Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

Kiki Kye Tuyigira ku Kinunulo?

Kiki Kye Tuyigira ku Kinunulo?

“Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa.”1 YOK. 4:9.

EKIGENDERERWA

Engeri ekinunulo gye kituyamba okutegeera engeri ennungi Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo ze balina.

1. Tuganyulwa tutya mu kubangawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu ogubaawo buli mwaka?

 EKINUNULO oteekwa okuba ng’okitwala nti kirabo kya muwendo nnyo! (2 Kol. 9:15) Olw’okuba Yesu yawaayo bulamu bwe nga ssaddaaka, osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda. Ate era olina n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Mazima ddala tusaanidde okusiima ennyo ekinunulo, n’okusiima ennyo Yakuwa eyakola enteekateeka okukituwa olw’okuba atwagala nnyo! (Bar. 5:8) Okusobola okutuyamba okusigala nga tusiima ekinunulo, n’obutakitwala ng’ekitali kya muwendo, Yesu yatandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe ogubaawo buli mwaka.—Luk. 22:​19, 20.

2. Kiki ekigenda okwogerwako mu kitundu kino?

2 Mu mwaka guno ekijjukizo kijja kubaawo ku Lwomukaaga, Apuli 12, 2025. Kya lwatu nti ffenna tuteekateeka okubaawo. Mu kiseera ky’Ekijjukizo tujja kuganyulwa nnyo bwe tunaawaayo ebiseera okufumiitiriza a ku ekyo Yakuwa n’Omwana we kye baatukolera. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo ekinunulo bye kituyigiriza ku Yakuwa n’Omwana we. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kinunulo, era n’engeri gye tuyinza okulaga nti tusiima ekinunulo ekyo.

EKINUNULO KITUYIGIRIZA KI KU YAKUWA?

3. Okufa kw’omuntu omu kwasobola kutya okununula obukadde n’obukadde bw’abantu? (Laba n’ekifaananyi.)

3 Ekinunulo kituyamba okukimanya nti Yakuwa ye Katonda ayagala obwenkanya. (Ma. 32:4) Mu ngeri ki? Lowooza ku kino: Olw’okuba Adamu yajeemera Yakuwa n’afuuka omwonoonyi, naffe twasikira ekibi ekituviirako okufa. (Bar. 5:12) Okusobola okutusumulula okuva mu kibi n’okufa, Yakuwa yakola enteekateeka Yesu aweeyo ekinunulo. Naye ssaddaaka y’omuntu omu atuukiridde yandisobodde etya okununula obukadde n’obukadde bw’abantu? Omutume Pawulo yagamba nti: “Ng’obujeemu bw’omuntu omu [Adamu] bwe bwaviirako bangi okufuuka aboonoonyi, n’obuwulize bw’omuntu omu [Yesu] bujja kuviirako bangi okufuuka abatuukirivu.” (Bar. 5:19; 1 Tim. 2:6) Wano Pawulo yalaga nti omuntu omu eyali atuukiridde bwe yajeema, kyatuviirako ffenna okuba mu buddu bw’ekibi n’okufa. N’olwekyo kyali kyetaagisa omuntu omu atuukiridde okutusumulula mu buddu obwo.

Omuntu omu ye yatuviirako okuba mu buddu bw’ekibi n’okufa. Ate era omuntu omu ye yatuviirako okununulwa (Laba akatundu 3)


4. Lwaki Yakuwa teyaleka bulesi bazzukulu ba Adamu ab’emitima emirungi okubaawo emirembe gyonna?

4 Ddala Yesu kyali kimwetaagisa okufa okusobola okutununula? Yakuwa yali tasobola kusalawo kuleka bulesi bazzukulu ba Adamu ab’emitima emirungi okubaawo emirembe gyonna? Eri abantu abatatuukiridde ekyo kiyinza okulabika ng’ekikola amakulu. Naye eri Yakuwa ekyo tekyandibadde kituufu kukola. Kubanga kyandibadde kiraga nti ekibi Adamu kye yakola tekyali kya maanyi era nti n’abaana be si boonoonyi. Kyokka ng’ekyo si kituufu.

5. Lwaki tuli bakakafu nti bulijjo Yakuwa ajja kukolanga ekituufu?

5 Ate era singa Yakuwa teyawaayo kinunulo naye n’akkiriza bazzukulu ba Adamu okubaawo emirembe gyonna wadde nga tebatuukiridde, yandibadde asambazze omutindo gwe ogw’obwenkanya. Ekyo kyandiviiriddeko abantu okutya nti Yakuwa yandizeemu okusambajja omutindo gwe ogw’obwenkanya ne mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, bandibadde babuusabuusa obanga Yakuwa yandituukirizza byonna bye yasuubiza. Naye olw’okuba yanywerera ku mutindo gwe ogw’obwenkanya, tetweraliikirira nti ekyo kisobola okubaawo. Ate era olw’okuba Yakuwa kyali kimwetaagisa okwefiiriza ennyo okusobola okunywerera ku mutindo gwe ogw’obwenkanya n’okuwaayo omwana we gw’ayagala ennyo, kituleetera okuba abakakafu nti bulijjo ajja kukolanga ekituufu.

6. Engeri emu ekinunulo gye kyolekamu okwagala kwa Katonda y’eruwa? (1 Yok. 4:​9, 10)

6 Wadde ng’ekinunulo kituyamba okukitegeera nti Yakuwa Katonda mwenkanya, okusingira ddala kituyamba okutegeera nti alina okwagala kungi nnyo. (Yok. 3:16; soma 1 Yokaana 4:​9, 10.) Yakuwa yasindika omwana we okutufiirira olw’okuba ayagala tubeerewo emirembe gyonna era olw’okuba ayagala tubeere ab’omu maka ge. Lowooza ku kino: Adamu bwe yayonoona, Yakuwa yamugoba mu maka ge agalimu abaweereza be abamusinza. N’ekyavaamu, ffenna tuzaalibwa nga tetuli ba mu maka ga Yakuwa. Naye olw’ekinunulo ekyaweebwayo, Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe era oluvannyuma ajja kuleeta mu maka ge abantu bonna abamukkiririzaamu era abamugondera. Ne mu kiseera kino tusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne bakkiriza bannaffe. Mazima ddala Yakuwa yatulaga okwagala kungi nnyo!—Bar. 5:​10, 11.

7. Okuba nti Yesu yabonaabona kituyamba kitya okutegeera okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli?

7 Tusobola okweyongera okutegeera okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli, singa tufumiitiriza ku ekyo kye yeefiiriza okusobola okuwaayo ekinunulo. Sitaani yagamba nti tewali muweereza wa Yakuwa asobola kusigala nga mwesigwa singa aba ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo. Okusobola okulaga nti ekyo Sitaani kye yayogera kya bulimba, Yakuwa yaleka Omwana we okubonaabona nga tannattibwa. (Yob. 2:​1-5; 1 Peet. 2:21) Yakuwa yali alaba ng’abakulembeze b’eddiini bavuma Yesu, ng’abasirikale bamukuba kibooko, era ng’akomererwa ku muti. Ate era yalaba ng’Omwana we gw’ayagala ennyo afiira mu bulumi obw’amaanyi. (Mat. 27:​28-31, 39) Yakuwa yalina obusobozi okulemesa ebyo byonna okutuuka ku Mwana we. Ng’ekyokulabirako, abalabe ba Yesu bwe baagamba nti: “Kale [Katonda] amuwonye bw’aba ng’amwagala.” Ekyo Yakuwa yali asobola okukikola. (Mat. 27:​42, 43) Naye singa ekyo Yakuwa yakikola, tewandibaddewo kinunulo kiweebwayo era tetwandibadde na ssuubi lyonna. N’olwekyo Yakuwa yaleka omwana we okubonaabona ennyo okutuusa lwe yassa ogw’enkomerero.

8. Yakuwa yawulira obulumi bwe yalaba Omwana we ng’abonaabona? Nnyonnyola. (Laba n’ekifaananyi.)

8 Tetusaanidde kulowooza nti olw’okuba Katonda ye muyinza w’ebintu byonna, talina nneewulira. Olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kye, nga tulina enneewulira, naye ateekwa okuba ng’alina enneewulira. Bayibuli eraga nti ‘anakuwala.’ (Zab. 78:​40, 41) Ate era lowooza ku ebyo ebikwata ku Ibulayimu ne Isaaka. Kijjukire nti Ibulayimu yalagirwa okuwaayo omwana we omu yekka nga ssaddaaka. (Lub. 22:​9-12; Beb. 11:​17-19) Lowooza ku bulumi Ibulayimu bwe yali awulira bwe yagalula akaso okutta Isaaka. Yakuwa ateekwa okuba nga yawulira obulumi bungi nnyo n’okusingawo bwe yalaba Omwana we ng’atulugunyizibwa era oluvannyuma n’attibwa abantu abatatya Katonda.—Laba ku jw.org/lg vidiyo erina omutwe Koppa Okukkiriza Kwabwe—Ibulayimu, Ekitundu 2.

Yakuwa yawulira obulumi obw’amaanyi ng’alaba Omwana we abonaabona (Laba akatundu 8)


9. Ebyo ebiri mu Abaruumi 8:​32, 38, 39, bikuyamba bitya okutegeera okwagala Yakuwa kw’alina gy’oli n’eri bakkiriza banno?

9 Ekinunulo kituyamba okukimanya nti tewali n’omu atwagala kusinga Yakuwa, ka babe ab’eŋŋanda zaffe be tusingayo okwagala oba mikwano gyaffe. (Soma Abaruumi 8:​32, 38, 39.) Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa atwagala nnyo n’okusinga ffe bwe tweyagala. Oyagala okubaawo emirembe gyonna? Yakuwa y’asinga okwagala obeewo emirembe gyonna. Oyagala okusonyiyibwa ebibi byo? Yakuwa y’asinga okwagala okukusonyiwa. Ekintu kyokka ky’atwetaagisa okukola kwe kusiima ekirabo ekyo kye yatuwa, nga tuba n’okukkiriza era nga tumugondera. Mazima ddala ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo ekyoleka okwagala kwa Yakuwa. Mu nsi empya tujja kuyiga ebisingawo ebikwata ku kwagala kwa Yakuwa.—Mub. 3:11.

EKINUNULO KITUYIGIRIZA KI KU YESU?

10. (a) Okusingira ddala kiki ekyaviirako Yesu okuba omweraliikirivu ennyo bwe yali anaatera okufa? (b) Mu ngeri ki Yesu gye yakiraga nti ebyo Sitaani bye yayogera ku Kitaawe bya bulimba? (Laba n’akasanduuko “ Obwesigwa bwa Yesu Bwalaga Nti Sitaani Mulimba.”)

10 Yesu afaayo nnyo ku ngeri abalala gye batwalamu Kitaawe. (Yok. 14:31) Yesu yalumwa nnyo olw’okuvunaanibwa omusango gw’okuvvoola n’okujeemera gavumenti, kubanga ekyo kyali kireeta ekivume ku linnya lya Kitaawe. Eyo ye nsonga lwaki yasaba nti: “Kitange, bwe kiba kisoboka, nzigyaako ekikopo kino.” (Mat. 26:39) Yesu bwe yasigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa, yalaga nti ebyo Sitaani bye yayogera ku Kitaawe bya bulimba.

11. Yesu yakyoleka atya nti ayagala nnyo abantu? (Yokaana 13:1)

11 Ekinunulo era kituyamba okukiraba nti Yesu ayagala nnyo abantu, nnaddala abayigirizwa be. (Nge. 8:31; soma Yokaana 13:1.) Ng’ekyokulabirako, Yesu yali akimanyi nti ebintu ebimu bye yandiyiseemu mu buweereza bwe ku nsi tebyandibadde byangu, nnaddala engeri gye yandifuddemu. Kyokka bwe yali atuukiriza obuweereza bwe ku nsi teyakolanga bintu kutuukiriza butuukiriza luwalo. Mu kifo ky’ekyo, yabuuliranga, yayigirizanga, era yaweerezanga abantu n’omutima gwe gwonna. Ne ku lunaku lwe yali agenda okuttibwa, yanaaza abatume be ebigere era n’abagamba ebintu bingi okubayigiriza, okubazzaamu amaanyi, n’okubabudaabuda. (Yok. 13:​12-15) Ate bwe yali ku muti ogw’okubonaabona, yayamba omumenyi w’amateeka eyali akomereddwa okumpi naye okuba n’essuubi, era yakola n’enteekateeka omutume Yokaana alabirire maama we. (Luk. 23:​42, 43; Yok. 19:​26, 27) N’olwekyo okwagala Yesu kw’alina tekweyolekera mu kufiiririra bantu kwokka, naye era kweyolekera ne mu ngeri gye yabayisaamu ng’ali ku nsi.

12. Mu ngeri ki Yesu gy’akyeyongera okutukolera ebintu ebirungi?

12 Wadde nga Yesu yafa “omulundi gumu,” akyatukolera ebintu bingi. (Bar. 6:10) Mu ngeri ki? Akyeyongera okukola n’obunyiikivu okutuwa ebintu ebirungi bye tufuna okuyitira mu kinunulo. Lowooza ku ebyo by’akola. Akola nga Kabaka waffe, Kabona Asinga Obukulu, era Omutwe gw’Ekibiina. (1 Kol. 15:25; Bef. 5:23; Beb. 2:17) Y’awomye omutwe mu mulimu gw’okukuŋŋaanya abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene, era ng’omulimu ogwo gujja kumalirizibwa ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okukoma. b (Mat. 25:32; Mak. 13:27) Ate era afuba okukakasa nti abaweereza be abeesigwa baliisibwa bulungi mu by’omwoyo mu nnaku zino ez’enkomerero. (Mat. 24:45) Era mu kiseera kyonna eky’Obufuzi Bwe obw’Emyaka Olukumi, ajja kweyongera okutukolera ebintu ebirungi. Mazima ddala Yakuwa yawaayo Omwana we ku lwaffe!

TOLEKERANGAAWO KUYIGA BINTU BIPYA

13. Okufumiitiriza kunaakuyamba kutya okweyongera okuyiga ebikwata ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga?

13 Osobola okweyongera okuyiga ebikwata ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe batulaga, singa weeyongera okufumiitiriza ku ebyo bye bakukoledde. Oboolyawo mu kiseera ky’Ekijjukizo eky’omwaka guno, oyinza okusalawo okusoma n’obwegendereza ekitabo ky’Enjiri kimu oba bibiri. Tosoma bintu bingi omulundi gumu. Mu kifo kyekyo, soma mpolampola nga bw’onoonya ensonga endala ezituleetera okwagala Yakuwa ne Yesu. Ate era ebyo by’onooyiga bibuulireko abalala.

14. Okusinziira ku Zabbuli 119:97 n’obugambo obuli wansi, okunoonyereza kuyinza kutya okutuyamba okweyongera okuyiga ebikwata ku kinunulo, n’ebirala Bayibuli by’eyigiriza? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Bw’oba ng’omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa, oyinza okuba nga weebuuza obanga wakyaliyo ebintu ebipya by’osobola okuyiga ku bintu gamba ng’obwenkanya bwa Katonda, okwagala kwe, n’ekinunulo. Ekituufu kiri nti bulijjo tujja kubangako ebipya bye tuyiga ku bintu ebyo n’ebirala. Kati olwo kiki ky’osaanidde okukola? Soma era weekenneenye ebyo ebiri mu bitabo byaffe eby’esigamiziddwa ku Bayibuli. Bw’osanga ekintu ky’otategeera bulungi, nnoonyereza. Oluvannyuma ekyo ky’ozudde kifumiitirizeeko olunaku lwonna era fumiitiriza ku ekyo kye kikuyigiriza ku Yakuwa, ku Mwana we, era ne ku kwagala kwe bakulaga.—Soma Zabbuli 119:97 n’obugambo obuli wansi.

Ne bwe tuba nga tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa, tusobola okweyongera okusiima ekinunulo (Laba akatundu 14)


15. Lwaki tusaanidde okweyongeranga okunoonya ebintu ebipya mu Bayibuli?

15 Toggwaamu maanyi singa emirundi egimu bw’oba weesomesa oba ng’oliko ky’onoonyereza tozuulayo kintu kipya oba ekintu ekikukwatako ennyo. Oyinza okugeraageranyizibwa ku muntu anoonya zzaabu. Abantu abanoonya zzaabu bayinza okumala essaawa nnyingi oba ennaku nnyingi nga tebannazuulayo wadde akatole akatono aka zzaabu. Naye bagenda mu maaso n’okunoonya kuba bamanyi nti buli katole aka zzaabu kaba ka muwendo nnyo. Ebintu ebipya bye tuyiga mu Bayibuli bya muwendo nnyo n’okusinga zzaabu! (Zab. 119:127; Nge. 8:10) N’olwekyo, ba mugumiikiriza era nywerera ku nteekateeka yo ey’okusoma Bayibuli.—Zab. 1:2.

16. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa ne Yesu?

16 Bw’oba weesomesa, fumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’oyiga. Ng’ekyokulabirako, koppa obwenkanya bwa Yakuwa nga weewala okusosola abalala. Koppa okwagala Yesu kw’alina eri Kitaawe n’eri abalala ng’oba mwetegefu okubonaabona ku lw’erinnya lya Yakuwa, era ng’oba mwetegefu okwefiiriza ku lwa bakkiriza banno. Ate era koppa Yesu ng’obuulira abalala nabo basobole okufuna akakisa ak’okukkiriza ekirabo eky’omuwendo ennyo Yakuwa kye yawa abantu.

17. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Gye tunaakoma okutegeera ekinunulo era n’okukisiima, gye tujja okukoma okwagala Yakuwa n’Omwana we. Ekyo nabo kijja kubaviirako okweyongera okutwagala. (Yok. 14:21; Yak. 4:8) N’olwekyo, ka tukozese ebintu Yakuwa by’atuwadde okweyongera okuyiga ku kinunulo. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba egimu ku mikisa gye tufuna olw’okuba Yesu yatufiirira, era n’ekyo kye tuyinza okukola okulaga nti tusiima okwagala Yakuwa kwe yatulaga.

OLUYIMBA 107 Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala

a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: “Okufumiitiriza” kitegeeza okussa ebirowoozo byo ku kintu okusobola okweyongera okukitegeera obulungi.

b Okukuŋŋaanya “ebintu eby’omu ggulu” Pawulo kwe yayogerako mu Abeefeso 1:​10, kwa njawulo ku kukuŋŋaanyizibwa ‘kw’abalonde’ Yesu kwe yayogerako mu Matayo 24:31 ne Makko 13:27. Pawulo yali ayogera ku kiseera Yakuwa lw’alonda abo ab’okufugira awamu ne Yesu mu ggulu ng’abafukako omwoyo gwe omutukuvu. Yesu yali ayogera ku kiseera Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi lwe bandibadde bakuŋŋaanyizibwa ne batwalibwa mu ggulu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.