Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4

“Omwoyo gwa Katonda Guwa Obujulirwa”

“Omwoyo gwa Katonda Guwa Obujulirwa”

“Omwoyo gwa Katonda guwa obujulirwa n’omwoyo gwaffe nti tuli baana ba Katonda.”​—BAR. 8:16.

OLUYIMBA 25 Ekintu kya Katonda Ekiganzi

OMULAMWA *

Mu ngeri eyeewuunyisa, Yakuwa yafuka omwoyo omutukuvu ku Bakristaayo nga 120 ku Pentekooti (Laba akatundu 1-2)

1-2. Kintu ki ekyewuunyisa ekyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E.?

OLUNAKU lwa Ssande ku makya mu Yerusaalemi. Omwaka gwa 33 E.E., era lunaku lwa Pentekooti. Abayigirizwa nga 120 bakuŋŋaanidde mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba emu. (Bik. 1:13-15; 2:1) Ennaku ntono emabega, Yesu yabagamba basigale mu Yerusaalemi kubanga baali baakuweebwa ekirabo eky’enjawulo. (Bik. 1:4, 5) Kiki ekiddirira?

2 ‘Amangu ago wabaawo okuwuuma okuva mu ggulu nga kulinga okw’embuyaga ey’amaanyi.’ Okuwuuma okwo kuwulirwa mu nju yonna. Oluvannyuma, “ennimi eziringa ez’omuliro” zirabika ku mitwe gy’abayigirizwa era bonna “bajjula omwoyo omutukuvu.” (Bik. 2:2-4) Mu ngeri eyo eyeewuunyisa, Yakuwa afuka omwoyo gwe omutukuvu ku bayigirizwa abo. (Bik. 1:8) Abayigirizwa abo be baasooka okufukibwako omwoyo omutukuvu * ne baweebwa essuubi ery’okufugira awamu ne Yesu mu ggulu.

KIKI EKIBAAWO NG’OMUNTU AFUKIDDWAKO OMWOYO OMUTUKUVU?

3. Lwaki abo abaaliwo ku Pentekooti tebaalina kubuusabuusa kwonna nti baafukibwako omwoyo omutukuvu?

3 Singa wali omu ku bayigirizwa abo abaakuŋŋaanira mu kisenge ekya waggulu ku lunaku olwo, tewandyerabidde ekyo ekyaliwo. Wandibadde olabye ekintu ekiringa olulimi lw’omuliro nga kitudde ku mutwe gwo era n’otandika okwogera mu nnimi! (Bik. 2:5-12) Wandibadde tolina kubuusabuusa kwonna nti wafukibwako omwoyo omutukuvu. Naye abo bonna abafukibwako omwoyo omutukuvu gubafukibwako mu ngeri eyeewuunyisa era mu kiseera kye kimu? Nedda. Ekyo tukimanya tutya?

4. Abaafukibwako omwoyo omutukuvu mu kyasa ekyasooka gwabafukibwako mu kiseera kye kimu? Nnyonnyola.

4 Ka tusooke tulabe ddi omuntu lw’afukibwako omwoyo omutukuvu. Abayigirizwa abo abaali bawera nga 120 si be bokka abaafukibwako omwoyo omutukuvu ku Pentekooti eya 33 E.E. Oluvannyuma ku lunaku olwo lwennyini abantu abalala nga 3,000 baafukibwako omwoyo omutukuvu. Baafukibwako omwoyo omutukuvu bwe baabatizibwa. (Bik. 2:37, 38, 41) Naye mu myaka egyaddirira si buli Mukristaayo eyafukibwako omwoyo omutukuvu nti yagufukibwako ku lunaku lwe yabatizibwa. Abasamaliya baafukibwako omwoyo omutukuvu nga wayise ekiseera nga bamaze okubatizibwa. (Bik. 8:14-17) Ate ye Koluneeriyo n’ab’omu nju ye baafukibwako omwoyo omutukuvu nga tebannaba na kubatizibwa, ekintu ekitali kya bulijjo.​—Bik. 10:44-48.

5. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 1:21, 22, kiki ekibaawo ng’omuntu afukiddwako omwoyo omutukuvu?

5 Kati ka tulabe ekibaawo ng’omuntu afukiddwako omwoyo omutukuvu. Abamu ku abo abafukibwako omwoyo omutukuvu kibazibuwalira okukikkiriza nti Yakuwa abalonze. Bayinza okwebuuza, ‘Lwaki Katonda annonze?’ Ate abalala bayinza obutawulira batyo. Omuntu k’abe ng’awulidde atya, omutume Pawulo yalaga ekibaawo ng’omuntu afukiddwako omwoyo omutukuvu. Yagamba: “Bwe mwamala okukkiriza, Katonda yabateekako akabonero * ng’akozesa omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa, nga bwe bukakafu obulaga nti tujja kufuna obusika bwaffe.” (Bef. 1:13, 14) Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okumanyisa obulungi Abakristaayo abo nti abalonze. Mu ngeri eyo, omwoyo omutukuvu “bukakafu [kakalu oba kisuubizo]” obubaweebwa okubakakasa nti mu biseera eby’omu maaso bajja kubeera mu ggulu emirembe n’emirembe, so si ku nsi.​—Soma 2 Abakkolinso 1:21, 22.

6. Kiki Omukristaayo eyafukibwako omwoyo omutukuvu ky’alina okukola okusobola okufuna empeera ey’omu ggulu?

6 Omukristaayo bw’afukibwako omwoyo omutukuvu, kiba kitegeeza nti mu buli ngeri ajja kufuna empeera ey’okugenda mu ggulu? Nedda. Aba mukakafu nti alondeddwa okugenda mu ggulu. Naye alina okujjukira okubuulirira kuno: “Ab’oluganda, mufube nnyo okusigala nga muli beesigwa ng’abo abaayitibwa era abaalondebwa; kubanga bwe mweyongera okukola ebintu bino, temujja kugwa.” (2 Peet. 1:10) N’olwekyo, wadde ng’Omukristaayo eyafukibwako omwoyo omutukuvu aba yalondebwa, oba yayitibwa, aba alina okusigala nga mwesigwa okusobola okufuna empeera eyo.​—Baf. 3:12-14; Beb. 3:1; Kub. 2:10.

OMUNTU AMANYA ATYA NTI YALONDEBWA OKUGENDA MU GGULU?

7. Abaafukibwako amafuta bamanya batya nti baayitibwa okugenda mu ggulu?

7 Naye omuntu amanya atya nti yayitibwa okugenda mu ggulu? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kisangibwa mu bigambo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Rooma “abaayitibwa okubeera abatukuvu.” Yabagamba nti: “Temwaweebwa mwoyo gwa buddu oguleeta okutya nate, naye mwaweebwa omwoyo ogw’okubafuula abaana, era olw’omwoyo ogwo twogerera waggulu nti, ‘Abba!Omwoyo gwa Katonda guwa obujulirwa n’omwoyo gwaffe nti tuli baana ba Katonda.” (Bar. 1:7; 8:15, 16) N’olwekyo, Yakuwa akozesa omwoyo omutukuvu okumanyisa abaafukibwako amafuta nti baayitibwa okugenda mu ggulu.​—1 Bas. 2:12.

8. Ebyo ebiri mu 1 Yokaana 2:20, 27 biraga bitya nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebeetaaga muntu yenna kubakakasa nti baalondebwa?

8 Yakuwa bw’alonda omuntu okugenda mu ggulu, omuntu oyo tamulekaamu kubuusabuusa kwonna nti yamulonda. (Soma 1 Yokaana 2:20, 27.) Kya lwatu nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta beetaaga Yakuwa okubayigiriza ng’ayitira mu kibiina, okufaananako Abakristaayo abalala bonna. Naye tebeetaaga muntu yenna kubakakasa nti baafukibwako omwoyo omutukuvu. Yakuwa aba yakozesa amaanyi agasingayo, nga guno gwe mwoyo omutukuvu, okukyoleka obulungi gye bali nti baalondebwa!

‘BAAZAALIBWA OMULUNDI OGW’OKUBIRI’

9. Okusinziira ku Abeefeso 1:18, nkyukakyuka ki omuntu gy’afuna ng’afukiddwako omwoyo omutukuvu?

9 Abaweereza ba Katonda abasinga obungi kibazibuwalira okutegeera ekyo ekituuka ku muntu nga Katonda amufuseeko omwoyo omutukuvu. Ekyo kitegeerekeka kubanga bo baba tebaafukibwako mwoyo mutukuvu. Katonda yatonda abantu nga ba kubeera ku nsi emirembe gyonna, so si mu ggulu. (Lub. 1:28; Zab. 37:29) Naye abantu abamu Yakuwa abalonze okugenda okubeera mu ggulu. N’olwekyo, bw’abafukako omwoyo gwe omutukuvu, akyusa essuubi lye balina era akyusa n’endowooza yaabwe ne kiba nti kati baba beesunga kubeera mu ggulu.​—Soma Abeefeso 1:18.

10. Kitegeeza ki ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri’? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

10 Abakristaayo bwe bafukibwako omwoyo omutukuvu, baba ‘bazaaliddwa omulundi ogw’okubiri’ oba baba ‘bazaaliddwa okuva waggulu.’ * Yesu era yakiraga nti tekisoboka kunnyonnyola muntu ataafukibwako mwoyo mutukuvu engeri omuntu gy’awuliramu ‘ng’azaaliddwa omulundi ogw’okubiri’ oba ‘ng’azaaliddwa omwoyo’​—Yok. 3:3-8, obugambo obuli wansi.

11. Nkyukakyuka ki ebaawo mu ndowooza y’omuntu ng’afukiddwako omwoyo omutukuvu?

11 Nkyukakyuka ki ebaawo mu ndowooza y’Omukristaayo ng’afukiddwako omwoyo omutukuvu? Yakuwa bw’aba tannamulonda, Omukristaayo oyo aba yeesunga okubeera ku nsi emirembe gyonna. Aba yeesunga ekiseera Yakuwa lw’anaggyawo ebintu ebibi byonna n’afuula ensi olusuku lwe. Ayinza okuba nga yakubanga akafaananyi ng’ayaniriza ab’eŋŋanda ze oba mikwano gye abaafa. Naye bw’amala okufukibwako omwoyo omutukuvu, endowooza ye ekyuka. Lwaki? Tekiri nti enkizo ey’okubeera ku nsi aba takyagitawala ng’ey’omuwendo. Era endowooza ye tekyuka lwa kuba nti alina ebizibu oba lwa kuba nti abonyeebonye nnyo. Ate era aba teyatandika kuwulira nti tajja kunyumirwa kubeera ku nsi emirembe gyonna. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okukyusa engeri gy’alowoozaamu n’essuubi ly’alina.

12. Okusinziira ku 1 Peetero 1:3, 4, abaafukibwako amafuta batwala batya essuubi lye balina?

12 Omuntu eyafukibwako omwoyo omutukuvu ayinza okuwulira nti enkizo eyo temugwanira. Naye tabaamu kubuusabuusa wadde akatono bwe kati nti Yakuwa yamulonda. Asanyuka nnyo era asiima nnyo bw’alowooza ku ssuubi ly’alina ery’okubeera mu ggulu.​—Soma 1 Peetero 1:3, 4.

13. Abaafukibwako amafuta batwala batya obulamu bwe balina ku nsi?

13 Ekyo kitegeeza nti abaafukibwako amafuta baba baagala bafe? Omutume Pawulo yaddamu ekibuuzo ekyo. Yageraageranya omubiri gwe balina nga bakyali ku nsi ku weema, n’agamba nti: “Mu butuufu, ffe abali mu weema eno tusinda, nga tuzitoowererwa, si lwa kuba nti twagala okugyeyambulako naye lwa kuba twagala okwambala eri endala, obulamu obutaggwaawo busobole okumira omubiri ogufa.” (2 Kol. 5:4) N’olwekyo, tekiri nti Abakristaayo abo baba bakooye obulamu ku nsi nga baagala bafe mangu. Mu kifo ky’ekyo, banyumirwa obulamu bwe balina ku nsi era baagala okubukozesa buli lunaku okuweereza Yakuwa nga bali wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe. Naye ka babe nga bakola ki, bulijjo balowooza ku ssuubi ery’ekitalo lye balina.​—1 Kol. 15:53; 2 Peet. 1:4; 1 Yok. 3:2, 3; Kub. 20:6.

YAKUWA YAKUFUKAKO OMWOYO OMUTUKUVU?

14. Bintu ki ebitalaga nti omuntu yafukibwako omwoyo omutukuvu?

14 Oboolyawo weebuuza obanga wafukibwako omwoyo omutukuvu. Bwe kiba kityo, lowooza ku bibuuzo bino ebikulu: Oyagala nnyo okukola Yakuwa by’ayagala? Owulira ng’oli munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira? Oyagala nnyo okusoma Ekigambo kya Katonda n’okutegeera ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba’? (1 Kol. 2:10) Owulira nti Yakuwa akuwadde ebibala bingi mu mulimu gw’okubuulira? Owulira ng’oyagala nnyo okuyamba abalala mu by’omwoyo? Olabye nga Yakuwa akuyambye mu bintu bingi mu bulamu bwo? Bw’oba ng’oddamu nti yee mu bibuuzo ebyo, ekyo kitegeeza nti walondebwa okugenda mu ggulu? Nedda. Lwaki? Kubanga abaweereza ba Katonda bonna basobola okuwulira bwe batyo, ka babe nga baafukibwako omwoyo omutukuvu oba nedda. Ate era Yakuwa ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, asobola okusobozesa abaweereza be bonna okukola ebintu ebyo, ka babe nga balina ssuubi ki. Mu butuufu, bwe kiba nti weebuuza obanga wafukibwako omwoyo omutukuvu, ekyo kiraga nti tewafukibwako mwoyo mutukuvu. Abo Yakuwa be yalonda, tebaba na kubuusabuusa kwonna nti yabalonda! Ekyo baba bakimanyi bulungi!

Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okusobozesa Ibulayimu, Saala, Dawudi, ne Yokaana Omubatiza okukola ebintu ebyewuunyisa, naye teyagukozesa kubalonda kugenda kubeera mu ggulu (Laba akatundu 15-16) *

15. Tumanya tutya nti si buli omu afuna omwoyo omutukuvu nti alondebwa okugenda mu ggulu?

15 Mu Bayibuli tusoma ku baweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa abaaweebwa omwoyo omutukuvu, naye nga tebaalina ssuubi lya kugenda mu ggulu. Dawudi yakulemberwa omwoyo omutukuvu. (1 Sam. 16:13) Omwoyo omutukuvu gwamuyamba okumanya ebintu eby’ebuziba ebikwata ku Yakuwa era gwamusobozesa n’okuwandiika ebimu ku bitundu bya Bayibuli. (Mak. 12:36) Wadde kiri kityo, omutume Peetero yagamba nti Dawudi “teyagenda mu ggulu.” (Bik. 2:34) Yokaana Omubatiza ‘yajjuzibwa omwoyo omutukuvu.’ (Luk. 1:13-16) Yesu yagamba nti tewali muntu yali asinga Yokaana, kyokka era yagattako nti Yokaana tali omu ku abo abajja okufugira mu bwakabaka obw’omu ggulu. (Mat. 11:10, 11) Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okusobozesa abantu abo okukola ebintu ebyewuunyisa, naye teyagukozesa kubalonda kugenda kubeera mu ggulu. Ekyo kitegeeza nti tebaali beesigwa nnyo ng’abo abaalondebwa okugenda mu ggulu? Nedda. Ekyo kiraga bulazi nti Yakuwa ajja kubazuukiza babeere mu Lusuku lwe ku nsi emirembe gyonna.​—Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15.

16. Mpeera ki abaweereza ba Katonda abasinga obungi gye beesunga?

16 Abaweereza ba Katonda abasinga obungi abali ku nsi leero, tebalina ssuubi lya kugenda mu ggulu. Okufaananako Ibulayimu, Saala, Dawudi, Yokaana Omubatiza, n’abalala bangi aboogerwako mu Bayibuli, beesunga okubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda.​—Beb. 11:10.

17. Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

17 Olw’okuba abamu ku baafukibwako omwoyo omutukuvu bakyaliwo ku nsi, waliwo ebibuuzo ebijjawo. (Kub. 12:17) Ng’ekyokulabirako, abaafukibwako amafuta basaanidde kwetwala batya? Singa omu ku bali mu kibiina kyo atandika okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo wandimuyisizza otya? Ate watya singa omuwendo gw’abo abagamba nti baafukibwako amafuta gweyongera kulinnya, ekyo kyandikweraliikirizza? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 5 Okuva ku Pentekooti ey’omwaka gwa 33 E.E., Yakuwa azze awa Abakristaayo abamu essuubi ery’ekitalo, ery’okufugira awamu n’Omwana we mu ggulu. Abakristaayo abo bamanya abatya nti Katonda abalonze okufugira awamu n’Omwana we? Kiki ekibaawo ng’omuntu aweereddwa enkizo eyo? Ekitundu kino kyesigamiziddwa ku ekyo ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2016 era kigenda kuddamu ebibuuzo ebyo.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Okufukibwako omwoyo omutukuvu: Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okulonda omuntu okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. Akozesa omwoyo ogwo okuwa omuntu oyo ekisuubizo, oba ‘obukakafu.’ (Bef. 1:13, 14) Abakristaayo abo basobola okugamba nti omwoyo omutukuvu ‘gubawa obujulirwa,’ oba gubamanyisa bulungi nti empeera yaabwe eri mu ggulu.​—Bar. 8:16.

^ lup. 5 EKIGAMBO EKINNYONNYOLWA: Akabonero. Akabonero kano tekaba ka nkalakkalira okutuusa awo ng’omuntu oyo anaatera okufa nga mwesigwa oba ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika.​—Bef. 4:30; Kub. 7:2-4; laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 2016.

^ lup. 10 Okumanya ebisingawo ku ‘kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri’ laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna ogwa Jjulaayi 1, 2009, lup. 3-12.

OLUYIMBA 27 Okubikkulibwa kw’Abaana ba Katonda

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Ka tube nga tusibiddwa mu kkomera olw’okukkiriza kwaffe oba nga tulina eddembe okubuulira n’okuyigiriza abalala amazima, twesunga okubeera ku nsi nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda.