EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1
Sigala ng’Oli Mukkakkamu era Weesige Yakuwa
EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2021: “Amaanyi gammwe galiba mu kusigala nga muli bakkakkamu era nga munneesiga.”—IS. 30:15.
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
OMULAMWA *
1. Okufaananako Kabaka Dawudi, kibuuzo ki abamu ku ffe kye tuyinza okwebuuza?
FFENNA twagala okubeera mu mirembe era nga tewali kitweraliikiriza. Tewali anyumirwa kubeera awo nga yeeraliikirira. Naye ebiseera ebimu tuba n’ebintu ebitweraliikiriza. Mu butuufu, abamu ku baweereza ba Yakuwa bayinza okubuuza ekibuuzo kino Kabaka Dawudi kye yabuuza Yakuwa: “Ndituusa wa okweraliikirira, n’okuba n’ennaku mu mutima gwange buli lunaku?”—Zab. 13:2.
2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Wadde nga tetusobola kwewalira ddala kweraliikirira, waliwo bye tusobola okukola okukukendeeza. Mu kitundu kino tugenda kusooka tulabe ebimu ku bintu ebiyinza okutuleetera okweraliikirira. Oluvannyuma tugenda kulaba ebintu mukaaga bye tuyinza okukola okusobola okusigala nga tuli bakkakkamu nga twolekagana n’ebizibu.
BIKI EBIYINZA OKUTULEETERA OKWERALIIKIRIRA?
3. Bintu ki ebiyinza okutuleetera okweraliikirira, era tuyinza okwewala ebintu ebyo?
3 Tuyinza obutaba na kinene kye tuyinza kukolawo ku bintu ebimu ebireeta okweraliikirira. Ng’ekyokulabirako, tetulina kye tuyinza kukolawo ku kulinnya kw’ebbeeyi y’emmere, engoye, ne ssente ez’okupangisa enju; era tetusobola kussa kkomo ku mirundi emeka bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe gye bayinza okugezaako okutupikiriza obutaba beesigwa oba okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ate era tetusobola kukomya bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ebibaawo mu Mat. 13:22; 1 Yok. 5:19) N’olwekyo tekyewuunyisa nti ensi ejjudde ebintu ebyeraliikiriza!
bitundu mwe tubeera. Twolekagana n’ebizibu ebyo kubanga abantu abasinga obungi mu nsi tebagoberera misingi gya Bayibuli. Sitaani Katonda w’ensi eno akimanyi nti abantu abamu basobola okukkiriza “okweraliikirira okw’omu kiseera kino” okubalemesa okuweereza Yakuwa. (4. Bwe twolekagana n’ebizibu tuyinza kukwatibwako tutya?
4 Bwe twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi tuyinza okweraliikirira ekisusse. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okweraliikirira nti tetujja kufuna ssente zimala kukola ku byetaago byaffe, oba nti tujja kulwala tube nga tetusobola kugenda kukola oba tufiirwe omulimu gwaffe. Ate era tuyinza okweraliikirira nti tuyinza obutaba beesigwa nga tukemeddwa okumenya amateeka ga Katonda. Okugatta ku ekyo, mu kiseera ekitali kya wala Sitaani ajja kuleetera abagoberezi be okulumba abantu ba Katonda, era ekyo kiyinza okutuleetera okweraliikirira kye tunaakola nga batulumbye. Tuyinza okwebuuza, ‘Kikyamu okweraliikirira ebintu ng’ebyo?’
5. Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Mulekere awo okweraliikirira”?
5 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mulekere awo okweraliikirira.” (Mat. 6:25) Ekyo kitegeeza nti atusuubira obutaba na kweraliikirira kwonna? Kya lwatu nedda! N’abamu ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa mu biseera eby’edda beeraliikirira, naye baasigala balina enkolagana ennungi ne Yakuwa. * (1 Bassek. 19:4; Zab. 6:3) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali atugumya. Yali tayagala tweraliikirire ekisukkiridde ku bikwata ku byetaago byaffe eby’obulamu, obuweereza bwaffe eri Yakuwa butuuke n’okukosebwa. Kati olwo biki bye tusobola okukola okukendeeza ku kweraliikirira?—Laba akasanduuko “ Engeri y’Okukikolamu.”
EBINTU MUKAAGA EBIJJA OKUTUYAMBA OKUSIGALA NGA TULI BAKKAKKAMU
6. Okusinziira ku Abafiripi 4:6, 7, kiki ekiyinza okutuyamba okukendeeza ku kweraliikirira?
6 (1) Nyiikirira okusaba. Bw’oba ng’olina ebintu ebikweraliikiriza saba Yakuwa akuyambe. (1 Peet. 5:7) Yakuwa ajja kuddamu okusaba kwo ng’akuwa “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera [kw’abantu] kwonna.” (Soma Abafiripi 4:6, 7.) Ajja kukozesa omwoyo gwe omutukuvu okukuyamba okufuna emirembe ku mutima.—Bag. 5:22.
7. Kiki kye tusaanidde okujjukira nga tusaba Katonda?
7 Bw’oba osaba Yakuwa, mweyabize. Koonera ddala ku nsonga. Mubuulira ekizibu kyennyini ky’olina, era munnyonnyole engeri gy’owuliramu. Bwe wabaawo ekiyinza okukolebwa okugonjoola ekizibu ekyo, musabe akuwe amagezi n’amaanyi okusobola okukigonjoola. Bwe kiba nti tolina ky’oyinza kukolawo kugonjoola kizibu ekyo, saba Yakuwa akuyambe oleme kweraliikirira kisukkiridde. Bw’obuulira Yakuwa ebyo byennyini ebikweraliikiriza, kikwanguyira okulaba engeri gy’aba azzeemu okusaba kwo. Yakuwa bw’ataddamu mangu kusaba kwo toggwaamu maanyi. Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa ayagala omubuulire ekyo kyennyini ekikweraliikiriza, era ayagala oleme kukoowa kumusaba.—Luk. 11:8-10.
8. Kiki ekirala kye tusaanidde okussa mu kusaba kwaffe?
8 Bw’oba otegeeza Yakuwa ebikweraliikiriza teweerabira kumwebaza. Kirungi okulowooza ku bintu ebirungi Yakuwa by’atukolera ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. 2 Byom. 18:31; Bar. 8:26.
Oluusi bw’olemererwa okufuna ebigambo ebituufu by’oyinza okukozesa okutegeeza Yakuwa engeri gye weewuliramu, kijjukire nti ne bw’ogamba obugambi Yakuwa nti ‘Nsaba onnyambe,’ addamu essaala eyo!—9. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuwulira nga tutidde?
9 (2) Weesigame ku magezi ga Yakuwa so si agago. Mu kyasa eky’omunaana E.E.T., abantu b’omu Yuda baali beeraliikirira okulumbibwa Abaasuli. Okusobola okwewala okuwambibwa Abaasuli, baasaba Misiri okubayamba. (Is. 30:1, 2) Yakuwa yabalabula nti ekyo kye baali bakoze kyandibaviiriddemu ebizibu. (Is. 30:7, 12, 13) Ng’ayitira mu Isaaya, Yakuwa yababuulira engeri gye bandibadde bafunamu obukuumi obwa nnamaddala. Yabagamba nti: ‘Amaanyi gammwe galiba mu kusigala nga muli bakkakkamu era nga mwesiga Yakuwa.’—Is. 30:15b.
10. Ezimu ku mbeera mwe tuyinza okukiragira nti twesiga Yakuwa ze ziruwa?
10 Tuyinza tutya okukiraga nti twesiga Yakuwa? Lowooza ku mbeera zino. Watya singa baagala okukuwa omulimu ogusasula ssente nnyingiko naye nga kijja kukwetaagisa okumala ebiseera bingi ng’okola era ng’ekyo kijja kutaataaganya enteekateeka yo ey’eby’omwoyo. Oba watya singa omuntu gw’okola naye ku mulimu atandika okukwegwanyiza kyokka nga si muweereza wa Yakuwa omubatize. Oba singa omu ku b’eŋŋanda zo gw’oyagala ennyo akugamba nti: “Ku nze ne Katonda wo londako kimu.” Mu buli emu ku mbeera ezo oba oyolekaganye n’okusalawo okutali kwangu; naye era mu buli emu ku mbeera ezo Yakuwa ajja kukuwa obulagirizi bwe weetaaga. (Mat. 6:33; 10:37; 1 Kol. 7:39) Kyokka ekyebuuzibwa kiri nti, Oneesiga obulagirizi obwo n’obukolerako?
11. Byakulabirako bya baani bye tuyinza okusomako mu Bayibuli ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu nga tuyigganyizibwa?
11 (3) Yigira ku byokulabirako ebirungi n’ebibi. Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi ebiraga obukulu bw’okusigala nga tuli bakkakkamu n’okwesiga Yakuwa. Ng’osoma ku byokulabirako ebyo, weetegereze ekyayamba abaweereza ba Katonda okusigala nga bakkakkamu nga boolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, kkooti y’Abayudaaya enkulu bwe yalagira abatume okulekera awo okubuulira, tebaatya. Mu kifo ky’ekyo, nga bavumu, baagamba nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.” (Bik. 5:29) N’oluvannyuma lw’okukubibwa emiggo, abatume abo tebaatya. Lwaki? Kubanga baali bakimanyi nti Yakuwa yali ku ludda lwabwe era yali abasiima. N’olwekyo beeyongera okubuulira amawulire amalungi. (Bik. 5:40-42) Ate era n’omuyigirizwa Siteefano bwe yali agenda okuttibwa yasigala mukkakkamu ne kiba nti ‘mu maaso yalinga malayika.’ (Bik. 6:12-15) Lwaki? Kubanga yali mukakafu nti Yakuwa yali amusiima.
12. Okusinziira ku 1 Peetero 3:14 ne 4:14, lwaki tusobola okuba abasanyufu nga tuyigganyizibwa?
12 Abatume baalina obukakafu obw’enkukunala nti Yakuwa yali wamu nabo. Yali abawadde amaanyi okukola ebyamagero. (Bik. 5:12-16; 6:8) Naye ekyo si bwe kiri gye tuli leero. Wadde kiri kityo, Yakuwa atukakasa okuyitira mu Kigambo kye nti bwe tubonaabona olw’obutuukirivu atusanyukira era omwoyo gwe guba naffe. (Soma 1 Peetero 3:14; 4:14.) N’olwekyo mu kifo ky’okudda awo okweraliikirira engeri gye tuyinza okweyisaamu nga twolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi mu biseera eby’omu maaso, tusaanidde okulowooza ku ngeri gye tuyinza okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa asobola okutuyamba n’okutulokola. Ng’abayigirizwa ba Yesu abaasooka bwe baakola, naffe tusaanidde okwesiga ekisuubizo kya Yesu kino: “Ndibawa ebigambo n’amagezi abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuziyiza oba kuwakanya.” Era Yesu yatukakasa nti: “Bwe muligumiikiriza, muliwonyaawo obulamu bwammwe.” (Luk. 21:12-19) Ate era tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ajjukira buli kimu ekikwata ku baweereza be abafa nga beesigwa gy’ali. Bwe kityo ajja kusobola okubazuukiza.
13. Tuyinza tutya okuganyulwa mu byokulabirako by’abo abaalemererwa okusigala nga bakkakkamu n’okwesiga Yakuwa?
13 Ate era tusobola okuyigira ku byokulabirako by’abo abaalemererwa okusigala nga bakkakkamu n’okwesiga Yakuwa. Okwekenneenya ebyokulabirako ebyo ebibi kijja kutuyamba okwewala okukola ensobi ze baakola. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera ekyasooka eky’obufuzi bwe, Kabaka Asa owa Yuda yeesiga Yakuwa bwe yali alumbiddwa eggye eddene era Yakuwa yamuyamba n’awangula eggye eryo. (2 Byom. 14:9-12) Kyokka oluvannyuma eggye ettonoko erya Kabaka Baasa owa Isirayiri bwe lyamulumba, Asa yasasula Abasuuli basindike eggye lijje limuyambe mu kifo ky’okwesiga Yakuwa okumuyamba nga bwe yali akoze emabega. (2 Byom. 16:1-3) Ate era bwe yali anaatera okufa yafuna obulwadde obw’amaanyi, naye era ne ku luno teyeesiga Yakuwa kumuyamba.—2 Byom. 16:12.
14. Biki bye tuyigira ku nsobi za Asa?
14 Mu kusooka Asa bwe yayolekagana n’ebizibu, yasaba Yakuwa okumuyamba. Naye oluvannyuma yalemererwa okwesiga Katonda we okumuyamba, n’asalawo okugonjoola ebizibu bye mu magezi ge. Mu kusooka ekyo Asa kye yakola eky’okusaba Abasuuli okumuyamba kyalabika ng’eky’amagezi. Naye obuwanguzi bwe yatuukako bwamala akaseera katono. Yakuwa yamugamba okuyitira mu nnabbi omu nti: “Olw’okuba weesize kabaka wa Busuuli n’oteesiga Yakuwa Katonda wo, eggye lya kabaka wa Busuuli lisimattuse mu mukono gwo.” (2 Byom. 16:7) Tusaanidde okwegendereza tuleme kulowooza nti tusobola okugonjoola ebizibu mu magezi gaffe nga tetunoonyezza bulagirizi buva eri Yakuwa obuli mu Kigambo kye. Ne bwe tuba nga tulina ekintu kye tulina okusalawo mu bwangu, tusaanidde okusigala nga tuli bakkakkamu nga twesiga Yakuwa, era Yakuwa ajja kutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
15. Kiki kye tuyinza okukola nga tusoma Bayibuli?
15 (4) Baako ebyawandiikibwa by’okwata mu mutwe. Bw’oba osoma Bayibuli n’osanga ennyiriri ezimu eziraga obukulu bw’okusigala nga tuli bakkakkamu era nga twesiga Yakuwa, fuba okukwata ennyiriri ezo mu mutwe. Okusobola okuzijjukira, oyinza okuzisoma mu ddoboozi eriwulikika oba okubaako w’oziwandiika osobole okuzejjukanyanga. Yakuwa yalagira Yoswa okusomanga ekitabo ky’Amateeka obutayosa n’okukifumiitirizaako asobole okweyisa mu ngeri ey’amagezi. Ebyo bye yandisomye byandimuyambye obutatya n’akulembera abantu ba Katonda nga muvumu. (Yos. 1:8, 9) Waliwo ebigambo bingi ebisangibwa mu Kigambo kya Katonda ebisobola okukuyamba okuba n’emirembe mu mutima ng’oyolekagana n’embeera ezandibadde zikuleetera okweraliikirira oba okutya.—Zab. 27:1-3; Nge. 3:25, 26.
16. Yakuwa akozesa atya ekibiina okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tumwesiga?
16 (5) Beerangako wamu n’abantu ba Katonda. Yakuwa akozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era Beb. 10:24, 25) Ate era tusobola okuzzibwamu amaanyi bwe tubuulirako mikwano gyaffe mu kibiina ebyo ebiba bitweraliikiriza. “Ebigambo ebirungi” mukwano gwaffe by’atugamba bisobola okutuyamba okukendeeza ku kweraliikirira kwe tuba nakwo.—Nge. 12:25.
nga tumwesiga. Mu nkuŋŋaana zaffe, tuganyulwa mu ebyo ebiyigirizibwa n’ebyo bakkiriza bannaffe bye baddamu ne mu mboozi ze tunyumyako nabo. (17. Okusinziira ku Abebbulaniya 6:19, essuubi lye tulina mu Bwakabaka lisobola litya okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu wadde nga twolekagana n’ebizibu?
17 (6) Essuubi ly’olina likuume nga linywevu. Essuubi lye tulina mu Bwakabaka “liringa ennanga ey’obulamu,” etunyweza ne tusigala nga tuli bakkakkamu wadde nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi oba ebintu ebitweraliikiriza. (Soma Abebbulaniya 6:19.) Fumiitiriza ku biseera eby’omu maaso ebirungi Yakuwa by’atusuubiza, lwe tuliba nga tewali kintu kyonna kitweraliikiriza. (Is. 65:17) Kuba akafaananyi ng’oli mu nsi empya ey’emirembe omutaabe bintu byeraliikiriza. (Mi. 4:4) Ate era ojja kweyongera okunyweza essuubi lyo singa olibuulirako abalala. Kola kyonna ekisoboka okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Bw’okola bw’otyo ojja kuba “n’essuubi ekkakafu okutuukira ddala ku nkomerero.”—Beb. 6:11.
18. Biki bye tusuubira okubaawo mu maaso, era tuyinza tutya okubyaŋŋanga?
18 Ng’enkomerero egenda esembera, tujja kwolekagana n’ebizibu ebirala bingi ebiyinza okutuleetera okweraliikirira. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2021 kijja kutuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebyo n’okusigala nga tuli bakkakkamu nga twesigama ku Yakuwa so si ku maanyi gaffe. Omwaka guno gwonna ka tukirage mu bikolwa byaffe nti twesiga ekisuubizo kya Yakuwa kino: “Amaanyi gammwe galiba mu kusigala nga muli bakkakkamu era nga munneesiga.”—Is. 30:15.
OLUYIMBA 8 Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe
^ lup. 5 Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2021 kiraga obukulu bw’okwesiga Yakuwa nga twolekagana n’ebintu ebyeraliikiriza mu kiseera kino n’ebyo bye tugenda okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okukolera ku kyawandiikibwa ky’omwaka ekyo.
^ lup. 5 Baganda baffe ne bannyinaffe abamu abeesigwa balina obulwadde obw’okweraliikirira oba okutya. Obulwadde obwo obw’okweraliikirira si kwe kweraliikirira Yesu kwe yali ayogerako.
^ lup. 63 EBIFAANANYI: (1) Mwannyinaffe asaba Yakuwa mu biseera eby’enjawulo mu lunaku n’amutegeeza ebimweraliikiriza.
^ lup. 65 EBIFAANANYI (2) Ng’ali ku mulimu mu kiseera eky’ekyemisana, anoonya amagezi okuva mu Kigamba kya Katonda.
^ lup. 67 EBIFAANANYI (3) Afumiitiriza ku byokulabirako ebirungi n’ebibi ebiri mu Bayibuli.
^ lup. 69 EBIFAANANYI (4) Atimba ku Firiigi ye ekyawandiikibwa ekizzaamu amaanyi ky’ayagala okukwata mu mutwe.
^ lup. 71 EBIFAANANYI (5) Anyumirwa okubuulirako awamu ne bakkiriza banne.
^ lup. 73 EBIFAANANYI (6) Anyweza essuubi lye ng’afumiitiriza ku biseera eby’omu maaso.