Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3

Oyinza Otya Okukuuma Omutima Gwo?

Oyinza Otya Okukuuma Omutima Gwo?

“Kuumanga omutima gwo okusinga ekintu ekirala kyonna.”​—NGE. 4:23.

OLUYIMBA 36 Tukuuma Emitima Gyaffe

OMULAMWA *

1-3. (a) Lwaki Yakuwa yali ayagala nnyo Sulemaani, era mikisa ki Sulemaani gye yafuna? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

SULEMAANI yafuuka kabaka wa Isirayiri ng’akyali muvubuka. Bwe yali yaakatandika okufuga, Yakuwa yamulabikira mu kirooto n’amugamba nti: “Saba ky’oyagala nkuwe.” Sulemaani yamuddamu nti: ‘Nkyali muvubuka, era sirina bumanyirivu. Omuweereza wo muwe omutima omuwulize asobole okulamula abantu bo.’ (1 Bassek. 3:5-10) Okuba nti Sulemaani yasaba Yakuwa amuwe “omutima omuwulize” kiraga nti yali mwetoowaze! Tekyewuunyisa nti Yakuwa yali ayagala nnyo Sulemaani! (2 Sam. 12:24) Ekyo Sulemaani kye yasaba kyasanyusa nnyo Katonda, bw’atyo n’amuwa “omutima ogw’amagezi era omutegeevu.”​—1 Bassek. 3:12.

2 Ekiseera kyonna Sulemaani kye yamala nga mwesigwa, yafuna emikisa mingi. Yafuna enkizo okuzimba yeekaalu “ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.” (1 Bassek. 8:20) Yayatiikirira nnyo olw’amagezi Katonda ge yamuwa. Era ebintu bye yayogera ng’aluŋŋamizibwa Katonda byawandiikibwa mu bitabo bisatu ebya Bayibuli. Ekimu ku bitabo ebyo kye kitabo ky’Engero.

3 Ekigambo omutima kirabika emirundi nga kikumi mu kitabo ky’Engero. Ng’ekyokulabirako, Engero 4:23 wagamba nti: “Kuumanga omutima gwo okusinga ekintu ekirala kyonna.” Mu lunyiriri olwo, ekigambo “omutima” kitegeeza ki? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu kino. Ate era tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebirala bibiri: Sitaani agezaako atya okwonoona omutima gwaffe? Biki bye tuyinza okukola okukuuma omutima gwaffe? Okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo ebikulu, kisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda.

“OMUTIMA GWO”​—KYE KI?

4-5. (a) Zabbuli 51:6, etuyamba etya okutegeera amakulu g’ekigambo “omutima”? (b) Ebyo bye tukola okukuuma emibiri gyaffe nga miramu bulungi bituyamba bitya okumanya nti kikulu okufaayo ku ekyo kye tuli munda?

4 Mu Engero 4:23, ekigambo “omutima” kikozesebwa okutegeeza ekyo omuntu ky’ali munda. (Soma Zabbuli 51:6.) N’olwekyo, ekigambo “omutima” kitegeeza ebirowoozo by’omuntu, enneewulira ye, ebiruubirirwa bye, n’ebyo by’ayagala. Omutima ky’ekyo kye tuli munda, so si ekyo kye tuli kungulu.

5 Ebyo bye tukola okukuuma emibiri gyaffe nga miramu bulungi bituyamba okumanya ensonga lwaki kikulu okufaayo ku ekyo kye tuli munda. Ng’ekyokulabirako, okusobola okukuuma emibiri gyaffe nga miramu bulungi, tulina okulya emmere erimu ekiriisa, era tulina okukola dduyiro obutayosa. Mu ngeri y’emu, okusobola okuba abalamu obulungi mu by’omwoyo, tulina okulya emmere ennungi ey’eby’omwoyo era tulina okukola ebintu ebiraga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Tukyoleka nti okukkiriza kwaffe kunywevu nga tukolera ku ebyo bye tuyiga era nga tubuulirako abalala bye tukkiriza. (Bar. 10:8-10; Yak. 2:26) Ate era, okusinziira ku ndabika ey’okungulu, tuyinza okulowooza nti tuli balamu bulungi so nga munda tuli balwadde. Mu ngeri y’emu, okuba nti twenyigira mu bintu eby’omwoyo kiyinza okutuleetera okulowooza nti tulina okukkiriza okunywevu, so ng’ate okwegomba okubi kugenda kukula munda mu ffe. (1 Kol. 10:12; Yak. 1:14, 15) Tusaanidde okukijjukiranga nti Sitaani ayagala okututeekamu endowooza ye. Ekyo agezaako atya okukikola? Era tuyinza tutya okwekuuma?

ENGERI SITAANI GY’AGEZAAKO OKWONOONA OMUTIMA GWAFFE

6. Kiruubirirwa ki Sitaani ky’alina, era agezaako atya okukituukiriza?

6 Sitaani ayagala naffe tube bajeemu nga ye. Ayagala twerowoozeeko ffekka era tusambajje emitindo gya Yakuwa. Sitaani tasobola kutukaka kuba na ndowooza ng’eyiye n’okweyisa nga ye. N’olwekyo agezaako okutuukiriza ekigendererwa kye ekyo ng’akozesa engeri endala. Ng’ekyokulabirako, afuba okutwetoolooza abantu be yayonoona edda. (1 Yok. 5:19) Asuubira nti tujja kusalawo okumala obudde bungi n’abantu abo wadde nga tukimanyi nti emikwano emibi “gyonoona” endowooza yaffe n’enneeyisa yaffe. (1 Kol. 15:33) Akatego ako kaakola ku Kabaka Sulemaani. Yawasa abakazi bangi abaali batasinza Yakuwa, era ‘mpolampola baakyusa omutima gwe’ ne guva ku Yakuwa.​—1 Bassek. 11:3.

Osobola otya okukuuma omutima gwo Sitaani aleme kuguyingizaamu ndowooza ye? (Laba akatundu 7) *

7. Biki ebirala Sitaani by’akozesa okubunyisa endowooza ye, era lwaki tusaanidde okuba abeegendereza?

7 Sitaani akozesa firimu ne programu za ttivi okubunyisa endowooza ye. Akimanyi nti abantu banyumirwa okuwuliriza oba okulaba ebifa ku bantu abalala. Kyokka era akimanyi nti ebintu ebyo tebikoma ku kunyumira bantu, naye era birina kye bikola ku ndowooza yaabwe, ku nneewulira yaabwe, ne ku ngeri gye beeyisaamu. Yesu yakozesa enkola ng’eyo ng’ayigiriza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku lugero lwe yagera olukwata ku Musamaliya omulungi n’olwo olukwata ku mwana eyava awaka n’ayonoona eby’obusika bwe. (Mat. 13:34; Luk. 10:29-37; 15:11-32) N’abantu abalina endowooza ya Sitaani basobola okukozesa enkola eyo okwonoona endowooza yaffe. Kyokka tetulina kugwa lubege. Firimu ne programu eziba ku ttivi bisobola okutusanyusa n’okutuyigiriza nga tebyonoonye ndowooza yaffe. Naye tulina okuba abeegendereza. Bwe tuba nga tulondawo firimu ey’okulaba oba programu ya ttivi tusaanidde okwebuuza, ‘Firimu eno oba programu eno enjigiriza nti si kikyamu okwenyigira mu bikolwa eby’omubiri?’ (Bag. 5:19-21; Bef. 2:1-3) Kiki ky’osaanide okukola singa okiraba nti programu emu etumbula endowooza ya Sitaani? Osaanidde okugyewala nga bwe wandyewaze obulwadde obukwata!

8. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukuuma emitima gyabwe?

8 Abazadde mulina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi okukuuma abaana bammwe Sitaani aleme kwonoona mitima gyabwe. Kya lwatu nti mufuba okuyamba abaana bammwe obutakwatibwa ndwadde. Ekyo mukikola nga mufuba okukuuma awaka wammwe nga wayonjo, era muggyawo ekintu kyonna ekisobola okubalwaza oba okulwaza abaana bammwe. Mu ngeri y’emu, musaanidde okukuuma abaana bammwe baleme kwonoonebwa firimu, programu za ttivi, emizannyo gya kompyuta, n’emikutu gya Intaneeti ebisobola okubayingizaamu endowooza ya Sitaani. Yakuwa yabakwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaana bammwe mu by’omwoyo. (Nge. 1:8; Bef. 6:1, 4) N’olwekyo temutya kuteerawo baana bammwe mateeka ageesigamiziddwa ku misingi gya Bayibuli. Mubuulire abaana bammwe bye basobola okulaba ne bye batasobola kulaba, era mubayambe okumanya ensonga lwaki mubakkiriza oba mubagaana ebintu ebyo. (Mat. 5:37) Abaana bammwe bwe bagenda bakula, mubayambe okutendeka obusobozi bwabwe obw’okumanya ekikkirizibwa mu maaso ga Yakuwa n’ekitakkirizibwa. (Beb. 5:14) Ate era mukijjukire nti wadde ng’abaana bammwe bayigira ku ebyo bye mwogera, okusingira ddala bayigira ku ebyo bye mukola.​—Ma. 6:6, 7; Bar. 2:21.

9. Emu ku ndowooza Sitaani gy’atumbula y’eruwa, era lwaki ya mutawaana?

9 Sitaani era agezaako okwonoona emitima gyaffe ng’atuleetera okwesiga amagezi g’abantu mu kifo ky’okwesiga amagezi ga Yakuwa. (Bak. 2:8) Lowooza ku ndowooza eno Sitaani gy’atumbula: Okugaggawala kye kiruubirirwa ekisinga obukulu omuntu ky’alina okuba nakyo. Abo abalina endowooza eyo bayinza okugaggawala oba bayinza obutagaggawala. Ka babe nga bagaggawadde oba nedda, baba mu kabi? Lwaki? Kubanga bayinza okussa ennyo essira ku kunoonya ssente ne kibaviirako okulagajjalira obulamu bwabwe, ab’omu maka gaabwe, n’enkolagana yaabwe ne Katonda, okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe. (1 Tim. 6:10) Kitusanyusa nnyo okuba nti Kitaffe ow’omu ggulu atuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente.​—Mub. 7:12; Luk. 12:15.

TUYINZA TUTYA OKUKUUMA OMUTIMA GWAFFE?

Okufaananako abakuumi abaabanga ku bbugwe ne ku miryango, sigala ng’oli bulindaala era obeeko ky’okolawo mu bwangu omutima gwo guleme kuyingiramu bintu biyinza kugwonoona (Laba akatundu 10-11) *

10-11. (a) Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukuuma omutima gwaffe? (b) Kiki omukuumi kye yakolanga mu biseera by’edda era omuntu waffe ow’omunda ayinza atya okukola ng’omukuumi?

10 Bwe tuba ab’okukuuma omutima gwaffe, tulina okumanya ebintu ebiyinza okugwonoona era ne tubaako kye tukolawo mu bwangu okugukuuma. Ekigambo ekyavvuunulwa ‘okukuuma’ mu Engero 4:23 kitujjukiza omulimu ogwakolebwanga omukuumi. Mu kiseera kya Kabaka Sulemaani, abakuumi baayimiriranga waggulu ku bbugwe w’ekibuga era bwe baalabanga akabi akajja baalabulanga abalala. Okulowooza ku kyokulabirako ekyo, kituyamba okumanya kye tusaanidde okukola okuziyiza Sitaani aleme kwonoona ndowooza yaffe.

11 Abakuumi b’oku bbugwe baakoleranga wamu n’abakuumi bw’oku miryango. (2 Sam. 18:24-26) Baakoleranga wamu okukuuma ekibuga nga bakakasa nti emiryango gyakyo giggalwa, abalabe baleme kuyingira. (Nek. 7:1-3) Omuntu waffe ow’omunda * atendekeddwa Bayibuli asobola okukola ng’omukuumi ali waggulu ku bbugwe n’atulabula nga Sitaani agezaako okulumba omutima gwaffe, kwe kugamba, ng’agezaako okwonoona ebirowoozo byaffe, enneewulira yaffe, ebiruubirirwa byaffe, n’okutuleetera okwagala ebintu ebibi. Buli omuntu waffe ow’omunda lw’atulabula, tusaanidde okumuwuliriza ne tuggala enzigi.

12-13. Kiki kye tuyinza okusikirizibwa okukola, naye kiki kye tusaanidde okukola?

12 Lowooza ku ngeri emu gye tusobola okwekuuma ne tutatwalirizibwa ndowooza ya Sitaani. Yakuwa atugamba nti ‘ebikolwa eby’obugwenyufu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri tebirina na kwogerwako mu mmwe ffe.’ (Bef. 5:3) Naye tunaakola ki singa abo be tukola nabo oba be tusoma nabo batandika okwogera ku bintu eby’obugwenyufu? Tukimanyi nti tulina “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi.” (Tit. 2:12) Omukuumi, kwe kugamba, omuntu waffe ow’omunda, ayinza okutulabula. (Bar. 2:15) Tunaamuwuliriza? Tuyinza okuwulira nga tusikirizibwa okuwuliriza ebyo bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe bye banyumya oba okutunuulira ebifaananyi bye balaba. Naye ekyo kiba kiseera kya kuggala nzigi, nga tukyusa emboozi oba nga tuvaawo.

13 Kyetaagisa obuvumu okusobola okwewala endowooza enkyamu bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe ze balina oba okwewala okukola ebintu ebibi bye bakola. Yakuwa alaba okufuba kwaffe era ajja kutuwa amaanyi n’amagezi bye twetaaga okusobola okwewala okutwalirizibwa endowooza ya Sitaani. (2 Byom. 16:9; Is. 40:29; Yak. 1:5) Biki ebirala bye tusobola okukola okusobola okukuuma omutima gwaffe?

SIGALA NG’OLI BULINDAALA

14-15. (a) Kiki kye tusaanidde okuggulirawo enzigi z’omutima gwaffe, era ekyo tuyinza kukikola tutya? (b) Engero 4:20-22 watuyamba watya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli? (Laba n’akasanduuko “ Engeri gy’Oyinza Okufumiitirizaamu.”)

14 Okusobola okukuuma omutima gwaffe tetulina kukoma ku kuggalawo nzigi zaagwo ebintu ebibi bireme kuyingiramu, naye era tulina okuggulawo enzigi zaagwo ebintu ebirungi bisobole okuyingiramu. Lowooza nate ku kibuga ekyabangako bbugwe. Omukuumi w’oku mulyango yaggalangawo enzigi z’ekibuga abalabe baleme kuyingira, naye era ebiseera ebimu yaggulangawo enzigi ezo emmere awamu n’ebintu ebirala ebyetaagisa bisobole okuyingizibwa mu kibuga. Singa enzingi z’ekibuga ezo tezaggulirwangawo ddala, abantu b’omu kibuga bandifudde enjala. Mu ngeri y’emu, naffe tulina okuggulangawo omutima gwaffe bulijjo, tusobole okuyingizaamu endowooza ya Katonda.

15 Bayibuli erimu endowooza ya Yakuwa, n’olwekyo buli lwe tugisoma tuba tukkiriza endowooza ya Yakuwa okuluŋŋamya ebyo bye tulowooza, enneewulira yaffe, n’ebyo bye tukola. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli? Okusaba kikulu nnyo. Mwannyinaffe omu agamba nti: “Bwe mba ŋŋenda okusoma Bayibuli, nsooka kusaba Yakuwa annyambe okulaba ‘ebintu eby’ekitalo’ ebiri mu Kigambo kye.” (Zab. 119:18) Ate era tulina okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Bwe tusaba, ne tusoma, era ne tufumiitiriza, Ekigambo kya Katonda kituuka munda ‘mu mutima gwaffe,’ ne kituleetera okwagala endowooza ya Yakuwa.​—Soma Engero 4:20-22; Zab. 119:97.

16. Bangi baganyuddwa batya mu kulaba ttivi yaffe eya JW Broadcasting?

16 Engeri endala gye tuyinza okuyingiza endowooza ya Katonda mu mutima gwaffe, kwe kulaba ebyo ebiri ku ttivi yaffe eya JW Broadcasting®. Ow’oluganda omu ne mukyala we bagamba nti: “Tuwulira nga Yakuwa addamu essaala zaffe okuyitira mu programu ezifulumira ku ttivi yaffe buli mwezi! Programu ezo zituzzaamu nnyo amaanyi mu biseera ebizibu. Ate era ennyimba ezifulumira ku progamu ezo tutera okuziwuliriza awaka. Tuziwuliriza nga tufumba, nga tulongoosa, oba nga tunywa caayi.” Programu ezo zituyamba okukuuma omutima gwaffe. Zituyamba okufuna endowooza ya Yakuwa n’okwewala okufuna endowooza ya Sitaani.

17-18. (a) Nga bwe kiragibwa mu 1 Bassekabaka 8:61, kiki ekibaawo bwe tukolera ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza? (b) Kiki kye tuyigira ku Kabaka Keezeekiya? (c) Okusinziira ku bigambo ebiri mu Zabbuli 139:23, 24, kiki kye tuyinza okusaba?

17 Buli lwe tulaba emiganyulo egiva mu kukola ekituufu, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. (Yak. 1:2, 3) Tuwulira bulungi olw’okuba tuba tusanyusizza omutima gwa Yakuwa, bw’atyo n’atuyita abaana be era ekyo kituleetera okwagala okweyongera okukola ebimusanyusa. (Nge. 27:11) Buli kugezesebwa kwe tufuna tukutwala ng’akakisa ke tuba tufunye okukyoleka nti tetuweereza Yakuwa kutuusa butuusa luwalo. (Zab. 119:113) Tukiraga nti twagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, era nti tuli bamalirivu okukwata ebiragiro bye n’okukola by’ayagala.​—Soma 1 Bassekabaka 8:61.

18 Tunaakola ensobi? Yee; kubanga tetutuukiridde. Naye bwe tukola ensobi tusaanidde okujjukira ekyokulabirako kya Kabaka Keezeekiya. Yakola ensobi. Naye yeenenya, ne yeeyongera okuweereza Yakuwa ‘n’omutima gwe gwonna.’ (Is. 38:3-6; 2 Byom. 29:1, 2; 32:25, 26) N’olwekyo, ka bulijjo tumalirire obutakkiriza kwonoonebwa ndowooza ya Sitaani. Ka tusabe Yakuwa atuyambe okuba ‘n’omutima omuwulize.’ (1 Bassek. 3:9; soma Zabbuli 139:23, 24.) Mazima ddala tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa singa tukuuma omutima gwaffe okusinga ekintu ekirala kyonna.

OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”

^ lup. 5 Tunaasigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, oba tunnakkiriza Sitaani okutusendasenda okutuggya ku Katonda waffe? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo tekisinziira ku kugezesebwa kwenkana wa kwe tufuna, wabula kisinziira ku ngeri gye tukuumamu omutima gwaffe. Ekigambo “omutima” kitegeeza ki? Sitaani agezaako atya okwonoona omutima gwaffe? Era tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe? Ekitundu kino kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo ebikulu.

^ lup. 11 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Yakuwa yatuwa obusobozi obw’okukebera ebirowoozo byaffe, enneewulira yaffe, n’ebikolwa byaffe ne tusobola okweramula. Obusobozi obwo Bayibuli ebuyita omuntu ow’omunda. (Bar. 2:15; 9:1) Omuntu ow’omunda atendekeddwa Bayibuli y’oyo asinziira ku misingi gya Bayibuli okutulamula obanga bye tulowooza, bye tukola, oba bye twogera birungi oba bibi.

^ lup. 56 EKIFAANANYI: Ow’oluganda aba alaba ttivi ne kuggyako ebintu eby’obugwenyufu. Alina okusalawo eky’okukola.

^ lup. 58 EKIFAANANYI: Omukuumi mu biseera eby’edda alaba akabi ebweru w’ekibuga. Akoowoola abakuumi b’emiryango abali wansi era basitukiramu ne baggala enzigi ne bazisibira munda.