EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA
Bye Tusobola Okukozesa mu Kwesomesa ne mu Kusinza kw’Amaka
Ng’oggyeeko okuba nti tusinza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe mu nkuŋŋaana ennene n’entono, era tumusinza kinnoomu era ng’amaka. Bino wammanga bye bimu ku ebyo by’oyinza okukozesa mu kwesomesa ne mu kusinza kw’amaka:
-
Tegeka ebitundu ebinaaba mu nkuŋŋaana. Ekyo kiyinza n’okuzingiramu okwegezaamu mu nnyimba n’okuyamba buli omu mu maka okuteekateeka ky’anaddamu mu lukuŋŋaana.
-
Soma ku muntu omu oba ku kintu ekimu ekyogerwako mu Bayibuli. Oluvannyuma kuba ku lupapula ekifaananyi ekyogera ku ebyo ebyaliwo, oba baako ky’owandiika ky’oyizeemu.
-
Mwekenneenye emu ku ssaala eziri mu Bayibuli, era mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gy’eyinza okubayambamu okulongoosa mu ssaala zammwe.
-
Mulabe emu ku vidiyo zaffe oluvannyuma mugikubaganyeeko ebirowoozo, oba mubeeko bye muwandiika bye muyizeemu.
-
Mweteekereteekere omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza, oboolyawo nga mwegezaamu.
-
Mwetegereze ebitonde era mubifumiitirizeeko, oba mukubaganye ebirowoozo ku ekyo kye bibayigiriza ku Yakuwa. a
a Laba ekitundu “Weeyongere Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa Okuyitira mu Bintu Bye Yatonda” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 2023.