Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1

Beera Mukakafu nti ‘Ekigambo kya Katonda Ge Mazima’

Beera Mukakafu nti ‘Ekigambo kya Katonda Ge Mazima’

EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2023: “Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo.”​—ZAB. 119:160.

OLUYIMBA 96 Ekitabo kya Katonda​—Kya Bugagga

OMULAMWA a

1. Lwaki abantu bangi leero tebeesiga Bayibuli?

 ABANTU bangi leero tebamanyi muntu gwe basobola kwesiga. Tebamanyi oba ng’abantu be beesiga gamba nga bannabyabufuzi, bannassaayansi, ne bannabyabusuubuzi, babafaako. Ate era, tebeesiga bannaddiini abeeyita Abakristaayo. N’olwekyo tekyewuunyisa nti abamu tebeesiga Bayibuli bannaddiini abo gye bagamba nti gye bakkiririzaamu.

2. Okusinziira ku Zabbuli 119:160, tuli bakakafu ku ki?

2 Ffe abaweereza ba Yakuwa tuli bakakafu nti ye “Katonda ow’amazima” era nti atwagaliza birungi byereere. (Zab. 31:5, obugambo obuli wansi; Is. 48:17) Tukkiririza mu ekyo Bayibuli ky’egamba nti “amazima gwe mulamwa gw’ekigambo [kya Katonda].” b (Soma Zabbuli 119:160.) Tukkiriziganya n’ekyo omwekenneenya wa Bayibuli omu kye yagamba nti: “Tewali kintu kyonna Katonda kye yagamba ekitali kituufu oba ekitajja kutuukirira. Abantu ba Katonda beesiga ebigambo bye yayogera kubanga naye bamwesiga.”

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Tuyinza tutya okuyamba abalala okwesiga ekigambo kya Katonda nga naffe bwe tukyesiga? Ka tulabe ensonga ssatu lwaki twesiga Bayibuli. Tugenda kulaba nti obubaka obuli mu Bayibuli tebukyusibwanga, nti obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukirira, era nti Bayibuli erina amaanyi agasobola okukyusa obulamu bw’abantu.

OBUBAKA OBULI MU BAYIBULI TEBUKYUSIBWANGA

4. Lwaki abantu abamu balowooza nti obubaka obuli mu Bayibuli bwakyusibwa?

4 Yakuwa Katonda yakozesa abasajja nga 40 abeesigwa okuwandiika Bayibuli. Kyokka, tewali na kimu ku biwandiiko bya Bayibuli abasajja abo bye baawandiika ekikyaliwo leero. Ebyo byonna ebiri mu Bayibuli byakoppololwa bukoppololwa. Ekyo kireetera abantu abamu okwebuuza obanga bye tusoma mu Bayibuli leero bikwatagana bulungi n’ebyo ebyali mu biwandiiko ebyasookera ddala. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti bye tusoma mu Bayibuli leero bituufu?

Abakoppolozi b’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya beegenderezanga nnyo era baakakasanga nti ebyo bye baabanga bakoppolodde bituufu (Laba akatundu 5)

5. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byakoppololwa bitya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

5 Okusobola okukakasa nti obubaka obuli mu Kigambo kye bukuumibwa, Yakuwa yalagira abantu be okukoppolola ebyawandiikibwa. Yalagira bakabaka ba Isirayiri okukoppolola Amateeka, era yalonda Abaleevi okuyigiriza abantu Amateeka ago. (Ma. 17:18; 31:24-26; Nek. 8:7) Oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni, abakoppolozi abakugu baakoppolola kopi nnyingi ez’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Ezer. 7:6, obugambo obuli wansi) Abasajja abo beegendereza nnyo nga bakoppolola. Oluvannyuma, abakoppolozi baatandika okubala ebigambo n’ennukuta okukakasa nti buli kimu kituufu. Wadde kyali kityo, olw’obutali butuukirivu bw’abantu, waliwo ensobi entonotono ezaakolebwanga. Kyokka, waliwo kopi endala nnyingi ezaakolebwa mu biwandiiko ebyo ebyakoppololwa, ne kiba nti ensobi ezo zaali zisobola okulabibwa. Mu ngeri ki?

6. Ensobi ezaakolebwa mu Bayibuli ziyinza kuzuulibwa zitya?

6 Abeekenneenya ba Bayibuli abaliwo leero balina engeri gye basobola okumanyaamu ensobi abakoppolozi abaasooka ze baakola. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti abantu 100 bagambiddwa okukoppolola ekiwandiiko. Omu ku bo abaako ensobi gy’akola mu ebyo by’akoppolodde. Engeri emu gye tusobola okumanyaamu ensobi eyo kwe kugeraageranya ebyo by’akoppolodde n’eby’abalala bonna. Mu ngeri y’emu, abeekenneenya ba Bayibuli bwe bageraageranya ebiwandiiko ebiwerako ebya Bayibuli ebyakoppololwa, basobola okuzuula ensobi abakoppolozi abamu ze baakola.

7. Tumanya tutya nti abo abaakoppolola ebiwandiiko bya Bayibuli beegendereza nnyo obutakola nsobi?

7 Abo abaakoppolola ebiwandiiko bya Bayibuli baafuba nnyo okulaba nti tebakola nsobi yonna. Lowooza ku kyokulabirako kino ekikakasa ensonga eyo. Ekiwandiiko ekisinga obukadde eky’Ebyawandiikibwa byonna eby’Olwebbulaniya kyakoppololwa mu mwaka gwa 1008 oba 1009 E.E. Ekiwandiiko ekyo kiyitibwa Leningrad Codex. Kyokka gye buvuddeko awo, waliwo ebiwandiiko bya Bayibuli ebyazuulibwa ebyakoppololwa emyaka 1000 emabega nga Leningrad Codex tennakolebwa. Abamu bayinza okulowooza nti olw’okuba ebiwandiiko ebyo byakoppololwa emirundi mingi mu bbanga eryo ery’emyaka 1000, ebyo ebiri mu Leningrad Codex byandibadde byawukana nnyo n’ebyo ebiri mu biwandiiko ebyasooka okukoppololwa. Kyokka ekyo si bwe kiri. Abeekenneenya ba Bayibuli abaageraageranya ebiwandiiko bya Bayibuli ebyakoppololwa edda ennyo n’ebyo ebyakoppololwa oluvannyuma, bagamba nti wadde nga waliwo enjawulo ntonotono mu bigambo ebyakozesebwa, obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyusibwa.

8. Njawulo ki eriwo wakati w’ebiwandiiko by’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani n’eby’ebitabo ebirala eby’edda?

8 Abakristaayo abaasooka nabo baakoppolola ebyawandiikibwa. Baakoppolola kopi eziwerako ez’ebitabo 27 eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, ze baakozesanga mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira. Oluvannyuma lw’okugeraageranya ebiwandiiko ebyaliwo eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani n’ebiwandiiko ebirala ebyakolebwa mu kiseera kye kimu, omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Okutwalira awamu, leero waliwo [kopi nnyingi ez’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani] ebyakoppololwa mu bujjuvu okusinga ebiwandiiko ebirala.” Ekitabo ekiyitibwa Anatomy of the New Testament kigamba nti: “Omuntu asobola okuba omukakafu nti ebyo bye tusoma leero mu nkyusa [ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani] eyavvuunulwa obulungi, bikwatagana bulungi n’ebyo abawandiisi ab’edda bye baawandiika.”

9. Ebigambo ebiri mu Isaaya 40:8, bitukakasa ki ku bubaka obuli mu Bayibuli?

9 Ebyo ebiri mu Bayibuli bye tusoma leero bituufu olw’okuba abakoppolozi baafuba nnyo okulaba nti tebakola nsobi. c Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ye yakakasa nti obubaka bwe eri abantu tebukyusibwa. (Soma Isaaya 40:8.) Abamu bayinza okugamba nti eky’okuba nti obubaka obuli mu Bayibuli tebwakyusibwa, tekikakasa nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Kati ka tulabe obumu ku bukakafu obulaga nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.

OBUNNABBI BWA BAYIBULI BWESIGIKA

Left: C. Sappa/​DeAgostini/​Getty Images; right: Image © Homo Cosmicos/​Shutterstock

Obunnabbi obuli mu Bayibuli bwatuukirizibwa mu biseera eby’edda era ne leero bukyatuukirizibwa (Laba akatundu 10-11) e

10. Waayo ekyokulabirako ky’obunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirizibwa obukakasa nti ebigambo ebiri mu 2 Peetero 1:21 bituufu. (Laba ebifaananyi.)

10 Bayibuli erimu obunnabbi bungi obwatuukirizibwa, era ng’obumu bwatuukirizibwa nga wayiseewo emyaka bikumi na bikumi oluvannyuma olw’okuwandiikibwa. Ebyafaayo biraga nti obunnabbi obwo bwatuukirira. Ekyo tekitwewuunyisa kubanga tukimanyi nti eyawandiisa obunnabbi obwo ye Yakuwa. (Soma 2 Peetero 1:21.) Lowooza ku bunnabbi obukwata ku kuzikirizibwa kw’ekibuga Babulooni eky’edda. Mu kyasa eky’omunaana E.E.T., nnabbi Isaaya yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti ekibuga ekyo ekyali eky’amaanyi kyandiwambiddwa. Yayogera n’erinnya ly’oyo eyandikiwambye, nga ye Kuulo, era n’engeri ekibuga ekyo gye kyandiwambiddwamu. (Is. 44:27–45:2) Ate era, nnabbi Isaaya yagamba nti ekibuga Babulooni tekyandizzeemu kubeeramu bantu. (Is. 13:19, 20) Ekyo kyennyini kye kyabaawo. Abameedi n’Abaperusi baawamba ekibuga Babulooni mu mwaka gwa 539 E.E.T., era ekifo ekibuga ekyo ekyali eky’amaanyi we kyali kyafuuka matongo.​—Laba vidiyo erina omutwe, Bayibuli Yayogera ku Kuzikirizibwa kwa Babulooni eri mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! essomo 03, akatundu 5.

11. Nnyonnyola engeri obunnabbi obuli mu Danyeri 2:41-43 gye butuukirizibwamu leero.

11 Obunnabbi bwa Bayibuli tebwatuukirizibwa mu biseera eby’edda byokka; waliwo obunnabbi bwa Bayibuli obutuukirizibwa ne mu kiseera kino. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku bufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika gye butuukiriziddwamu. (Soma Danyeri 2:41-43.) Obunnabbi obwo bwalaga nti obufuzi obwo ku luuyi olumu ‘bwandibadde bwa maanyi’ ng’ekyuma, ate ku luuyi olulala ‘bwandibadde bunafu’ ng’ebbumba. Kati tusobola okukiraba nti ekyo kituufu. Obufuzi bwa Bungereza ne Amerika bukiraze nti bwa maanyi ng’ekyuma. Ng’ekyokulabirako, bwakola kinene nnyo mu kuwangula Ssematalo zombi era eggye lyabwe likyali lya maanyi. Naye ebiseera ebimu amaanyi g’obufuzi obwo ganafuyizibwa abantu abeekalakaasa nga balwanirira eddembe lyabwe, n’okwagala okuba n’obwetwaze. Omukugu omu ku bikwata ku by’obufuzi bw’ensi yagamba nti: “Leero tewali ggwanga lyeyawuddeyawuddemu olw’eby’obufuzi okusinga Amerika.” Ate yo Bungereza mu myaka egiyise yeeyongedde okweyawulayawulamu olw’endowooza ezaawukana abantu baayo ze balina ku ngeri gy’esaanidde okukolaganamu n’amawanga agali mu Mukago gwa Bulaaya. Enjawukana ezo zikifudde kizibu nnyo eri obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika okusalawo ebintu ebimu.

12. Obunnabbi obuli mu Bayibuli butukakasa ki?

12 Obunnabbi bwa Bayibuli obumaze okutuukirizibwa butuleetera okuba bakakafu nti ebisuubizo bya Katonda eby’omu biseera eby’omu maaso nabyo bijja kutuukirira. Tuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyasaba Yakuwa n’amugamba nti: “Njagala nnyo obulokozi obuva gy’oli, kubanga ekigambo kyo lye ssuubi lyange.” (Zab. 119:81) Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa atusuubiza ‘ebiseera eby’omu maaso ebirungi era atuwa essuubi.’ (Yer. 29:11) Essuubi lye tulina teryesigamye ku ebyo abantu bye bakola, wabula ku bisuubizo bya Yakuwa. Ka tweyongere okwesomesa obunnabbi obuli mu Kigambo kya Katonda, kituyambe okweyongera okukyesiga.

AMAGEZI AGALI MU BAYIBULI GAYAMBYE ABANTU BANGI

13. Okusinziira ku Zabbuli 119:66, 138, bukakafu ki obulala obulaga nti Bayibuli yeesigika?

13 Ekirala ekituleetera okwesiga Bayibuli kiri nti amagezi agagirimu gaganyula abo abagakolerako. (Soma Zabbuli 119:66, 138.) Ng’ekyokulabirako, abafumbo abaali banaatera okugattululwa kati bali bumu era basanyufu. Abaana banyumirwa okuba mu maka Amakristaayo agalimu abazadde ababafaako era ababaagala.​—Bef. 5:22-29.

14. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli kisobola okukyusa obulamu bw’omuntu.

14 Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kiyambye n’abamenyi b’amateeka abaali ab’omutawaana ennyo okufuuka abantu abalungi. Lowooza ku ngeri Bayibuli gye yayambamu Jack eyali yasibibwa mu kkomera. d Yali amanyiddwa ng’omu ku bamenyi b’amateeka ob’omutawaana ennyo era yali yasalirwa ogw’okufa. Naye lumu Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bagenze okubaako omusibe gwe bayigiriza Bayibuli, Jack naye yatuula n’awuliriza. Ekisa ab’oluganda abaali bayigiriza musibe munne kye baalaga kyamukwatako nnyo, era naye n’akkiriza okuyiga Bayibuli. Bwe yatandika okukolera ku ebyo bye yali ayiga mu Bayibuli, enneeyisa ye yakyukira ddala n’abeera omuntu omulungi. Oluvannyuma lw’ekiseera, Jack yabatizibwa n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Yabuuliranga basibe banne n’obunyiikivu ku bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda era yayambako nga bana ku bo okuyiga amazima. Olunaku lwe baamusalira olw’okumuttirako we lwatuukira, Jack yali akoze enkyukakyuka ez’amaanyi. Omu ku ba looya be yagamba nti: “Jack yakyuka nnyo era takyali nga bwe yali emyaka 20 emabega. Enjigiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa zikyusizza nnyo obulamu bwe.” Wadde nga Jack yattibwa, ekyokulabirako kye kiraga nti tusobola okwesiga Ekigambo kya Katonda era nti kisobola okukyusa obulamu bw’abantu ne baba balungi.​—Is. 11:6-9.

Amagezi agali mu Bayibuli gakyusizza obulamu bw’abantu bangi nnyo ne bafuuka abantu abalungi (Laba akatundu 15) f

15. Okukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli kyawulawo kitya abantu ba Yakuwa leero? (Laba ekifaananyi.)

15 Abantu ba Yakuwa bali bumu olw’okuba bakolera ku ebyo bye bayiga mu Bayibuli. (Yok. 13:35; 1 Kol. 1:10) Emirembe n’obumu bye tulina, bitwawulawo nnyo ku bantu abalala abeeyawuddeyawuddemu olw’eby’obufuzi, amawanga, n’embeera z’obulamu ze balimu. Omuvubuka omu ayitibwa Jean yakwatibwako nnyo bwe yalaba engeri abantu ba Yakuwa gye bali obumu. Yakulira mu nsi emu ey’omu Afirika. Olutalo bwe lwabalukawo mu nsi ye yayingira amagye, naye oluvannyuma n’addukira mu nsi ey’oku muliraano. Era eyo gye yasisinkanira Abajulirwa ba Yakuwa. Jean agamba nti: “Nnayiga nti abo abali mu ddiini ey’amazima tebeenyigira mu bya bufuzi era tebeeyawuddeyawuddeemu. Mu kifo ky’ekyo, baagalana.” Agattako nti: “Obulamu bwange nnali mbuwaddeyo kulwanirira nsi yange. Naye bwe nnayiga amazima agali mu Bayibuli, nnasalawo okuwaayo obulamu bwange eri Yakuwa.” Jean yakola enkyukakyuka ez’amaanyi. Mu kifo ky’okwenyigira mu ntalo, kati abuulira buli omu amazima agali mu Bayibuli. Okuba nti amagezi agali mu Bayibuli gayamba abantu abaakulira mu mbeera ez’enjawulo, nabwo bukakafu obulaga nti tusobola okwesiga Ekigambo kya Katonda.

WEEYONGERE OKWESIGA EKIGAMBO KYA KATONDA

16. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okwesiga Ekigambo kya Katonda?

16 Ng’embeera y’ensi eno yeeyongera okwonooneka, kiyinza okutubeerera ekizibu okweyongera okwesiga Ekigambo kya Katonda. Abantu bajja kugezaako okutuleetera okubuusabuusa obanga ebiri mu Bayibuli bituufu, era obanga ddala Yakuwa akozesa omuddu omwesigwa era ow’amagezi okutuwa obulagirizi leero. Naye bwe tuba nga tuli bakakafu nti Ekigambo kya Yakuwa ge mazima, tetujja kukkiriza kubuzaabuzibwa. Tujja kuba bamalirivu “okukwata amateeka [ga Yakuwa] okutuukira ddala ku lisembayo, ekiseera kyonna.” (Zab. 119:112) Tetujja “kukwatibwa nsonyi” kubuulira balala ebyo ebiri mu Bayibuli era n’okubakubiriza okubikolerako. (Zab. 119:46) Ate era tujja kusobola okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo, nga mwe muli n’okuyigganyizibwa era “n’okugumiikiriza n’essanyu.”​—Bak. 1:11; Zab. 119:143, 157.

17. Ekyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka kijja kutujjukizanga ki?

17 Tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yatuyamba okutegeera amazima! Amazima ago gatuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era n’okusigala nga tuli basanyufu wadde ng’ensi eno yeeyongera bweyongezi kwonooneka. Gatuwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, lwe tuliba nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Ekyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2023, ka kituyambe okweyongera okuba abanywevu nga tuli bakakafu nti Ekigambo kya Katonda ge mazima!​—Zab. 119:160.

OLUYIMBA 94 Tusiima Ekigambo kya Katonda

a Ekyawandiikibwa ekyalondebwa okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2023 kinyweza okukkiriza kwaffe. Kigamba nti: “Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo.” (Zab. 119:160) Awatali kubuusabuusa, okkiriziganya n’ebigambo ebyo. Naye abantu bangi tebakkiriza nti ebyo ebiri mu Bayibuli bituufu era nti Bayibuli esobola okutuwa obulagirizi obwesigika. Mu kitundu kino, tugenda kulaba obukakafu bwa mirundi esatu bwe tusobola okulaga abantu ab’emitima emirungi, obulaga nti basobola okwesiga Bayibuli n’obulagirizi obugirimu.

b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “omulamwa” mu lunyiriri luno, kitegeeza ekintu mu bujjuvu bwakyo oba mu bulambalamba bwakyo.

c Okumanya ebisingawo ku ngeri obubaka obuli mu Bayibuli gye bukuumiddwamu, genda ku jw.org/lg onoonye omutwe, “Ebyafaayo ne Bayibuli.”

d Amanya agamu gakyusiddwa.

e EKIFAANANYI: Katonda yagamba nti ekibuga Babulooni eky’edda kyandizikiriziddwa ne kifuuka matongo.

f EKIFAANANYI: Mu kifo ky’okwenyigira mu ntalo, omuvubuka ayiga Bayibuli n’emuyamba okuba omuntu ow’emirembe era ayamba n’abalala okukola kye kimu.