EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3
OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa
Yakuwa Ajja Kukuyamba mu Biseera Ebizibu
“[Yakuwa] aleetawo obutebenkevu mu biseera byammwe.”—IS. 33:6.
OMULAMWA
Kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi Yakuwa bw’atuwa mu biseera ebizibu.
1-2. Bizibu ki abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bye bayinza okwolekagana nabyo?
EKINTU ekibi ennyo bwe kitutuukako, obulamu bwaffe buyinza okukyuka mu kaseera buseera. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda Luis a yazuulibwamu obulwadde bwa kookolo era bwali bumulidde nnyo. Omusawo yamugamba nti yali ajja kufa mu bbanga lya myezi bwezi. Monika n’omwami we baali banyiikivu nnyo mu kuweereza Yakuwa. Kyokka lwakya lumu Monika n’akitegeerako nti omwami we eyali aweereza ng’omukadde mu kibiina, yali amaze emyaka mingi ng’akola ekibi eky’amaanyi ennyo. Mwannyinaffe Olivia ali obwannamunigina, yawalirizibwa okuva awaka we olw’omuyaga ogw’amaanyi ogwali gujja. Oluvannyuma bwe yakomawo, yasanga omuyaga ogwo gusaanyizzaawo ennyumba ye. Mu kaseera buseera obulamu bwa bakkiriza bannaffe abo bwakyukira ddala. Wali oyolekaganyeko n’ekintu ekibi ennyo ekyakyusiza ddala obulamu bwo?
2 Wadde nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa, twolekagana n’ebizibu abantu bonna bye boolekagana nabyo. Ate era abantu abataagala baweereza ba Yakuwa bayinza okutuziyiza oba okutuyigganya. Wadde nga Yakuwa aleka ebizibu ng’ebyo okututuukako, atusuubiza okutuyamba. (Is. 41:10) Olw’obuyambi bw’atuwa, tusobola okusigala nga tuli basanyufu, okusalawo mu ngeri ey’amagezi, n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga twolekagana n’ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri nnya Yakuwa gy’atuyambamu nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo. Ate era tugenda kulaba ekyo kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi bw’atuwa.
YAKUWA AJJA KUKUKUUMA
3. Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, kiki ekiyinza okutubeerera ekizibu okukola?
3 Okusoomooza. Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, kiyinza okutubeerera ekizibu okulowooza obulungi n’okusalawo obulungi. Lwaki? Kubanga tuyinza okuba nga tuli mu bulumi bwa maanyi nnyo. Tuyinza okuba nga tweraliikirira nnyo olw’ebizibu ebyo. Tuyinza okuwulira ng’abatambulira mu lufu olukutte ennyo nga tetulaba gye tulaga. Lowooza ku ngeri bannyinaffe ababiri aboogeddwako wagulu gye baawuliramu nga boolekagana n’ebizibu. Olivia agamba nti: “Oluvannyuma lw’omuyaga okusaanyaawo ennyumba yange, nnawulira ng’eyali akomye.” Ng’ayogera ku kibi eky’amaanyi ennyo omwami kye yakola, Monika agamba nti: “Kyankuba wala nnyo. Nnawulira nga gwe baali bafumise ekiso ku mutima. N’ebintu ebyangu ebya bulijjo byanzibuwaliranga okukola. Ekintu ekyalabika ng’ekitasoboka kyantuukako.” Yakuwa asuubiza kutuyamba atya bwe tuba nga tuwulira nti ebizibu bitusukkiriddeko?
4. Okusinziira ku Abafiripi 4:6, 7, kiki Yakuwa ky’atusuubiza?
4 Ekyo Yakuwa ky’akola. Atusuubiza okutuwa ekyo Bayibuli ky’eyita “emirembe gya Katonda.” (Soma Abafiripi 4:6, 7.) Emirembe egyo gitegeeza obuteefu n’obukkakkamu bwe tuwulira ku mutima olw’okukimanya nti tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. “Gisingira ewala okutegeera kwonna”; misuffu nnyo era kizibu okugiteebereza. Wali owuliddeko ng’okkakkanye oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa? Egyo gye ‘mirembe gya Katonda!’
5. Emirembe gya Katonda gikuuma gitya emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe?
5 Olunyiriri olwo lwe lumu lugamba nti emirembe gya Katonda “gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okukuuma’ kyakozesebwanga mu bya kijaasi ku basirikale abaakuumanga ekibuga kireme okulumbibwa. Abantu abaabeeranga mu kibuga ekyo beebakanga mu mirembe nga bakimanyi nti abasirikale baalinga ku miryango nga bakuuma. Mu ngeri y’emu, emirembe gya Katonda bwe gikuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe, tuwulira nga tukkakkanye nga tukimanyi nti tulina obukuumi. (Zab. 4:8) Okufaananako Kaana, embeera yaffe ne bw’etekyukirawo, tusobola okufuna emirembe egyo. (1 Sam. 1:16-18) Era bwe tuwulira nga tukkakkanye, emirundi mingi kitubeerera kyangu okulowooza obulungi n’okusalawo obulungi.
6. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okufuna emirembe gya Katonda? (Laba n’ekifaananyi.)
6 Kye tusaanidde okukola. Bw’oba ng’oli mweraliikirivu, yita “omukuumi.” Ekyo oyinza kukikola otya? Saba Yakuwa okutuusa lw’onoowulira emirembe gye. (Luk. 11:9; 1 Bas. 5:17) Luis eyayogeddwako waggulu, yalaga engeri ye ne mukyala we Ana gye baasobola okuguma nga bakitegedde nti yali abuzaayo emyezi mitono afe. Yagamba nti: “Mu kiseera ng’ekyo kiba kizibu nnyo okusalawo ku bikwata ku by’obujjanjabi ne ku bintu ebirala. Naye okusaba kutuyambye nnyo okufuna emirembe mu mbeera eno enzibu.” Luis ne mukyala we baagamba nti baasabanga nnyo nga beegayirira Yakuwa abawe emirembe ku mutima era abasobozese okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Baakiraba nti Yakuwa yabayamba. Bw’oba ng’oyolekagana n’ekizibu eky’amaanyi, saba nnyo Yakuwa. Ajja kukuwa emirembe gikuume omutima gwo n’ebirowoozo byo.—Bar. 12:12.
YAKUWA AJJA KUKUTEBENKEZA
7. Tuyinza kuwulira tutya bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu eky’amaanyi ennyo?
7 Okusoomooza. Bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu eky’amaanyi ennyo, enneewulira yaffe, ebirowoozo byaffe, n’engeri gye tukolamu ebintu, biyinza okukyukakyuka ekiseera kyonna. Tuyinza okuwulira nga tulinga emmeeri omuyaga gye gusuukunda nga gugizza eno n’eri. Ana ayogeddwako waggulu agamba nti yafuna enneewulira ez’enjawulo oluvannyuma lwa Luis okufa. Yagamba nti: “Ebiseera ebimu bwe nnawuliranga nga tewali kintu kyonna kye njagala oba kinnyumira, nnatandikanga okwekubagiza. Ate oluusi nnawuliranga obusungu olwa Luis okuba nti takyaliwo.” Ebiseera ebimu Ana yawuliranga ekiwuubaalo era yawuliranga ng’asobeddwa olw’okuba yalinanga okusalawo ku bintu Luis bye yakolanga. Oluusi Ana yawuliranga ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi ku nnyanja. Yakuwa atuyamba atya nga tuli mu mbeera ng’eyo?
8. Okusinziira ku Isaaya 33:6, kiki Yakuwa ky’atukakasa?
8 Yakuwa ky’akola. Atukakasa nti ajja kututebenkeza. (Soma Isaaya 33:6.) Omuyaga ogw’amaanyi bwe guba ku nnyanja, emmeeri eyinza okutandika okwesuukunda ennyo ng’edda eno n’eri. Emmeeri zibaako ebintu ebiringa ebiwaawo ebiteekebwa wansi waazo eruuyi n’eruuyi okuziyamba obuteesuukunda nnyo ng’eriyo omuyaga ogw’amaanyi. Ekyo kisobozesa abantu ababa ku mmeeri okuwulira nga tebali mu kabi ka maanyi era baba basobola okugumira embeera eyo. Naye bingi ku bintu ebyo ebiringa ebiwaawo bikola bulungi ng’emmeeri eri mu kutambula. Mu ngeri y’emu, Yakuwa atuyamba okutebenkera singa tugenda mu maaso n’okumuweereza n’obwesigwa nga twolekagana n’ebizibu.
9. Ebintu bye tukozesa okunoonyereza bisobola bitya okutuyamba nga tufunye enneewulira embi? (Laba n’ekifaananyi.)
9 Kye tusaanidde okukola. Bw’ofuna enneewulira embi ng’olinga ali mu muyaga ogw’amaanyi, fuba nnyo okweyongera okugoberera enteekateeka yo ey’eby’omwoyo. Kyo kituufu nti oyinza obutasobola kukola kinene nga bwe walinga okola, naye kijjukire nti Yakuwa ategeera embeera yo era si mukakanyavu. (Geraageranya Lukka 21:1-4.) Ate era fuba okwesomesa n’okufumiitiriza. Lwaki ekyo kikulu? Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atuwadde vidiyo n’ebintu bingi ebiri mu buwandiike ebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa ebisobola okutuyamba okutebenkera nga twolekagana n’embeera enzibu ennyo. Okusobola okufuna kye weetaaga, osobola okukozesa ebyo bye tukozesa mu kunoonyereza ebiri mu lulimi lwo, gamba nga, JW Library®, Watch Tower Publications Index, n’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Monika ayogeddwako waggulu agamba nti buli lwe yatandikanga okufuna enneewulira embi, yakozesanga ebintu ebyo okusobola okufuna amagezi agandimuyambye. Ng’ekyokulabirako, yanoonyerezanga ku kigambo “obusungu.” Ate oluusi yanoonyerezanga ku bigambo, “okuliibwamu olukwe” oba “obwesigwa.” Bwe yazuulanga kye yabanga ayagala, yasomanga okutuusa lwe yawuliranga obulungi. Agamba nti: “Bwe nnabanga ntandika okunoonyereza nnabanga mweraliikirivu nnyo, naye bwe nnagendanga mu maaso n’okusoma, nnawuliranga nga Yakuwa ampambaatidde. Bwe nnasomanga, nnakirabanga nti Yakuwa yali ategeera enneewulira yange era nti yali annyamba.” Okukozesa ebintu ebyo Yakuwa by’atuwa kisobola okukuyamba okufuna emirembe n’owulira ng’otebenkedde.—Zab. 119:143, 144.
YAKUWA AJJA KUKUWANIRIRA
10. Tuyinza kuwulira tutya oluvannyuma lw’okufuna ekizibu eky’amaanyi?
10 Okusoomooza. Bwe tufuna ekizibu eky’amaanyi, oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi mu mubiri ne mu birowoozo. Tuyinza okuwulira ng’omuddusi eyali adduka ennyo naye nga kati atambula awenyera olw’okufuna obuvune. Tuyinza okuzibuwalirwa okukola ebintu ebyatwanguyiranga, oba okuwulira nga tetwagala kukola bintu bye twalinga tunyumirwa. Okufaananako Eriya, tuyinza okuwulira nga tuzibuwalirwa okusituka wansi, era nga twagala kwebaka bwebasi. (1 Bassek. 19:5-7) Kiki Yakuwa ky’asuubiza okutukolera bwe tuba nga tuwulira nti tuweddemu amaanyi?
11. Ngeri ki endala Yakuwa gy’atuyambamu? (Zabbuli 94:18)
11 Yakuwa ky’akola. Asuubiza okutuwanirira. (Soma Zabbuli 94:18.) Ng’omuddusi eyafuna obuvune bwe yeetaaga okubaako kye yeewanirirako okusobola okutambula, naffe tuyinza okwetaaga obuyambi okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo, Yakuwa atugamba nti: “Nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo, nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’” (Is. 41:13) Kabaka Dawudi yafuna obuyambi obwo. Bwe yali ng’ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi era ng’abalabe be bamuyigganya, yagamba Yakuwa nti: “Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.” (Zab. 18:35) Naye Yakuwa atuwanirira atya?
12. Bwe tuba nga tuwulira tuweddemu amaanyi, baani Yakuwa b’ayinza okukozesa okutuyamba?
12 Emirundi mingi Yakuwa atuwanirira ng’aleetera abalala okutuyamba. Ng’ekyokulabirako, lumu Dawudi bwe yali awulira ng’aweddemu amaanyi, mukwano gwe Yonasaani yamukyalira okumugumya n’okumugamba ebigambo ebizzaamu amaanyi. (1 Sam. 23:16, 17) Mu ngeri y’emu, Yakuwa yalonda Erisa okubaako by’akola okuyamba Eriya. (1 Bassek. 19:16, 21; 2 Bassek. 2:2) Leero Yakuwa ayinza okukozesa ab’eŋŋanda zaffe, mikwano gyaffe, oba abakadde okutuyamba. Naye bwe tuba mu bulumi obw’amaanyi, tuyinza okuwulira nga twagala kubeera ffekka. Kya bulijjo omuntu okwewulira bw’atyo. Kiki kye tuyinza okukola Yakuwa okusobola okutuwanirira?
13. Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okutuwanirira? (Laba n’ekifaananyi.)
13 Kye tusaanidde okukola. Fuba okulaba nti teweeyawula ku balala. Bwe tweyawula ku balala, tuyinza okutandika okwerowoozaako ennyo n’okulowooza ku bizibu bye tuba tuyitamu. Ekyo kiyinza okutuleetera okusalawo obubi. (Nge. 18:1) Kya lwatu nti ffenna waliwo lwe tuwulira nga twagala okubeerako ffekka, naddala bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Naye bwe tweyawula ku balala okumala ekiseera kiwanvu, tuyinza okuziyiza obuyambi Yakuwa bw’atuwa. N’olwekyo, wadde nga kiyinza obutaba kyangu ng’oyolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, kkiriza obuyambi ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, n’abakadde bwe bakuwa. Kitwale nti Yakuwa abakozesa okukuwanirira.—Nge. 17:17; Is. 32:1, 2.
YAKUWA AJJA KUKUBUDAABUDA
14. Mbeera ki ezitiisa ze tuyinza okwolekagana nazo?
14 Okusoomooza. Oluusi tuyinza okuwulira nga tutidde. Bayibuli eyogera ku baweereza ba Katonda bangi abeesigwa abaawulira nga basobeddwa era nga batidde nnyo olw’abalabe baabwe oba olw’ebizibu ebirala. (Zab. 18:4; 55:1, 5) Mu ngeri y’emu, naffe tuyinza okuyigganyizibwa bayizi bannaffe, bakozi bannaffe, ab’eŋŋanda zaffe, oba ab’obuyinza. Oba tuyinza okutya nti tugenda kufa olw’obulwadde bwe tulina. Mu mbeera ng’eyo tuyinza okuwulira nti tetulina kye tuyinza kukolawo. Yakuwa atuyamba atya mu mbeera ng’ezo?
15. Zabbuli 94:19 watukakasa ki?
15 Yakuwa ky’akola. Atubudaabuda era atuleetera okuwulira obuweerero. (Soma Zabbuli 94:19.) Zabbuli eyo etuleetera okulowooza ku mwana omuto aba atidde ennyo olw’okubwatuka kw’eggulu era ng’alemeddwa okwebaka. Tuyinza okukuba akafaananyi nga taata we azze w’ali n’amulera okutuusa lwe yeebaka. Wadde ng’eggulu liba likyabwatuka, okuba nti taata we amuleze kimuleetera okuwulira nti alina obukuumi. Bwe tuba twolekagana n’ebizibu ebitutiisa, tuyinza okwetaaga Kitaffe ow’omu ggulu okutulera mu ngeri ey’akabonero okutuusa enneewulira embi lw’eggwaawo. Yakuwa atubudaabuda atya mu ngeri eyo?
16. Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okutubudaabuda? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Kye tusaanidde okukola. Funanga ekiseera okubeerako awamu ne Yakuwa obutayosa, kwe kugamba, ng’omusaba era ng’osoma Ekigambo kye. (Zab. 77:1, 12-14) Singa okola bw’otyo, bw’onoofuna ebizibu, ekijja okusooka okukujjira mu birowoozo kwe kuddukira eri Kitaawo ow’omu ggulu. Buulira Yakuwa ebikutiisa n’ebikweraliikiriza. Muleke naye ayogere naawe era akubudeebude okuyitira mu Bayibuli. (Zab. 119:28) Oyinza okukiraba nti ebyawandiikibwa ebimu mu Bayibuli bibudaabuda nnyo bw’oba ng’otidde. Ng’ekyokulabirako, ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu, Zabbuli, Engero, awamu n’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo essuula 6 bisobola okukuzzaamu ennyo amaanyi. Bw’osaba Yakuwa era n’osoma Ekigambo kye, ojja kukiraba nti akubudaabuda.
17. Tuyinza kuba bakakafu ku ki?
17 Tusobola okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa abaawo okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo mu bulamu. Tasobola kutwabulira. (Zab. 23:4; 94:14) Yakuwa atusuubiza okutukuuma, okututebenkeza, okutuwanirira, n’okutubudaabuda. Nga lwogera ku Yakuwa, Isaaya 26:3 lugamba nti: “Olikuuma abo abakwesigira ddala; olibawa emirembe egitaggwaawo, kubanga ggwe gwe beesiga.” N’olwekyo, weesige Yakuwa, era kkiriza byonna by’akozesa okutuyamba. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuddamu okufuna amaanyi ne bw’onooba oyolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo.
WANDIZZEEMU OTYA?
-
Okusingira ddala ddi lwe tuyinza okwetaaga obuyambi bwa Yakuwa?
-
Ngeri ki ennya Yakuwa mw’ayitira okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi?
-
Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi Yakuwa bw’atuwa?
OLUYIMBA 12 Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo
a Amannya agamu gakyusiddwa.