” Ebintu ebyo birimu enjawulo. Mu kibiina mulimu abantu ab’enjawulo Yakuwa be yasembeza gy’ali. (Yok. 6:44) Okuva bwe kiri nti Yakuwa yabaleeta gy’ali, ateekwa okuba ng’abaagala. Bwe kiba nti bakkiriza bannaffe Yakuwa abaagala, ffe tuba tusinziira ku ki obutabaagala? Tulina okubaagala nga Yakuwa bw’ayagala tubaagale!​—1 Yok. 4:20, 21.

OMUKOLO GW’EKIJJUKIZO OGUNAASEMBAYO GUNAABAAWO DDI?

15. Tumanya tutya nti ekiseera kijja kutuuka omukolo gw’Ekijjukizo gukwatibwe omulundi ogusembayo?

15 Olunaku lujja kutuuka omukolo gw’Ekijjukizo gukwatibwe omulundi ogusembayo. Ekyo tukimanya tutya? Mu bbaluwa esooka gye yawandiikira Abakkolinso, Pawulo yagamba abaafukibwako amafuta nti bwe bajjukira okufa kwa Yesu buli mwaka baba ‘balangirira okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw’alijja.’ (1 Kol. 11:26) ‘Okujja’ kwa Mukama waffe Pawulo kwe yayogerako kwe kumu n’okwo Yesu kwe yayogerako mu bunnabbi obukwata ku kiseera eky’enkomerero. Ng’ayogera ku kibonyoobonyo ekinene ekinaatera okutuuka, Yesu yagamba nti: “Akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu; ebika byonna eby’oku nsi birikuba ebiwoobe era baliraba Omwana w’omuntu ng’ajjira ku bire eby’eggulu, n’amaanyi n’ekitiibwa kingi. Ekkondeere lirivuga mu ddoboozi eddene, era [Yesu] alituma bamalayika be ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva ku njuyi ennya; okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku lulala.” (Mat. 24:29-31) Okukuŋŋaanyizibwa kw’abalonde okwogerwako wano kujja kubaawo Yesu bw’anaakuŋŋaanya abaafukibwako amafuta bonna abanaaba bakyali ku nsi n’abatwala mu ggulu. Ekyo kijja kubaawo ng’ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene kiwedde naye ng’olutalo lwa Amagedoni terunnatandika. Oluvannyuma abaafukibwako amafuta bonna 144,000 bajja kukolera wamu ne Yesu okuwangula bakabaka b’ensi. (Kub. 17:12-14) Omukolo gw’Ekijjukizo gwe tujja okusembayo okukwata nga Yesu tannajja kukuŋŋaanya baafukibwako amafuta abaliba basigaddewo, gwe gujja okuba omukolo gw’Ekijjukizo ogusembayo.

16. Lwaki omaliridde okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo omwaka guno?

16 Ka tufube okulaba nti tetukkiriza kintu kyonna kutulemesa kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ogujja okukwatibwa nga Maaki 31, 2018. Ate era ka tusabe Yakuwa atuyambe okweyongera okuleetawo obumu mu kibiina! (Soma Zabbuli 133:1.) Kijjukire nti ekiseera kijja kutuuka omukolo gw’Ekijjukizo gukwatibwe omulundi ogusembayo. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okukiraga nti obumu obweyoleka ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka tubutwala nga bwa muwendo nnyo.