Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Laba Enjawulo Eriwo mu Bantu

Laba Enjawulo Eriwo mu Bantu

“[Muliraba] enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi.”​—MAL. 3:18.

ENNYIMBA: 127, 101

1, 2. Kusoomooza ki abantu ba Katonda kwe boolekagana nakwo leero? (Laba ekifaananyi waggulu.)

ABASAWO bangi bakola ku bantu abalina endwadde ezikwata. Bafuba okujjanjaba abalwadde abo olw’okuba baba baagala okubayamba. Kyokka bwe baba babajjanjaba, balina okwegendereza baleme kukwatibwa ndwadde z’abantu abo. Mu ngeri y’emu, bangi ku ffe abantu be tubeeramu ne be tukola nabo endowooza zaabwe n’engeri gye beeyisaamu bikontana n’emisingi gya Bayibuli. Ekyo kireetawo okusoomooza okw’amaanyi.

2 Mu nnaku zino ez’enkomerero emitindo gy’empisa giserebye nnyo. Mu bbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Timoseewo, Pawulo yayogera ku bikolwa ebibi abantu abeeyawudde ku Katonda bye bandibadde bakola, era ebikolwa ebyo bijja kweyongera nnyo mu maaso gye tulaga. (Soma 2 Timoseewo 3:1-5, 13.) Wadde ng’okweyongera kw’ebikolwa ebyo kuyinza okutwewuunyisa, bwe tuteegendereza tuyinza okutwalirizibwa enneeyisa n’endowooza z’abantu ababikola. (Nge. 13:20) Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri enneeyisa y’abantu mu nnaku zino ez’enkomerero gy’eyawukana ennyo ku nneeyisa y’abantu ba Katonda. Era tugenda kulaba engeri gye tusobola okwekuumamu tuleme kutwalirizibwa nneeyisa mbi ey’abantu abo ate nga mu kiseera kye kimu bwe tufuba okubayamba mu by’omwoyo.

3. Ebintu ebibi ebyogerwako mu 2 Timoseewo 3:2-5 bikolebwa baani?

3 Omutume Pawulo yagamba nti “mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo.” Yamenya ebintu ebibi 19 abantu bye bandibadde bakola mu nnaku ez’enkomerero. Ebintu bye yamenya bifaananako n’ebyo ebiri mu Abaruumi 1:29-31. Naye ebimu ku ebyo bye yamenya mu bbaluwa ya Timoseewo tebisangibwa walala wonna mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Pawulo bwe yali amenya ebintu ebyo yatandika agamba nti “kubanga abantu baliba . . .” Ekyo kiri kityo kubanga abasajja n’abakazi bakola ebintu ebyo ebibi. Naye tekiri nti abantu bonna bakola ebintu ebyo ebibi. Abakristaayo bo beeyisa mu ngeri ya njawulo nnyo.​—Soma Malaki 3:18.

ENGERI GYE TWETWALAMU

4. Kiki ky’oyinza okwogera ku muntu eyeegulumiza oba ow’amalala?

4 Oluvannyuma lw’okugamba nti abantu bangi bandibadde beeyagala bokka era nga baagala nnyo ssente, Pawulo era yagamba nti abantu bandibadde beepanka, nga ba malala, era nga beegulumiza. Abantu abooleka engeri ezo baba beetwala okuba aba waggulu olw’obusobozi bwe balina, olw’endabika yaabwe, olwa ssente ze balina, oba olw’ebitiibwa bye balina. Abantu ng’abo baba baagala abalala babe nga babeegomba era nga babagulumiza. Omuyivu omu yayogera bw’ati ku muntu alina engeri ezo: “Mu mutima gwe mubaamu ekyoto w’avunnama ne yeesinza.” Abantu abamu bagamba nti amalala kintu kibi nnyo ne kiba nti n’abantu abagalina bwe balaba omuntu alina amalala bamukyawa.

5. Abamu ku baweereza ba Katonda abeesigwa baayoleka batya amalala?

5 Yakuwa akyayira ddala abantu ab’amalala. Bayibuli egamba nti akyawa “amaaso ag’amalala.” (Nge. 6:16, 17) Amalala galemesa omuntu okusemberera Katonda. (Zab. 10:4) Amalala y’emu ku ngeri za Sitaani. (1 Tim. 3:6) Naye eky’ennaku kiri nti n’abamu ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa bafuna amalala. Ng’ekyokulabirako, Uzziya kabaka wa Yuda yali mwesigwa eri Yakuwa okumala emyaka mingi. Bayibuli egamba nti: “Olwafuna amaanyi, n’afuna amalala mu mutima ne yeereetera emitawaana. Yakola ekintu ekitaali kya bwesigwa mu maaso ga Yakuwa Katonda we bwe yagenda mu yeekaalu ya Yakuwa okwotereza obubaani ku kyoto eky’okwotererezaako obubaani.” Ne Kabaka Keezeekiya naye alina lwe yayoleka amalala.​—2 Byom. 26:16; 32:25, 26.

6. Bintu ki ebyali biyinza okuleetera Dawudi okufuna amalala, naye lwaki teyagafuna?

6 Abantu abamu bafuna amalala olw’endabika yaabwe ennungi, olw’ettutumu lye balina, olw’okuba n’ekitone ky’okuyimba, olw’okuba n’amaanyi, oba olw’okuba n’ekifo ekya waggulu. Ebintu ebyo byonna Dawudi yabirina, naye yasigala nga mwetoowaze obulamu bwe bwonna. Bwe yamala okutta Goliyaasi era Kabaka Sawulo n’amuwa muwala we amuwase, Dawudi yagamba nti: “Nze ani, era ab’ennyumba ya kitange be baani mu Isirayiri, nze okuwasa muwala wa kabaka?” (1 Sam. 18:18) Kiki ekyayamba Dawudi okusigala nga mwetoowaze? Dawudi yali akimanyi nti ebintu ebyo byonna yabirina olw’okuba Katonda ‘yakutama,’ kwe kugamba, yeetoowaza n’amulowoozaako. (Zab. 113:5-8) Dawudi yakimanya nti buli kirungi kye yalina Yakuwa ye yali akimuwadde.​—Geraageranya 1 Abakkolinso 4:7.

7. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abeetoowaze?

7 Okufaananako Dawudi, abaweereza ba Yakuwa leero booleka obwetoowaze. Tukwatibwako nnyo bwe tukimanya nti Yakuwa, Omuyinza w’ebintu byonna, mwetoowaze. (Zab. 18:35) Era tufuba okukolera ku kubuulirira kuno okugamba nti: “Mwambale obusaasizi, ekisa, obuwombeefu, obukkakkamu n’obugumiikiriza.” (Bak. 3:12) Ate era tukimanyi nti okwagala ‘tekwewaana era tekwegulumiza.’ (1 Kol. 13:4) Bwe twoleka obwetoowaze kisobola okuleetera abantu okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ng’enneeyisa ennungi ey’abakyala bw’eyinza okuleetera abaami baabwe okuyiga amazima, n’obwetoowaze bwaffe busobola okuleetera abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa.​—1 Peet. 3:1.

ENGERI GYE TUKOLAGANAMU N’ABALALA

8. (a) Abantu abamu leero batwala batya eky’abaana okujeemera bazadde baabwe? (b) Ebyawandiikibwa bikubiriza ki abaana?

8 Pawulo era yalaga engeri abantu mu nnaku ez’enkomerero gye bandibadde bakolaganamu n’abalala. Yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero abaana bandibadde tebagondera bazadde baabwe. Wadde ng’ebitabo ebimu, firimu, ne programu za ttivi biraga nti si kibi abaana okujeemera bazadde baabwe, enneeyisa eyo etabangula amaka. Okuva edda n’edda ekyo kibadde kimanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, edda mu Buyonaani, omwana bwe yakubanga muzadde we abantu baamuboolanga; ate okusinziira ku mateeka ga Rooma, omwana okukuba kitaawe kyatwalibwanga nga kibi nnyo ng’okutemula omuntu. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’eby’Oluyonaani bikubiriza abaana okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe.​—Kuv. 20:12; Bef. 6:1-3.

9. Kiki ekiyinza okuyamba abaana okugondera bazadde baabwe?

9 Abaana basobola okwewala okutwalirizibwa omwoyo ogw’obujeemu oguli mu nsi singa bafumiitiriza ku ebyo bazadde baabwe bye babakolera. Ate era abaana basaanidde okukimanya nti Yakuwa Katonda Kitaffe abeetaagisa okugondera bazadde baabwe. Abaana bwe boogera obulungi ku bazadde baabwe kisobola okuleetera ne bannaabwe okwagala bazadde baabwe. Kya lwatu nti singa abazadde baba tebaagala baana baabwe kiyinza okuzibuwalira abaana okubagondera okuviira ddala ku mutima. Ku luuyi olulala singa omwana akiraba nti bazadde be bamwagala, kisobola okumukubiriza okubagondera ne bwe kitamubeerera kyangu. Omuvubuka ayitibwa Austin agamba nti: “Wadde ng’oluusi nnawulira nga njagala kukola nze bye njagala, bazadde bange bampa obulagirizi obulungi, bannyinnyonnyola ensonga lwaki banteerawo amateeka, era baafubanga okwogera nange. Ekyo kyandeetera okubagondera. Nnakiraba nti baali banfaako era ekyo kyandeetera okwagala okubasanyusa.”

10, 11. (a) Bintu ki ebibi abantu bye bakola ebiraga nti tebalina kwagala? (b) Okwagala, Abakristaayo bakwoleka ku kigero ki?

10 Pawulo yayogera ku bintu ebirala ebiraga nti abantu tebaagala bantu bannaabwe. Oluvannyuma lw’okugamba nti abaana bandibadde tebagondera bazadde baabwe, Pawulo yagamba nti abantu bandibadde tebeebaza, kwe kugamba, nga tebasiima bintu birungi abalala bye babakolera. Ate era abantu tebandibadde beesigwa. Bandibadde tebakkiriza kukkaanya, kwe kugamba, nga tebaagala kutabagana na balala. Bandibadde bavvoola era nga ba nkwe, kwe kugamba, nga bavuma abalala nga mw’otwalidde ne Katonda. Ate era bandibadde bawaayiriza, kwe kugamba, nga boogera eby’obulimba ku balala okwonoona erinnya lyabwe. *

11 Obutafaananako abantu abangi leero abakola ebintu ebitooleka kwagala, abaweereza ba Yakuwa bo booleka okwagala okwa nnamaddala eri bantu bannaabwe. Ekyo bwe kityo bwe kibadde okuva edda n’edda. Yesu yagamba nti etteeka eriddirira eryo erisinga obukulu kwe kwagala bantu bannaffe. (Mat. 22:38, 39) Yesu era yagamba nti okwagalana ke kabonero akandyawuddewo Abakristaayo ab’amazima. (Soma Yokaana 13:34, 35.) Abakristaayo bandibadde baagala n’abalabe baabwe.​—Mat. 5:43, 44.

12. Yesu yalaga atya abalala okwagala?

12 Yesu yalaga abantu okwagala kungi. Yatambulanga mu bibuga ne mu bubuga, ng’abuulira abantu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Yawonya abazibe b’amaaso, abalema, abagenge, ne bakiggala. Yesu era yazuukiza abafu. (Luk. 7:22) Yesu yatuuka n’okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu wadde nga bangi baali tebamwagala. Okwagala Yesu kwe yayoleka kulaga okwagala Kitaawe kw’alina gye tuli. Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bakiraga nti baagala bantu bannaabwe.

13. Okwagala kwe tulaga abalala kuyinza kutya okubayamba okuyiga amazima?

13 Okwagala kwe twoleka kusobola okuleetera abalala okuyiga amazima. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu mu Thailand yakwatibwako nnyo bwe yalaba okwagala ab’oluganda kwe baayoleka ku lukuŋŋaana olunene. Bwe yaddayo awaka, yasaba okuyigirizibwanga Bayibuli emirundi ebiri buli wiiki. Bye yali ayiga yabibuulirako ab’eŋŋanda ze bonna, era nga wayise emyezi mukaaga gyokka yawa emboozi ye eyasooka mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Okusobola okumanya obanga ddala twagala bantu bannaffe tusaanidde okwebuuza: ‘Nfuba okuyamba ab’eŋŋanda zange, ab’oluganda mu kibiina, n’abantu be nsanga nga mbuulira? Nfuba okutunuulira abalala nga Yakuwa bw’abatunuulira?’

EMISEGE N’ENDIGA

14, 15. Ngeri ki eziringa ez’ensolo abantu bangi ze booleka, naye nkyukakyuka ki abamu ze bakoze?

14 Waliwo n’ebintu ebirala ebibi abantu bye bakola mu nnaku zino z’enkomerero bye tusaanidde okwewala. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi tebaagala bulungi, oba ng’enzivvuunula za Bayibuli endala bwe zigamba, “bakyawa obulungi” oba “balwanyisa obulungi.” Bangi leero tebeefuga era bakambwe. Ate era bakakanyavu, kwe kugamba, tebalowooza ku bye bakola era tebafaayo ku ngeri ebyo bye bakola gye bikwata ku balala.

15 Bangi ku bantu abaayolekanga engeri ezo embi eziringa ez’ensolo kati baakyuka ne batandika okwoleka engeri ennungi. Ekyo kyayogerwako mu bunnabbi bwa Bayibuli. (Soma Isaaya 11:6, 7.) Bayibuli eyogera ku nsolo ez’omu nsiko, gamba ng’emisege n’empologoma nga ziri wamu mu mirembe n’ensolo ez’awaka, gamba ng’obuliga n’obuyana. Bayibuli egamba nti embeera eyo ejjawo ‘olw’ensi okujjula okumanya okukwata ku Yakuwa.’ (Is. 11:9) Okuva bwe kiri nti ensolo tezisobola kuyiga bikwata ku Yakuwa, mu ngeri ey’akabonero, obunnabbi obwo butuukirizibwa ku bantu abakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.

Okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli kikyusa obulamu bw’abantu! (Laba akatundu 16)

16. Bayibuli eyambye etya abantu okukyusa enneeyisa yaabwe?

16 Waliwo abantu bangi edda abaali abakambwe ng’emisege naye nga kati baakyuka ne baba bantu ba mirembe. Osobola okusoma abamu ku bo mu kitundu ekirina omutwe “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu,” ekisangibwa ku jw.org. Abo abayize ebikwata ku Yakuwa era ne batandika okumuweereza tebalinga abo abalina ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko, kwe kugamba, abeefuula ng’abasinza Katonda naye nga bye bakola tebikiraga. Kyokka abantu bangi edda abaali abakambwe bakyuse ne bambala “omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.” (Bef. 4:23, 24) Abantu bwe bagenda bayiga ebikwata ku Katonda bakiraba nti kikulu okukolera ku misingi gye. Bwe kityo, bakola enkyukakyuka mu ebyo bye bakkiririzaamu, mu ndowooza yaabwe, ne mu nneeyisa yaabwe. Si kyangu kukola nkyukakyuka ng’ezo naye omwoyo gwa Katonda guyamba abo abaagala okukola Katonda by’ayagala okuzikola.

“BEEWALENGA”

17. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa ebikolwa ebibi abantu bye bakola leero?

17 Buli lukya enjawulo eriwo wakati w’abo abaweereza Katonda n’abo abatamuweereza yeeyongera okulabika. Ffe abaweereza ba Katonda tulina okuba abeegendereza tuleme kutwalirizibwa nneeyisa mbi ey’abantu abataweereza Katonda. Nga Bayibuli bw’etugamba, tulina okwewala abantu abakola ebintu ebyogerwako mu 2 Timoseewo 3:2-5. Kya lwatu nti tetusobola kwewalira ddala bantu abakola ebintu ebibi. Abamu tukola nabo, tusoma nabo, oba tubeera nabo. Naye tusobola okwewala okutwalirizibwa endowooza zaabwe n’okukola ebintu ebibi bye bakola. Ekyo tusobola okukikola singa tunyweza enkolagana yaffe ne Katonda nga tusoma Bayibuli era nga tukuŋŋaana wamu n’abo abamaliridde okukola Katonda by’ayagala.

18. Ebyo bye twogera ne bye tukola biyinza bitya okuyamba abalala mu by’omwoyo?

18 Tulina okufuba okuyamba abalala mu by’omwoyo. Tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira, era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okwogera ebigambo ebituufu mu kiseera ekituufu. Tulina n’okumanyisa abalala nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa, era enneeyisa yaffe ennungi ejja kuweesa Katonda ekitiibwa. Tutendekeddwa “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi, era n’okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka y’ebintu eno.” (Tit. 2:11-14) Bwe tweyisa obulungi, abalala bajja kukiraba, era abamu bayinza n’okugamba nti: “Twagala kugenda nammwe kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”​—Zek. 8:23.

^ lup. 10 Ekigambo ky’Oluyonaani di·aʹbo·los ekyavvuunulwa “okuwaayiriza” mu Bayibuli kikozesebwa ku Sitaani, oyo awaayiriza Katonda.