Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1

“Teweeraliikirira, Kubanga Nze Katonda Wo”

“Teweeraliikirira, Kubanga Nze Katonda Wo”

“Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.”​—IS. 41:10.

OLUYIMBA 7 Yakuwa, Ggwe Maanyi Gaffe

OMULAMWA *

1-2. (a) Ebigambo ebiri mu Isaaya 41:10 byayamba bitya mwannyinaffe Yoshiko? (b) Baani abasobola okuganyulwa mu bigambo Yakuwa bye yawandiisa mu Isaaya 41:10?

MWANNYINAFFE omwesigwa eyali ayitibwa Yoshiko yafuna amawulire amabi. Omusawo yamugamba nti yali abuzaayo emyezi mitono afe. Kiki Yoshiko kye yakola? Yajjukira ebigambo ebiri mu Isaaya 41:10. (Soma.) Nga mukkakkamu, yagamba omusawo nti yali tatidde kubanga Yakuwa yali amukutte ku mukono. * Ebigambo ebibudaabuda ebiri mu lunyiriri olwo byayamba mwannyinaffe oyo okwesiga Yakuwa mu bujjuvu. Ebigambo ebyo naffe bisobola okutuyamba ne tusigala nga tuli bakkakkamu nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Ekyo okusobola okukitegeera, ka tusooke tulabe ensonga lwaki Katonda yawa Isaaya obubaka obwo.

2 Mu kusooka, Yakuwa yaluŋŋamya Isaaya okuwandiika ebigambo ebyo okusobola okubudaabuda Abayudaaya abanditwaliddwa mu buwambe e Babulooni. Naye era Yakuwa yakakasa nti ebigambo ebyo biwandiikibwa bisobole okuyamba n’abaweereza be bonna abandizzeewo oluvannyuma. (Is. 40:8; Bar. 15:4) Leero tuli mu ‘biseera ebizibu ennyo’ era okusinga bwe kyali kibadde, twetaaga nnyo ebigambo ebizzaamu amaanyi ebiri mu kitabo kya Isaaya.​—2 Tim. 3:1.

3. (a) Bisuubizo ki ebisangibwa mu Isaaya 41:10, nga kino kye kyawandiikibwa ky’omwaka 2019? (b) Lwaki twetaaga ebisuubizo ebyo?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu ebinyweza okukkiriza kwaffe Yakuwa bye yasuubiza ebisangibwa mu Isaaya 41:10: (1) Yakuwa ajja kuba naffe, (2) ye Katonda waffe, ne (3) ajja kutuyamba. Ebisuubizo * ebyo tubyetaaga nnyo, kubanga okufaananako Yoshiko, naffe tufuna ebigezo eby’amaanyi mu bulamu bwaffe. Ate era twolekagana n’ebizibu olw’embeera embi eri mu nsi. Abamu ku ffe tuyigganyizibwa gavumenti ez’amaanyi. Kati ka twekenneenye ebintu ebyo ebisatu Yakuwa bye yatusuubiza.

“NDI NAAWE”

4. (a) Kintu ki ekisooka Yakuwa ky’atukakasa kye tugenda okwekenneenya? (Laba n’obugambo obuli wansi.) (b) Yakuwa alaga atya engeri gy’atutwalamu? (c) Ebigambo bya Yakuwa ebyo bikukwatako bitya?

4 Okusooka Yakuwa atugamba nti: “Totya, kubanga ndi naawe.” * Yakuwa akiraga nti ali naffe ng’atufaako era ng’atulaga okwagala. Weetegereze engeri gy’akiragamu nti atufaako nnyo era nti atwagala nnyo. Atugamba nti: “Wafuuka wa muwendo gye ndi, waweebwa ekitiibwa, era nkwagala.” (Is. 43:4) Tewali kintu kyonna kiyinza kuleetera Yakuwa kulekera awo kwagala baweereza be abeesigwa. Okwagala kw’alina gye tuli tekujjulukuka. (Is. 54:10) Okwagala n’omukwano by’atulaga bituwa obuvumu. Ajja kutukuuma nga bwe yakuuma mukwano gwe Ibulaamu (Ibulayimu). Yakuwa yamugamba nti: “Totya Ibulaamu, nze ngabo yo.”​—Lub. 15:1.

Yakuwa asobola okutuyamba okuyita mu bizibu ebiringa emigga era ebiringa ennimi z’omuliro (Laba akatundu 5-6) *

5-6. (a) Tumanya tutya nti Yakuwa ayagala okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu? (b) Kiki kye tuyigira ku Yoshiko?

5 Tukimanyi nti Yakuwa ayagala okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu kubanga yasuubiza abantu be nti: “Bw’oliyita mu mazzi, ndibeera wamu naawe, era bw’oliyita mu migga, tegirikusaanyaawo. Bw’oliyita mu muliro, tegulikwokya, wadde ennimi zaagwo okukubabula.” (Is. 43:2) Ebigambo ebyo bitegeeza ki?

6 Yakuwa tasuubiza kuggyawo bizibu ebikalubya obulamu bwaffe, naye tasobola kukkiriza bizibu ebiringa ‘emigga’ kutusaanyaawo oba ebigezo ebiringa ‘ennimi z’omuliro’ okututuusaako akabi ak’olubeerera. Atukakasa nti ajja kuba naffe, atuyambe ‘okuyita’ mu bizibu ebyo. Kiki Yakuwa ky’anaakola? Ajja kukkakkanya emitima gyaffe tusobole okusigala nga tuli beesigwa gy’ali ne bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu ekiyinza okutuviirako okufa. (Is. 41:13) Ekyo Yoshiko, ayogeddwako waggulu yakiraba. Muwala we agamba nti: “Twewuunya nnyo okukiraba nti maama yali mukkakkamu nnyo. Twakiraba nti Yakuwa yamuwa emirembe ku mutima. Okutuukira ddala lwe yafa, maama yeeyongera okubuulira abasawo n’abalwadde abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebisuubizo bye.” Kiki kye tuyigira ku Yoshiko? Bwe twesiga ekisuubizo kya Yakuwa ekigamba nti “Ndibeera wamu naawe,” naffe tusobola okuguma n’okuba abavumu nga twolekagana n’ebizibu.

“NZE KATONDA WO”

7-8. (a) Kintu ki eky’okubiri Yakuwa kye yasuubiza kye tugenda okwekenneenya, era kirina makulu ki? (b) Lwaki Yakuwa yagamba Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse nti: “Teweeraliikirira”? (c) Bigambo ki ebiri mu Isaaya 46:3, 4 ebiteekwa okuba nga byagumya abantu ba Katonda?

7 Weetegereze ekintu eky’okubiri Yakuwa ky’atukakasa: “Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo.” Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Ekigambo ekyavvuunulwa ‘okweraliikirira’ mu lunyiriri olwo, kirina amakulu ag’omuntu okutunula emabega buli kiseera ng’atya nti waliwo ekintu oba omuntu ayinza okumutuusaako obulabe, oba omuntu okusattira ng’alina ekimutiisizza.

8 Lwaki Yakuwa yagamba Abayudaaya abanditwaliddwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni nti “Teweeraliikirira”? Kubanga yali akimanyi nti abantu b’omu Babulooni bandifunye ekibatiisa. Kiki ekyandibatiisizza? Ng’emyaka 70 Abayudaaya gye bandimaze mu buwaŋŋanguse ginaatera okuggwako, Babulooni yandirumbiddwa eggye ery’amaanyi erya Bumeedi ne Buperusi. Yakuwa yandikozesezza eggye eryo okuggya abantu be mu buwambe e Babulooni. (Is. 41:2-4) Abababulooni n’abantu ab’amawanga amalala bwe baakitegeera nti omulabe waabwe yali asembedde baagezaako okwegumya nga bagambagana nti: “Beera mugumu.” Ate era beeyongera okukola ebifaananyi ebisinzibwa nga basuubira nti byandibakuumye. (Is. 41:5-7) Naye ye Yakuwa yagumya Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse ng’abagamba nti: “Ggwe Isirayiri, [obutafaananako bantu abakwetoolodde] oli muweereza wange . . . Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo.” (Is. 41:8-10) Weetegereze nti Yakuwa yagamba nti: “Nze Katonda wo.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Yakuwa yakakasa abaweereza be abeesigwa nti yali tabeerabidde. Yali akyali Katonda waabwe, era nabo baali bakyali bantu be. Yagamba nti: “Nja kukusitula . . . era nkununule.” Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byagumya nnyo Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse.​—Soma Isaaya 46:3, 4.

9-10. Lwaki tetulina kutya kintu kyonna? Waayo ekyokulabirako.

9 Leero okusinga bwe kyali edda, abantu beeraliikirivu olw’embeera y’ensi eyeeyongedde okwonooneka. Kya lwatu nti naffe embeera eyo etukosa. Naye tetusaanidde kutya. Yakuwa atugamba nti: “Nze Katonda wo.” Lwaki ebigambo ebyo bisaanidde okutuleetera okusigala nga tuli bakkakkamu?

10 Lowooza ku kyokulabirako kino: Abasaabaze babiri, Jim ne Ben, bali mu nnyonyi esuukundibwa omuyaga ogw’amaanyi. Mu kiseera ekyo, bawulira ng’omugoba w’ennyonyi agamba abasaabaze bonna nti: “Musibe emisipi. Tugenda kuyita mu muyaga okumala ekiseera.” Jim atya nnyo. Naye omugoba w’ennyonyi era abagamba nti: “Temutya. Nze omugoba w’ennyonnyi nze njogera nammwe.” Mu kiseera ekyo, Jim anyeenya omutwe n’agamba nti, “Akakasiza ku ki nti tetujja kufuna buzibu bwonna?” Naye Jim bw’atunuulira Ben akiraba nti ye taliimu kutya kwonna. Jim amubuuza nti: “Ggwe nga totidde?” Ben amwenyaamu n’amugamba nti: “Omugoba w’ennyonyi oyo mmumanyi bulungi. Ye taata wange!” Oluvannyuma Ben agamba Jim nti: “Ka nkubuulire ebikwata ku taata wange. Bw’onoomutegeera era n’omanya obumanyirivu bw’alina, naawe ojja kuggwaamu okutya.”

11. Biki bye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako ky’abasaabaze abo abiri?

11 Biki bye tuyigira ku kyokulabirako ekyo? Okufaananako Ben, naffe tuli bagumu kubanga tumanyi bulungi Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu. Tukimanyi nti ajja kutuyisa mu bizibu ebiringa omuyaga bye twolekagana nabyo mu nnaku zino ez’enkomerero. (Is. 35:4) Olw’okuba twesiga Yakuwa, tusigala nga tuli bakkakkamu wadde ng’abantu abalala mu nsi bali mu kutya okutagambika. (Is. 30:15) Ate era okufaananako Ben, tubuulirako abantu abalala ensonga lwaki twesiga Katonda. Ekyo kisobola okubayamba nabo okuba abakakafu nti ka babe nga boolekaganye na bizibu ki, Yakuwa asobola okubayamba.

“NJA KUKUWA AMAANYI ERA NJA KUKUYAMBA”

12. (a) Kintu ki eky’okusatu Yakuwa kye yasuubiza kye tugenda okwetegereza? (b) Ebigambo “omukono” gwa Yakuwa biraga ki?

12 Lowooza ku kintu eky’okusatu Yakuwa ky’atusuubiza. Agamba nti: “Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.” Nga tawandiika bigambo ebyo, Isaaya yali amaze okulaga engeri Yakuwa gye yandiwaddemu abantu be amaanyi, bwe yagamba nti: “[Yakuwa] ajja kujja n’amaanyi, era omukono gwe gujja kufuga.” (Is. 40:10) Bayibuli etera okukozesa ekigambo “omukono” mu ngeri ey’akabonero okutegeeza amaanyi. N’olwekyo, ebigambo “omukono [gwa Yakuwa] gujja kufuga” biraga nti Yakuwa Kabaka wa maanyi. Yakozesa amaanyi ge agatenkanika okuyamba n’okulwanirira abantu be mu biseera eby’emabega, era akyeyongera okuzzaamu amaanyi n’okukuuma abo abamwesiga leero.​—Ma. 1:30, 31; Is. 43:10, obugambo obuli wansi.

Tewali kya kulwanyisa kisobola kulemesa mukono gwa Yakuwa ogw’amaanyi kukuuma bantu be (Laba akatundu 12-16) *

13. (a) Okusingira ddala ddi Yakuwa lw’atuukiriza ekisuubizo kye eky’okutuwa amaanyi? (b) Kiki Yakuwa kye yatusuubiza ekitugumya era ekitunyweza?

13 Okusingira ddala Yakuwa atuukiriza ekisuubizo kye ‘eky’okutuwa amaanyi’ mu kiseera ng’abalabe baffe batuyigganya. Mu nsi ezimu, abalabe baffe bagezaako nnyo okuziyiza omulimu gwaffe ogw’okubuulira oba okuwera ekibiina kyaffe. Wadde kiri kityo, obulumbaganyi obwo tebutuleetera kweraliikirira kisukkiridde. Yakuwa alina ekintu kye yatusuubiza ekitugumya ennyo. Yagamba nti: “Tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okukulwanyisa ekiriba n’omukisa.” (Is. 54:17) Ebigambo ebyo bitujjukiza ebintu bisatu ebikulu.

14. Lwaki tekyewuunyisa nti abalabe ba Katonda batulumba?

14 Ekisooka, ffe abagoberezi ba Kristo tusuubira okukyayibwa. (Mat. 10:22) Yesu yagamba nti abayigirizwa be bandiyigganyiziddwa nnyo mu nnaku ez’enkomerero. (Mat. 24:9; Yok. 15:20) Eky’okubiri, obunnabbi bwa Isaaya bwalaga nti abalabe baffe tebandikomye ku kutukyawa naye era bandikozesezza eby’okulwanyisa eby’enjawulo okutulwanyisa. Mu by’okulwanyisa ebyo mubaddemu okutwogerako eby’obulimba mu ngeri enneekusifu oba obutereevu, n’okutuyigganya ennyo. (Mat. 5:11) Yakuwa taziyiza balabe baffe kukozesa byakulwanyisa ebyo kutulwanyisa. (Bef. 6:12; Kub. 12:17) Naye tetusaanidde kweraliikirira. Lwaki?

15, 16. (a) Kintu ki eky’okusatu kye tusaanidde okujjukira, era ekyo kikkaatirizibwa kitya mu Isaaya 25:4, 5? (b) Isaaya 41:11, 12 woogera ki ku ekyo ekinaatuuka ku abo abatulwanyisa?

15 Lowooza ku kintu eky’okusatu kye tusaanidde okujjukiranga. Yakuwa yagamba nti “Tewali kya kulwanyisa” ekirikozesebwa okutulwanyisa “ekiriba n’omukisa.” Ng’ekisenge ekinywevu bwe kisobola okutukuuma ne tutasaanyizibwawo muyaga, ne Yakuwa bw’atyo bw’atukuuma ne tutasaanyizibwawo ‘busungu bw’abakambwe.’ (Soma Isaaya 25:4, 5.) Abalabe baffe tebasobola kutukolako kabi ka lubeerera.​—Is. 65:17.

16 Yakuwa era atugumya ng’atubuulira ekyo ekigenda okutuuka ku abo ‘abatusunguwalira.’ (Soma Isaaya 41:11, 12.) Abalabe baffe ka babe nga batulwanyisa kwenkana wa, ekijja okubatuukako kye kimu. Bayibuli egamba nti abalabe bonna ab’abantu ba Katonda “bajja kumalibwawo era bajja kuzikirira.”

ENGERI GYE TUYINZA OKWONGERA OKWESIGA YAKUWA

Bwe tusoma obutayosa ebikwata ku Yakuwa, kituyamba okweyongera okumwesiga (Laba akatundu 17-18) *

17-18. (a) Okusoma Bayibuli kusobola kutya okutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa? Waayo ekyokulabirako. (b) Okufumiitiriza ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2019 kinaatuyamba kitya?

17 Bwe tweyongera okumanya Yakuwa kituyamba okweyongera okumwesiga. Era engeri gye tuyinza okweyongera okumanya Katonda kwe kusoma Bayibuli n’obwegendereza n’okufumiitiriza ku bye tusoma. Bayibuli etubuulira engeri Yakuwa gye yakuumamu abantu be mu biseera eby’edda era ekyo kituyamba okuba abakakafu nti naffe ajja kutukuuma.

18 Lowooza ku bigambo Isaaya by’akozesa okutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atukuumamu. Isaaya ageraageranya Yakuwa ku musumba ate abaweereza be n’abageraageranya ku ndiga. Ng’ayogera ku Yakuwa, Isaaya agamba nti: “Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe, era ajja kuzisitulira mu kifuba kye.” (Is. 40:11) Bwe tukuba akafaananyi nga Yakuwa atusitulidde mu mikono gye egy’amaanyi, kituleetera okuwulira obukuumi n’okuguma. Okusobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu nga twolekagana n’ebizibu, omuddu omwesigwa era ow’amagezi alonze Isaaya 41:10 okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2019. Kigamba nti: “Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo.” Fumiitirizanga ku bigambo ebyo ebizzaamu amaanyi. Bijja kukuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebijja mu maaso.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

^ lup. 5 Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2019 kiwa ensonga ssatu lwaki tusobola okusigala nga tuli bakkakkamu ne bwe wagwawo ebizibu eby’amaanyi mu nsi oba ne bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi mu bulamu bwaffe. Ekitundu kino kijja kwogera ku nsonga ezo essatu era kituyambe obuteeraliikirira kisukkiridde n’okwongera okwesiga Yakuwa. Fumiitiriza ku kyawandiikibwa ky’omwaka. Bw’oba osobola, kikwate bukusu. Kijja kukugumya osobole okwaŋŋanga ebizibu ebijja mu maaso.

^ lup. 3 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekisuubizo bye bigambo eby’amazima ebigambibwa omuntu oba abantu okubakakasa nti ekibagambiddwa kijja kubaawo. Ebintu Yakuwa by’atusuubiza bituyamba obuteeraliikirira kisukkiridde nga twolekagana n’ebizibu mu bulamu.

^ lup. 4 Ekigambo “Totya” kisangibwa emirundi esatu mu Isaaya 41:10, 13, ne 14. Era mu nnyiriri ezo ebigambo, “nze,” “nja,” ne “ndi” birabika enfunda n’enfunda (nga Yakuwa kennyini yeeyogerako). Lwaki Yakuwa yaluŋŋamya Isaaya okukozesa ebigamba ebyo enfunda n’enfunda? Yali ayagala kukkaatiriza ensonga eno enkulu: Tetusobola kuguma okuggyako nga twesize Yakuwa.

^ lup. 52 EKIFAANANYI: Ab’omu maka agamu, ng’omu ayolekagana n’okugezesebwa ku mulimu, omulala nga mulwadde, omulala avumibwa ng’abuulira, ate omulala asekererwa ku ssomero.

^ lup. 54 EKIFAANANYI: Abajulirwa ba Yakuwa nga bakuŋŋaanidde mu maka g’ow’oluganda omu era nga poliisi ebazinzeeko naye nga tebatidde.

^ lup. 56 EKIFAANANYI: Okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa kituyamba okugumira ebizibu.