Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5

OLUYIMBA 108 Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka

Engeri Gye Tuganyulwa mu Kwagala kwa Katonda

Engeri Gye Tuganyulwa mu Kwagala kwa Katonda

“Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.”1 TIM. 1:15.

EKIGENDERERWA

Engeri gye tuganyulwa mu kinunulo, n’ekyo kye tuyinza okukola okulaga nti tusiima ekyo Yakuwa kye yatukolera.

1. Kiki kye tusaanidde okukola okusanyusa Yakuwa?

 KUBA akafaananyi ng’owadde omuntu gw’oyagala ekirabo eky’omuwendo ennyo era kye yeetaaga. Kiyinza okukuyisa obubi singa omuntu oyo akwata ekirabo ekyo n’akitereka mu kibookisi era n’ataddamu wadde okukirowoozaako! Ku luuyi olulala, owulira bulungi singa omuntu oyo akozesa ekirabo ekyo era n’akwebaza. Ekyokulabirako ekyo kikwatagana kitya n’ekirabo eky’ekinunulo Yakuwa kye yatuwa? Yakuwa yawaayo Omwana we okutufiirira. Ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo bwe tukiraga nti tusiima ekirabo ekyo eky’omuwendo n’okwagala kwe yatulaga okwamuleetera okukiwaayo!—Yok. 3:16; Bar. 5:​7, 8.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tuyinza okulekera awo okutwala ekinunulo nti kirabo kya muwendo nnyo. Mu ngeri eyo tuba ng’abakiterese mu kibookisi. Okusobola kwewala ekyo okubaawo, tulina bulijjo okufumiitiriza ku ekyo Katonda ne Kristo kye baatukolera. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okukola ekyo. Tugenda kulaba engeri gye tuganyulwa mu kinunulo mu kiseera kino, era n’engeri gye kijja kutuganyulamu mu biseera eby’omu maaso. Ate era tugenda kulaba bye tusobola okukola okulaga nti tusiima okwagala kwa Yakuwa naddala mu kiseera kino eky’Ekijjukizo.

ENGERI EKINUNULO GYE KITUGANYULA MU KISEERA KINO

3. Emu ku ngeri gye tuganyulwa mu kinunulo mu kiseera kino y’eruwa?

3 Ne mu kiseera kino tuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe ng’asinziira ku kinunulo. Tekimukakatako kutusonyiwa, naye ayagala okutusonyiwa. Omuwandiisi wa zabbuli yakiraga nti asiima nnyo Yakuwa olw’okutusonyiwa. Yagamba nti: “Ai Yakuwa, oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa.”—Zab. 86:5; 103:​3, 10-13.

4. Baani Yakuwa be yaweerayo ekinunulo? (Lukka 5:32; 1 Timoseewo 1:15)

4 Abamu ku ffe tuyinza okuwulira nti tetusaana kusonyiyibwa Yakuwa. Ekituufu kiri nti ffenna tetusaana kusonyiyibwa. Omutume Pawulo yali akimanyi nti yali ‘tasaanira kuyitibwa mutume.’ Kyokka yagamba nti: “Naye olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso, ndi ekyo kye ndi.” (1 Kol. 15:​9, 10) Bwe twenenya ebibi byaffe, Yakuwa atusonyiwa. Lwaki? Si lwa kuba nti tusaanira, naye lwa kuba atwagala. Bw’oba owulira nti tosaanira kusonyiyibwa Yakuwa, kijjukire nti Yakuwa ekinunulo teyakiweerayo bantu abatuukiridde, wabula aboonoonyi abeenenya.—Soma Lukka 5:32; 1 Timoseewo 1:15.

5. Yakuwa kimukakatako okutusonyiwa? Nnyonnyola.

5 Tewali n’omu ku ffe alina kukitwala nti Yakuwa alina okumusonyiwa olw’okuba amaze emyaka mingi ng’amuweereza. Kya lwatu Yakuwa ajjukira ebyo byonna bye tukola nga tumuweereza. (Beb. 6:10) Naye ekinunulo yakiwaayo ng’ekirabo; teyakiwaayo kutusasula olw’ebyo bye tukola nga tumuweereza. N’olwekyo kikyamu okulowooza nti olw’okuba tulina ebintu bingi bye tukoze nga tuweereza Yakuwa, tusaanidde okusonyiyibwa. Bwe tuba n’endowooza eyo tuba ng’abagamba nti tetwetaaga kinunulo.—Geraageranya Abaggalatiya 2:21.

6. Lwaki Pawulo yaweereza Yakuwa n’obunyiikivu?

6 Pawulo yali akimanyi nti ka bibe bintu byenkana we bye yakola ng’aweereza Yakuwa, Yakuwa kyali tekimukakatako kumusonyiwa. Kati olwo lwaki yali aweereza n’obunyiikivu? Ekyo yali takikola kulaga nti agwanira okusonyiyibwa, wabula yali akikola okulaga nti asiima ekisa kya Yakuwa eky’ensusso. (Bef. 3:7) Okufaananako Pawulo, naffe tweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ekyo tetukikola kulaga nti twagala okusonyiyibwa, wabula okulaga nti tusiima ebyo by’atukolera.

7. Engeri endala gye tuganyulwa mu kinunulo mu kiseera kino y’eruwa? (Abaruumi 5:1; Yakobo 2:23)

7 Engeri endala gye tuganyulwa mu kinunulo mu kiseera kino eri nti tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. a Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, bwe tuzaalibwa, tetuba na nkolagana ne Katonda. Naye olw’okuba ekinunulo kyaweebwayo, tusobola okubeera mu “mirembe ne Katonda” era tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.—Soma Abaruumi 5:1; Yakobo 2:23.

8. Lwaki tusaanidde okusiima ennyo Yakuwa olw’enkizo ey’okusaba?

8 Lowooza ku kimu ku bintu ebitusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, ng’eno ye nkizo ey’okusaba. Yakuwa takoma ku kuwuliriza ssaala z’abaweereza be nga bakuŋŋaanye wamu ng’ekibiina, naye era awuliriza n’essaala ze tusaba kinnoomu. Bwe tusaba tuwulira nga tukkakkanye; naye ogwo si gwe mugaso gwokka ogw’okusaba. Okusaba kunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Zab. 65:2; Yak. 4:8; 1 Yok. 5:14) Yesu bwe yali ku nsi yasabanga nnyo kubanga yali akimanyi nti Yakuwa awuliriza okusaba, era nti okusaba kwandimuyambye okunyweza enkolagana ye ne Kitaawe. (Luk. 5:16) Nga kitusanyusa nnyo okuba nti olw’okuba Yakuwa yawaayo ekinunulo, tusobola okuba mikwano gye era ne twogera naye okuyitira mu kusaba!

ENGERI GYE TUJJA OKUGANYULWA MU KINUNULO MU BISEERA EBY’OMU MAASO

9. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa banaaganyulwa batya mu kinunulo mu biseera eby’omu maaso?

9 Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa banaaganyulwa batya mu kinunulo mu biseera eby’omu maaso? Bajja kuweebwa obulamu obutaggwaawo. Olw’okuba okumala emyaka nkumi na nkumi abantu bazze bafa, bangi balowooza nti tetusobola kubaawo mirembe gyonna. Naye Yakuwa yatonda abantu ng’ayagala babeerewo emirembe gyonna. Singa Adamu teyayonoona, tewali muntu yandirowoozezza nti tetusobola kubaawo mirembe gyonna. Wadde nga kizibu okuteebereza nti tusobola okubeerawo emirembe gyonna mu kiseera kino, tusobola okukkiriza nti ekyo kisoboka kubanga Yakuwa yawaayo Omwana we tusobole okubeerawo emirembe gyonna.—Bar. 8:32.

10. Kiki Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala kye beesunga?

10 Wadde ng’obulamu obutaggwaawo tujja kubufuna mu biseera bya mu maaso, Yakuwa ayagala tube nga tubulowoozaako mu kiseera kino. Abakristaayo abaafukibwako amafuta beesunga okubeera abalamu mu ggulu nga bafugira wamu ne Kristo. (Kub. 20:6) Ab’endiga endala beesunga okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi olutajja kubaamu kubonaabona wadde ennaku. (Kub. 21:​3, 4) Oli omu ku b’endiga endala abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna? Empeera eyo si ya wansi ku y’abo abagenda okubeera mu ggulu. Yakuwa yatonda abantu nga ba kubeera ku nsi. N’olwekyo okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi kijja kutuleetera essanyu lingi nnyo.

11-12. Ebimu ku bintu bye twesunga mu Lusuku lwa Katonda bye biruwa? (Laba n’ebifaananyi.)

11 Lowooza ku bulamu bwe buliba ng’ensi efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Ojja kuba teweeraliikirira nti ojja kulwala oba nti ekiseera kijja kutuuka ofe. (Is. 25:8; 33:24) Yakuwa ajja kukuwa ebintu byonna ebirungi by’oyagala. Biki by’oyagala okuyigako? Oyagala kuyiga ku bisolo, ku binyonyi, okukuba ebivuga, oba okusiiga ebifaananyi? Mu nsi empya tujja kwetaaga abantu abamanyi okukuba pulaani z’ebizimbe, abazimbi, n’abalimi. Ate era tujja kwetaaga abantu abateekateeka eby’okulya, abakola ebintu ebikozesebwa, n’abasimba ebimuli n’okubirabirira. (Is. 35:1; 65:21) Olw’okuba ojja kuba obeerawo emirembe gyonna, ojja kuba osobola okukola ebintu ebyo awamu n’ebirala bingi.

12 Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okwaniriza abantu baffe abanaazuukizibwa! (Bik. 24:15) Ate era lowooza ku ssanyu ly’ojja okufuna ng’oyiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu bintu ebingi bye yatonda. (Zab. 104:24; Is. 11:9) N’ekisinga ebyo byonna, tujja kuba tuweereza Yakuwa nga tetulina kibi kyonna era nga tetwetaaga kusonyiyibwa! Wandifiiriddwa emikisa egyo gyonna olw’okwagala “essanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera”? (Beb. 11:25) Kya lwatu nedda! Emikisa egyo gisingira wala ekintu kyonna kye twefiiriza kati. Kijjukire nti ekiseera kigenda kutuuka Olusuku lwa Katonda tube nga tetusuubira lusuubire, wabula nga tululimu. Ebyo byonna bijja kubaawo olw’okuba Yakuwa yawaayo Omwana we okutufiirira!

Bintu ki by’osinga okwesunga mu Lusuku lwa Katonda? (Laba akatundu 11-12)


LAGA NTI OSIIMA OKWAGALA YAKUWA KW’ATULAGA

13. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima okwagala Yakuwa kwe yatulaga? (2 Abakkolinso 6:1)

13 Tuyinza tutya okulaga nti tusiima Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo? Nga mu bulamu bwaffe tukulembeza okumuweereza. (Mat. 6:33) Tusaanidde okukola bwe tutyo kubanga Yesu yafa “abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiirira era n’azuukira.” (2 Kol. 5:15) Mazima ddala tetwagala kwerabira kigendererwa kya Yakuwa eky’ekisa kye eky’ensusso.—Soma 2 Abakkolinso 6:1.

14. Tuyinza tutya okukiraga nti twesiga obulagirizi Yakuwa bw’atuwa?

14 Ate era tulaga nti tusiima okwagala Yakuwa kwe yatulaga nga tumwesiga era nga tukolera ku bulagirizi bw’atuwa. Ekyo tukikola tutya? Bwe tubaako bye tusalawo, gamba nga buyigirize ki bwe tunaafuna oba mulimu ki gwe tunaakola, tusaanidde okulowooza ku ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole. (1 Kol. 10:31; 2 Kol. 5:7) Bwe tusalawo nga tusinziira ku kukkiriza kwe tulina mu Yakuwa, okukkiriza kwaffe n’enkolagana yaffe naye byeyongera okunywera. Mu ngeri eyo essuubi lyaffe lyeyongera okuba ekkakafu.—Bar. 5:​3-5; Yak. 2:​21, 22.

15. Mu kiseera ky’Ekijjukizo tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera?

15 Waliwo engeri endala gye tuyinza okukyoleka nti tusiima okwagala Yakuwa kwe yatulaga. Engeri eyo kwe kukozesa ekiseera ky’Ekijjukizo okulaga Yakuwa nti tusiima ekinunulo kye yawaayo ku lwaffe. Ng’oggyeeko okweteekateeka okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, tusaanidde n’okuyita abalala okubaawo. (1 Tim. 2:4) Abo b’onooyita ku mukolo ogwo bannyonnyole ebyo ebijja okubaayo. Bajja kuganyulwa nnyo bw’onoobalaga vidiyo, Lwaki Yesu Yafa? ne Okujjukira Okufa kwa Yesu. Abakadde basaanidde okufuba okuyita abo abaggwaamu amaanyi. Lowooza ku ssanyu erinaaba mu ggulu ne ku nsi ng’ezimu ku ndiga za Yakuwa ezaabula zikomyewo mu kisibo kye! (Luk. 15:​4-7) Ku mukolo gw’Ekijjukizo ka tufube okwaniriza bonna abanaabaawo, naye okusingira ddala abapya oba abo abanaaba bamaze ekiseera kiwanvu nga tebajja mu nkuŋŋaana. Twagala bawulire nti tubasanyukidde.—Bar. 12:13.

16. Lwaki tusaanidde okulowooza ku kugaziya ku buweereza bwaffe mu kiseera ky’Ekijjukizo?

16 Osobola okugaziya ku buweereza bwo mu kiseera ky’Ekijjukizo? Eyo ngeri nnungi ey’okulagamu nti tusiima ebyo byonna Katonda ne Kristo bye baatukolera. Gye tukoma okwenyigira mu buweereza, gye tukoma okukiraba nti Yakuwa atuyamba, era ekyo kituviirako okweyongera okumwesiga. (1 Kol. 3:9) Ate era fuba okugoberera enteekateeka y’okusoma Bayibuli okukwata ku Kijjukizo eri mu akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku oba mu katabo ke tukozesa mu nkuŋŋaana eza wakati mu wiiki. Oyinza n’okusalawo okukozesa ebyawandiikibwa ebyo okwesomesa.

17. Kiki ekisanyusa Yakuwa? (Laba n’akasanduuko “ Bye Tukola Okulaga Nti Tusiima Okwagala Yakuwa Kwe Yatulaga.”)

17 Kyo kituufu nti embeera yo eyinza obutakusobozesa kukola byonna ebyogeddwako mu kitundu kino. Naye kijjukire nti ebyo by’okola mu buweereza bwo Yakuwa tabigeraageranya n’ebyo abalala bye bakola. Alaba ekyo ekiri mu mutima gwo. Asanyuka nnyo bw’alaba ng’osiima ekirabo kye yatuwa eky’ekinunulo okuviira ddala ku mutima gwo.—1 Sam. 16:7; Mak. 12:​41-44.

18. Lwaki tusiima nnyo Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo?

18 Olw’okuba ekinunulo kyaweebwayo, tusonyiyibwa ebibi byaffe, tulina enkolagana ne Yakuwa, era tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Ka bulijjo tukiragenga nti tusiima okwagala kwa Yakuwa okwamuleetera okutuwa emikisa egyo. (1 Yok. 4:19) Ate era ka tukiragenga nti tusiima nnyo Yesu eyatwagala ennyo n’awaayo obulamu bwe ku lwaffe!—Yok. 15:13.

OLUYIMBA 154 Okwagala Tekulemererwa

a Yakuwa yasonyiwa abaweereza be abaaliwo nga Kristo tannasasula kinunulo. Ekyo yali asobola okukikola kubanga yali mukakafu nti Omwana we yali ajja kuba mwesigwa okutuukira ddala okufa. N’olwekyo mu maaso ga Yakuwa ekinunulo kyali ng’ekyali kimaze okusasulwa.—Bar. 3:25.