Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2

Bye Tuyigira ku ‘Muyigirizwa Yesu Gwe Yali Ayagala Ennyo’

Bye Tuyigira ku ‘Muyigirizwa Yesu Gwe Yali Ayagala Ennyo’

“Tweyongere okwagalana, kubanga okwagala kuva eri Katonda.”​—1 YOK. 4:7.

OLUYIMBA 105 “Katonda Kwagala”

OMULAMWA *

1. Okwagala Katonda kw’alina kukuleetera kuwulira otya?

OMUTUME YOKAANA yawandiika nti: “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Ebigambo ebyo bitujjukiza ekintu kino ekikulu: Katonda Ensibuko y’obulamu, era ye Nsibuko y’okwagala. Yakuwa atwagala nnyo! Okwagala kw’alina kutuleetera essanyu, kutuleetera okuwulira nga tulina obukuumi, era kutuleetera okuwulira nga tetulina kye tujula.

2. Okusinziira ku Matayo 22:37-40, ebiragiro ebibiri ebisinga obukulu bye biruwa, era lwaki kiyinza okutubeerera ekizibu okugondera ekiragiro eky’okubiri?

2 Abakristaayo tuteekeddwa okwoleka okwagala. Kiragiro ekyatuweebwa. (Soma Matayo 22:37-40.) Bwe tumanya obulungi Yakuwa, kiyinza okutubeerera ekyangu okugondera ekiragiro ekisooka. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa atuukiridde, atufaako, era atulaga ekisa. Naye kiyinza okutubeerera ekizibu okugondera ekiragiro eky’okubiri. Lwaki? Kubanga baganda baffe ne bannyinaffe, nga be bamu ku bantu be tusinga okukolagana nabo, tebatuukiridde. N’olwekyo oluusi ebintu bye boogera oba bye bakola biyinza okutulumya. Yakuwa yali akimanyi nti twandyolekaganye n’okusoomooza kuno, bwe kityo yaluŋŋamya abamu ku bawandiisi ba Bayibuli okuwandiika ku nsonga lwaki tusaanidde okulaga abalala okwagala, n’engeri gye tuyinza okukwolekamu. Omu ku bawandiisi abo ye Yokaana.​—1 Yok. 3:11, 12.

3. Kiki Yokaana kye yakkaatiriza?

3 Mu bye yawandiika, Yokaana yakikkaatiriza nti Abakristaayo balina okwoleka okwagala. Mu butuufu, mu ebyo bye yawandiika ebikwata ku bulamu bwa Yesu, Yokaana akozesa ekigambo “okwagala” emirundi mingi okusinga abawandiisi b’Enjiri abalala abasatu bonna ng’obagasse wamu. Yokaana yalina emyaka nga kikumi we yawandiikira Enjiri ya Yokaana n’amabaluwa asatu. Ebyo bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika biraga nti okwagala kulina okweyolekera mu buli kimu Omukristaayo ky’akola. (1 Yok. 4:10, 11) Kyokka Yokaana kyamutwalira ekiseera okuyiga ekintu ekyo.

4. Okuva emabega Yokaana yalinga alaga abalala okwagala?

4 Yokaana bwe yali akyali muvubuka, oluusi teyalaganga balala kwagala. Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu n’abayigirizwa be baayita mu Samaliya nga bagenda e Yerusaalemi. Abantu b’omu kyalo ekimu mu Samaliya baagaana okubasembeza. Kiki Yokaana kye yakola? Ye ne muganda we baayagala okuyita omuliro okuva mu ggulu, gukke gwokye abantu b’oku kyalo ekyo! (Luk. 9:52-56) Ku mulundi omulala, Yokaana yalemererwa okulaga batume banne okwagala. Kirabika ye ne muganda we Yakobo be baagamba maama waabwe asabe Yesu abawe ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka. Abatume abalala bwe baamanya ekyo Yakobo ne Yokaana kye baali bakoze, baanyiiga nnyo! (Mat. 20:20, 21, 24) Wadde nga Yokaana yayoleka obunafu obwo, Yesu yali amwagala nnyo.​—Yok. 21:7.

5. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

5 Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenya ekyokulabirako Yokaana kye yassaawo, n’ebimu ku bintu bye yawandiika ku kwagala. Ekyo kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okulaga baganda baffe ne bannyinaffe okwagala. Ate era tugenda kulaba engeri emu enkulu omutwe gw’amaka gy’ayinza okulagamu ab’omu maka ge okwagala.

ENGERI Y’OKULAGAMU OKWAGALA

Yakuwa yakiraga nti atwagala nnyo bwe yasindika Omwana we ku nsi okutufiirira (Laba akatundu 6-7)

6. Yakuwa akiraze atya nti atwagala?

6 Emirundi mingi tulowooza nti okwagala ye nneewulira ennungi gye tuba nayo eri abalala, era gye tusobola n’okwoleka mu bigambo eby’ekisa bye twogera nabo. Naye okwagala okwa nnamaddala kulina okubaako ebikolwa. (Geraageranya Yakobo 2:17, 26.) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atwagala. (1 Yok. 4:19) Era okwagala okwo kweyolekera mu bigambo ebirungi bye yawandiisa mu Bayibuli. (Zab. 25:10; Bar. 8:38, 39) Naye ebyo Yakuwa bye yayogera si bye byokka ebituleetera okuba abakakafu nti atwagala. Okwagala kwe kweyolekera ne mu ebyo by’atukolera. Yokaana yagamba nti: “Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa gye tuli, Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye.” (1 Yok. 4:9) Yakuwa yaleka Omwana we gw’ayagala ennyo okubonaabona era n’atufiirira. (Yok. 3:16) Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa atwagala nnyo.

7. Kiki Yesu kye yakola ekikakasa nti atwagala?

7 Yesu yakakasa abayigirizwa be nti yali abaagala nnyo. (Yok. 13:1; 15:15) Yakiraga nti abaagala nnyo era nti naffe atwagala nnyo, si mu ebyo byokka bye yayogera, wabula ne bye yakola. Yagamba nti: “Tewali alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.” (Yok. 15:13) Okulowooza ku ebyo Yakuwa ne Yesu bye batukoledde, kyanditukutteko kitya?

8. Okusinziira ku 1 Yokaana 3:18 kiki kye tulina okukola?

8 Tukiraga nti twagala Yakuwa ne Yesu nga tubagondera. (Yok. 14:15; 1 Yok. 5:3) Ate era Yesu yatulagira okwagalana. (Yok. 13:34, 35) Tulina okulaga baganda baffe okwagala si mu bigambo byokka, wabula ne mu bikolwa. (Soma 1 Yokaana 3:18.) Biki bye tuyinza okukola okukiraga nti tubaagala?

YAGALA BAKKIRIZA BANNO

9. Kiki okwagala kye kwaleetera Yokaana okukola?

9 Yokaana yali asobola okusalawo okusigala ne kitaawe n’akola ssente mu bizineesi yaabwe ey’ebyennyanja. Naye yasalawo okukozesa ekiseera ky’obulamu bwe ekyali kisigaddeyo okuyamba abalala okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa ne Yesu. Obulamu Yokaana bwe yalondawo tebwali bwangu. Yayigganyizibwa era bwe yali ng’akaddiye, awo ng’ekyasa ekisooka kinaatera okuggwaako, yawaŋŋangusibwa. (Bik. 3:1; 4:1-3; 5:18; Kub. 1:9) Ne bwe yali ng’asibiddwa olw’okubuulira ebikwata ku Yesu, Yokaana yakiraga nti yali afaayo ku balala. Ng’ekyokulabirako, bwe yali ku kizinga ky’e Patumo yawandiika ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa n’abiweereza mu bibiina, ab’oluganda basobole okumanya “ebiteekwa okubaawo amangu.” (Kub. 1:1) Era kirabika oluvannyuma lw’okusumululwa okuva e Patumo, Yokaana yawandiika ebyo ebiri mu kitabo ky’Enjiri ya Yokaana ebikwata ku bulamu bwa Yesu, n’obuweereza bwe. Ate era yawandiika n’amabaluwa asatu okusobola okuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubagumya. Oyinza otya okukoppa Yokaana?

10. Oyinza otya okukiraga nti oyagala abantu?

10 Osobola okukiraga nti oyagala abantu okuyitira mu ngeri gy’osalawo okukozesaamu obulamu bwo. Ensi ya Sitaani eyagala okozese ebiseera byo n’amaanyi go okwenoonyeza ebibyo, nga weekolera ssente oba nga weekolera erinnya. Naye bo ababuulizi b’Obwakabaka okwetooloola ensi yonna, bawaayo ebiseera bingi nga bwe kisoboka okubuulira abantu amawulire amalungi n’okubayamba okusemberera Yakuwa. Abamu beenyigira mu mulimu ogwo ekiseera kyonna.

Tukiraga nti twagala bakkiriza bannaffe n’ab’omu maka gaffe okuyitira mu ebyo bye tubakolera (Laba akatundu 11, 17) *

11. Ababuulizi bangi abeesigwa bakiraze batya nti baagala Yakuwa ne baganda baabwe?

11 Abakristaayo bangi abeesigwa bakola emirimu egy’ekiseera kyonna basobole okweyimirizaawo n’ab’omu maka gaabwe. Wadde kiri kityo, ababuulizi abo bakola kyonna ekisoboka okuwagira ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, abamu bayambako mu kudduukirira abo abakoseddwa obutyabaga, abalala bayambako mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, ate buli omu alina akakisa okuwaayo ssente okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Ebintu ebyo babikola olw’okuba baagala Katonda ne bantu bannaabwe. Buli wiiki tukiraga nti twagala baganda baffe, nga tubaawo mu nkuŋŋaana era nga tuzeenyigiramu. Wadde nga tuyinza okuba abakoowu, tubaawo mu nkuŋŋaana ezo. Wadde nga tuyinza okuba n’ekiwuggwe, tufuba okubaako kye tuddamu. Wadde nga ffenna tuba n’ebizibu ebyaffe ku bwaffe, tuzzaamu abalala amaanyi ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. (Beb. 10:24, 25) Mazima ddala tusiima nnyo ebyo bakkiriza bannaffe bye bakola!

12. Engeri endala Yokaana gye yalagamu bakkiriza banne okwagala y’eruwa?

12 Yokaana yalaga bakkiriza banne okwagala ng’abasiima era ng’abawabula. Ng’ekyokulabirako, mu mabaluwa ge yawandiika, yasiima bakkiriza banne olw’okukkiriza kwabwe n’olw’ebikolwa byabwe ebirungi, naye era yabawabula ku bikwata ku kibi. (1 Yok. 1:8–2:1, 13, 14) Naffe tusaanidde okusiima bakkiriza bannaffe olw’ebintu ebirungi bye bakola. Naye singa omuntu atandika okwoleka endowooza embi oba okukola ekintu ekisobola okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa, tusaanidde okumulaga okwagala nga tumuwabula mu ngeri ey’amagezi. Kyetaagisa obuvumu okusobola okuwabula mukwano gwaffe, naye Bayibuli egamba nti ab’omukwano aba nnamaddala, buli omu awagala oba awabula munne.​—Nge. 27:17.

13. Kiki kye tusaanidde okwewala okukola?

13 Oluusi tukiraga nti twagala baganda baffe okuyitira mu ebyo bye tusalawo obutakola. Ng’ekyokulabirako, tusalawo obutanyiiga mangu olw’ebyo bye baba boogedde. Lowooza ku kintu ekimu ekyaliwo Yesu bwe yali anaatera okumaliriza obuweereza bwe ku nsi. Yagamba abayigirizwa be nti okusobola okufuna obulamu, baalina okulya omubiri gwe n’okunywa omusaayi gwe. (Yok. 6:53-57) Ebigambo ebyo byaleetera abayigirizwa be bangi okwesisiwala era ne bamuvaako. Naye mikwano gye egya nnamaddala, nga mwe mwali ne Yokaana, bo baamunywererako. Nabo tebaategeera ebyo Yesu bye yayogera, era kirabika byabeewuunyisa. Naye tebaakitwala nti ebyo bye yali ayogedde byali bikyamu, era tebyabanyiiza. Mu kifo ky’ekyo baamwesiga, nga bakimanyi nti ayogera mazima. (Yok. 6:60, 66-69) Nga kikulu nnyo obutanguwa kunyiiga olw’ebyo mikwano gyaffe bye baba boogedde! Mu kifo ky’ekyo, tubawa akakisa okunnyonnyola ekyo kye babadde bategeeza.​—Nge. 18:13; Mub. 7:9.

14. Lwaki tetulina kukyawa baganda baffe?

14 Yokaana era yatukubiriza obutakyawa baganda baffe. Bwe tutakolera ku kubuulirira okwo, Sitaani ayinza okutukozesa okutuukiriza ebigendererwa bye. (1 Yok. 2:11; 3:15) Ekyo kye kyatuuka ku bamu ku abo abaaliwo ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka E.E. Sitaani yali akola kyonna ekisoboka okuleetawo obukyayi n’enjawukana mu bantu ba Katonda. Yokaana we yawandiikira amabaluwa ge, abantu abaali booleka omwoyo ng’ogwa Sitaani baali bebbiridde ne bayingira mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Diyotuleefe yali aleetawo enjawukana mu kimu ku bibiina. (3 Yok. 9, 10) Yali tawa kitiibwa abo abaabanga bakiikiridde akakiiko akafuzi. Yagezaako n’okugoba mu kibiina abo abaasembezanga abantu be yabanga tayagala. Ekyo nga kyali kibi nnyo! Sitaani akyafuba nnyo okulaba nti aleetawo enjawukana mu bantu ba Katonda. N’olwekyo, ka tuleme kukkiriza mulundi na gumu kukyawa bakkiriza bannaffe.

YAGALA AB’OMU MAKA GO

Yesu yakwasa Yokaana obuvunaanyizibwa obw’okulabirira maama we mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Emitwe gy’amaka leero balina okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe (Laba akatundu 15-16)

15. Kiki omutwe gw’amaka ky’asaanidde okujjukira?

15 Engeri emu enkulu omutwe gw’amaka gy’akiragamu nti ayagala ab’omu maka ge, kwe kukola ku byetaago byabwe eby’omubiri. (1 Tim. 5:8) Kyokka asaanidde okukijjukira nti ebintu eby’omubiri tebikola ku bwetaavu bw’ab’omu maka ge obw’eby’omwoyo. (Mat. 5:3) Weetegereze ekyokulabirako Yesu kye yateerawo emitwe gy’amaka. Okusinziira ku Njiri ya Yokaana, Yesu bwe yali ku muti ogw’okubonaabona ng’anaatera okufa, yali akyalowooza ku b’omu maka mwe yakulira. Yokaana yali ayimiridde kumpi ne Maliyamu, maama wa Yesu, mu kifo Yesu we yali akomereddwa. Wadde nga Yesu yali mu bulumi bwa maanyi, yakola enteekateeka Yokaana alabirire Maliyamu. (Yok. 19:26, 27) Yesu yalina baganda be abandibadde basobola okukola ku byetaago bya maama we eby’omubiri, naye kirabika tewali n’omu ku bo eyali afuuse omugoberezi we. N’olwekyo Yesu yali ayagala okukakasa nti Maliyamu alabirirwa bulungi mu by’omubiri ne mu by’omwoyo.

16. Buvunaanyizibwa ki Yokaana bwe yalina?

16 Yokaana yalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Olw’okuba yali omu ku batume, y’omu ku abo abaali bawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira. Ate era ayinza okuba nga yali mufumbo. Bwe kiba kityo, yalina okufaayo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omubiri n’eby’omwoyo. (1 Kol. 9:5) Biki emitwe gy’amaka leero bye bayinza okumuyigirako?

17. Lwaki kikulu omutwe gw’amaka okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omwoyo?

17 Ow’oluganda nga mutwe gwa maka ayinza okuba n’obuvunaanyizibwa bungi. Ng’ekyokulabirako, alina okukola n’obunyiikivu omulimu gwe, ekyo kisobole okuweesa Yakuwa ekitiibwa. (Bef. 6:5, 6; Tit. 2:9, 10) Ate era ayinza okuba ng’alina obuvunaanyizibwa mu kibiina, gamba ng’aweereza ng’omukadde era ng’awoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka era kiba kimwetaagisa okusoma Bayibuli obutayosa ne mukyala we n’abaana be. Ab’omu maka ge basiima nnyo ebyo by’akola okubayamba okusigala nga balamu bulungi, nga basanyufu, era nga balina enkolagana ennungi ne Katonda.​—Bef. 5:28, 29; 6:4.

‘MUSIGALE MU KWAGALA KWANGE’

18. Yokaana yali mukakafu ku ki?

18 Yokaana yawangaala nnyo era yayita mu bintu bingi. Yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu ebyandibadde bisobola okunafuya okukkiriza kwe. Naye bulijjo yafubanga okukwata ebiragiro bya Yesu, nga mwe muli n’ekyo eky’okwagala bakkiriza banne. Olw’okuba Yokaana yakola bw’atyo, yali mukakafu nti Yakuwa ne Yesu baali bamwagala, era nti bandimuwadde amaanyi okwaŋŋanga ekigezo kyonna. (Yok. 14:15-17; 15:10; 1 Yok. 4:16) Tewali kintu kyonna Sitaani oba ensi ye, kye baali basobola okukola okulemesa Yokaana okwoleka okwagala mu bigambo ne mu bikolwa.

19. Kiki 1 Yokaana 4:7 kye watukubiriza okukola, era lwaki?

19 Okufaananako Yokaana, naffe tuli mu nsi efugibwa Sitaani, katonda w’enteekateeka eno ajjudde obukyayi. (1 Yok. 3:1, 10) Wadde ng’ayagala okutuleetera okulekera awo okwagala bakkiriza bannaffe, ekyo tasobola kutuleetera kukikola okuggyako nga tumukkirizza. Ka tube bamalirivu okwagala bakkiriza bannaffe, ng’okwagala okwo tukwoleka mu bye twogera, ne mu bye tukola. Bwe tukola tutyo, tuba ba mu maka ga Yakuwa, era tuba n’essanyu lingi nnyo.​—Soma 1 Yokaana 4:7.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

^ lup. 5 Omutume Yokaana alowoozebwa okuba nga ye ‘muyigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo.’ (Yok. 21:7) N’olwekyo ne bwe yali akyali muvubuka, ateekwa okuba nga yalina engeri nnyingi ennungi. Nga wayise emyaka mingi, Yakuwa yamukozesa okuwandiika ebintu bingi ebikwata ku kwagala. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebimu ku ebyo Yokaana bye yawandiika, era tugenda kulaba bye tuyinza okumuyigirako.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Omutwe gw’amaka alina eby’okukola ebingi ayambako mu kudduukirira abakoseddwa akatyabaga, awagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna ng’abaako ky’awaayo, era ayise abalala okumwegattako ye n’ab’omu maka ge mu kusinza kw’amaka.