Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ky’oyinza Okukozesa Mu Kwesomesa

Ky’oyinza Okukozesa Mu Kwesomesa

Onyumirwa okusoma ebyafaayo bya baganda baffe ne bannyinaffe?

Abafumbo abalina enteekateeka ey’okusoma ebyafaayo by’ow’oluganda oba mwannyinaffe buli ku makya, bagamba nti: “Okusoma ebyafaayo by’ab’oluganda ebifulumira mu bitabo byaffe kituleetedde essanyu lingi era kituzizzaamu nnyo amaanyi! Ebyafaayo ebyo bitujjukiza nti naffe tusobola okuba abeesigwa eri Yakuwa mu mbeera yonna.” Mwannyinaffe omu naye awulira mu ngeri y’emu, yawandiika nti: “Ebyafaayo ebyo bimbudaabuda era binkwatako nnyo. Obulamu bwa baganda baffe ne bannyinaffe be tusomako mu byafaayo ebyo bulina amakulu era bulina ekigendererwa. Ebyafaayo byabwe bindeetera okukola ekisingawo mu buweereza era binnyamba okukubiriza abaana bange oluubirira okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.”

Ebyafaayo bya bakkiriza bannaffe bisobola okutuyamba okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, okuvvuunuka obunafu bwe tulina, era n’okwaŋŋanga ebizibu nga tuli basanyufu. Ebyafaayo ebyo oyinza kubisanga wa?

  • Genda ku LAYIBULALE ERI KU MUKUTU GWAFFE oba ku jw.org/lg onoonye omutwe ogugamba nti, “Ebyafaayo.”