Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4

Omukolo Omwangu Kye Gutuyigiriza ku Kabaka ow’Omu Ggulu

Omukolo Omwangu Kye Gutuyigiriza ku Kabaka ow’Omu Ggulu

“Guno gukiikirira omubiri gwange. . . . Kino kikiikirira ‘omusaayi gwange ogw’endagaano’”​—MAT. 26:26-28.

OLUYIMBA 16 Mutende Yakuwa olw’Omwana We Eyafukibwako Amafuta

OMULAMWA *

1-2. (a) Lwaki tekyewuunyisa nti omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe, Yesu gwe yatandikawo gwali mwangu? (b) Ngeri ki Yesu z’alina ze tugenda okwekenneenya?

OSOBOLA okunnyonnyola ebyo ebibaawo ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Kristo ogukwatibwa buli mwaka? Kya lwatu nti bangi ku ffe tumanyi bulungi ebyo ebikolebwa ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Lwaki? Kubanga omukolo ogwo mwangu nnyo. Kyokka omukolo ogwo mukulu nnyo. Naye tuyinza okwebuuza, ‘Lwaki omukolo ogwo mwangu nnyo bwe gutyo?’

2 Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yayigirizanga amazima amakulu ennyo mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi. (Mat. 7:28, 29) Mu ngeri y’emu, yatandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe omwangu okukwata * naye nga mukulu nnyo. Ka twekenneenye ebikwata ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe n’ebimu ku bintu Yesu bye yayogera ne bye yakola. Ekyo kijja kutuyamba okwongera okukiraba nti Yesu mwetoowaze, muvumu, era alina okwagala kungi. Ate era tujja kulaba engeri gye tuyinza okumukoppamu.

YESU MWETOOWAZE

Omugaati n’envinnyo ebikozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo bitujjukiza nti Yesu yawaayo obulamu bwe ku lwaffe era nti ye Kabaka waffe afugira mu ggulu (Laba akatundu 3-5)

3. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 26:26-28, lwaki tuyinza okugamba nti omukolo gw’Ekijjukizo Yesu gwe yatandikawo gwali mwangu? Era ebintu ebibiri bye yakozesa byali bikiikirira ki?

3 Yesu yatandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe ng’ali wamu n’abatume be abeesigwa 11. Yakozesa ebintu ebyali bifisseewo ku mbaga ey’Okuyitako n’atandikawo omukolo omwangu. (Soma Matayo 26:26-28.) Yakozesa omugaati ogutaali muzimbulukuse n’envinnyo ebyaliwo. Yesu yagamba abatume be nti ebintu ebyo ebibiri byali bikiikirira omubiri gwe n’omusaayi gwe ebituukiridde bye yali anaatera okuwaayo ku lwabwe. Abatume bayinza okuba nga tebeewuunya kulaba ng’omukolo ogwo omupya Yesu gwe yali atandiseewo gwali mwangu. Lwaki?

4. Okuwabula Yesu kwe yawa Maliza kutuyamba kutya okulaba ensonga lwaki omukolo ogw’okujjukira okufa kwe gwe yatandikawo gwali mwangu?

4 Lowooza ku ekyo ekyali kibaddewo emyezi mitono emabega, mu mwaka ogw’okusatu ogw’obuweereza bwa Yesu, bwe yakyalira mikwano gye, Laazaalo, Maliza, ne Maliyamu. Ng’ali eyo, Yesu yatandika okuyigiriza. Maliza yaliwo, naye yali yeemalidde ku kutegekera Yesu ekijjulo ekinene. Ekyo Yesu bwe yakiraba, mu ngeri ey’ekisa yawabula Maliza n’amuyamba okukiraba nti ekijjulo ekinene oluusi kiba tekyetaagisa. (Luk. 10:40-42) Kati ng’ebula essaawa ntono attibwe, Yesu yakolera ku kuwabula okwo kwe yawa Maliza. Yakakasa nti omukolo ogw’okujjukira okufa kwe gwe yali atandikawo guba mwangu. Ekyo kituyigiriza ki ku Yesu?

5. Okuba nti omukolo gw’Ekijjukizo mwangu, kitulaga ki ku Yesu, era ekyo kikwatagana kitya ne Abafiripi 2:5-8?

5 Yesu yayoleka obwetoowaze mu byonna bye yakolanga ne bye yayogeranga. N’olwekyo tekyewuunyisa nti yayoleka obwetoowaze obw’ekitalo mu kiro ekyasembayo amale attibwe. (Mat. 11:29) Yali akimanyi nti yali anaatera okuwaayo ssaddaaka esingayo obukulu mu byafaayo by’omuntu era nti Yakuwa yandimuzuukizza n’amuwa ekifo eky’ekitiibwa mu ggulu. Wadde kyali kityo, teyagezaako kwenoonyeza bitiibwa ng’akola omukolo omunene ennyo ogw’okujjukira okufa kwe. Mu kifo ky’ekyo, yatandikawo omukolo omwangu abayigirizwa be gwe bandikuttenga omulundi gumu mu mwaka okumujjukiranga. (Yok. 13:15; 1 Kol. 11:23-25) Omukolo ogwo omwangu kyokka nga mukulu nnyo gulaga nti Yesu si wa malala. Kituzzaamu nnyo amaanyi okuba nti Kabaka waffe oyo ow’omu ggulu mwetoowaze.​—Soma Abafiripi 2:5-8.

6. Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze nga Yesu nga tuli mu mbeera enzibu?

6 Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze nga Yesu? Tusaanidde okukulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe. (Baf. 2:3, 4) Lowooza ku ebyo ebyaliwo mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe. Wadde nga Yesu yali akimanyi nti yali agenda kuttibwa mu bulumi obw’amaanyi, yafaayo nnyo ku batume be abeesigwa abaali bagenda okufuna ennaku ey’amaanyi olw’okufa kwe. Mu kiro ekyo yamala essaawa nnyingi ng’abayigiriza, ng’abazzaamu amaanyi, era ng’abagumya. (Yok. 14:25-31) Yesu yayoleka obwetoowaze ng’akulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Mazima ddala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo!

YESU MUVUMU

7. Yesu yayoleka atya obuvumu obw’ekitalo nga waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lw’okutandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

7 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okutandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe, yayoleka obuvumu obw’ekitalo. Mu ngeri ki? Yesu yakkiriza okukola ekyo Kitaawe kye yali ayagala akole wadde nga yali akimanyi nti kyali kizingiramu okumutta mu ngeri ey’obuswavu oluvannyuma lw’okumusibako omusango ogw’okuvvoola. (Mat. 26:65, 66; Luk. 22:41, 42) Yesu yakuuma obugolokofu bwe okusobola okuweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa, okuwagira obufuzi bwa Katonda, n’okusobozesa abantu abeenenya okufuna obulamu obutaggwaawo. Ate era Yesu yateekateeka abagoberezi be basobole okwaŋŋanga embeerera ze baali banaatera okwolekagana nazo.

8. (a) Kiki Yesu kye yagamba abatume be abeesigwa? (b) Mu myaka egyaddirira oluvannyuma lwa Yesu okufa, abayigirizwa be baayoleka batya obuvumu nga ye?

8 Yesu era yayoleka obuvumu nga tamalira birowoozo bye ku bintu ebyali bimweraliikiriza, essira n’alissa ku byetaago by’abatume be abeesigwa. Omukolo ogwo omwangu gwe yatandikawo, oluvannyuma lw’okugobawo Yuda, gwandiyambye abagoberezi be abaafukibwako okujjukiranga emiganyulo egiri mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa ne mu kuba mu ndagaano empya. (1 Kol. 10:16, 17) Okusobola okuyamba abagoberezi be okusigala nga beesigwa basobole okuba naye mu ggulu, Yesu yababuulira ekyo ye ne Kitaawe kye baali babasuubiramu. (Yok. 15:12-15) Ate era Yesu yabuulira abatume okugezesebwa kwe baali bagenda okuyitamu. Era yabakubiriza okumukoppa bwe yabagamba nti “mugume!” (Yok. 16:1-4a, 33) Nga wayise emyaka mingi bukya Yesu addayo mu ggulu, abayigirizwa be baali bakyakoppa ekyokulabirako kye eky’okwefiiriza era nga booleka obuvumu. Bazziŋŋanangamu amaanyi nga boolekagana n’ebigezo ebitali bimu wadde ng’okukola ekyo oluusi tekyabanga kyangu.​—Beb. 10:33, 34.

9. Tuyinza tutya okwoleka obuvumu nga Yesu?

9 Leero naffe tukoppa Yesu mu kwoleka obuvumu. Ng’ekyokulabirako, kyetaagisa obuvumu okusobola okuyamba baganda baffe abayigganyizibwa olw’okukkiriza kwabwe. Oluusi baganda baffe bayinza okusibibwa nga tebalina musango. Ekyo bwe kibaawo, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okubayamba, nga mu kino muzingiramu okubawolereza. (Baf. 1:14; Beb. 13:19) Engeri endala gye twolekamu obuvumu kwe kubuulira awatali kuddirira. (Bik. 14:3) Okufaananako Yesu, naffe tuli bamalirivu okubuulira obubaka bw’Obwakabaka abantu ne bwe baba nga batuziyiza oba nga batuyigganya. Kyokka oluusi tuyinza okuwulira nti tetulina buvumu. Kiki kye tuyinza okukola?

10. Kiki kye tusaanidde okukola ng’Ekijjukizo kinaatera okutuuka, era lwaki?

10 Bwe tufumiitiriza ku ssuubi lye tulina olw’ekinunulo Yesu kye yawaayo kituyamba okwongera okuba abavumu. (Yok. 3:16; Bef. 1:7) Omukolo gw’Ekijjukizo bwe guba gunaatera okutuuka, tufuna akakisa ak’enjawulo okwongera okusiima ekinunulo. Mu kiseera ekyo, tusaanidde okufuba okusoma ebyawandiikibwa ebituweebwa okusoma mu kiseera ky’Ekijjukizo era tufumiitirize ku bintu ebyaliwo nga Yesu anaatera okuttibwa n’oluvannyuma lw’okuttibwa. Olwo nno, bwe tunaaba tukuŋŋaanye okukwata omukolo ogwo, tujja kweyongera okutegeera obulungi amakulu g’Obubonero obukozesebwa ku mukolo ogwo n’okusiima ssaddaaka ey’omuwendo ennyo gye bukiikirira. Bwe tutegeera obulungi ekyo Yesu ne Yakuwa kye baatukolera era ne tutegeera engeri ffe n’abaagalwa baffe gye kituganyulamu, essuubi lyaffe lyeyongera okunywera, ekyo ne kituleetera okuba abavumu ne tugumiikiriza okutuuka ku nkomerero.​—Beb. 12:3.

11-12. Biki bye twakayiga?

11 We tutuukidde wano tuyize nti omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe tegukoma ku kutujjukiza ssaddaaka ey’omuwendo ennyo eyaweebwayo naye era gutujjukiza obwetoowaze n’obuvumu Yesu bye yayoleka. Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yesu akyeyongera okwoleka engeri ezo, ng’akola nga Kabona Waffe Asinga Obukulu ali mu ggulu eyeegayirira ku lwaffe! (Beb. 7:24, 25) Okusobola okulaga nti tusiima, tujjukira okufa kwa Yesu nga bwe yatulagira. (Luk. 22:19, 20) Kino tukikola ku lunaku olugwa ku lunaku lwa Nisaani 14, era nga luno lwe lunaku olusingayo obukulu mu mwaka.

12 Okuba nti omukolo gw’Ekijjukizo gwali mwangu kituyamba okulaba n’engeri endala ennungi Yesu gye yalina eyamuleetera okutufiirira. Yesu bwe yali ku nsi, yayoleka nnyo engeri eyo. Ngeri ki eyo?

YESU ALINA OKWAGALA

13. Yokaana 15:9 ne 1 Yokaana 4:8-10 woogera watya ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baalaga, era baani abaganyulwa mu kwagala kwe baalaga?

13 Mu buli kimu Yesu kye yakolanga, yayoleka okwagala okungi Yakuwa kw’alina gye tuli. (Soma Yokaana 15:9; 1 Yokaana 4:8-10.) N’ekisinga obukulu, okwagala kwaleetera Yesu okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe. Ka tube baafukibwako amafuta oba ba ‘ndiga ndala,’ ffenna tuganyulwa mu kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga okuyitira mu ssaddaaka eyo. (Yok. 10:16; 1 Yok. 2:2) Ate era lowooza ku bintu Yesu bye yakozesa ng’atandikawo omukolo gw’Ekijjukizo. Ebintu ebyo biraga nti Yesu ayagala nnyo abagoberezi be era nti abafaako nnyo. Mu ngeri ki?

Yesu yayoleka okwagala bwe yatandikawo omukolo gw’Ekijjukizo omwangu ne kiba nti gwali gusobola okukwatibwa okumala ebyasa bingi mu mbeera ez’enjawulo (Laba akatundu 14-16) *

14. Yesu yalaga atya abayigirizwa be okwagala?

14 Yesu yakyoleka nti ayagala nnyo abagoberezi be abaafukibwako amafuta bwe yatandikawo omukolo ogwandibabeeredde omwangu okukwata. Emyaka bwe gyandigenze giyitawo, abayigirizwa ba Yesu abo abaafukibwako amafuta bandibadde bakwata omukolo ogwo buli mwaka era nga bagukwatira mu mbeera ez’enjawulo, nga muno mwe mwandibadde n’okugukwatira mu kkomera. (Kub. 2:10) Baasobola okugondera Yesu? Yee!

15-16. Abamu baasobola batya okukwata omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe mu mbeera enzibu?

15 Okuva mu kyasa ekyasooka n’okutuukira ddala mu kiseera kyaffe, Abakristaayo ab’amazima babaddenga bakola kyonna ekisoboka okujjukira okufa kwa Yesu. Bazze bafuba okukwata omukolo ogw’Ekyekiro kya Mukama Waffe nga Yesu bwe yakola ng’agutandikawo, oluusi ne mu mbeera enzibu. Lowooza ku byokulabirako bino. Ow’oluganda Harold King bwe yali asibiddwa yekka mu kkomera e China, yalina okuba omuyiiya ennyo okusobola okukwata omukolo ogwo. Yakola omugaati n’envinnyo mu nkukutu ng’akozesa ebintu bye yalina. Yafuba okubalirira ennaku z’omwezi Ekijjukizo we kyandibeereddewo. Ekiseera bwe kyatuuka okukwata omukolo gw’Ekijjukizo, ng’ali yekka mu kaduukulu, yayimba, n’asaba era n’awa emboozi.

16 Ate lowooza ne ku kyokulabirako kino. Mu kiseera kya Ssematalo II bannyinaffe abawerako abaali mu nkambi y’abasibe baakwata eky’Ekiro kya Mukama Waffe wadde ng’ekyo kyali kiteeka obulamu bwabwe mu kabi. Ekyo baasobola okukikola kubanga ebintu ebikozesebwa ku mukolo ogwo byangu okufuna. Baagamba nti: “Twayimirira nga twetooloodde akameza okwali omugaati n’envinnyo era twali tukataddeko ekitambaala ekyeru. Twakozesa musubbaawa kubanga singa twateekako amataala bandituguddemu. . . . Twaddamu okweyama eri Kitaffe nti tujja kukozesa amaanyi gaffe okugulumiza erinnya lye ettukuvu.” Bannyinaffe abo nga baayoleka okukkiriza okw’amaanyi! Mazima ddala Yesu yayoleka okwagala kungi bwe yatandikawo omukolo omwangu gwe tusobola okukwata ne mu mbeera enzibu!

17. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

17 Ng’omukolo gw’Ekijjukizo gugenda gusembera, tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nnyinza ntya okweyongera okukoppa Yesu mu kwoleka okwagala? Nfaayo ku byetaago bya bakkiriza bannange okusinga bwe nfaayo ku byange? Baganda bange mbasuubiramu bingi okusinga bye basobola okutuukiriza, oba mmanyi obusobozi bwabwe we bukoma?’ Ka bulijjo tukoppenga Yesu nga ‘tulumirirwa bannaffe.’​—1 Peet. 3:8.

EBY’OKUYIGA EBYO BULIJJO BIJJUKIRENGA

18-19. (a) Tuli bakakafu ku ki? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?

18 Ekiseera kijja kutuuka kibe nga tekikyatwetaagisa kukwata mukolo ogw’Okujjukira okufa kwa Kristo. Yesu ‘bw’alijja’ mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, ajja kukuŋŋaanya wamu “abalonde be” abanaaba bakyasigaddewo abatwale mu ggulu era okuva olwo omukolo gw’Ekijjukizo tegujja kuddamu kukwatibwa.​—1 Kol. 11:26; Mat. 24:31.

19 Omukolo gw’Ekijjukizo ne bwe gunaaba tegukyakwatibwa, abantu ba Yakuwa bajja kusigala nga bwe bagulowoozaako bajjukira obwetoowaze, obuvumu, n’okwagala Yesu bye yayoleka. Mu kiseera ekyo, abo abaliba baakwatanga omukolo ogwo ogw’enjawulo, bajja kunyumizaako abalala abalibeerawo nabo basobole okubaako bye baguyigirako. Naye okusobola okuganyulwa mu mukolo ogwo kati, tulina okuba abamalirivu okukoppa Yesu mu kwoleka obwetoowaze, obuvumu, n’okwagala. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.​—2 Peet. 1:10, 11.

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

^ lup. 5 Mu kiseera ekitali kya wala, tujja kukwata omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe okujjukira okufa kwa Yesu Kristo. Omukolo ogwo omwangu gujja kutuyamba okukiraba nti Yesu mwetoowaze, muvumu, era alina okwagala. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukoppa Yesu nga twoleka engeri ezo.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekigambo okukwata wano kitegeeza okukola ekintu eky’enjawulo okusobola okujjukira ekintu ekikulu ekyaliwo oba okujjukira omuntu.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Ab’oluganda nga balaga engeri abaweereza ba Katonda abeesigwa gye baakwatamu omukolo gw’Ekijjukizo mu kyasa ekyasooka, ku nkomerero y’emyaka gya 1800; mu nkambi y’Abanazi; ne mu kiseera kyaffe mu kizimbe ky’Obwakabaka ekimu mu nsi emu ey’omu Amerika ow’omu bukiikaddyo.