Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebigambo ebyayolebwa ku jjinja bye bino: “Yahweh Sabaot akolimire Hagaf mutabani wa Hagav”

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Ekiwandiiko eky’edda kiwagira kitya ebyo ebiri mu Bayibuli?

MU TTEREKERO erimu ery’ebintu eby’edda, eriri mu Yerusaalemi, mulimu ejjinja eririko ebigambo ebyawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 700-600 E.E.T. Ejjinja eryo Lyaggibwa mu mpuku eyaziikibwangamu abantu okumpi ne Kebbulooni mu Isirayiri. Ebigambo ebiririko bigamba nti: “Yahweh Sabaot akolimire Hagaf mutabani wa Hagav.” Ebigambo ebyo biwagira bitya ebyo ebiri mu Bayibuli? Biraga nti erinnya lya Katonda Yakuwa, eryawandiikibwa nga YHWH mu Lwebbulaniya olw’edda, lyali limanyiddwa bulungi era nga likozesebwa mu bulamu obwa bulijjo mu biseera eby’edda. Mu mpuku endala ezitali zimu ezifaananako ng’eyo, ku bisenge byazo kuliko ebigambo ebyawandiikibwa abantu abaasisinkanirangayo oba abeekwekangayo. Bingi ku bigambo ebyo birimu erinnya lya Katonda, oba amannya g’abantu agalina akakwate n’erinnya lya Katonda.

Ng’ayogera ku bigambo ebyo, Dr. Rachel Nabulsi owa yunivasite y’e Georgia yagamba nti: “Okuba nti erinnya lya Katonda YHWH . . . lyakozesebwa enfunda n’enfunda kiraga nti lyali kkulu nnyo mu bulamu bw’abantu ba Isirayiri ne Yuda.” Ekyo kiwagira ebyo ebiri mu Bayibuli, kubanga mu Bayibuli erinnya lya Katonda YHWH, lirimu enfunda n’enfunda. Ate era amannya g’abantu mangi, gaalina akakwate n’erinnya lya Katonda.

Ebigambo “Yahweh Sabaot,” ebyayolebwa ku jjinja eryo, bitegeeza “Yakuwa ow’eggye.” N’olwekyo kirabika abantu b’omu biseera eby’edda, baakozesanga nnyo erinnya lya Katonda n’ebigambo “Yakuwa ow’eggye.” Ate era kituukirawo okuba nti ebigambo “Yakuwa ow’eggye,” birabika emirundi 283 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya era ng’okusingira ddala bisangibwa mu kitabo kya Isaaya, Yeremiya, ne Zekkaliya.