Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4

Mweyongere Okwagalana Ennyo

Mweyongere Okwagalana Ennyo

“Mu kwagalana ng’ab’oluganda, buli omu ayagalenga nnyo munne.”​—BAR. 12:10.

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

OMULAMWA *

1. Leero abantu bakiraze batya nti tebaagala baŋŋanda zaabwe?

BAYIBULI yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero abantu bandibadde ‘tebaagala baŋŋanda’ zaabwe. (2 Tim. 3:1, 3) Obunnabbi obwo tubulaba nga butuukirira leero. Ng’ekyokulabirako, obufumbo bungi busattulukuse, abazadde ne basigala nga buli omu anyiigidde munne era abaana ne basigala nga bawulira tebaagalibwa. N’ab’omu maka ababeera awamu buli omu ayinza okuba ng’ali ku lulwe. Omuwi w’amagezi omu ku nsonga z’amaka agamba nti: “Bamaama, bataata, n’abaana buli omu takyanyumya na munne. Ebiseera byabwe babimalira ku kompyuta, ku tabbuleeti, ku masimu, oba ku mizannyo. Wadde ng’abantu abo babeera mu maka gamu, buli omu aba tategeera munne.”

2-3. (a) Okusinziira Abaruumi 12:10, baani be tusaanidde okwagala ennyo? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Tetwagala kuba ng’abantu mu nsi ya Sitaani abatalina kwagala. (Bar. 12:2) Tusaanidde okwagala ennyo ab’eŋŋanda zaffe ne bakkiriza bannaffe. (Soma Abaruumi 12:10.) Ebigambo ‘okwagalana ennyo’ bitegeeza ki? Ekigambo ekyavvuunulwa ‘okwagalana ennyo’ kirina amakulu ag’omukwano ogubaawo wakati w’ab’oluganda abazaalibwa awamu. Okwo kwe kwagala kwe tulina okulaga bakkiriza bannaffe. Bwe twagala ennyo bakkiriza bannaffe kiyamba mu kunyweza obumu, ate ng’obumu bukulu nnyo mu kusinza okw’amazima.​—Mi. 2:12.

3 Okusobola okulaba engeri gye tuyinza okukulaakulanyamu okwagala ng’okwo, ka tulabeyo ebyokulabirako ebimu okuva mu Bayibuli.

“YAKUWA ALINA OKWAGALA KUNGI”

4. Yakobo 5:11, watubuulira ki ku kwagala Yakuwa kw’alina?

4 Bayibuli etubuulira ku ngeri za Yakuwa ennungi. Ng’ekyokulabirako, egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Okumanya ekyo kituleetera okwagala okubeera mikwano gye. Ate era Bayibuli egamba nti Yakuwa alina “okwagala kungi.” (Soma Yakobo 5:11.) Mazima ddala ebigambo ebyo bikyoleka bulungi nti Yakuwa atwagala nnyo!

5. Yakuwa alaga atya obusaasizi, era tuyinza tutya okumukoppa?

5 Weetegereze nti Yakobo 5:11 wakwataganya okwagala kwa Yakuwa okungi n’obusaasizi bwe, era ng’ekyo nakyo kituleetera okwagala okumusemberera. (Kuv. 34:6) Engeri emu Yakuwa gy’atulagamu obusaasizi kwa kutusonyiwa ensobi zaffe. (Zab. 51:1) Mu Bayibuli, obusaasizi busingawo ku kusonyiwa obusonyiyi ensobi. Obusaasizi buzingiramu enneewulira ey’amaanyi omuntu gy’afuna bw’alaba abalala nga babonaabona era n’abaako ky’akolawo okubayamba. Yakuwa agamba nti engeri gy’ayagalamu okutuyamba esingira wala enneewulira maama gy’aba nayo eri omwana we. (Is. 49:15) Bwe tuba nga tubonaabona, obusaasizi bwa Yakuwa bumuleetera okutuyamba. (Zab. 37:39; 1 Kol. 10:13) Tusobola okulaga bakkiriza bannaffe obusaasizi nga tubasonyiwa era nga tetubasibira kiruyi. (Bef. 4:32) Ate era tusobola okubalaga obusaasizi nga tubayamba nga boolekagana n’ebizibu. Okwagala bwe kutuleetera okulaga abalala obusaasizi tuba tukoppa Yakuwa, Oyo assaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obusaasizi.​—Bef. 5:1.

YONASAANI NE DAWUDI ‘BAAFUUKA BA MUKWANO NNYO’

6. Yonasaani ne Dawudi baakiraga batya nti baali baagalana nnyo?

6 Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaali batatuukiridde abaali baagalana ennyo. Lowooza ku Yonasaani ne Dawudi. Bayibuli egamba nti: ‘Yonasaani ne Dawudi baafuuka ba mukwano nnyo, Yonasaani n’atandika okwagala Dawudi nga bwe yali yeeyagala.’ (1 Sam. 18:1) Yakuwa yali alonze Dawudi okudda mu bigere bya Kabaka Sawulo. Ekyo kyaleetera Sawulo okukwatirwa Dawudi obuggya n’atuuka n’okwagala okumutta. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo teyeegatta ku kitaawe mu kwagala okutta Dawudi. Yonasaani ne Dawudi buli omu yasuubiza okunywerera ku munne n’okumuyamba.​—1 Sam. 20:42.

Enjawulo mu myaka teyalemesa Yonasaani ne Dawudi kwagalana nnyo (Laba akatundu 6-9)

7. Ekimu ku bintu ebyali biyinza okulemesa Dawudi ne Yonasaani okufuuka ab’omukwano kye kiruwa?

7 Kyewuunyisa okuba nti Yonasaani ne Dawudi baali ba mukwano nnyo kubanga waliwo ebintu bingi ebyali bisobola okubalemesa okuba ab’omukwano. Ng’ekyokulabirako, Yonasaani yali asinga Dawudi emyaka nga 30. Yonasaani yali asobola okugamba nti tewali kiyinza kubagatta na Dawudi eyali omuto ennyo ku ye era nga talina bumanyirivu bungi mu bulamu. Naye Yonasaani teyanyooma Dawudi.

8. Lwaki olowooza nti Yonasaani yali wa mukwano mulungi eri Dawudi?

8 Yonasaani yali asobola okukwatirwa Dawudi obuggya. Olw’okuba yali mutabani wa Kabaka Sawulo, Yonasaani yali asobola okugamba nti ye yali agwanidde okudda mu bigere bya Sawulo nga kabaka. (1 Sam. 20:31) Naye Yonasaani yali mwetoowaze era nga mwesigwa eri Yakuwa. Bwe kityo yawagira Dawudi olw’okuba Yakuwa gwe yali alonze okuba Kabaka addako. Ate era yanywerera ku Dawudi wadde ng’ekyo kyanyiiza nnyo Sawulo.​—1 Sam. 20:32-34.

9. Tumanya tutya nti Yonasaani teyakwatirwa Dawudi buggya?

9 Yonasaani yali ayagala nnyo Dawudi, n’olwekyo teyamukwatirwa buggya. Yonasaani yali mukugu nnyo mu kulasa obusaale era yali mulwanyi muzira. Yonasaani ne kitaawe Sawulo baali boogerwako ‘ng’abadduka okusinga empungu,’ era ‘ab’amaanyi okusinga empologoma.’ (2 Sam. 1:22, 23) N’olwekyo Yonasaani yali asobola okwewaana olw’ebintu eby’obuzira bye yakola. Kyokka Yonasaani teyagezaako kuvuganya na Dawudi era teyakwatibwa buggya olw’ebintu ebirungi Dawudi bye yali akola. Mu kifo ky’ekyo, yayagala nnyo Dawudi olw’obuzira bwe n’olw’okwesiga ennyo Yakuwa. Mu butuufu, Dawudi yamala kutta Goliyaasi Yonasaani n’alyoka atandika okumwagala ennyo nga bwe yali yeeyagala. Naffe tuyinza tutya okwagala ennyo bakkiriza bannaffe bwe tutyo?

TUYINZA TUTYA OKWAGALA ENNYO BANTU BANNAFFE LEERO?

10. Kitegeeza ki ‘okwagalana ennyo okuviira ddala ku mutima’?

10 Bayibuli etukubiriza ‘okwagalana ennyo okuviira ddala ku mutima.’ (1 Peet. 1:22) Yakuwa yatuteerawo ekyokulabirako mu nsonga eno. Okwagala kwe kungi nnyo ne kiba nti bwe tusigala nga tuli beesigwa gy’ali, tewali kiyinza kuggyawo kwagala okwo. (Bar. 8:38, 39) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nga “nnyo” kirina amakulu ag’okufuba. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okufuba okusobola okwagala ennyo mukkiriza munnaffe. Abalala bwe akola ebintu ebitunyiiza kiba kitwetaagisa okweyongera ‘okubagumiikiriza nga tuzibiikirizagana mu kwagala, era nga tufuba nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egitugatta.’ (Bef. 4:1-3) Bwe tuba tufuba okukuuma ‘emirembe egitugatta’ tetujja kumalira birowoozo byaffe ku nsobi za bakkiriza bannaffe. Tujja kufuba okutunuulira baganda baffe ne bannyinaffe nga Yakuwa bw’abatunuulira.​—1 Sam. 16:7; Zab. 130:3.

Ewudiya ne Suntuke baakubirizibwa okuba n’endowooza emu, ekintu oluusi ekitaba kyangu nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe (Laba akatundu 11)

11. Lwaki oluusi tekiba kyangu kwagala nnyo balala?

11 Oluusi tekiba kyangu kwagala nnyo bakkiriza bannaffe naddala bwe tuba nga tumanyi ensobi zaabwe. Kirabika n’abamu ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baayolekagana n’obuzibu obwo. Ng’ekyokulabirako, Ewudiya ne Suntuke tebaalina buzibu mu ‘kukolera awamu ne Pawulo ku lw’amawulire amalungi.’ Naye olw’ensonga etamayiddwa, Ewudiya ne Suntuke baali tebakwatagana. N’olwekyo Pawulo yabakubiriza “okuba n’endowooza emu mu Mukama waffe.”​—Baf. 4:2, 3.

Abakadde abato n’abakulu basobola okufuuka ab’omukwano ennyo (Laba akatundu 12)

12. Kiki ekiyinza okutuyamba okwagala ennyo bakkiriza bannaffe?

12 Kiki ekiyinza okutuyamba okwagala ennyo bakkiriza bannaffe leero? Bwe tumanya obulungi bakkiriza bannaffe, kitubeerera kyangu okubategeera n’okubaagala ennyo. Enjawulo mu myaka ne mu mawanga tesaanidde kutulemesa kubaagala. Kijjukire nga Yonasaani yali asinga Dawudi emyaka nga 30, naye baafuuka ba mukwano nnyo. Osobola okukola omukwano n’omuntu akusinga obukulu oba obuto? Bw’okola bw’otyo oba olaga nti ‘oyagala baganda bo bonna.’​—1 Peet. 2:17.

Laba akatundu 12 *

13. Lwaki tuyinza okuba n’omukwano ogw’oku lusegere ennyo n’abamu mu kibiina okusinga abalala?

13 Okwagala ennyo bakkiriza bannaffe kitegeeza nti tujja kuba n’omukwano ogw’oku lusegere ennyo na buli omu mu kibiina? Nedda, ekyo tekisoboka. Si kikyamu okuba n’omukwano ogw’oku lusegere ennyo n’abamu mu kibiina bwe mulina bye mufaanaganya okusinga abalala. Yesu abatume be bonna yabayita “mikwano” gye, naye okusingira ddala yali ayagala nnyo Yokaana. (Yok. 13:23; 15:15; 20:2) Kyokka Yesu teyayisa Yokaana mu ngeri ya njawulo ku balala. Ng’ekyokulabirako, Yokaana ne muganda we Yakobo bwe baasaba Yesu ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwa Katonda, Yesu yabagamba nti: “Si nze asalawo alituula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono.” (Mak. 10:35-40) Naffe tusaanidde okukoppa Yesu, mikwano gyaffe egy’oku lusegere tuleme kubayisa mu ngeri ya njawulo ku balala. (Yak. 2:3, 4) Bwe tubayisa mu ngeri ey’enjawulo tuleetawo enjawukana, ate ng’ekyo tekisaanidde kubaawo mu kibiina Ekikristaayo.​—Yud. 17-19.

14. Okusinziira ku Abafiripi 2:3, kiki ekinaatuyamba okwewala omwoyo gw’okuvuganya?

14 Bwe twagala ennyo bakkiriza bannaffe kiyamba ekibiina obutabaamu mwoyo gwa kuvuganya. Kijjukire nti Yonasaani teyagezaako kuvuganya na Dawudi kulwanira ntebe ya bwakabaka. Ffenna tusobola okukoppa Yonasaani. Obusobozi bakkiriza banno bwe balina tebusaanidde kukuleetera kuvuganya nabo, wabula mu ‘buwombeefu kitwale nti abalala bakusinga.’ (Soma Abafiripi 2:3.) Kijjukire nti buli Mukristaayo alina ky’akola okuyamba ekibiina. Bwe tufuba okuba abeetoowaze, tujja kulaba ebirungi mu bakkiriza bannaffe era tujja kuganyulwa mu kyokulabirako ekirungi kye bassaawo.​—1 Kol. 12:21-25.

15. Kiki kye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Tanya ne bawala be?

15 Bwe tufuna ebizibu Yakuwa atubudaabuda okuyitira mu kwagala baganda baffe kwe batulaga ne mu buyambi bwe batuwa. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku b’omu maka agamu mu Amerika bwe baali bava ku lukuŋŋaana olunene olubaamu ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo olwaliwo mu 2019 olwalina omutwe, “Okwagala Tekulemererwa!” Tanya alina abaana abasatu agamba nti: “Bwe twali tuvuga nga tuddayo ku wooteeri we twasula, emmotoka endala yawaba n’etuyingirira. Tewali n’omu yalumizibwa naye twatya nnyo era twafuluma mu mmotoka yaffe ne tuyimirira awo nga tusobeddwa. Twali tukyali awo, twagenda okulaba nga waliwo atuyita tugende mu mmotoka ye. Yali omu ku b’oluganda naye eyali ava ku lukuŋŋaana. Era si ye yekka eyayimirira. Waliwo ne baganda baffe abalala bataano abaali bavudde e Sweden nabo abaayimirira. Baganda baffe abo baatuwambaatira, era ekyo twali tukyetaaga nnyo mu kiseera ekyo. Twabakakasa nti twali tujja kuba bulungi, naye baagaana okutulekawo. Baasigala naffe n’oluvannyuma lw’abasawo okujja era baakakasa nti tulina buli kimu kye twali twetaaga. Mu mbeera eyo eyali enzibu, twakiraba nti Yakuwa yatulaga okwagala. Ebyo ebyaliwo byatuleetera okweyongera okwagala ennyo baganda baffe, n’okweyongera okwagala ennyo Yakuwa n’okumusiima.” Waliwo lw’ojjukira bwe wali mu bwetaavu mukkiriza munno n’akulaga okwagala?

16. Nsonga ki ezandituleetedde okwagalana ennyo?

16 Lowooza ku birungi ebivaamu bwe twagalana ennyo. Tubudaabuda bakkiriza bannaffe nga boolekagana n’ebizibu. Twongera okunyweza obumu mu kibiina kya Yakuwa. Tukiraga nti tuli bayigirizwa ba Yesu, era ekyo kisobola okuleetera abantu ab’emitima emirungi okuyiga amazima. N’ekisinga obukulu, tugulumiza Yakuwa “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (2 Kol. 1:3) N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okukulaakulanya okwagala n’okukwoleka!

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

^ lup. 5 Yesu yagamba nti abayigirizwa be bajja kutegeererwa ku kwagala kwe balina buli omu eri munne. Ffenna tufuba okwoleka okwagala okwo. Tusaanidde okwagala bakkiriza bannaffe nga bwe twagala baganda baffe be tuzaalibwa nabo. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okwagala ennyo bakkiriza bannaffe.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: Omukadde omuto mu myaka aganyuddwa mu bumanyirivu bw’omukadde omukulu mu myaka, era omukadde oyo omuto mu myaka asembezeddwa mu maka g’omukadde omukulu mu myaka. Abakadde abo bombi ne bakyala baabwe balagaŋŋana okwagala n’omwoyo omugabi.