Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Oyo Akooye Amuwa Amaanyi”

“Oyo Akooye Amuwa Amaanyi”

Ekyawandiikibwa ky’Omwaka 2018: “Abo abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa bajja kuddamu okufuna amaanyi.”​—IS. 40:31.

ENNYIMBA: 3, 47

1. Ebimu ku bizibu bye twolekagana nabyo bye biruwa, naye kiki ekisanyusa Yakuwa? (Laba ekifaananyi waggulu.)

OBULAMU mu nteekateeka y’ebintu eno bujjudde ebizibu. Bangi ku baganda baffe ne bannyinaffe batawaanyizibwa obulwadde obw’amaanyi. Abalala wadde nga nabo bakuze mu myaka, balina okulabirira ab’eŋŋanda zaabwe abakaddiye. Ate abalala bategana nnyo okufunira ab’omu maka gaabwe ebyetaago by’omubiri. Abamu ebizibu ebyo byonna bibajjira mu kiseera kye kimu! Kiba kibeetaagisa ebiseera bingi ne ssente nnyingi okusobola okukola ku bizibu ebyo era bayita mu kweraliikirira kungi. Wadde kiri kityo bakakafu nti Yakuwa ajja kubayamba era balina essuubi nti ajja kumalawo ebizibu ebyo mu biseera eby’omu maaso. Okukkiriza ng’okwo kusanyusa nnyo Yakuwa.

2. Ebigambo ebiri mu Isaaya 40:29 bituzzaamu bitya amaanyi, naye nsobi ki ey’amaanyi gye tuyinza okukola?

2 Oluusi owulira nti ebizibu bikuyitiriddeko? Bwe kiba kityo, toli wekka. Bayibuli eraga nti n’abaweereza ba Yakuwa ab’edda nabo oluusi baawulira bwe batyo. (1 Bassek. 19:4; Yob. 7:7) Naye tebaggwaamu maanyi, wabula beesiga Yakuwa. Yakuwa Katonda yabayamba kubanga ‘awa amaanyi abo abakooye.’ (Is. 40:29) Kyokka eky’ennaku kiri nti abamu ku bantu ba Katonda leero balowooza nti engeri emu ey’okwaŋŋangamu ebizibu kwe kulekera awo okwenyigira mu bintu eby’omwoyo okumala akaseera, nga gy’obeera nti okuweereza Yakuwa mugugu. Balekera awo okusoma Bayibuli, okubeerawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira, era ekyo kyennyini Sitaani ky’ayagala bakole.

3. (a) Tuyinza tutya okuziyiza Sitaani okutumalamu amaanyi? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Sitaani akimanyi nti bwe twenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo kitunyweza, ate ng’ekyo takyagala. Bw’owulira ng’oweddemu amaanyi, tova ku Yakuwa. Weeyongere okusemberera Yakuwa kubanga ‘ajja kukunyweza era ajja kukufuula wa maanyi.’ (1 Peet. 5:10; Yak. 4:8) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bibiri ebiyinza okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo era tugenda kulaba engeri okukolera ku misingi gya Bayibuli gye kisobola okutuyamba. Naye kati ka tusooke tulabe obukakafu obulaga nti Yakuwa asobola okutuwa amaanyi, nga bwe kiragibwa mu Isaaya 40:26-31.

ABO ABATEEKA ESSUUBI LYABWE MU YAKUWA BAJJA KUDDAMU OKUFUNA AMAANYI

4. Kiki kye tuyigira ku bigambo ebiri mu Isaaya 40:26?

4 Soma Isaaya 40:26. Tewali muntu n’omu yali asobodde kubala mmunyeenye eziri mu bwengula. Bannassaayansi bateebereza nti ekibinja ky’emmunyeenye ensi yaffe mw’eri kirimu emmunyeenye ng’obuwumbi 400. Naye emmunyeenye zonna Yakuwa yazituuma amannya. Ekyo kituyigiriza ki? Bwe kiba nti Yakuwa afaayo ku bitonde bye ebitategeera, olowooza ggwe amuweereza olw’okuba omwagala akutwala atya? (Zab. 19:1, 3, 14) Kitaffe ow’omu ggulu akumanyi bulungi nnyo. ‘N’omuwendo gw’enviiri eziri ku mutwe gwo agumanyi.’ (Mat. 10:30) Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Yakuwa amanyi ebituuka ku abo abataliiko kya kunenyezebwa.” (Zab. 37:18) Yakuwa amanyi ebizibu by’oyitamu era asobola okukuwa amaanyi okubigumira.

5. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga?

5 Soma Isaaya 40:28. Yakuwa ye nsibuko y’amaanyi. Lowooza ku maanyi ge yateeka mu njuba. Munnassaayansi ayitibwa David Bodanis yagamba nti: “Amaanyi agava ku njuba buli katikitiki genkanankana n’amaanyi ga bbomu buwumbi na buwumbi.” Munnassaayansi omulala yagamba nti: “Amaanyi enjuba g’efulumya mu katikitiki kamu gasobola okubeesaawo abantu okumala emyaka 200,000”! Ddala twandibuusabuusizza nti Oyo eyawa enjuba amaanyi asobola okutuwa amaanyi okugumira ebizibu byonna bye twolekagana nabyo?

6. Lwaki tuyinza okugamba nti ekikoligo kya Yesu kyangu okusitula era ekyo kyanditukutteko kitya?

6 Soma Isaaya 40:29. Okuweereza Yakuwa kituleetera essanyu lingi. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mwetikke ekikoligo kyange, . . . mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu okusitula n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11:28-30) Ebigambo ebyo bituufu ddala! Oluusi we tuviira awaka okugenda mu nkuŋŋaana oba okubuulira tuba tuwulira nga tuli bakoowu. Naye we tukomerawo tuba tuwulira tutya? Tuba tuwulira nga tuzziddwamu amaanyi era nga tuli beetegefu okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo. Mazima ddala ekikoligo kya Yesu kyangu okusitula!

7. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti ebigambo ebiri mu Matayo 11:28-30 bituufu.

7 Mwannyinaffe gwe tujja okuyita Kayla alina obulwadde obumunafuya ennyo n’obw’okwennyamira era alumwa omutwe ogw’olutentezi. Tekyewuunyisa nti oluusi kimuzibuwalira okugenda mu nkuŋŋaana. Naye lumu bwe yafuba n’abaawo mu lukuŋŋaana era n’awuliriza emboozi ya bonna, yagamba nti: “Emboozi yabadde ekwata ku kuggwaamu amaanyi. Ow’oluganda yagiwadde mu ngeri eyannyambye okukiraba nti Yakuwa anfaako nnyo era nnatuuse n’okukulukusa amaziga. Nnakirabye nti ddala enkuŋŋaana zinzizaamu nnyo amaanyi.” Okubeerawo mu nkuŋŋaana kyamuganyula nnyo!

8, 9. Kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Bwe mbeera omunafu lwe mbeera ow’amaanyi”?

8 Soma Isaaya 40:30. Ka tube na busobozi ki, waliwo ebintu bingi bye tutasobola kukola mu maanyi gaffe. Ekyo tusaanidde okukimanya. Wadde ng’omutume Pawulo yalina obusobozi obutali bumu, waliwo ebizibu ebitali bimu ebyamulemesa okukola ebyo bye yali ayagala okukola. Bwe yabuulirako Katonda ku nsonga eyo, Katonda yamugamba nti: “Amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Pawulo yategeera ekyo Yakuwa kye yali ategeeza, era yagamba nti: “Bwe mbeera omunafu lwe mbeera ow’amaanyi.” (2 Kol. 12:7-10) Kiki Pawulo kye yali ategeeza?

9 Pawulo yali akimanyi nti bintu bitono nnyo bye yandisobodde okukola awatali buyambi bwa Yakuwa. Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwe gwandimuyambye okufuna amaanyi ge yali yeetaaga. Era omwoyo ogwo gwandimusobozesezza okukola ebintu ebitali bimu by’atandisobodde kukola mu maanyi ge. Bwe kityo bwe kiri n’eri ffe. Yakuwa bw’atuwa omwoyo gwe omutukuvu, tuba ba maanyi.

10. Yakuwa yayamba atya Dawudi okwaŋŋanga ebizibu ebitali bimu?

10 Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yalaba engeri omwoyo gwa Katonda omutukuvu gye gwamuwangamu amaanyi. Yagamba nti: “Bw’onnyamba nsobola okulwanyisa ekibinja ky’abazigu; olw’amaanyi ga Katonda nsobola okulinnya bbugwe.” (Zab. 18:29) Waliwo ebizibu ebiringa bbugwe bye tutasobola kulinnya mu maanyi gaffe okuggyako nga Yakuwa y’atuyambye.

11. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya okwaŋŋanga ebizibu?

11 Soma Isaaya 40:31. Empungu tetumbiira era tebuuka ŋŋendo mpanvu mu maanyi gaayo gokka. Empewo ebuguma esobozesa empungu okutumbiira, bw’etyo n’eba nga tekigyetaagisa kukozesa maanyi mangi. N’olwekyo, buli lw’oyolekagana n’ekizibu eky’amaanyi, jjukiranga empungu. Saba Yakuwa akuyambe ‘okutumbiira’ ng’akozesa “omuyambi, omwoyo omutukuvu.” (Yok. 14:26) Eky’essanyu kiri nti tusobola okufuna omwoyo omutukuvu ekiseera kyonna we tugwetaagira. Ate era twetaaga nnyo obuyambi bwa Katonda nga tufunye obutakkaanya ne mukkiriza munnaffe. Naye lwaki oluusi tufuna obutakkaanya?

12, 13. (a) Lwaki oluusi Abakristaayo bafuna obutakkaanya? (b) Ebyo ebikwata ku Yusufu bituyigiriza ki ku Yakuwa?

12 Oluusi n’oluusi tufuna obutakkaanya olw’okuba ffenna tetutuukiridde. Bwe kityo ebiseera ebimu bakkiriza bannaffe bayinza okwogera oba okukola ebintu ebitulumya, era naffe tuyinza okwogera oba okukola ebintu ebibalumya. Ekyo kisobola okugezesa ennyo okukkiriza kwaffe. Okufaananako ebigezo ebirala bye twolekagana nabyo, bwe twolekagana n’ekigezo ekyo, Yakuwa atusuubira okukyoleka nti tuli beesigwa gy’ali nga tuyiga okukolagana obulungi n’abaweereza be b’ayagala ennyo wadde nga tebatuukiridde.

Yakuwa teyayabulira Yusufu, era naawe tajja kukwabulira (Laba akatundu 13)

13 Yakuwa taziyiza bigezo kutuuka ku baweereza be, era ekyo tukirabira ku ebyo ebyatuuka ku Yusufu. Yusufu bwe yali akyali muvubuka, baganda be baamukwatirwa obuggya ne bamutunda mu buddu e Misiri. (Lub. 37:28) Yakuwa yalaba ebyo ebyaliwo era ateekwa okuba nga yanakuwala nnyo okulaba ekyo ekyali kituuse ku mukwano gwe Yusufu. Wadde kyali kityo teyalemesa kizibu ekyo kutuuka ku Yusufu. Ate era oluvannyuma Yusufu bwe baamusibaako omusango ogw’okugezaako okukwata muka Potifaali, Yakuwa teyaziyiza kizibu ekyo kumutuukako. Naye ekyo kitegeeza nti Yakuwa yali ayabulidde Yusufu? Nedda. Bayibuli egamba nti: ‘Buli kimu Yusufu kye yali akola Yakuwa yali akiwa omukisa.’​—Lub. 39:21-23.

14. Miganyulo ki egiva mu kwewala obusungu?

14 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Abantu abasinga obungi tebayisibwangako bubi nga Dawudi bwe yayisibwa. Wadde kiri kityo, Dawudi teyakkiriza mbeera eyo kumuleetera kusunguwalira Yakuwa oba kumuvaako. Mu kifo ky’ekyo, yagamba nti: “Tosunguwalanga era toswakiranga; tonyiiganga n’okola ebintu ebibi.” (Zab. 37:8) Ensonga esinga obukulu etuleetera okwewala obusungu eri nti twagala okukoppa Yakuwa, ‘atatubonereza nga bwe tugwanidde kubonerezebwa olw’ebibi byaffe.’ (Zab. 103:10) Naye waliwo n’emiganyulo emirala egiva mu kwewala obusungu. Obusungu busobola okutuleetera ebizibu gamba ng’okufuna obulwadde bwa puleesa n’okuzibuwalirwa okussa. Busobola okwonoona ekibumba n’akalulwe, era busobola okuleetera ebyenda okukaluubirirwa okusa emmere. Bwe tubaako obusungu kiba kizibu okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ate oluusi omuntu bw’asunguwala ennyo kiyinza okumuviirako okwennyamira okumala ekiseera. Ku luuyi olulala, “Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu.” (Nge. 14:30) Kati olwo kiki kye tuyinza okukola singa abalala boogera oba bakola ebintu ebitulumya, era tuyinza tutya okutabagana nabo? Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kisobola okutuyamba.

BAGANDA BAFFE BWE BAKOLA EBINTU EBITULUMYA

15, 16. Kiki kye tusaanidde okukola nga waliwo atunyiizizza?

15 Soma Abeefeso 4:26. Abantu abatasinza Yakuwa bwe batuyisa obubi ekyo tekitwewuunyisa. Naye mukkiriza munnaffe oba omu ku b’eŋŋanda zaffe bw’ayogera oba bw’akola ekintu ekitulumya, ekyo kituyisa bubi nnyo. Watya singa ekyo tetusobola kukibuusa maaso. Tunaasigala tusunguwadde ebbanga lyonna? Oba tunaakolera ku magezi agali mu Bayibuli ne tugonjoola mangu ensonga? Gye tukoma okulwawo okugonjoola ekizibu ekyo, gye kikoma okutubeerera ekizibu okutabagana ne mukkiriza munnaffe.

16 Watya singa ow’oluganda akola ekintu ekikunyiiza era nga tosobola kukibuusa maaso. Biki by’oyinza okukola okuzzaawo emirembe ne muganda wo? Okusookera ddala, tuukirira Yakuwa mu kusaba. Musabe akuyambe okwogera obulungi ne muganda wo. Kijjukire nti muganda wo oyo y’omu ku mikwano gya Yakuwa. (Zab. 25:14) Katonda amwagala. Yakuwa alaga mikwano gye ekisa era naffe atusuubira okubalaga ekisa. (Nge. 15:23; Mat. 7:12; Bak. 4:6) Eky’okubiri, fumiitiriza ku ebyo by’ogenda okwogera. Tokitwala nti muganda wo yakigenderedde okukulumya; oboolyawo oyinza n’okuba nga wamutegedde bubi. Ate era ba mwetegefu okukikkiriza nti mu ngeri emu oba endala naawe ovunaanyizibwa ku ekyo ekyabaddewo. Oyinza okutandika okwogera ne muganda wo ng’ogamba nti, “Oboolyawo nnyinza okuba nga nze nnakitegedde obubi, naye jjo bwe wayogedde nange, nnawulidde nga . . .” Bw’omala okwogerako ne muganda wo naye ne mutavaamu kalungi, funayo olunaku olulala ogezeeko okuzzaawo emirembe. Nga bw’olinda okufuna akaseera ako, sabira muganda wo oyo; saba Yakuwa amuwe emikisa. Ate era saba Yakuwa akuyambe okussa ebirowoozo ku ngeri ennungi muganda awo oyo z’alina. Ka kibe ki ekivaamu, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukusiima olw’okufuba okuzzaawo emirembe ne muganda wo.

OMUTIMA BWE GUBA GUTULUMIRIZA OLW’EBIBI BYE TWAKOLA EMABEGA

17. Kiki Yakuwa ky’akozesa okutuyamba okuzzaawo enkolagana ennungi naye nga tukoze ekibi eky’amaanyi, era lwaki tulina okukkiriza obuyambi bw’atuwa?

17 Abantu abamu bawulira nga tebagwanira kuweereza Yakuwa olw’ebibi eby’amaanyi bye baakola emabega. Omuntu bw’aba alumirizibwa omutima, abanga eyeetisse omugugu omuzito ennyo. Kabaka Dawudi, naye eyalumirizibwako omutima, yagamba nti: “Bwe nnasirika, amagumba gange gaggwerera olw’okuba nnali nsinda okuzibya obudde. Kubanga emisana n’ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga.” Ekirungi kiri nti Dawudi yakola ku kizibu ekyo. Yagamba nti: “Kyaddaaki nnakwatulira ekibi kyange . . . era wansonyiwa ensobi zange n’ebibi byange.” (Zab. 32:3-5) Bw’oba nga wakola ekibi eky’amaanyi, Yakuwa mwetegefu okukuyamba okuzzaawo enkolagana ennungi naye. Kyokka oba olina okukkiriza obuyambi bw’akuwa okuyitira mu kibiina. (Nge. 24:16; Yak. 5:13-15) Ekyo oba olina okukikola mu bwangu kubanga bw’otokikola oyinza okufiirwa obulamu obutaggwaawo! Naye watya singa n’oluvannyuma lwa Yakuwa okukusonyiwa ekibi ekyo, omuntu wo ow’omunda asigala akulumiriza olw’ensobi ze wakola emabega?

18. Ekyokulabirako kya Pawulo kiyinza kitya okuyamba abo abawulira nti tebagwana kuweereza Yakuwa?

18 N’omutume Pawulo oluusi yawuliranga ng’alumirizibwa olw’ebibi bye yali yakola emabega. Yagamba nti: “Nze nsembayo mu batume era sisaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganya ekibiina kya Katonda.” Kyokka era Pawulo yagamba nti: “Naye olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso, ndi ekyo kye ndi.” (1 Kol. 15:9, 10) Yakuwa yali yasonyiwa Pawulo era ng’ayagala Pawulo ekyo akikkirize. Bwe kiba nti naawe weenenya mu bwesimbu ebibi bye wakola emabega, ba mukakafu nti Yakuwa yakusonyiwa, era ekyo osaanidde okukikkiriza!​—Is. 55:6, 7.

19. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2018 kye kiruwa, era lwaki kituukirawo?

19 Nga tweyongera okusemberera enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, tusuubira nti ebizibu bijja kweyongera. Naye ba mukakafu nti Oyo awa amaanyi abo abakooye asobola okukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okubigumira. (Is. 40:29; Zab. 55:22; 68:19) Mu 2018, tujja kujjukizibwanga ensonga eno enkulu ennyo buli lwe tunaagendanga mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka ne tulaba ebigambo ebiri mu ky’awandiikibwa ky’omwaka guno ebigamba nti: “Abo abateeka essuubi lyabwe mu Yakuwa bajja kuddamu okufuna amaanyi.”​Is. 40:31.