Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Kuba Ebifaananyi Bikuyambe Okujjukira by’Osomye

Kuba Ebifaananyi Bikuyambe Okujjukira by’Osomye

Okufaananako bangi ku ffe, naawe oyinza okuba ng’ozibuwalirwa okujjukira ebintu by’oba osomye. Naye okyetegerezza nti kyangu okujjukira ebintu Yesu bye yayigiriza kubanga yakozesanga ebyokulabirako? Osobola okukuba akafaananyi ku ebyo Yesu bye yabanga annyonnyola ne kikuyamba okubijjukira. Mu ngeri y’emu, bw’okuba akafaananyi ku ebyo by’oba osomye kikuyamba okubijjukira. Ekyo oyinza kukikola otya? Ng’obaako ebifaananyi by’okuba ng’oliko by’osoma.

Abantu abatera okukuba ebifaananyi by’ebintu ebipya bye baba bayize, batera okubijjukira. Okukuba ebifaananyi tekukoma ku kubayamba kujjukira bigambo, naye era kubayamba n’okujjukira ensonga enkulu eziba mu ebyo bye baba basomye. Ebifaananyi ebyo babikuba mu ngeri ennyangu. Ate era okunoonyereza kulaga nti okusingira ddala abo abakaddiye bajjukira nnyo bye baba basomye bwe bakozesa enkola eno.

Omulundi gw’onooddako okwesomesa, baako ebifaananyi by’okuba bikuyambe okujjukira ebyo by’oba osomye. Ojja kukiraba nti ebyo by’osomye obijjukira bulungi nnyo!