EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2
OLUYIMBA 19 Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
Weetegekedde Olunaku Olusingayo Obukulu mu Mwaka?
“Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”—LUK. 22:19.
OMULAMWA
Laba ensonga lwaki omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu mukulu nnyo, engeri gye tuyinza okugweteekerateekera, era n’engeri gye tuyinza okuyamba abalala okubeerawo ku mukolo ogwo.
1. Lwaki okujjukira okufa kwa Yesu gwe mukolo ogusingayo obukulu mu mwaka? (Lukka 22:19, 20)
OMUKOLO gw’okujjukira okufa kwa Yesu abantu ba Katonda bagutwala nga gwe gusingayo obukulu mu mwaka. Gwe mukolo gwokka Yesu gwe yalagira abagoberezi be okukwata. (Soma Lukka 22:19, 20.) Waliwo ensonga eziwerako lwaki twesunga okubaawo ku mukolo ogwo. Ka tulabe ezimu ku zo.
2. Ezimu ku nsonga lwaki twesunga nnyo okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ze ziruwa?
2 Omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu gutuyamba okufumiitiriza ku bukulu bw’ekinunulo. Gutuyamba okufumiitiriza ku ngeri gye tuyinza okukiragamu nti tusiima ssaddaaka ya Yesu. (2 Kol. 5:14, 15) Ate era gutusobozesa okufuna akakisa ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:12) Buli mwaka, bakkiriza bannaffe abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo babaawo ku mukolo ogwo. Abamu bakwatibwako ne bakomawo eri Yakuwa olw’engeri ennungi gye baanirizibwamu. Ate era abantu bangi ababa baagala okumanya ebisingawo ku Yakuwa batandika okutambulira ku kkubo ery’obulamu olw’ebyo bye balaba ne bye bawulira ku mukolo ogwo. Tekyewuunyisa nti twesunga nnyo okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo!
3. Omukolo gw’Ekijjukizo gusobozesa gutya abaweereza ba Yakuwa bonna okwetooloola ensi okuba obumu? (Laba n’ekifaananyi.)
3 Twesunga nnyo omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu, kubanga tukimanyi nti ku olwo tukola ebintu bye bimu ne baganda baffe okwetooloola ensi yonna. Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bakuŋŋaana wamu mu kiseera ng’enjuba eneetera okugwa. Ffenna tuwuliriza emboozi eraga obukulu bw’ekinunulo. Tuyimba ennyimba bbiri, tuyisa omugaati n’envinnyo, era ffenna tugamba nti “amiina” oluvannyuma lwa buli emu ku ssaala ennya okusabibwa. Mu bbanga lwa ssaawa 24, ebibiina byonna okwetooloola ensi biba bikoze ebintu ebyo bye bimu. Lowooza ku ssanyu Yakuwa ne Yesu lye bawulira bwe batulaba nga ffenna okwetooloola ensi tubassaamu ekitiibwa mu ngeri eyo!
4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
4 Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe? Tuyinza tutya okuyamba abalala okuganyulwa mu mukolo ogwo? Tuyinza tutya okuyamba abo abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okweteekerateekera omukolo ogwo omukulu ennyo.
TEEKATEEKA OMUTIMA GWO
5. (a) Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku bukulu bw’ekinunulo? (Zabbuli 49:7, 8) (b) Kiki ky’oyiga mu vidiyo Lwaki Yesu Yafa?
5 Emu ku ngeri esingayo obukulu gye tuyinza okweteekerateekeramu omukolo gw’Ekijjukizo, kwe kufumiitiriza ku bukulu bwa ssaddaaka ya Yesu Kristo. Ku lwaffe tetwandisobodde kwenunula okuva mu kibi n’okufa. (Soma Zabbuli 49:7, 8; laba ne vidiyo Lwaki Yesu Yafa?) a Yakuwa yakola enteekateeka Yesu aweeyo obulamu bwe ku lwaffe, era ekyo okusobola okubaawo Yakuwa ne Yesu beefiiriza nnyo. (Bar. 6:23) Gye tukoma okufumiitiriza ku ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera, gye tukoma okusiima ekinunulo. Tugenda kulabayo ebimu ku bintu ebitali byangu Yakuwa ne Yesu bye baakola okusobola okuwaayo ekinunulo. Naye ka tusooke tulabe ekyali kizingirwa mu kuwaayo ekinunulo.
6. Kiki ekyali kizingirwa mu kuwaayo ekinunulo?
6 Ekinunulo gwe muwendo ogusasulwa okuzzaawo ekintu. Adamu, omuntu eyasooka yatondebwa ng’atuukiridde. Bwe yayonoona yeefiriza obulamu obutaggwaawo era n’abufiiriza n’abaana be bonna. Okusobola okuzzaawo ekyo Adamu kye yatufiiriza, Yesu yawaayo nga ssaddaaka obulamu bwe obutuukiridde. Ekiseera kyonna kye yamala ku nsi, Yesu “teyakola kibi, era obulimba tebwalabika mu kamwa ke.” (1 Peet. 2:22) Yesu we yafiira yali atuukiridde nga Adamu bwe yali nga tannayonoona. N’olwekyo, bwe yawaayo obulamu bwe yasobola okusasulira ekyo Adamu kye yatufiiriza.—1 Kol. 15:45; 1 Tim. 2:6.
7. Ebimu ku bigezo Yesu bye yayolekagana nabyo ng’ali ku nsi bye biruwa?
7 Yesu yasigala muwulize eri Kitaawe ow’omu ggulu wadde nga yayolekagana n’ebigezo bingi ng’ali wano ku nsi. Bwe yali omuto, yalina okugondera bazadde be abaali batatuukiridde wadde nga ye yali atuukiridde. (Luk. 2:51) Bwe yali omuvubuka kyali kimwetaagisa okufuba okusigala nga mwesigwa ng’apikirizibwa abantu abayinza okuba nga baali baagala ajeemere bazadde be, oba aleme kuba mwesigwa eri Yakuwa. Bwe yali omukulu yalina okuziyiza ebikemo bya Sitaani Omulyolyomi, omwali ne Sitaani okumugamba nti asinze ye mu kifo ky’okusinza Yakuwa. (Mat. 4:1-11) Sitaani yagezaako nnyo nga bw’asobola okuleetera Yesu okwonoona, Yesu aleme okusasula ekinunulo.
8. Bigezo ki ebirala Yesu bye yayolekagana nabyo?
8 Waliwo ebigezo ebirala Yesu bye yayolekagana nabyo ng’ali ku nsi. Abalabe be baamuyigganya era emirundi mingi baagezaako okumutta. (Luk. 4:28, 29; 13:31) Yagumiikiriza obutali butuukirivu bw’abagoberezi be. (Mak. 9:33, 34) Bwe yali ng’awozesebwa yabonyaabonyezebwa era n’asekererwa. Oluvannyuma yattibwa mu ngeri ey’obulumi era ey’obuswavu. (Beb. 12:1-3) Ekiseera ekyasembayo ng’agenda okufa yalina okukigumira ku lulwe awatali bukuumi bwa Yakuwa. b—Mat. 27:46.
9. Tukwatibwako tutya bwe tufumiitiriza ku ssaddaaka ya Yesu? (1 Peetero 1:8)
9 Mazima ddala Yesu yeefiiriza nnyo okusobola okuwaayo ekinunulo. Bw’ofumiitiriza ku ngeri Yesu gye yeefiirizaamu okusobola okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe, tekikuleetera kumwagala nnyo?—Soma 1 Peetero 1:8.
10. Kiki Yakuwa kye yeefiiriza Yesu okusobola okuwaayo ekinunulo?
10 Ate Yakuwa? Kiki kye yeefiiriza Yesu okusobola okuwaayo ekinunulo? Yakuwa ne Yesu balina enkolagana esingayo okuba ey’oku lusegere ebaawo wakati wa taata ne mutabani we. (Nge. 8:30) Kati lowooza ku ngeri Yakuwa gye yawuliramu bwe yalaba Yesu ng’ayolekagana n’ebigezo bingi ng’ali wano ku nsi. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yalumwa nnyo okulaba Omwana we ng’ayisibwa bubi, ng’abantu bamwesamba, era ng’agezesebwa.
11. Waayo ekyokulabirako ekituyamba okumanya engeri Yakuwa gye yawuliramu nga Yesu attibwa.
11 Omuzadde yenna eyali afiiriddwa ku mwana amanyi bulungi obulumi obw’amaanyi obubaawo ng’omwana afudde. Tetulina kubuusabuusa kwonna nti wajja kubaawo okuzuukira, naye ekyo tekiggyawo bulumi bwe tuwulira nga tufiiriddwa abantu baffe. Ekyo kituyamba okutegeera engeri Yakuwa gye yawuliramu ng’alaba Omwana we abonyaabonyezebwa era ng’afa ku lunaku lwa Nisaani 14 mu mwaka gwa 33 E.E. c—Mat. 3:17.
12. Kiki kye tusobola okukola mu kiseera kino ng’omukolo gw’Ekijjukizo tegunnatuuka?
12 Ng’omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu tegunnatuuka, waayo ebiseera okusoma ebikwata ku kinunulo oba mukikubaganyeeko ebirowoozo mu kusinza kw’amaka. Kozesa Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa okunoonyereza (bwe muba nga mukirina mu lulimi lwammwe) oba ebitabo ebirala okusobola okumanya ebisingawo ku kinunulo. d Ate era, fuba okugoberera enteekateeka y’okusoma Bayibuli okukwata ku Kijjukizo eri mu katabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe. Ku lunaku lw’Ekijjukizo kakasa nti olaba programu y’okwekenneenya Ekyawandiikibwa ky’Olunaku. Bwe tuteekateeka emitima gyaffe okusobola okuganyulwa mu mukolo gw’Ekijjukizo, tujja kuba tusobola okuyamba abalala nabo okuguganyulwamu.—Ezer. 7:10.
YAMBA ABALALA OKUGANYULWA
13. Kintu ki ekisookera ddala kye tusaanidde okukola okusobola okuyamba abalala okuganyulwa mu mukolo gw’Ekijjukizo?
13 Tuyinza tutya okuyamba abantu abalala okuganyulwa mu mukolo gw’Ekijjukizo? Ekisookera ddala, tusaanidde okubayita okubaawo. Ng’oggyeeko okuyita abo be tusanga nga tubuulira, tusaanidde n’okukola olukalala lw’abantu abalala be tusaanidde okuyita. Bayinza okuba ab’eŋŋanda zaffe, bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, n’abalala. Ne bwe tuba nga tetulina bupapula bumala obuyita abantu ku mukolo ogwo, tusobola okubasindikira linki y’akapapula ako. Bwe tukola tutyo, kiyinza okutwewuunyisa okulaba ng’abantu bangi bazze.—Mub. 11:6.
14. Waayo ekyokulabirako ekiraga ebirungi ebiva mu kuyita abantu.
14 Bwe tuyita abantu basobola okukwatibwako ennyo ne bajja. Ng’ekyokulabirako, lumu mwannyinaffe alina omwami we ataweereza Yakuwa yeewuunya nnyo omwami we bwe yamugamba nga musanyufu nti yali agenda kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Lwaki ekyo kyamwewuunyisa? Kubanga emirundi mingi yali agezezzaako okukubiriza omwami we okubaawo ku mukolo ogwo naye n’agaana. Ku luno lwaki omwami we yakkiriza? Yagamba nti: “Waliwo eyampise.” Omukadde omu mu kibiina gwe yali amanyi ye yali amuyise. Omwami oyo yaliwo ku mukolo gw’ekijjukizo omwaka ogwo era n’emyaka mingi egyaddirira.
15. Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba nga tuyita abantu okujja okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
15 Tusaanidde okukijjukira nti abo be tuyita bayinza okubaako ebibuuzo bye beebuuza naddala bwe baba nga tebabangawoko mu nkuŋŋaana zaffe. Tusaanidde okulowooza ku bibuuzo bye bayinza okutubuuza era n’okweteekateeka okubiddamu. (Bak. 4:6) Ng’ekyokulabirako, bayinza okwebuuza: ‘Omukolo gunaaba gutya?’ ‘Gunaamala bbanga ki?’ ‘Waliwo engeri ey’enjawulo gye tulina okwambalamu?’ ‘Waliwo ssente ze tulina okusasula okusobola okugubaako?’ ‘Wanaabaayo okusolooza ssente?’ Bwe tuyita omuntu ku mukolo gw’Ekijjukizo tuyinza okumubuuza nti, “Olinayo ekibuuzo?” era bw’aba ng’alina kye yeebuuza tusaanidde okuba abeetegefu okukiddamu. Tusobola n’okukozesa vidiyo Okujjukira Okufa kwa Yesu ne Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? okuyamba omuntu okumanya enkuŋŋaana zaffe bwe ziba. Essuula 28 ey’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! nayo erimu ensonga ennungi ze tusobola okukozesa okukubaganyaako ebirowoozo n’omuntu.
16. Bibuuzo ki ebirala abo ababaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo bye bayinza kwebuuza?
16 Ng’omukolo gw’Ekijjukizo guwedde, abapya bayinza okubaako ebibuuzo ebirala bye beebuuza. Bayinza okwebuuza ensonga lwaki batono nnyo abaalidde ku mugaati era abaanywedde ku nvinnyo oba ensonga lwaki tewali n’omu yaliddeko. Bayinza n’okwebuuza emirundi emeka gye tukwata omukolo gw’Ekijjukizo. Bayinza n’okwagala okumanya oba ng’enkuŋŋaana zaffe zonna ziba ng’omukolo gw’Ekijjukizo. Wadde nga bingi ku bibuuzo ebyo byogerwako mu mboozi eweebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo, abapya bayinza okwetaaga okunnyonnyolwa ebisingawo. Ekitundu ekiri ku jw.org/lg ekirina omutwe “Lwaki Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye Bakuzaamu Omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe Eyawukana ku y’Amadiini Amalala?” kiyinza okutuyamba okuddamu ekimu ku bibuuzo ebyo. Twagala okukola kyonna ekisoboka ng’omukolo gw’Ekijjukizo tegunnabaawo, nga gugenda mu maaso, n’oluvannyuma nga guwedde okuyamba abantu ‘abalina endowooza ennuŋŋamu’ okuguganyulwamu.—Bik. 13:48.
YAMBA ABAGGWAAMU AMAANYI MU BY’OMWOYO
17. Abakadde bayinza batya okuyamba abo abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo? (Ezeekyeri 34:12, 16)
17 Mu kiseera ky’Ekijjukizo, abakadde muyinza mutya okuyamba abo abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo? Mukirage nti mubafaako. (Soma Ezeekyeri 34:12, 16.) Ng’omukolo ogwo tegunnatuuka mufube okulaba nga mwogerako na bangi nga bwe kisoboka. Mubakakase nti mubaagala nnyo era nti mwagala okukola kyonna kye musobola okubayamba. Mubayite okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Bwe banajja mubaanirize n’essanyu. Oluvannyuma lw’omukolo mweyongere okuwuliziganya ne bakkiriza bannaffe abo, era mubawe obuyambi obw’eby’omwoyo bwe beetaaga okusobola okukomawo eri Yakuwa.—1 Peet. 2:25.
18. Ffenna mu kibiina biki bye tuyinza okukola okuyamba bakkiriza bannaffe abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo? (Abaruumi 12:10)
18 Bonna mu kibiina basobola okuyamba bakkiriza bannaffe abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo ababa bazze ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ekyo bayinza kukikola batya? Nga babalaga okwagala, ekisa, era nga babassaamu ekitiibwa. (Soma Abaruumi 12:10.) Kikulu okukijjukira nti bakkiriza bannaffe abo kiyinza okuba nga tekyababeeredde kyangu okujja mu lukuŋŋaana olwo. Bayinza okuba nga baabadde beeraliikirira kye tuyinza okuboogerako nga bazze. e N’olwekyo, weewale okubabuuza ebibuuzo ebiyinza okubakwasa ensonyi oba okwogera ekintu ekiyinza okubalumya. (1 Bas. 5:11) Ab’oluganda abo ne bannyinaffe bakkiriza bannaffe. Twagala nnyo okuddamu okusinziza awamu nabo!—Zab. 119:176; Bik. 20:35.
19. Miganyulo ki gye tufuna mu kukwata omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu?
19 Tusiima nnyo okuba nti Yesu yatugamba okujjukira okufa kwe buli mwaka era tulaba ensonga lwaki ekyo kikulu nnyo. Bwe tubaawo ku mukolo ogwo, tuganyulwa era n’abalala baganyulwa mu ngeri nnyingi. (Is. 48:17, 18) Tweyongera okwagala Yakuwa ne Yesu. Tukiraga nti tusiima nnyo ekyo kye baatukolera. Tweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe. Tuyinza n’okuyamba abalala okumanya engeri gye basobola okuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu. Ka tukole kyonna kye tusobola okweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo ogujja okubaawo omwaka guno, era nga gwe mukolo ogusingayo obukulu mu mwaka!
TUYINZA TUTYA . . .
-
okuteekateeka emitima gyaffe ng’Ekijjukizo tekinnatuuka?
-
okuyamba abalala okuganyulwa mu mukolo ogwo?
-
okuyamba abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo?
OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo
a Kozesa akasanduuko akaliko ekigambo noonya ku jw.org/lg okufuna ebitundu ne vidiyo ebyogeddwako mu kitundu kino.
b Laba ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 2021.
c Laba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, sul. 23, kat. 8-9.
d Laba akasanduuko “ By’Oyinza Okunoonyerezaako.”
e Laba ebifaananyi nʼakasanduuko “ Ekibiina ky’Akola Ki?” Ow’oluganda eyaggwaamu amaanyi awulira ng’atya okugenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka, naye oluvannyuma yeevaamu n’agenda. Ab’oluganda bamwaniriza n’essanyu era anyumirwa okubeerako awamu nabo.
f EBIFAANANYI: Abaweereza ba Yakuwa mu kitundu ekimu eky’ensi bwe baba bakwata omukolo gw’Ekijjukizo, abalala mu kitundu ekirala eky’ensi baba bateekateeka okukwata omukolo ogwo gwe gumu.