Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2

OLUYIMBA 132 Tufuuse Muntu Omu

Abaami, Mwagale Bakazi Bammwe era Mubasseemu Ekitiibwa

Abaami, Mwagale Bakazi Bammwe era Mubasseemu Ekitiibwa

“Abaami, mubeeranga ne bakazi bammwe, . . . nga mubassaamu ekitiibwa.”1 PEET. 3:7.

EKIGENDERERWA

Engeri omwami gy’ayinza okwagala n’okuwa mukyala we ekitiibwa mu bigambo ne mu bikolwa.

1. Emu ku nsonga lwaki Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obufumbo y’eruwa?

 YAKUWA ye “Katonda omusanyufu,” era naffe ayagala tubeere basanyufu. (1 Tim. 1:11) Yatuwa ebirabo bingi ebitusobozesa okuba abasanyufu. (Yak. 1:17) Ekimu ku birabo ebyo bwe bufumbo. Omusajja n’omukazi bwe bafumbiriganwa, beeyama okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. Bwe basigala nga baagalana ekyo kibaleetera okuba abasanyufu—Nge. 5:18.

2. Obufumbo bungi leero buli mu mbeera ki?

2 Eky’ennaku, abafumbo bangi leero beerabira ebyo bye beeyama nga bafumbiriganwa. Era ekyo kibaviiriddeko obutaba basanyufu. Lipooti emu eyafulumizibwa Ekitongole ky’eby’Obulamu eky’Ensi Yonna gye buvuddeko awo yalaga nti abasajja bangi bakuba bakyala baabwe, babavuma, oba babayisa bubi mu ngeri endala. Omusajja akola bw’atyo ayinza okuwa mukyala we ekitiibwa nga bali mu bantu, naye bwe baba nga bali bokka awaka n’amutulugunya. Ate era abasajja bangi balaba ebifaananyi eby’obuseegu, era ekyo kiviirako bakazi baabwe okuwulira nti tebaagalibwa.

3. Ebimu ku bintu ebiviirako abasajja okuyisa obubi bakazi baabwe bye biruwa?

3 Kiki ekiviirako abasajja abamu okuyisa obubi bakyala baabwe? Bayinza okuba nga mu maka mwe baakulira baata baabwe baali bayisa bubi bamaama baabwe, era nga balowooza nti si kikyamu okuyisa obubi omukazi. Abalala bayinza okuba ng’okusinziira ku buwangwa bwabwe, “omusajja omutuufu” alina okuyisa obubi mukazi we okusobola okumulaga nti ye nnyinimu. Abalala bayinza okuba nga tebaayigirizibwa kufuga busungu. Abasajja abamu balaba ebifaananyi eby’obuseegu era ekyo kibaviiriddeko okuba n’endowooza enkyamu ku bakazi ne ku bikolwa eby’okwegatta. Ate era okunoonyereza kulaze nti mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, abasajja bangi baatandika okuyisa obubi bakazi baabwe. Kya lwatu, tewali n’emu ku nsonga ezo erina kuleetera musajja kuyisa bubi mukazi we.

4. Kiki abaami Abakristaayo kye balina okwekuuma, era lwaki?

4 Abaami Abakristaayo balina okwegendereza baleme kufuna ndowooza nkyamu ensi gy’erina ku bakazi. a Lwaki? Ensonga emu eri nti, emirundi mingi ebyo omuntu by’akola biva ku ebyo by’alowooza. Omutume Pawulo yalabula Abakristaayo abaali mu Rooma ‘okulekera awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.’ (Bar. 12:​1, 2) Pawulo we yawandiikira Abakristaayo abo, waali wayise ekiseera bukya ekibiina ky’omu Rooma kitandikibwawo. Kyokka, ebigambo bya Pawulo biraga nti Abakristaayo abamu mu kibiina ekyo baali bakyatwalirizibwa enneeyisa n’endowooza y’ensi. Eyo y’ensonga lwaki yabakubiriza okukyusa endowooza yaabwe n’enneeyisa yaabwe. Okubuulirira okwo kukwata ne ku baami Abakristaayo leero. Kya nnaku nti abamu ku bo batwaliriziddwa endowooza y’ensi era bayisa bubi bakyala baabwe. b Omwami Yakuwa amusuubira kuyisa atya mukyala we? Eky’okuddamu kiri mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino.

5. Okusinziira ku 1 Peetero 3:​7, omwami asaanidde okuyisa atya mukyala we?

5 Soma 1 Peetero 3:7. Yakuwa alagira omwami okuwa mukyala we ekitiibwa. Omwami awa mukyala we ekitiibwa aba amuyisa mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri omwami gy’akiraga nti awa mukyala we ekitiibwa. Naye ka tusooke tulabe ebintu omwami by’atalina kukola mukyala we.

WEEWALE OKUKOLA EBINTU EBIRUMYA MUKYALA WO

6. Yakuwa atwala atya abasajja abakuba bakyala baabwe? (Abakkolosaayi 3:19)

6 Omwami talina kukuba mukyala we. Yakuwa akyawa omuntu yenna akola ebikolwa eby’obukambwe. (Zab. 11:5) Yakuwa akyayira ddala omusajja atulugunya mukyala we. (Mal. 2:16; soma Abakkolosaayi 3:19.) Okusinziira ku 1 Peetero 3:​7, ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, singa omusajja ayisa bubi mukyala we, ayonoona enkolagana ye ne Yakuwa. Yakuwa ayinza n’obutawuliriza ssaala ze.

7. Okusinziira ku Abeefeso 4:​31, 32, njogera ya ngeri ki abasajja gye balina okwewala? (Laba ne “Ebigambo Ebinnyonnyolwa.”)

7 Omwami talina kuboggolera mukyala we oba okumugamba ebigambo ebitali bya kisa. Abaami abamu boogera ne bakyala baabwe mu ngeri ey’obukambwe era babagamba ebigambo ebirumya. Kyokka Yakuwa akyawa “okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma.” c (Soma Abeefeso 4:​31, 32.) Awuliriza buli kintu omwami ne mukyala we kye boogera. Yakuwa afaayo ku ngeri omwami gy’ayogeramu ne mukyala we, ne bwe baba nga bali bokka awaka. Omwami ayogera obubi ne mukyala we takoma ku kwonoona nkolagana ye ne mukyala we, naye era ayonoona n’enkolagana ye ne Katonda.—Yak. 1:26.

8. Yakuwa atwala atya ekikolwa eky’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, era lwaki?

8 Omwami talina kulaba bifaananyi bya buseegu. Yakuwa atwala atya ekikolwa eky’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu? Akikyayira ddala. N’olwekyo, omwami alaba ebifaananyi eby’obuseegu ayonoona enkolagana ye ne Yakuwa era aweebuula mukyala we. d Yakuwa asuubira omwami okuba omwesigwa eri mukyala we mu bikolwa ne mu birowoozo. Yesu yagamba nti omusajja atunuulira omukazi omulala n’amwegomba aba amaze okumwendako “mu mutima gwe.” eMat. 5:​28, 29.

9. Lwaki Yakuwa akyawa ekikolwa eky’omusajja okuwaliriza mukyala we okukola ekintu ky’atayagala bwe baba nga beegatta?

9 Omwami talina kuwaliriza mukyala kukola kintu ky’atayagala bwe baba nga beegatta. Abasajja abamu bawaliriza bakyala baabwe okwenyigira mu bikolwa eby’okwegatta ebireetera bakyala baabwe okuwulira nti baweebuuse, oba ebibaleetera okulumirizibwa omuntu ow’omunda. Yakuwa akyayira ddala enneeyisa eyo eraga nti omusajja yeefaako yekka. Asuubira omwami okwagala mukyala we, okumuwa ekitiibwa, n’okufaayo ku nneewulira ye. (Bef. 5:​28, 29) Watya singa mu kiseera kino omwami Omukristaayo ayisa bubi mukyala we oba alaba ebifaananyi eby’obuseegu? Ayinza atya okukyusa endowooza ye n’ebikolwa bye?

ENGERI OMUSAJJA GY’AYINZA OKULEKERA AWO OKUYISA OBUBI MUKYALA WE

10. Ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kiyinza kitya okuganyula abaami?

10 Kiki ekiyinza okuyamba omwami okulekera awo okuyisa obubi mukyala we? Asaanidde okufuba okukoppa Yesu. Wadde nga Yesu teyawasa, engeri gye yayisaamu abayigirizwa be kyakulabirako kirungi abaami kye basaanidde okukoppa bwe kituuka ku ngeri gye balina okuyisaamu bakyala baabwe. (Bef. 5:25) Lowooza ku ekyo abasajja kye bayinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abatume be era n’engeri gye yayogerangamu nabo.

11. Yesu yayisanga atya abatume be?

11 Yesu yayisanga abatume be mu ngeri ey’ekisa era eraga nti yali abawa ekitiibwa. Teyabakambuwaliranga era teyabakajjalangako. Wadde nga yali Mukama waabwe, teyabaleetera kuwulira nti ba wansi ku ye oba kumutya. Mu kifo ky’ekyo, yabaweereza mu bwetoowaze. (Yok. 13:​12-17) Yagamba abayigirizwa be nti: “Muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.” (Mat. 11:​28-30) Weetegereze nti Yesu yali muteefu. Omuntu omuteefu taba munafu. Mu kifo ky’ekyo, aba wa maanyi kubanga aba asobola okwefuga. Abalala bwe bakola ebintu ebiyinza okumunyiiza, asigala mukkakkamu era yeefuga.

12. Yesu yayogeranga atya n’abalala?

12 Yesu yabudaabudanga abalala era yabazzangamu amaanyi okuyitira mu ebyo bye yayogeranga. Teyakambuwaliranga bagoberezi be. (Luk. 8:​47, 48) Abalabe be bwe baamuvumanga era ne bagezaako okukola ebintu ebimunyiiza, ‘teyabavuma.’ (1 Peet. 2:​21-23) Ebiseera ebimu, Yesu yasalangawo okusirika mu kifo ky’okuddamu mu ngeri ey’obukambwe. (Mat. 27:​12-14) Mazima ddala yateerawo abaami Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi ennyo!

13. Okusinziira ku Matayo 19:​4-6, omwami ayinza atya ‘okunywerera ku mukazi we’? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Yesu yalagira abaami okuba abeesigwa eri bakyala baabwe. Yajuliza ebigambo Kitaawe bye yayogera bwe yagamba nti omwami ‘anaanywereranga ku mukazi we.’ (Soma Matayo 19:​4-6.) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okunywerera” obutereevu kitegeeza “okugatta awamu.” N’olwekyo, okwagala okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo kulina okuba nga kwa maanyi nnyo ne kiba nti balina okuba ng’abagattiddwa awamu. Singa omu ku bo akola ekintu ekirumya munne, bombi baba bakosebwa. Omwami aba n’okwagala ng’okwo eri mukyala we, yeewala okutunuulira ebifaananyi eby’obuseegu eby’engeri yonna. Yeewalira ddala ‘okutunuulira ebintu ebitagasa.’ (Zab. 119:37) Mu ngeri eyo, aba yakola endagaano n’amaaso ge obutatunuulira mukazi mulala yenna n’amwegomba, okuggyako mukazi we.—Yob. 31:1.

Omwami omwesigwa eri mukyala we yeewala okutunuulira ebifaananyi eby’obuseegu (Laba akatundu 13) g


14. Bintu ki omusajja ayisa obubi mukyala we by’asaanidde okukola okusobola okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa era ne mukyala we?

14 Omwami ayisa obubi mukyala we mu bigambo ne mu bikolwa, alina okukola ebintu ebirala okusobola okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa era ne mukyala we. Biki by’asaanidde okukola? Ekisooka, alina okukikkiriza nti alina ekizibu eky’amaanyi. Yakuwa alaba buli ky’akola na buli ky’ayogera. (Zab. 44:21; Mub. 12:14; Beb. 4:13) Eky’okubiri, alina okulekera awo okuyisa mukyala we obubi era alina okukyusa enneeyisa ye. (Nge. 28:13) Eky’okusatu, alina okwetondera mukyala we ne Yakuwa, era asaanidde okusaba Yakuwa ne mukyala we bamusonyiwe. (Bik. 3:19) Ate era asaanidde okusaba Yakuwa amwagazise okukola enkyukakyuka era amuyambe okufuga ebirowoozo bye, enjogera ye, n’ebikolwa bye. (Zab. 51:​10-12; 2 Kol. 10:5; Baf. 2:13) Eky’okuna, asaanidde okukolera ku ssaala ye ng’akyawa ebikolwa eby’obukambwe ebya buli ngeri era n’ebigambo ebirumya. (Zab. 97:10) Eky’okutaano, mangu ddala asaanidde okusaba abakadde mu kibiina bamuyambe. (Yak. 5:​14-16) Eky’omukaaga, asaanidde okukola enteekateeka gy’anaagoberera okusobola okumuyamba okwewala okuddamu okweyisa mu ngeri eyo. N’omusajja alaba ebifaananyi eby’obuseegu alina okukola ebintu ebyo bye bimu. Yakuwa ajja kumuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Zab. 37:5) Naye omwami alina okukola ekisingawo ku kwewala okuyisa obubi mukyala we. Alina n’okuyiga okumwagala n’okumuwa ekitiibwa. Ekyo ayinza kukikola atya?

ENGERI GY’OYINZA OKULAGA MUKYALA WO OKWAGALA ERA N’OKUMUWA EKITIIBWA

15. Omwami ayinza atya okulaga mukyala we nti amwagala nnyo?

15 Laga mukyala wo okwagala. Ab’oluganda abamu abali mu bufumbo obulimu essanyu balina ebintu bye bakola buli lunaku okulaga bakyala baabwe okwagala. (1 Yok. 3:18) Omusajja asobola okulaga mukyala we nti amwagala ng’abaako obuntu obutono bw’akola, gamba ng’okumukwata ku mukono oba okumuwambaatira. Ayinza okumusindikira mesegi n’amugamba nti “Nkwagala nnyo” oba n’amubuuza bw’ali. Buli luvannyuma lwa kiseera, ayinza okukyoleka nti amwagala ng’amuwandiikirayo ka kaadi akaliko ebigambo ebiraga nti amwagala nnyo. Omwami bw’akola ebintu ebyo aba akyoleka nti ayagala nnyo mukyala we, amussaamu ekitiibwa, era ekyo kinyweza obufumbo bwabwe.

16. Lwaki omwami asaanidde okusiima mukyala we?

16 Kirage nti osiima mukyala wo. Omwami ayagala mukyala we era amussaamu ekitiibwa, aba amuzimba era aba amuzzaamu amaanyi. Engeri emu gy’akolamu ekyo kwe kujjukiranga okumwebaza olw’ebyo byonna by’akola okumuwagira. (Bak. 3:15) Omwami bw’akyoleka mu bwesimbu nti asiima mukyala we, ekyo kizzaamu nnyo omukyala amaanyi. Omukyala awulira nti alina obukuumi, ayagalibwa, era nti assibwamu ekitiibwa.—Nge. 31:28.

17. Omwami ayinza atya okukiraga nti assa mu mukyala we ekitiibwa?

17 Yisa mukyala wo mu ngeri ey’ekisa era muwe ekitiibwa. Omwami ayagala mukyala we aba amutwala nti wa muwendo. Amutwala ng’ekirabo eky’omuwendo ennyo okuva eri Yakuwa. (Nge. 18:22; 31:10) Ekyo kimuleetera okumuyisa mu ngeri ey’ekisa era eraga nti amuwa ekitiibwa ne bwe baba nga bali mu kwegatta. Tamuwaliriza kwenyigira mu bikolwa eby’okwegatta ebimuleetera okuwulira nti aweebuddwa oba ebimuleetera okulumirizibwa omuntu we ow’omunda. f Ate era omwami naye kennyini alina okwewala okukola ekintu ekinaamuleetera okulumirizibwa omuntu we ow’omunda.—Bik. 24:16.

18. Kiki abaami kye basaanidde okuba abamalirivu okukola? (Laba akasanduuko “ Ebintu Bina Ebinaakuyamba Okussaamu Mukyala Wo Ekitiibwa.”)

18 Abaami, mube bakakafu nti Yakuwa asiima nnyo bw’abalaba nga mufuba okwagala bakyala bammwe n’okubassaamu ekitiibwa mu mbeera zonna ez’obulamu. Mube bamalirivu okuwa bakyala bammwe ekitiibwa nga mwewala okubakola ebintu ebibaweebuula, obutabalaga kisa, obutabassaamu kitiibwa, era mufube okubalaga okwagala. Bwe mukola bwe mutyo, muba mukiraga nti mubaagala era nti mubatwala nti ba muwendo. Bwe mwagala bakyala bammwe era ne mubawa ekitiibwa, muba munyweza enkolagana yammwe ne Yakuwa.—Zab. 25:14.

OLUYIMBA 131 “Katonda ky’Agasse Awamu”

a Abaami bajja kuganyulwa nnyo bwe banaasoma ekitundu “Abakazi Obayisa nga Yakuwa bw’Abayisa?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2024.

b Abo abayisibwa obubi bannaabwe mu bufumbo bajja kuganyulwa bwe banaasoma ekitundu ekirina omutwe Help for Victims of Domestic Abuse wansi wa “More Topics” ku jw.org ne JW Library®.

c EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: “Okuvuma” kuzingiramu okupaatiika omuntu amannya oba okumuvumirira buli kiseera. N’olwekyo ekintu kyonna omwami ky’ayogera okulumya mukyala we kuba kuvuma.

d Laba ku jw.org ne JW Library ekitundu ekirina omutwe Pornography Can Shatter Your Marriage.

e Omukyala alina omwami alaba ebifaananyi eby’obuseegu asobola okuganyulwa mu kitundu ekirina omutwe “Munno mu Bufumbo bw’Aba ng’Alaba Ebifaananyi eby’Obuseegu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 2023.

f Bayibuli tewa kalonda akwata ku bikolwa eby’okwegatta ebisaana n’ebitasaana ebibaawo wakati w’omwami n’omukyala. Omwami n’omukyala Abakristaayo abafumbo be balina okusalawo mu ngeri eraga nti bamaliridde okuwa Yakuwa ekitiibwa, buli omu okusanyusa munne, n’okusigala nga balina omuntu ow’omunda omuyonjo. Okutwalira awamu, omwami n’omukyala tebasaanidde kunyumiza balala ku kintu kino ekibaawo wakati waabwe ng’abafumbo.

g EKIFAANANYI: Ow’oluganda ali ne bakozi banne abatali Bajulirwa ba Yakuwa ku mulimu, era bagezaako okumulaga magazini erimu ebifaananyi eby’obuseegu.