Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1

OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa

Muwe Yakuwa Ekitiibwa

Muwe Yakuwa Ekitiibwa

EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2025: “Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.”ZAB. 96:8.

EKIGENDERERWA

Okumanya engeri gye tusaanidde okuwa Yakuwa ekitiibwa ekimugwanidde.

1. Leero abantu bangi beemalidde ku ki?

 OKYETEGEREZZA nti abantu bangi leero beerowoozaako nnyo? Ng’ekyokulabirako, abamu bakozesa emikutu emigattabantu okweraga n’okwewaana olw’ebyo bye baba bakoze. Kyokka abantu batono nnyo leero abawa Yakuwa Katonda ekitiibwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba kye kitegeeza okuwa Yakuwa ekitiibwa, era n’ensonga lwaki tusaanidde okumuwa ekitiibwa. Ate era tugenda kulaba engeri gye tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa ky’agwanidde okuweebwa, era n’engeri gy’ajja okugulumiza erinnya lye mu biseera eby’omu maaso.

KITEGEEZA KI OKUWA YAKUWA EKITIIBWA?

2. Yakuwa yayoleka atya ekitiibwa kye ku Lusozi Sinaayi? (Laba ku ddiba.)

2 Bayibuli egamba nti Yakuwa Katonda wa kitiibwa nnyo. Yakuwa yayoleka ekitiibwa kye ekingi mu ngeri ewuniikiriza nga waakayita ekiseera kitono ng’Abayisirayiri bavudde e Misiri. Kuba akafaananyi ku ekyo ekyaliwo. Abayisirayiri mitwalo na mitwalo bakuŋŋaanidde wansi w’Olusozi Sinaayi okuwuliriza Katonda ky’agenda okubagamba. Ekire ekikutte kibuutikira olusozi. Mangu ddala olusozi olwo lutandika okunyooka omukka, ettaka likankana, wabaawo okumyansa n’okubwatuka okw’amaanyi, era eddoboozi ly’eŋŋombe evugira waggulu ennyo liwulirwa. (Kuv. 19:​16-18; 24:17; Zab. 68:8) Abayisirayiri bateekwa okuba nga baawuniikirira nnyo bwe baalaba engeri Yakuwa gye yayolekamu ekitiibwa kye.

Ku lusozi Sinaayi, Yakuwa yayoleka ekitiibwa kye eri Abayisirayiri mu ngeri ewuniikiriza (Laba akatundu 2)


3. Kiki ekizingirwa mu kuwa Yakuwa ekitiibwa?

3 Yakuwa alina ekitiibwa kingi nnyo, era tusobola okuyamba abalala okukimanya nti alina ekitiibwa kingi. Engeri emu gye tusobola okumuwaamu ekitiibwa kwe kubuulira abalala ebyo bye yakola era n’okubayamba okutegeera engeri ze ennungi. Ate era tuwa Yakuwa ekitiibwa nga ye gwe tutendereza bwe waabaawo ekintu kyonna ky’aba atuyambye okukola. (Is. 26:12) Kabaka Dawudi yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kuwa Yakuwa ekitiibwa. Mu ssaala gye yasaba ng’ali mu maaso g’ekibiina ky’Abayisirayiri, yagamba Katonda nti: “Ai Yakuwa, oli mukulu, oli wa maanyi, oli mulungi, osukkulumye, era oli wa kitiibwa; kubanga ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi bibyo.” Dawudi bwe yamaliriza okusaba, ‘ekibiina kyonna kyatendereza Yakuwa.’—1 Byom. 29:​11, 20.

4. Yesu yawa atya Yakuwa ekitiibwa?

4 Yesu bwe yali ku nsi, yagulumiza Kitaawe ng’ayamba abalala okukitegeera nti ye yamusobozesanga okukola ebyamagero bye yakolanga. (Mak. 5:​18-20) Ate era Yesu yagulumiza Yakuwa okuyitira mu ebyo bye yamwogerangako era n’engeri gye yayisangamu abalala. Lumu bwe yali ayigiriza mu kkuŋŋaaniro, mu abo abaali bamuwuliriza mwalimu omukazi eyali amaze emyaka 18 ng’atawaanyizibwa dayimooni. Dayimooni yali emuleetedde okwewetamu nga tasobola kuyimirira busimba. Embeera ye yali mbi nnyo. Olw’okuba Yesu yasaasira omukyala oyo, yamutuukirira n’amugamba mu ngeri ey’ekisa nti: “Osumuluddwa okuva mu bulwadde bwo.” Oluvannyuma yamussaako emikono, era amangu ago mukazi oyo yayimirira busimba “n’atandika okugulumiza Katonda” olw’okumuwonya! (Luk. 13:​10-13) Mazima ddala omukazi oyo yalina ensonga ennungi kw’asinziira okuwa Yakuwa ekitiibwa, era naffe tusaanidde okukola kye kimu.

LWAKI TUWA YAKUWA EKITIIBWA?

5. Nsonga ki ezituleetera okuwa Yakuwa ekitiibwa?

5 Tuwa Yakuwa ekitiibwa olw’ekyo ky’ali. Waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okuwa Yakuwa ekitiibwa. Ye muyinza w’ebintu byonna era amaanyi ge tegaliiko kkomo. (Zab. 96:​4-7) Alina amagezi mangi nnyo era geeyolekera mu bintu bye yakola. Ye Nsibuko y’obulamu bwaffe era y’abubeezaawo. (Kub. 4:11) Mwesigwa. (Kub. 15:4) Buli ky’akola ebivaamu biba birungi, era bulijjo atuukiriza by’asuubiza. (Yos. 23:14) Eyo ye nsonga lwaki nnabbi Yeremiya yagamba bw’ati Yakuwa: “Tewali n’omu alinga ggwe, mu b’amagezi bonna ab’omu mawanga n’ab’omu bwakabaka bwabwe bwonna”! (Yer. 10:​6, 7) Mazima ddala tulina ensonga nnyingi kwe tusinziira okuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. Naye ng’oggyeeko okuwa Yakuwa ekitiibwa, era tumwagala.

6. Lwaki twagala nnyo Yakuwa?

6 Tuwa Yakuwa ekitiibwa olw’okuba tumwagala nnyo. Lowooza ku ngeri za Yakuwa ezitali zimu ezituleetera okumwagala. Wa kisa era musaasizi. (Zab. 103:13; Is. 49:15) Atulumirirwa; bwe tuba mu bulumi naye aba alumwa. (Zek. 2:8) Atuyamba okumumanya tusobole okuba mikwano gye. (Zab. 25:14; Bik. 17:27) Ate era mwetoowaze; “akutama n’atunuulira eggulu n’ensi, n’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu.” (Zab. 113:​6, 7) Mazima ddala olw’ensonga ezo ze tulabye, twagala okugulumiza Katonda waffe ow’ekitiibwa.—Zab. 86:12.

7. Nkizo ki gye tulina?

7 Tuwa Yakuwa ekitiibwa olw’okuba twagala abalala nabo bamumanye. Abantu bangi tebamanyi mazima gakwata ku Yakuwa. Lwaki? Kubanga Sitaani ayogedde ebintu eby’obulimba ku Yakuwa era bangi bakkiriza obulimba obwo. (2 Kol. 4:4) Sitaani aleetedde abantu bangi okulowooza nti Yakuwa wa ttima, tabafaako, era nti okubonaabona okusinga obungi okuliwo mu nsi y’akuleeta. Naye ffe tumanyi amazima agakwata ku Yakuwa. Twagala abalala bamanye ekyo ky’ali nabo basobole okumuwa ekitiibwa. (Is. 43:10) Zabbuli 96 okusingira ddala eyogera ku kuwa Yakuwa ekitiibwa. Nga twekenneenya ebimu ku bigambo ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu Zabbuli eyo, fumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okuwa Yakuwa ekitiibwa ekimugwanidde.

TUYINZA TUTYA OKUWA YAKUWA EKITIIBWA EKIMUGWANIDDE?

8. Engeri emu gye tuwaamu Yakuwa ekitiibwa y’eruwa? (Zabbuli 96:​1-3)

8 Soma Zabbuli 96:​1-3. Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu ebyo bye tumwogerako. Mu nnyiriri ezo, abantu ba Yakuwa bakubirizibwa ‘okumuyimbira,’ ‘okutendereza erinnya lye,’ ‘okulangirira amawulire amalungi ag’obulokozi bwe,’ ‘n’okulangirira ekitiibwa kye mu mawanga.’ Bwe tukola ebintu ebyo, tuba tuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. Abayudaaya abeesigwa n’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali baagala nnyo okubuulira abalala engeri za Yakuwa ennungi n’ebintu byonna ebirungi bye yali abakoledde. (Dan. 3:​16-18; Bik. 4:29) Tuyinza tutya okukola kye kimu?

9-10. Kiki ky’oyigidde ku Angelena? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Lowooza ku mwannyinaffe Angelena, a abeera mu Amerika. Yayoleka obuvumu n’abuulira abalala amazima agakwata ku Yakuwa ku mulimu gy’akola. Ye awamu n’abalala abaali baakatandika okukola ku mulimu ogwo, baasabibwa okweyanjula eri bakozi bannaabwe bababuulire ebitonotono ebibakwatako. Angelena yateekateeka okulaga bakozi banne ebifaananyi ebyali biraga essanyu lye yali afunye ng’aweereza Yakuwa. Naye bwe yali tannatuusa kugenda kweyogerako, mukozi munne yeeyanjula eri banne n’abagamba nti yali yakuzibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa. Omwami oyo bwe yali ayogera, yavumirira Abajulirwa ba Yakuwa n’ebyo bye bakkiririzaamu. Angelena agamba nti: “Omutima gwatandika okunkuba ennyo. Naye muli nnagamba nti: ‘Nsirike busirisi nga waliwo ayogera eby’obulimba ku Yakuwa? Oba mbeeko kye njogera okubayamba okumanya ekituufu ekimukwatako.’”

10 Mukozi munne oyo bwe yamaliriza okwogera, mangu ddala Angelena yasaba mu kasirise. Oluvannyuma yayogera naye mu ngeri ey’ekisa n’amugamba nti: “Embeera gye nnakuliramu efaananako n’eyiyo. Nange nnakuzibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa, era na kati nkyali Mujulirwa wa Yakuwa.” Wadde ng’embeera eyo teyali nnyangu, Angelena yasigala mukkakkamu. Yalaga bakozi banne ebifaananyi bye yali yeekubya ne bakkiriza banne ebyali biraga nti baali bafuna essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa. Era oluvannyuma yabannyonnyola ebyo by’akkiririzaamu. (1 Peet. 3:15) Biki ebyavaamu? Angelena we yamalira okwogera, endowooza y’omusajja oyo yali ekyuseemuko. Yatuuka n’okwogera ebimu ku bintu ebyamuleetera essanyu ng’akyali mu Bajulirwa ba Yakuwa nga muto. Angelena agamba nti: “Tusaanidde okubuulira abalala ekituufu ekikwata ku Yakuwa era nkizo ya maanyi okukola ekyo.” Naffe tulina enkizo ey’okutendereza Yakuwa n’okumugulumiza, ne bwe waba nga waliwo abamwogerako eby’obulimba.

Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu bye twogera, mu bye tuwaayo okuwagira omulimu gwe, ne mu nneeyisa yaffe(Laba akatundu 9-10) b


11. Okuva edda n’edda abaweereza ba Yakuwa ab’amazima bakoledde batya ku musingi oguli mu Zabbuli 96:8?

11 Soma Zabbuli 96:8. Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa nga tukozesa ebintu byaffe. Ekyo abaweereza ba Yakuwa ab’amazima babaddenga bakikola. (Nge. 3:9) Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri baawaayo ssente n’ebintu eby’omuwendo okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu n’okugirabirira. (2 Bassek. 12:​4, 5; 1 Byom. 29:​3-9) Abamu ku bayigirizwa ba Kristo baamuweerezanga n’abatume be “nga bakozesa ebintu byabwe.” (Luk. 8:​1-3) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo baliko ebintu bye baawaayo okudduukirira bakkiriza bannaabwe. (Bik. 11:​27-29) Leero naffe tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu ebyo bye tuwaayo kyeyagalire okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

12. Ebyo bye tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka biyinza bitya okuviirako Yakuwa okuweebwa ekitiibwa? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Lowooza ku kyokulabirako kimu ekiraga engeri ebyo bye tuwaayo gye biviirako Yakuwa okuweebwa ekitiibwa. Mu mwaka gwa 2020, mu Zimbabwe waaliyo ekyeya eky’amaanyi ekyamala ekiseera ekiwanvu. Abantu bukadde na bukadde baali mu kabi ak’okufa enjala, nga mwe mwali ne mwannyinaffe ayitibwa Prisca. Wadde embeera eyo yali nzibu nnyo, Prisca yagenda mu maaso n’enteekateeka ye ey’okubuuliranga buli Lwakusatu na buli Lwakutaano, era ekyo yakikola ne mu kiseera eky’okuteekateeka ennimiro. Baliraanwa be baamwogereranga olw’okugendanga okubuulira mu kifo ky’okuteekateeka ennimiro. Bamugamba nti: “Ogenda kufa enjala.” Prisca yabaddangamu nga talina kubuusabuusa kwonna nti, “Yakuwa talekererangako baweereza be.” Waayita ekiseera kitono Prisca n’afuna emmere awamu n’ebintu ebirala okuva eri ekibiina kya Yakuwa. Ssente ezaagula ebintu ebyo zaava ku ezo ze tuwaayo. Baliraanwa ba Prisca beewuunya nnyo era ne bamugamba nti, “Katonda takulekererangako. Naffe twagala okuyiga ebimukwatako.” Baliraanwa be musanvu baatandika okubangawo mu nkuŋŋaana.

Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa nga tukozesa ebintu byaffe (Laba akatundu 12) c


13. Enneeyisa yaffe eyinza etya okuweesa Yakuwa ekitiibwa? (Zabbuli 96:9)

13 Soma Zabbuli 96:9. Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu ngeri gye tweyisaamu. Bakabona abaali baweereza ku yeekaalu ya Yakuwa baalinanga okuba abayonjo mu mubiri. (Kuv. 40:​30-32) Kyokka okuba abayonjo mu mpisa kikulu nnyo n’okusinga okuba abayonjo mu mubiri. (Zab. 24:​3, 4; 1 Peet. 1:​15, 16) Tulina okufuba ennyo okweyambulako “omuntu ow’edda,” kwe kugamba, okulekayo endowooza n’ebikolwa ebitasaana, ne twambala “omuntu omuggya,” kwe kugamba, ne tuyiga okulowooza n’okweyisa mu ngeri eraga nti tukoppa engeri za Yakuwa ennungi. (Bak. 3:​9, 10) Yakuwa asobola okuyamba n’abantu abeenyigira ennyo mu bikolwa eby’obugwenyufu n’eby’obukambwe ne bakyusa amakubo gaabwe ne bambala omuntu omuggya.

14. Kiki ky’oyigidde ku ebyo ebikwata ku Jack? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Lowooza ku Jack, eyali omusajja ow’omutawaana ennyo era eyakola ebikolwa eby’obukambwe bingi ne kiba nti yali yakazibwako erinnya Dayimooni. Jack yasalirwa ekibonerezo eky’okuttibwa olw’emisango gye yazza. Naye bwe yali ng’akyalindirira okuweebwa ekibonerezo kye, yakkiriza okuyiga Bayibuli n’ow’oluganda eyayigirizanga abasibe Bayibuli mu kkomera gye yali asibiddwa. Wadde nga Jack edda yali muntu mubi nnyo, yeeyambulako omuntu ow’edda era oluvannyuma n’atuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Jack yakyuka nnyo ne kiba nti ku lunaku lwe yali atwalibwa okuttibwa, abamu ku bakuumi b’ekkomera baakaaba nga bamusiibula. Omusirikale omu eyali akola mu kkomera eryo yagamba nti: “Jack edda ye yali omusibe asingayo obubi mu kkomera lino, naye kati y’omu ku basingayo obulungi.” Nga wayise wiiki emu nga Jack amaze okuttibwa, ab’oluganda abaali bakubiriza enkuŋŋaana mu kkomera buli wiiki bwe bajja okukubiriza olukuŋŋaana, waliwo omu ku basibe eyajja mu lukuŋŋaana olwo omulundi gwe ogusooka. Kiki ekyamuleetera okujja? Yakwatibwako nnyo olw’engeri Jack gye yali akyusizza enneeyisa ye, era yali ayagala kumanya kye yalina okukola okusobola okusinza Yakuwa. Kyeyoleka bulungi nti enneeyisa yaffe esobola okuleetera abalala okuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa!—1 Peet. 2:12.

Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu ngeri gye tweyisaamu (Laba akatundu 14) d


YAKUWA ANAAGULUMIZA ATYA ERINNYA LYE MU KISEERA EKITALI KYA WALA?

15. Yakuwa anaatukuliza atya ddala erinnya lye mu kiseera ekitali kya wala? (Zabbuli 96:​10-13)

15 Soma Zabbuli 96:​10-13. Ennyiriri zino ezisembayo mu Zabbuli 96 zoogera ku Yakuwa ng’Omulamuzi era Kabaka omutuukirivu. Yakuwa anaagulumiza atya erinnya lye mu kiseera ekitali kya wala? Ajja kuligulumiza okuyitira mu misango gy’asala. Mu maaso awo agenda kuzikiriza Babulooni Ekinene olw’okuleeta ekivume ku linnya lye ettukuvu. (Kub. 17:​5, 16; 19:​1, 2) Abamu ku abo abanaalaba nga Babulooni ekinene kizikirizibwa, bayinza okutwegattako mu kusinza Yakuwa. Oluvannyuma ku Amagedoni, Yakuwa ajja kuzikiriza enteekateeka ya Sitaani yonna, asaanyeewo abo bonna abamuwakanya era abaleeta ekivume ku linnya lye, kyokka awonyeewo abo bonna abamwagala era abamugondera era abaagala ennyo okumuwa ekitiibwa. (Mak. 8:38; 2 Bas. 1:​6-10) Oluvannyuma lw’okugesebwa okusembayo okunaabaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, Yakuwa ajja kuba amaze okutukuliza ddala erinnya lye. (Kub. 20:​7-10) Mu kiseera ekyo, “ensi erijjula okumanya okukwata ku kitiibwa kya Yakuwa ng’amazzi bwe gajjula ennyanja.”—Kaab. 2:14.

16. Kiki ky’omaliridde okukola? (Laba n’ekifaananyi.)

16 Mazima ddala essanyu lijja kuba lingi nnyo nga buli muntu awa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa ekirigwanidde! Naye ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tusobola okukozesa buli kakisa ke tufuna okuwa Yakuwa ekitiibwa. Okusobola okutuyamba okussa ebirowoozo byaffe ku nsonga eyo enkulu, Akakiiko Akafuzi kalonze Zabbuli 96:8 okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2025. Kigamba nti: Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.”

Mu biseera eby’omu maaso buli omu ajja kuwa Yakuwa ekitiibwa ekigwanidde erinnya lye! (Laba akatundu 16)

OLUYIMBA 12 Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b EBIFAANANYI: Ekifaananyi ekiraga ebyogerwa ku Angelena.

c EKIFAANANYI: Ekifaananyi ekiraga ebyogerwa ku Prisca.

d EKIFAANANYI: Ekifaananyi ekiraga ebyogerwa ku Jack.