Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5

Engeri Ezituleetera Okubeerangawo mu Nkuŋŋaana Zaffe

Engeri Ezituleetera Okubeerangawo mu Nkuŋŋaana Zaffe

‘Mulangirire okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw’alijja.’​—1 KOL. 11:26.

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

OMULAMWA *

1-2. (a) Kiki Yakuwa ky’alaba bw’atunuulira abantu abangi ennyo ababa bazze ku mukolo gw’Ekijjukizo? (Laba ekifaananyi ku ddiba.) (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

KIKI Yakuwa ky’alaba bw’atunuulira obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi nga bakuŋŋaanye okujjukira okufa kwa Yesu? Takoma kulaba bantu bangi ababa bakuŋŋaanye, naye yeetegereza buli muntu kinnoomu abeerawo. Ng’ekyokulabirako, alaba abo abatayosa kubaawo ku mukolo ogwo buli mwaka. Mu abo muyinza okubaamu abafuba okubaawo wadde nga bayigganyizibwa nnyo. Alaba n’abo oluusi abatabaawo mu nkuŋŋaana endala naye olw’okuba olukuŋŋaana lw’okujjukira okufa kwa Yesu balutwala nga lukulu nnyo, bawulira nti bateekeddwa okulubeerako. Ate era Yakuwa alaba n’abo ababa bazze omulundi gwabwe ogusooka oboolyawo olw’okuba baba baagala okumanya omukolo ogwo bwe gukwatibwa.

2 Awatali kubuusabuusa Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba ng’abantu bangi babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. (Luk. 22:19) Naye ky’asinga okutwala ng’ekikulu si gwe muwendo gw’abantu ababaawo wabula ensonga ebaviirako okubaawo. Mu kitundu kino tugenda kulaba eky’okuddamu mu kibuuzo kino ekikulu: Lwaki tubaawo mu nkuŋŋaana zonna Yakuwa ze yateerawo abo abamwagala nga mw’otwalidde n’olukuŋŋaana lw’okujjukira okufa kwa Yesu?

Abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi baanirizibwa okubaawo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe (Laba akatundu 1-2)

OBWETOOWAZE BUTULEETERA OKUBAAWO

3-4. (a) Lwaki tubaawo mu nkuŋŋaana? (b) Okubaawo mu nkuŋŋaana kiraga nti tuli bantu ba ngeri ki? (c) Okusinziira ku 1 Abakkolinso 11:23-26, lwaki tetusaanidde kusubwa kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

3 Ensonga esingira ddala obukulu lwaki tubaawo mu nkuŋŋaana eri nti enkuŋŋaana kitundu kya kusinza kwaffe. Ate era tubaawo mu Nkuŋŋaana kubanga Yakuwa atuyigiriza okuyitira mu nkuŋŋaana ezo. Abantu ab’amalala tebaagala kuyigirizibwa kintu kyonna. (3 Yok. 9) Naye ffe twagala nnyo okuyigirizibwa Yakuwa awamu n’ekibiina ky’akozesa.​—Is. 30:20; Yok. 6:45.

4 Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana kiraga nti tuli beetoowaze era nti twagala okuyigirizibwa. Tubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo olw’okuba ekyo tuteekeddwa okukikola, ate era olw’okuba tugondera n’ekiragiro kya Yesu kino: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (Soma 1 Abakkolinso 11:23-26.) Olukuŋŋaana olwo lunyweza essuubi lyaffe erikwata ku biseera eby’omu maaso era lutuyamba okukiraba nti Yakuwa atwagala nnyo. Kyokka Yakuwa akimanyi nti tetwetaaga kuzzibwamu maanyi mulundi gumu gwokka mu mwaka wabula emirundi mingi. Bwe kityo yatuteerawo enkuŋŋaana eza buli wiiki era atukubiriza okuzibeeramu. Obwetoowaze butuleetera okugondera Yakuwa mu nsonga eyo. Tumala essaawa eziwerako nga twetegekera era nga tubaawo mu nkuŋŋaana ezo.

5. Lwaki abantu abeetoowaze bagenda eri Yakuwa okuyigirizibwa?

5 Yakuwa ayita abantu okujja gy’ali abayigirize era abantu bangi abeetoowaze bajja gy’ali okuyigirizibwa. (Is. 50:4) Bajja ku mukolo gw’Ekijjukizo era batandika n’okubangawo mu nkuŋŋaana endala. (Zek. 8:20-23) Ffe abaweereza Yakuwa awamu n’abantu abo twagala nnyo Yakuwa, ‘Omuyambi waffe era Omununuzi waffe,’ okutuyigiriza n’okutuwa obulagirizi. (Zab. 40:17) Mazima ddala kikulu nnyo era kisanyusa nnyo okuyigirizibwa Yakuwa ne Yesu, Omwana we gw’ayagala ennyo.​—Mat. 17:5; 18:20; 28:20.

6. Obwetoowaze bwayamba butya omusajja omu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

6 Buli mwaka tufuba okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okujja ku mukolo gw’Ekijjukizo. Abantu bangi abakkiriza okujja baganyuddwa nnyo. Lowooza ku kyokulabirako kino. Emyaka mitono emabega, omusajja omu yakkiriza akapapula akayita abantu ku Kijjukizo, naye n’agamba ow’oluganda eyakamuwa nti yali tajja kusobola kubaawo. Kyokka ku lunaku lw’Ekijjukizo, ow’oluganda oyo yeewuunya bwe yalaba ng’omusajja oyo azze mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Omusajja yakwatibwako nnyo olw’engeri gye baamwanirizaamu era n’atandika okubaawo mu nkuŋŋaana eza buli wiiki. Mu butuufu mu mwaka gwonna yayosaamu enkuŋŋaana ssatu zokka. Kiki ekyamuleetera okusalawo okubangawo mu nkuŋŋaana zonna? Yali muwombeefu ne kiba nti yali mwetegefu okukyusa endowooza ye. Ow’oluganda eyamuwa akapapula oluvannyuma yagamba nti: “Musajja mwetoowaze nnyo.” Awatali kubuusabuusa Yakuwa ye yasembeza omusajja oyo gy’ali era kati omusajja oyo wa luganda mubatize.​—2 Sam. 22:28; Yok. 6:44.

7. Ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana n’ebyo bye tusoma mu Bayibuli biyinza bitya okutuyamba okuba abeetoowaze?

7 Ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana n’ebyo bye tusoma mu Bayibuli bisobola okutuyamba okuba abeetoowaze. Olunaku lw’Ekijjukizo bwe luba lunaatera okutuuka, emirundi mingi mu nkuŋŋaana zaffe essira lissibwa ku kyokulabirako Yesu kye yateekawo ne ku bwetoowaze bwe yayoleka bwe yawaayo obulamu bwe okuba ekinunulo. Ate era mu nnaku ezo ng’omukolo gw’Ekijjukizo gunaatera okutuuka, tukubirizibwa okusoma ebintu ebyaliwo nga Yesu anaatera okufa n’oluvannyuma lw’okuzuukira. Ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana ezo n’ebyo bye tuba tusomye mu Bayibuli, bituyamba okwongera okusiima ssaddaaka ya Yesu. Ekyo kitukubiriza okukoppa obwetoowaze bwa Yesu n’okukola ebyo Yakuwa by’ayagala ka kibe nti oluusi tekiba kyangu.​—Luk. 22:41, 42.

OBUVUMU BUTULEETERA OKUBAAWO

8. Yesu yayoleka atya obuvumu?

8 Ate era tufuba okukoppa Yesu nga twoleka obuvumu. Lowooza ku buvumu Yesu bwe yayoleka ng’anaatera okuttibwa. Yali akimanyi nti abalabe be baali banaatera okumukwata bamuweebuule, bamukube, era bamutte. (Mat. 20:17-19) Wadde kiri kityo, yali mwetegefu okufa. Ekiseera bwe kyatuuka, yagamba abatume be abeesigwa abaali naye mu Gesusemane nti: “Musituke tugende. Laba! Andyamu olukwe atuuse.” (Mat. 26:36, 46) Ekibinja ky’abantu abaali bakutte eby’okulwanyisa bwe kyajja okumukwata, yavaayo ne yeemanyisa gye bali era n’agamba abasirikale baleke abatume be bagende. (Yok. 18:3-8) Mazima ddala Yesu yayoleka obuvumu obw’ekitalo! Leero Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bafuba okukoppa Yesu mu kwoleka obuvumu. Ekyo bakikola batya?

Bw’oyoleka obuvumu n’obaawo mu nkuŋŋaana ozzaamu abalala amaanyi (Laba akatundu 9) *

9. (a) Lwaki kiyinza okutwetaagisa okuba abavumu okusobola okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa? (b) Ekyokulabirako kyaffe kiyinza kukwata kitya ku baganda baffe abasibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe?

9 Bwe tuba nga tuyita mu mbeera enzibu kiyinza okutwetaagisa okuba abavumu okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Abamu ku baganda baffe babeerawo mu nkuŋŋaana wadde nga balina ennaku ey’amaanyi ku mutima, nga bennyamivu, oba nga batawanyizibwa obulwadde. Abalala babaawo mu nkuŋŋaana wadde nga bayigganyizibwa nnyo ab’eŋŋanda zaabwe oba abakungu ba gavumenti. Lowooza ku ngeri ekyokulabirako kyaffe gye kikwata ku baganda baffe abasibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe. (Beb. 13:3) Bwe bawulira nti tweyongera okuweereza Yakuwa wadde nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, kibayamba okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe, okuba abavumu, n’okukuuma obugolokofu bwabwe. Ekyo omutume Pawulo yali akimanyi bulungi. Bwe yali mu kkomera mu Rooma yasanyuka nnyo bwe yawulira nti baganda be baali baweereza Katonda n’obwesigwa. (Baf. 1:3-5, 12-14) Ebbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, yagiwandiika ng’anaatera okusumululwa oba nga yaakasumululwa mu kkomera. Mu bbaluwa eyo, yakubiriza Abakristaayo okweyongera “okwagalana ng’ab’oluganda” n’obutalekangayo kukuŋŋaananga wamu.​—Beb. 10:24, 25; 13:1.

10-11. (a) Baani be tusaanidde okuyita okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo? (b) Era okusinziira ku Abeefeso 1:7 lwaki tusaanidde okubayita?

10 Ate era twoleka obuvumu bwe tuyita ab’eŋŋanda zaffe, bakozi bannaffe, ne baliraanwa baffe okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Lwaki tubayita? Olw’okuba tusiima nnyo ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera ne kiba nti tetusobola kulekayo kubayita. Twagala nabo bamanye engeri gye bayinza okuganyulwa mu ‘kisa eky’ensusso’ Yakuwa kye yatulaga okuyitira mu kinunulo.​—Soma Abeefeso 1:7; Kub. 22:17.

11 Bwe twoleka obuvumu ne tubaawo mu nkuŋŋaana, twoleka n’engeri endala ey’omuwendo Yakuwa ne Yesu gye booleka.

OKWAGALA KUTUKUBIRIZA OKUBAAWO

12. (a)  Enkuŋŋaana zituyamba zitya okwongera okwagala Yakuwa ne Yesu? (b) Okusinziira ku 2 Abakkolinso 5:14, 15 kiki kye tusaanidde okukola okukoppa Yesu?

12 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa ne Yesu kutukubiriza okubaawo mu nkuŋŋaana. Ate ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana bituyamba okwongera okwagala Yakuwa n’Omwana we. Bulijjo mu nkuŋŋaana tujjukizibwa ebyo bye baatukolera. (Bar. 5:8) Okusingira ddala omukolo gw’Ekijjukizo gutujjukiza okwagala okungi Yakuwa ne Yesu kwe balina gye tuli, nga mw’otwalidde n’abo abatannaba kumanya bukulu bwa kinunulo. Olw’okuba tusiima ekinunulo kya Yesu tufuba okumukoppa mu ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15.) Ate era emitima gyaffe gitukubiriza okutendereza Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo. Engeri emu gye tumutenderezaamu kwe kubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana nga biva ku mutima.

13. Tuyinza tutya okukyoleka nti twagala nnyo Yakuwa n’Omwana we? Nnyonnyola.

13 Tusobola okulaga nti twagala nnyo Yakuwa n’Omwana we nga tuba beetegefu okwefiiriza ku lwabwe. Twefiiriza ebintu ebitali bimu okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana. Ebibiina bingi biba n’olukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki olweggulo ate nga mu kiseera ekyo bangi ku ffe tuba bakoowu. Ate olukuŋŋaana olulala lubaawo ku wiikendi, ng’abantu abasinga obungi bawumudde. Naye Yakuwa akiraba nti tufuba okubaawo mu nkuŋŋaana wadde nga tuba bakoowu? Yee! Yakuwa asiima okufuba kwonna kwe tuteekamu okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana.​—Mak. 12:41-44.

14. Yesu yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okwagala okw’okwerekereza?

14 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okwagala okw’okwerekereza. Yali mwetegefu okufiirira abayigirizwa be era buli lunaku yakulembezanga ebyetaago byabwe mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Ng’ekyokulabirako, ne bwe yali ng’akooye era nga mweraliikirivu teyalema kuba wamu na bagoberezi be. (Luk. 22:39-46) Essira yalissanga ku ekyo kye yabanga asobola okuwa abalala so si ku kye yabanga asobola okufuna mu balala. (Mat. 20:28) Naffe bwe tuba nga twagala nnyo Yakuwa ne bakkiriza bannaffe, tujja kukola kyonna ekisoboka okubaawo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe awamu n’enkuŋŋaana z’ekibiina endala.

15. Okusingira ddala baani be tusaanidde okuyamba?

15 Ffe Abakristaayo ab’amazima tulina oluganda olw’ensi yonna era tufuba okukola kyonna ekisoboka okuyita abalala okutwegattako. Naye okusingira ddala, twagala nnyo okuyamba “bakkiriza bannaffe” abaalekera awo okubuulira oba okujja mu nkuŋŋaana. (Bag. 6:10) Tukiraga nti tubaagala nga tubakubiriza okubaawo mu nkuŋŋaana, naddala olukuŋŋaana lw’Ekijjukizo. Okufaananako Yakuwa ne Yesu, tusanyuka nnyo omuntu aba aweddemu amaanyi bw’akomawo eri Yakuwa, Kitaffe atwagala ennyo era Omusumba waffe.​—Mat. 18:14.

16. (a) Tuyinza tutya okuzziŋŋanamu amaanyi, era enkuŋŋaana zaffe zituyamba zitya? (b) Lwaki ekiseera kino kirungi okujjukira ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 3:16?

16 Mu wiiki ezijja, fuba okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okujja okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ogugenda okubaawo ku Lwokutaano akawungeezi, nga Apuli 19, 2019. (Laba akasanduuko “ Onoobayita?”) Omwaka gwonna, ka tufube okuzziŋŋanamu amaanyi nga tubaawo mu nkuŋŋaana zonna Yakuwa z’atuteereddewo. Ng’enkomerero egenda esembera, enkuŋŋaana zaffe zijja kutuyamba okusigala nga tuli beetoowaze, nga tuli bavumu, era nga tulina okwagala. (1 Bas. 5:8-11) N’olwekyo ka tukole kyonna ekisoboka okukyoleka nti twagala nnyo Yakuwa n’Omwana we olw’okwagala okungi kwe batulaze!​—Soma Yokaana 3:16.

OLUYIMBA 126 Tunula, Beeranga Wa Maanyi

^ lup. 5 Omukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo ogujja okubaawo ku Lwokutaano akawungeezi, nga Apuli 19, 2019, gwe gujja okuba olukuŋŋaana olusinga obukulu mu mwaka gwonna. Kiki ekituleetera okubaawo ku lukuŋŋaana olwo? Kya lwatu nti twagala okusanyusa Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ezituleetera okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo awamu n’enkuŋŋaana endala.

^ lup. 52 EBIFAANANYI: Ow’oluganda eyasibibwa mu kkomera olw’okukkiriza kwe ng’azziddwamu amaanyi ebbaluwa ab’omu maka ge gye baamuweerezza. Kimusanyusa nnyo okukimanya nti teyeerabiddwa era nti ab’omu maka ge basigadde nga beesigwa wadde nga waliwo obutabanguko mu kitundu kyabwe.