Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4

Yakuwa Atuwa Emikisa Bwe Tufuba Okubaawo ku Kijjukizo

Yakuwa Atuwa Emikisa Bwe Tufuba Okubaawo ku Kijjukizo

“Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”​—LUK. 22:19.

OLUYIMBA 19 Eky’Ekiro kya Mukama Waffe

OMULAMWA a

1-2. Lwaki tubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka?

 EMYAKA nga 2,000 emabega, Yesu yawaayo obulamu bwe ku lwaffe n’atusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yalagira abagoberezi be okujjukiranga ekikolwa ekyo ekyoleka okwagala, nga bakwata omukolo omutonotono. Bwe yali atandikawo omukolo ogwo, yakozesa omugaati n’envinnyo.​—1 Kol. 11:23-26.

2 Tugondera ekiragiro kya Yesu ekyo kubanga tumwagala nnyo. (Yok. 14:15) Buli mwaka mu kiseera ky’Ekijjukizo, tukiraga nti tusiima ekyo Yesu kye yatukolera nga tuwaayo obudde okufumiitiriza ku ngeri okufa kwe gye kutukwatako kinnoomu. Ate era mu kiseera ekyo twongera ku budde bwe tumala mu buweereza, ne tuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okutwegattako ku mukolo ogwo mukulu ennyo. Era tetukkiriza kintu kyonna kutulemesa kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu bisatu abantu ba Yakuwa bye bafuba okukola okusobola okukwata omukolo gw’Ekijjukizo. Tugenda kulaba nti: (1) bagoberera enkola Yesu gye yatandikawo, (2) bayita abalala okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, ne (3) babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo wadde nga wayinza okubaawo ebyandibadde bibalemesa.

TUGOBERERA ENKOLA YESU GYE YATANDIKAWO

4. Mazima ki agatujjukizibwa buli mwaka ku mukolo gw’Ekijjukizo, era lwaki amazima ago tusaanidde okugatwala nga ga muwendo nnyo? (Lukka 22:19, 20)

4 Buli mwaka ku mukolo gw’Ekijjukizo tuwuliriza okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli, era nga mu kwogera okwo waliwo ebibuuzo ebiddibwamu mu ngeri etegeerekeka obulungi. Tuyiga ensonga lwaki abantu beetaaga ekinunulo, era n’engeri okufa kw’omuntu omu gye kusobola okuleetera ebibi by’abantu abangi okusonyiyibwa. Tujjukizibwa omugaati n’envinnyo kye bikiikirira, era n’abo abasaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo. (Soma Lukka 22:19, 20.) Ate era tufumiitiriza ku mikisa abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna gye banaafuna. (Is. 35:5, 6; 65:17, 21-23) Amazima ago tusaanidde okugatwala nga ga muwendo nnyo. Waliwo abantu buwumbi na buwumbi abatamanyi mazima ago era abatamanyi miganyulo egiri mu ssaddaaka ya Yesu. Ate era abamu bwe baba bajjukira okufa kwa Yesu, tebagoberera nkola Yesu gye yatandikawo. Lwaki kiri bwe kityo?

5. Oluvannyuma lw’abatume ba Yesu abasinga obungi okufa, ngeri ki abantu gye baatandika okujjukira okufa kwa Yesu?

5 Abatume ba Yesu abasinga obungi bwe baamala okufa, Abakristaayo ob’obulimba baayingira mu kibiina Ekikristaayo. (Mat. 13:24-27, 37-39) Baayogera “ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (Bik. 20:29, 30) Ekimu ku ‘bintu ebikyamye’ bye baatandika okuyigiriza kiri nti Yesu teyawaayo mubiri gwe ‘mulundi gumu okwetikka ebibi by’abangi,’ nga Bayibuli bw’egamba, wabula nti ssaddaaka ye erina okuddamu okuweebwayo enfunda n’enfunda. (Beb. 9:27, 28) Leero waliwo abantu bangi abeesimbu abakkiririza mu njigiriza eyo ey’obulimba. Bakuŋŋaanira mu makanisa buli luvannyuma lwa kiseera, era abamu bakuŋŋaana buli lunaku, okukwata kye bayita “Ekitambiro kya Misa.” b Amadiini amalala gajjukira okufa kwa Yesu emirundi mitono mu mwaka. Kyokka abantu abasinga obungi abali mu madiini ago tebategeera bulungi makulu ga ssaddaaka ya Yesu. Abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Ddala ebibi byange biyinza okusonyiyibwa olw’okufa kwa Yesu? Lwaki beebuuza ekibuuzo ng’ekyo? Abamu batwaliriziddwa endowooza y’abo abatakkiriza nti okufa kwa Yesu kusobozesa ebibi by’abantu okusonyiyibwa. Abakristaayo ab’amazima bayambye batya abantu okutegeera amakulu g’okufa kwa Yesu era n’engeri entuufu ey’okukujjukira?

6. Omwaka gwa 1872 we gwatuukira, kiki abayizi ba Bayibuli kye baali bategedde?

6 Ekyasa eky’ekkumi n’omwenda nga kinaatera okuggwaako, abayizi ba Bayibuli nga bakulembeddwamu Charles Taze Russell, baatandika okwekenneenya Ebyawandiikibwa. Baayagala okumanya amazima agakwata ku kufa kwa Yesu, n’engeri okufa kwe gye kulina okujjukirwamu. Omwaka gwa 1872 we gwatuukira, baali bakitegedde nti Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu bonna. Ebyo bye baazuula tebaabyesigaliza. Mu kifo ky’ekyo, baabibuulira abalala nga bakozesa ebitabo, empapula z’amawulire, ne magazini. Amangu ddala baatandika okukuŋŋaana omulundi gumu gwokka mu mwaka okujjukira okufa kwa Yesu, ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baakolanga.

7. Tuganyulwa tutya mu ebyo abayizi ba Bayibuli abaasooka bye baazuula?

7 Leero tuganyulwa nnyo mu ebyo Abakristaayo abo bye baazuula. Tuganyulwa tutya? Yakuwa atuyambye okutegeera amakulu ga ssaddaaka ya Yesu era n’engeri gye tugiganyulwamu. (1 Yok. 2:1, 2) Tukimanyi nti abantu abakola Katonda by’ayagala balina essuubi lya mirundi ebiri. Abamu balina essuubi ery’okufunira obulamu obutaggwaawo mu ggulu, ate abasinga obungi balina essuubi ery’okubufunira wano ku nsi. Enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongera okunywera bwe tufumiitiriza ku ngeri gy’atulagamu okwagala era n’engeri gye tuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu. (1 Peet. 3:18; 1 Yok. 4:9) Nga baganda baffe abo bwe baakolanga, naffe tuyita abantu bangi okutwegattako okukwata omukolo gw’Ekijjukizo nga tugoberera enkola Yesu gye yatandikawo.

TUYITA ABANTU KU KIJJUKIZO

Kiki ky’osobola okukola, okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube w’okuyita abantu ku Kijjukizo? (Laba akatundu 8-10) e

8. Biki abantu ba Yakuwa bye bazze bakola okusobola okuyita abantu ku Kijjukizo? (Laba ekifaananyi.)

8 Abantu ba Yakuwa bamaze emyaka mingi nga bayita abalala okubeegattako ku Kijjukizo. Mu 1881, ab’oluganda ne bannyinaffe mu Amerika baayitibwa okukuŋŋaanira mu maka g’ow’oluganda omu okukwata omukolo ogwo mu Allegheny, Pennsylvania. Oluvannyuma, buli kibiina kyatandika okukwata omukolo gw’Ekijjukizo. Mu Maaki 1940, ababuulizi baakubirizibwa okuyita buli muntu eyandyagadde okubaawo ku mukolo ogwo. Mu 1960, ofiisi y’ettabi yawa ebibiina obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo, omulundi ogwasookera ddala. Okuva mu kiseera ekyo, obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo bungi nnyo bugabiddwa. Lwaki tufuba nnyo okuyita abantu ku Kijjukizo?

9-10. Baani abaganyulwa bwe tufuba okuyita abantu ku Kijjukizo? (Yokaana 3:16)

9 Emu ku nsonga lwaki tuyita abalala okutwegattako ku mukolo gw’Ekijjukizo eri nti twagala bamanye ebyo Yakuwa ne Yesu bye bakoledde abantu bonna. (Soma Yokaana 3:16.) Tusuubira nti ebyo bye banaalaba ne bye banaawulira nga bazze ku mukolo ogwo, binaabaleetera okwagala okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa basobole okumuweereza. Naye waliwo n’abalala abaganyulwa.

10 Tuyita n’abo abatakyaweereza Yakuwa. Kino tukikola okubajjukiza nti Yakuwa akyabaagala. Bangi bakkiriza okujja era tubasanyukira nnyo. Okubaawo ku Kijjukizo kibajjukiza essanyu lye baafunanga nga bakyaweereza Yakuwa. Lowooza ku Monica. c Yaddamu okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19. Oluvannyuma lw’okubaawo ku Kijjukizo mu 2021, yagamba nti: “Ekijjukizo kino kibadde kya njawulo nnyo gye ndi. Oluvannyuma lw’okumala emyaka 20 nga sibuulira, nsobodde okubuulira abantu n’okubayita okubaawo ku Kijjukizo. Nnakola kyonna kye nsobola okuyita abantu kubanga nsiima nnyo ekyo Yakuwa ne Yesu kye bankolera.” (Zab. 103:1-4) Ka kibe nti abantu bakkiriza okujja oba nedda, tukola kyonna kye tusobola okuyita abantu nga tukimanyi nti Yakuwa asiima okufuba kwaffe.

11. Mikisa ki Yakuwa gy’atuwa nga tuyita abantu ku Kijjukizo? (Kaggayi 2:7)

11 Yakuwa atuwa emikisa bwe tufuba okuyita abantu ku Kijjukizo. Wadde nga waaliwo obukwakkulizo olw’ekirwadde kya COVID-19, abantu 21,367,603 be baaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu 2021. Omuwendo ogwo gukubisaamu omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa bonna abali mu nsi kumpi emirundi ebiri n’ekitundu! Kyo kituufu nti omuwendo gw’abantu ababa bazze Yakuwa si ky’atwala ng’ekikulu, wabula abantu kinnoomu ababaawo ku mukolo ogwo. (Luk. 15:7; 1 Tim. 2:3, 4) Tuli bakakafu nti bwe tuba tuyita abantu okujja ku Kijjukizo, Yakuwa atukozesa okuzuula abantu ab’emitima emirungi.​—Soma Kaggayi 2:7.

TUBAAWO KU KIJJUKIZO EMBEERA NE BW’EBA NZIBU

Yakuwa atuwa emikisa bwe tufuba okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo (Laba akatundu 12) f

12. Mbeera ki eziyinza okukifuula ekizibu gye tuli okubaawo ku Kijjukizo? (Laba ekifaananyi.)

12 Yesu yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero, twandyolekaganye n’ebizibu ebitali bimu, gamba ng’okuziyizibwa mu maka, okuyigganyizibwa, entalo, endwadde, n’ebizibu ebirala bingi. (Mat. 10:36; Mak. 13:9; Luk. 21:10, 11) Oluusi embeera ezo zikifuula kizibu gye tuli okubaawo ku kujjukira okufa kwa Yesu. Biki baganda baffe ne bannyinaffe bye bakoze okwaŋŋanga embeera ng’ezo, era Yakuwa abayambye atya?

13. Yakuwa yawa atya Artem emikisa olw’obuvumu bwe yayoleka n’akwatira omukolo gw’Ekijjukizo mu kkomera?

13 Okusibibwa mu makomera. Baganda baffe ne bannyinaffe abaasibibwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe, bakola kyonna kye basobola okujjukira okufa kwa Yesu. Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Artem. Ekijjukizo kya 2020 we kyatuukira, yali mu kaduukulu k’ekkomera akafunda ng’ali wamu n’abasibe abalala bana. Wadde nga kyali kityo, yasobola okubaako ebintu ebimu by’afuna eby’okukozesa ku Kijjukizo, era n’ateekateeka n’okuwa emboozi. Naye basibe banne baanywanga nnyo ssigala era baakozesanga ebigambo ebibi. Kiki kye yakola? Yabasaba bawummuzeemu okunywa ssigala n’okukozesa ebigambo ebibi okumala essaawa emu yokka. Artem kyamwewuunyisa nnyo abasibe abo bwe bakkiriza obutanywa ssigala n’obutakozesa bigambo bibi mu kiseera mwe yali agenda okukwatira Ekijjukizo. Artem agamba nti, “Nnagezaako okubabuulira ebikwata ku Kijjukizo.” Wadde nga baali tebaagala kubabuulira bikwata ku Kijjukizo, oluvannyuma lw’okulaba Artem ng’akwata omukolo gw’Ekijjukizo, baamubuuza ebikwata ku mukolo ogwo.

14. Kufuba ki abantu ba Yakuwa kwe baakola okukwata omukolo gw’Ekijjukizo mu kiseera kya COVID-19?

14 Ekirwadde kya COVID-19. Ekirwadde kya COVID-19 bwe kyabalukawo, abantu ba Yakuwa baali tebasobola kukuŋŋaana wamu kukwata mukolo gw’Ekijjukizo. Naye ekyo tekyabalemesa kukwata mukolo ogwo. d Ebibiina ebyali bisobola okukozesa Intaneeti byakwata omukolo ogwo nga bikozesa enkola ya videoconference. Ate abo abaali batasobola kukozesa Intaneeti? Mu nsi ezimu, enteekateeka zaakolebwa emboozi n’eweebwa okuyitira ku ttivi oba ku leediyo. Ate era amatabi gaakwata emboozi ku butambi mu nnimi ezisukka mu 500, kisobozese n’abo abaali mu bitundu ebyesudde okukwata omukolo ogwo. Era ab’oluganda baakola kyonna kye basobola okutuusa obutambi ku abo abaali babwetaaga.

15. Kiki ky’oyigidde ku muyizi wa Bayibuli ayitibwa Sue?

15 Okuziyizibwa mu maka. Abamu, okuziyizibwa ab’omu maka gaabwe kwe kusoomoozebwa kwe bakyasinze okusanga okuyinza okubalemesa okubaawo ku Kijjukizo. Lowooza ku muyizi wa Bayibuli ayitibwa Sue. Mu 2021, nga wabulayo olunaku lumu olunaku lw’Ekijjukizo lutuuke, Sue yagamba oyo amuyigiriza Bayibuli nti tajja kusobola kubaawo ku Kijjukizo olw’okuba ab’awaka baali bamuziyiza. Amuyigiriza Bayibuli yamusomera Lukka 22:44. Oluvannyuma yamugamba nti bwe tuba nga twolekagana n’embeera enzibu, tusaanidde okukoppa Yesu nga tusaba Yakuwa era nga tumwesigira ddala. Ku lunaku olwaddako, Sue yateekateeka omugaati n’Envinnyo, era n’alaba vidiyo y’ekyawandiikibwa ky’olunaku ekikwata ku Kijjukizo ku jw.org. Akawungeezi k’olunaku olwo bwe yali yekka mu kisenge kye, yeeyunga ku mukolo gw’Ekijjukizo ng’akozesa essimu. Enkeera, Sue yawandiikira oyo amuyigiriza Bayibuli n’amugamba nti: “Eggulo wanzizizzaamu nnyo amaanyi. Nnakoze kyonna kye nsobola okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, era Yakuwa yannyambye nnyo. Sisobola kunnyonnyola ssanyu lye mpulira!” Naawe Yakuwa asobola okukuyamba ng’oyolekagana n’embeera efaananako bw’etyo.

16. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa bwe tunaafuba okubaawo ku Kijjukizo? (Abaruumi 8:31, 32)

16 Yakuwa asiima nnyo bwe tufuba okujjukira okufa kwa Yesu. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa bwe tunaalaga nti tusiima ebyo by’atukolera. (Soma Abaruumi 8:31, 32.) N’olwekyo, ka tukola kyonna kye tusobola okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo omwaka guno, era tufube okwongera ku biseera bye tumala mu mulimu gw’okubuulira mu kiseera ky’Ekijjukizo.

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

a Ku Lwokubiri, nga Apuli 4, 2023, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi bajja kubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo. Bangi ku bo gwe gujja okuba omulundi gwabwe ogunaasooka okubaawo. Abalala abamaze ekiseera ekiwanvu nga tebaweereza Yakuwa, nabo bajja kubaawo ku mukolo ogwo. Wadde ng’abalala balina ebyandibalemesezza okubaawo, nabo bajja kufuba okubaawo. K’obe ng’oli mu mbeera ki, beera mukakafu nti Yakuwa ajja kusanyuka nnyo bw’onoofuba okubaawo ku mukolo ogwo.

b Abakwata omukolo guno bakkiriza nti omugaati gufuuka omubiri gwa Yesu gwennyini, ate envinnyo efuuka omusaayi gwe gwennyini. Bakkiriza nti omubiri gwa Yesu n’omusaayi gwe biba biweereddwayo ku buli mulundi omuntu lw’akwata omukolo ogwo.

c Amannya agamu gakyusiddwa.

d Laba nʼebitundu ebirina omutwe ogugamba nti, “2021 Memorial Commemoration” ebiri ku jw.org.

e EBIFAANANYI: Okuva mu mwaka gwa 1960, obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo buzze bulongoosebwamu era kati tulina obusobola okukubibwa mu kyapa n’obusobola okuweerezebwa ku ssimu oba ku kompyuta.

f EBIFAANANYI: Ab’oluganda ne bannyinaffe nga bakwata omukolo gw’Ekijjukizo mu kiseera ky’olutalo.