Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

Bw’Owulira ng’Otidde, Weesige Yakuwa

Bw’Owulira ng’Otidde, Weesige Yakuwa

EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2024: “Bwe mba nga ntidde, nneesiga ggwe.”​—ZAB. 56:3.

OMULAMWA

Laba engeri gye tuyinza okweyongera okwesiga Yakuwa n’okusigala nga tuli bakkakkamu nga waliwo ebitutiisa.

1. Lwaki oluusi tuyinza okuwulira nga tutidde?

 FFENNA oluusi tuwulira nga tutidde. Kya lwatu nti okuyiga Bayibuli kyatuyamba okulekera awo okutya abafu, okutya badayimooni, oba okutya ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Naye tuli mu kiseera ekirimu “ebintu ebitiisa,” gamba ng’entalo, obumenyi bw’amateeka, n’endwadde. (Luk. 21:11) Tuyinza n’okutya abantu, omuli ab’obuyinza abatunyigiriza oba ab’eŋŋanda zaffe abagezaako okutulemesa okusinza Yakuwa. Abamu batya nti bayinza obutasobola kugumira kigezo kye boolekagana nakyo kati oba kye bayinza okwolekagana nakyo mu biseera eby’omu maaso.

2. Nnyonnyola embeera Dawudi gye yalimu ng’ali e Gaasi.

2 Waliwo ebiseera Dawudi lwe yawuliranga ng’atidde. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Sawulo bwe yali amunoonya ng’ayagala okumutta, Dawudi yasalawo okuddukira mu kibuga Gaasi eky’Abafirisuuti. Akisi, kabaka w’e Gaasi, yakizuula nti Dawudi yali mulwanyi muzira gwe baatendereza mu luyimba nti asse “emitwalo” gy’Abafirisuuti. Ekyo kyaleetera Dawudi ‘okutya ennyo.’ (1 Sam. 21:​10-12) Yatya ekyo Akisi kye yali ayinza okumukola. Kiki ekyayamba Dawudi okusigala nga mukkakkamu?

3. Okusinziira ku Zabbuli 56:​1-3, 11, kiki ekyayamba Dawudi okusigala nga mukkakkamu ng’ayolekaganye n’ebimutiisa?

3 Mu Zabbuli 56, Dawudi yayogera ku ngeri gye yali awuliramu ng’ali e Gaasi. Yalaga ensonga lwaki yali awulira ng’atidde, ate era yalaga n’ekyamuyamba okulekera awo okutya. Dawudi bwe yawulira ng’atidde, yeesiga Yakuwa. (Soma Zabbuli 56:​1-3, 11.) Mu butuufu, teyamwesigira bwereere. Yakuwa yayamba Dawudi n’ayiiya engeri gye yandisobodde okuwonawo: Dawudi yeefuula ng’omulalu era akakodyo ako kaakola! Mu kifo kya Akisi okutwala Dawudi ng’ow’obulabe, yamutwala ng’omulalu eyali amumalako emirembe era ng’awulira ayagala ave mu kitundu kye. Bwe kityo Dawudi yasobola okuwonawo.​—1 Sam. 21:13–22:1.

4. Tuyinza tutya okweyongera okwesiga Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

4 Naffe bwe twolekagana n’ebintu ebitutiisa, tusobola okusigala nga tuli bakkakkamu era ne tweyisa mu ngeri ey’amagezi singa twesiga Yakuwa. Naye tuyinza tutya okweyongera okwesiga Yakuwa naddala bwe tuba nga tutidde? Lowooza ku kyokulabirako kino. Bw’okimanya nti ozuuliddwamu obulwadde obw’amaanyi, mu kusooka oyinza okuwulira ng’otidde nnyo. Naye okutya okwo kuyinza okukendeera bw’oba nga weesiga omusawo wo. Omusawo oyo ayinza okuba ng’azze ajjanjaba abantu abatali bamu obulwadde obwo. Ayinza okukuwuliriza obulungi era n’akukakasa nti ategeeera engeri gye weewuliramu. Era ayinza okukutegeeza ku bujjanjabi bw’azze akozesa ku balwadde abalala ne bubayamba. Mu ngeri y’emu, tusobola okweyongera okwesiga Yakuwa nga tufumiitiriza ku bintu by’akoze, ku ebyo by’akola kati, ne ku by’agenda okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Ekyo Dawudi kye yakola. Nga twetegereza ebimu ku bigambo ebyaluŋŋamizibwa bye yayogera mu Zabbuli 56, fumiitiriza ku ngeri naawe gy’oyinza okweyongera okwesiga Yakuwa osobole okusigala ng’oli mukkakkamu nga waliwo ebintu ebikutiisa.

BIKI YAKUWA BY’AKOZE?

5. Okusobola okusigala nga mukkakkamu nga waliwo ebimutiisa, biki Dawudi bye yafumiitirizaako? (Zabbuli 56:​12, 13)

5 Wadde ng’obulamu bwa Dawudi bwali mu kabi, yassa ebirowoozo bye ku bintu Yakuwa bye yali akoze. (Soma Zabbuli 56:​12, 13.) Ekyo Dawudi yakikolanga mu bulamu bwe bwonna. Ng’ekyokulabirako, oluusi yafumiitirizanga ku bintu Yakuwa bye yatonda, ekyamuyamba okukijjukira nti Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo era nti afaayo ku bantu. (Zab. 65:​6-9) Yafumiitiriza ne ku ebyo Yakuwa bye yali akoledde abalala. (Zab. 31:19; 37:​25, 26) Ate era okusingira ddala yafumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yali amukoledde. Yakuwa yali ayambye Dawudi era ng’amukuumye okuviira ddala mu buwere. (Zab. 22:​9, 10) Kya lwatu nti okufumiitiriza ng’okwo kwayamba Dawudi okweyongera okwesiga Yakuwa.

Dawudi yeeyongera okwesiga Yakuwa ng’afumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yali akoze, bye yali amukolera mu kiseera ekyo, ne bye yali agenda okumukolera (Laba akatundu 5, 8, 12) d


6. Bwe tuwulira nga tutidde, kiki ekinaatuyamba okwesiga Yakuwa?

6 Bw’owulira ng’otidde, weebuuze, ‘Biki Yakuwa by’akoze?’ Fumiitiriza ku bintu bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, bwe ‘twetegereza’ engeri Yakuwa gy’alabiriramu ebinyonyi n’ebimuli ebitaatondebwa mu kifaananyi kye era ebitasobola kumusinza, kituyamba okweyongera okwesiga Yakuwa nti naffe ajja kutulabirira. (Mat. 6:​25-32) Ate era fumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’akoledde abaweereza be. Oyinza okusoma ku muntu omu ayogerwako mu Bayibuli eyayoleka okukkiriza okw’amaanyi, oba ku ebyo ebikwata ku omu ku baweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino. a Ate era fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’azze akyoleka nti akufaako. Yakuleeta atya mu mazima? (Yok. 6:44) Azzeemu atya essaala zo? (1 Yok. 5:14) Buli lunaku oganyulwa otya mu ssaddaaka y’omwana we gw’ayagala ennyo?​—Bef. 1:7; Beb. 4:​14-16.

Tweyongera okwesiga Yakuwa nga tufumiitiriza ku ebyo by’akoze, ku ebyo by’akola kati, n’ebyo by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso (Laba akatundu 6, 9-10, 13-14) e


7. Ebikwata ku nnabbi Danyeri byayamba bitya Vanessa okuggwaamu okutya?

7 Mwannyinaffe Vanessa, b abeera mu Haiti, yayolekagana n’embeera eyamuleetera okutya ennyo. Omusajja omu mu kitundu gy’abeera yamukubiranga essimu era yamuweerezanga obubaka buli lunaku, ng’ayagala afuuke muganzi we. Ekyo Vanessa yakigaana. Naye omusajja yatandika omukambuwalira n’okumugamba nti yali ajja kumutuusaako akabi. Vanessa agamba nti: “Nnatya nnyo.” Naye kiki ekyamuyamba? Alina ebintu bye yakolawo okwekuuma. Omukadde omu mu kibiina yamukubiriza okutegeeza ab’obuyinza ekyali kigenda mu maaso. Ate era Vanessa yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yakuumamu abaweereza be mu biseera eby’edda. Agamba nti: “Omuntu gwe nnasooka okulowoozaako ye nnabbi Danyeri. Yasuulibwa mu kinnya ky’empologoma wadde nga teyalina musango. Naye Yakuwa yamukuuma. Nnasaba Yakuwa aleetere omusajja oyo okulekera awo okundowoozaako era nnamusaba agonjoole ekizibu kyange, okuva bwe kiri nti nze nnali sirina kye nnyinza kukolawo. Oluvannyuma lw’ekyo, saddamu kutya.”​—Dan. 6:​12-22.

BIKI YAKUWA BY’AKOLA KATI?

8. Dawudi yali mukakafu ku ki? (Zabbuli 56:8)

8 Wadde nga Dawudi bwe yali mu Gaasi obulamu bwe bwali mu kabi, teyassa birowoozo ku bintu ebyali bimutiisa. Mu kifo ky’ekyo, yabissa ku bintu Yakuwa bye yali amukolera mu kiseera ekyo. Yakiraba nti Yakuwa yali amuwa obulagirizi, nti yali amukuuma, ate era nti yali ategeera engeri gye yali yeewuliramu. (Soma Zabbuli 56:8.) Ate era Dawudi yalina emikwano emirungi gamba nga Yonasaani, ne Akimereki, Kabona Asinga Obukulu, abaamuzzaamu amaanyi era abaamuyamba. (1 Sam. 20:​41, 42; 21:​6, 8, 9) Era wadde nga Kabaka Sawulo yali ayagala okumutta, Dawudi yasobola okudduka n’atattibwa. Yali mukakafu nti Yakuwa yali amanyi bulungi ebizibu bye yali ayitamu n’engeri gye byali bimuleetera okwewuliramu.

9. Bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu, kiki kye tusaanidde okujjukira?

9 Bw’oyolekagananga n’ekizibu ekikuleetera okutya, kijjukirenga nti Yakuwa alaba ekizibu ekyo era amanyi engeri gye weewuliramu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yalaba engeri Abayisirayiri gye baali bayisibwamu obubi nga bali e Misiri era ‘n’obulumi bwe baalimu.’ (Kuv. 3:7) Mu lumu ku nnyimba Dawudi ze yayimba, yagamba nti Yakuwa yalaba ‘obuyinike bwe’ era ‘n’obulumi obw’amaanyi’ bwe yalimu. (Zab. 31:7) Ate era abantu ba Yakuwa bwe baabonaabonanga, ne bwe kyabanga kivudde ku bujeemu bwabwe, Yakuwa “yalumwanga.” (Is. 63:9) Bw’oba ng’otidde, Yakuwa aba amanyi engeri gye weewuliramu era aba ayagala okukuyamba osobole okusigala ng’oli mukkakkamu.

10. Lwaki osobola okuba mukakafu nti Yakuwa akulaba era nti ajja kukuyamba okwaŋŋanga ekizibu ky’olekagana nakyo?

10 Bw’oba oyolekagana n’ekizibu ekikuleetera okutya, oyinza obutalaba ngeri Yakuwa gy’akuyambamu. Kiki ky’oyinza okukola? Musabe akusobozese okulaba engeri gy’akuyambamu. (2 Bassek. 6:​15-17) Oluvannyuma lowooza ku bintu bino: Waliwo emboozi oba ekintu ekimu mukkiriza munno kye yazzeemu mu nkuŋŋaana ekyakuzzizzaamu amaanyi? Waliwo ekitabo, vidiyo, oba olumu ku nnyimba zaffe ebyakuzzizzaamu amaanyi? Waliwo omuntu eyakugambye ekintu oba eyakusomedde ekyawandiikibwa ekyakuzzizzaamu amaanyi? Kyangu nnyo obutakitwala nti okwagala bakkiriza bannaffe kwe batulaga n’emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna birabo okuva eri Yakuwa. Mazima ddala, ebintu ebyo birabo bya muwendo nnyo Yakuwa by’atuwadde. (Is. 65:13; Mak. 10:​29, 30) Biraga nti atufaako nnyo. (Is. 49:​14-16) Ate era biraga nti tusaanidde okumwesiga.

11. Kiki ekyayamba Aida okulekera awo okweraliikirira ennyo?

11 Aida, abeera mu Senegal, yalaba engeri Yakuwa gye yamuyambamu ng’ayolekagana n’ekizibu eky’amaanyi. Olw’okuba ye mwana omukulu, bazadde baali bamusuubira okukola ssente ezimala okwerabirira n’okubalabirira. Naye bwe yakyusa omulimu gwe yali akola asobole okuweereza nga payoniya, teyalina ssente zimala. Bazadde be n’ab’eŋŋanda ze baamunyiigira era baamuvumirira olw’ekyo kye yali asazeewo. Agamba nti: “Nnatya nti sandisobodde kuyamba bazadde bange era nti buli muntu yandinneesambye. Nnatuuka n’okunenya Yakuwa olw’okuleka embeera okwonooneka ennyo.” Oluvannyuma Aida yawuliriza emboozi emu eyaweebwa mu lukuŋŋaana. Agamba nti: “Omwogezi yatujjukiza nti ka bube bulumi bwa ngeri ki bwe tuba nabwo ku mutima, Yakuwa abumanyi. Abakadde n’ab’oluganda abalala bampanga amagezi era mpolampola naddamu okukiraba nti Yakuwa anjagala. Nnatandika okumusaba nga mwesigira ddala, era nnafuna emirembe mingi bwe nnalaba engeri gy’addamu essaala zange.” Oluvannyuma Aida yafuna omulimu ogw’amuyamba okwerabirira ng’aweereza nga payoniya era n’okulabirira bazadde be awamu n’abalala. Agamba nti: “Njize okwesigira ddala Yakuwa. Kati emirundi mingi bwe mmala okusaba, okutya kwe mba nakwo kugenda.”

BIKI YAKUWA BY’ANAAKOLA MU BISEERA EBY’OMU MAASO?

12. Okusinziira ku Zabbuli 56:​9, Dawudi yali mukakafu ku ki?

12 Soma Zabbuli 56:9. Olunyiriri olwo lulaga ekintu ekirala ekyayamba Dawudi okuggwaamu okutya. Wadde ng’obulamu bwe bwali bukyali mu kabi, yafumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yali agenda okumukolera. Dawudi yali akimanyi nti mu kiseera ekituufu Yakuwa yali agenda kumuyamba ave mu mbeera eyo. Yakuwa yali yagamba nti Dawudi ye yali agenda okuba kabaka wa Isirayiri addako. (1 Sam. 16:​1, 13) Dawudi yali mukakafu ddala nti kyonna Yakuwa ky’asuubiza kirina okutuukirira.

13. Biki Yakuwa by’ajja okukola?

13 Biki Yakuwa by’asuubizza okukukolera? Tetusuubira Yakuwa kutukuuma tuleme kutuukibwako kizibu kyonna. c Wadde kiri kityo, ka kibe kizibu ki ky’oyolekagana nakyo mu nteekateeka y’ebintu eno, Yakuwa ajja kukiggyawo mu nsi empya. (Is. 25:​7-9) Omutonzi waffe alina amaanyi mangi nnyo ne kiba nti asobola okuzuukiza abafu, okutuwonya endwadde zonna, n’okuggyawo abo bonna abatuyisa obubi.​—1 Yok. 4:4.

14. Biki bye tuyinza okufumiitirizaako?

14 Bw’owulira ng’otidde, fumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. Lowooza ku ngeri gy’oliwuliramu nga Sitaani aggiddwawo, nga waliwo bantu batuukirivu bokka, era nga buli lunaku olukya obutali butuukirivu bwaffe bugenda butuggwaamu. Ekyokulabirako ekimu ekyali mu lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2014 kyalaga engeri gye tuyinza okufumiitiriza ku bintu ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Mu kyokulabirako ekyo, taata yakubaganya n’ab’omu maka ge ebirowoozo ku ngeri ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 3:​1-5 gye byandibadde singa byali byogera ku nsi empya. Byandigambye bwe biti: “Mu nsi empya ebiseera biriba bya ssanyu nnyo. Kubanga abantu baliba baagalana, nga baagala nnyo ebintu eby’omwoyo, nga beetoowaze, nga batendereza Katonda, nga bagondera bazadde baabwe, nga beebaza, nga beesigwa, nga baagala ab’eŋŋanda zaabwe, nga bakkaanya, nga bulijjo boogera bulungi ku balala, nga beefuga, nga bakkakkamu, nga baagala ebintu ebirungi, nga beesigika, nga si bakakanyavu, nga tebeetwala nti ba kitalo, nga baagala Katonda mu kifo ky’okwagala eby’amasanyu, nga bye bakola biraga nti beemalidde ku Katonda, era bano banywererengako.” Oluusi okubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka go oba ne bakkiriza banno ku ngeri obulamu gye bulibaamu mu nsi empya?

15. Wadde nga Tanja yali awulira ng’atidde, kiki ekyamuyamba okuggwaamu okutya?

15 Mwannyinaffe ayitibwa Tanja ow’omu North Macedonia yalekera awo okutya bwe yafumiitiriza ku bintu ebirungi ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Bazadde be baagezaako nnyo okumulemesa okuyiga Bayibuli. Agamba nti: “Ebintu ebimu bye nneeraliikiriranga nti byandibaddewo byamala ne bibaawo. Maama yankubanga buli lwe nnakomangawo okuva mu nkuŋŋaana. Bazadde bange baŋŋamba nti bwe nnandifuuse Omujulirwa wa Yakuwa bandinzise.” Oluvannyuma, Tanja yagobebwa awaka. Kiki kye yakola? Agamba nti: “Nnafumiitiriza ku ssanyu lye nnandifunye emirembe n’emirembe olw’okusalawo okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa. Nnaalowooza ne ku ngeri Yakuwa gye yandinsasuddemu mu nsi empya olw’ebintu byonna bye nnandifiiriddwa mu nteekateeka y’ebintu eno, era ne ku ky’okuba nti ebintu byonna ebibi bijja kuba tebikyajjukirwa.” Tanja yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Era Yakuwa yamuyamba n’afuna ekifo aw’okubeera. Oluvannyuma Tanja yafumbirwa ow’oluganda omwesigwa, era kati bombi bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

WEEYONGERE OKWESIGA YAKUWA KATI

16. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli bagumu bwe tunaalaba ebintu ebyayogerwako mu Lukka 21:​26-28 nga bituukirira?

16 Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, abantu bajja ‘kuzirika olw’okutya.’ Naye abantu ba Katonda bo bajja kuba bagumu. (Soma Lukka 21:​26-28.) Lwaki tebajja kutya? Kubanga bajja kuba baayiga okwesiga Yakuwa. Tanja, ayogeddwako waggulu, agamba nti ebyo bye yayitamu bimuyamba okugumira ebizibu by’afuna kati. Agamba nti: “Njize nti k’ebe mbeera ki gye twolekagana nayo, Yakuwa asobola okutuyamba okugigumira era atuwa emikisa. Oluusi abalala bayinza okulabika nga be balina obuyinza ku mbeera, naye Yakuwa y’asinga amaanyi. Era ekizibu ne bwe kiba kya maanyi kitya, ekiseera kituuka ne kikoma.”

17. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2024 kinaatuyamba kitya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

17 Leero waliwo ebintu bingi ebitiisa. Naye okufaananako Dawudi, tetusaanidde kukkiriza kutya kutufuga. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2024 kyaggibwa mu ssaala Dawudi gye yasaba Yakuwa. Yagamba nti: “Bwe mba nga ntidde, nneesiga ggwe.” (Zab. 56:3) Weetegereze omwekenneenya wa Bayibuli omu kye yayogera ku lunyiriri olwo. Yagamba nti: “[Dawudi] tasigala ng’alowooza ku bintu ebimutiisa oba ku bizibu bye, mu kifo ky’ekyo yeesiga oyo ajja okumununula mu mbeera eyo.” Mu myezi egiddako, fumiitirizanga ku kyawandiikibwa ky’omwaka guno nnaddala ng’oyolekaganye n’ebintu ebikutiisa. Fumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yakola, by’akola kati, ne by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso. Okufaananako Dawudi, naawe osobola okugamba nti: Katonda “gwe nneesiga, era sitya.”​—Zab. 56:4.

Mwannyinaffe afumiitiriza ku kyawandiikibwa ky’omwaka ng’akatyabaga kamaze okugwaawo (Laba akatundu 17)

OYINZA OTYA OKUVVUUNUKA EBIKUTIISA NG’OFUMIITIRIZA . . .

  • ku ebyo Yakuwa by’akoze?

  • ku ebyo Yakuwa by’akola kati?

  • ku ebyo by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso?

OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa

a Osobola okufuna ebirala ebisobola okukuzzaamu amaanyi ku jw.org/lg. Mu kasanduuko akaliko ekigambo nnoonya wandiikamu ebigambo “koppa okukkiriza kwabwe” oba “ebyokulabirako.” Ku JW Library®, genda ku kitundu Ebifulumira ku Mukutu. Noonya “Koppa Okukkiriza Kwabwe” oba “Ebyokulabirako Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.”

b Amannya agamu gakyusiddwa.

d EKIFAANANYI: Dawudi yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yamusobozesaamu okutta eddubu, engeri gye yamuyambamu ng’ayitira mu Akimereki, ne ku ky’okuba nti yali agenda kumufuula kabaka.

e EKIFAANANYI: Ow’oluganda eyasibibwa olw’okuweereza Yakuwa afumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yamuyambamu okulekayo omuze gw’okunywa ssigala, engeri gy’amuzzaamu amaanyi okuyitira mu mabaluwa agamuweerezebwa, ne ku kuba nti ajja kumuwa obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.