Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3

OLUYIMBA 35 “Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu”

Salawo mu Ngeri Esanyusa Yakuwa

Salawo mu Ngeri Esanyusa Yakuwa

“Okutya Yakuwa ye ntandikwa y’amagezi, era okumanya Oyo Asingayo Okuba Omutukuvu kwe kutegeera.”NGE. 9:10.

EKIGENDERERWA

Engeri gye tuyinza okukozesa okumanya n’okutegeera okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

1. Kusoomooza ki ffenna kwe tulina?

 BULI LUNAKU tubaako ebintu bye tusalawo. Ebimu byangu, gamba ng’okusalawo kye tunaalya oba ddi lwe tuneebaka. Ebirala si byangu kusalawo. Biyinza okuba nga bikwata ku bulamu bwaffe, ku ssanyu lyaffe, ku baagalwa baffe, oba ku kusinza kwaffe. Twagala okusalawo mu ngeri etuganyula ffe awamu n’ab’omu maka gaffe. Naye okusingira ddala twagala okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa.—Bar. 12:​1, 2.

2. Biki by’osaanidde okukola okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

2 Osobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi singa (1) omanya byonna ebizingirwa mu nsonga, (2) omanya endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo, ne (3) ofumiitiriza ku bintu eby’enjawulo by’osobola okulondako. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebyo ebisatu, era ekyo kigenda kutuyamba okumanya engeri gye tusobola okutendekamu obusobozi bwaffe obw’okutegeera.—Nge. 2:11.

MANYA EBIZINGIRWAMU

3. Waayo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okumanya byonna ebizingirwa mu nsonga nga tonnasalawo.

3 Ekintu ekisooka ky’osaanidde okukola okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi, kwe kumanya ebizingirwa mu ekyo ky’oyagala okusalawo. Lwaki ekyo kikulu? Lowooza ku mulwadde agenda ew’omusawo ng’alina obulwadde obw’amaanyi. Omusawo asobola okusalawo okumuwa obujjanjabi nga tasoose kumwekebejja oba okubaako ebibuuzo by’amubuuza? Kya lwatu nedda. Okufaananako omusawo oyo, ojja kusalawo mu ngeri ey’amagezi singa osooka kumanya byonna ebizingirwa mu nsonga. Ekyo oyinza kukikola otya?

4. Okusinziira ku Engero 18:​13, oyinza otya okukakasa nti omanya ebizingirwa mu ekyo ky’oyagala okusalawo? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Emirundi mingi osobola okumanya ebizingirwamu ng’obaako ebibuuzo by’obuuza. Ka tugambe nti oyitiddwa ku kabaga akamu. Onoogenda? Bwe kiba nti oyo akateeseteese tomumanyi bulungi, oba nga tomanyi bulungi nteekateeka zikoleddwa, kiyinza okukwetaagisa okumubuuza ebibuuzo nga bino: “Akabaga ako kagenda kubeera wa era kanaabaawo biseera ki? Kanaabaako abantu benkana wa? Ani agenda okuba n’obuvunaanyizibwa okulaba nti buli kimu kitambula bulungi? Baani abanaabaayo? Biki ebinaakolebwayo? Wanaabaayo omwenge?” Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—Soma Engero 18:13.

Manya ebizingirwamu ng’obaako ebibuuzo by’obuuza (Laba akatundu 4) a


5. Ng’oggyeeko okumanya ebizingirwamu, kiki ekirala ky’osaanidde okukola?

5 Oluvannyuma lw’okumanya ebizingirwamu, fumiitiriza ku mbeera. Ng’ekyokulabirako, watya singa okimanya nti ku kabaga ako kujja kubaako abantu abatassa kitiibwa mu misingi gya Bayibuli, oba nti wajja kubaayo omwenge naye nga tewali muntu alondeddwa kukakasa nti abantu tebanywa kisukkiridde? Okiraba nti akabaga ako kayinza obutatambula bulungi? (1 Peet. 4:3) Ku luuyi olulala, watya singa akabaga ako kajja kubeerawo mu kiseera kye kimu w’obeerera n’enkuŋŋaana oba w’okolera omulimu gw’okubuulira? Bw’omala okufumiitiriza ku ebyo byonna, oba osobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Naye waliwo ekirala ky’osaanidde okukola. Otegedde engeri gy’otwalamu embeera eyo, naye Yakuwa ye agitwala atya?—Nge. 2:6.

FUMIITIRIZA KU EKYO YAKUWA KY’ALOWOOZA

6. Okusinziira ku Yakobo 1:​5, lwaki tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba?

6 Saba Yakuwa akuyambe okumanya endowooza ye. Yakuwa atusuubiza okutuwa amagezi tusobole okumanya oba ng’ekkubo lye tuba twagala okukwata linaamusanyusa. Amagezi ago ‘agagabira bonna nga talina gw’akambuwalira.’—Soma Yakobo 1:5.

7. Oyinza otya okumanya endowooza ya Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

7 Bw’omala okusaba Yakuwa okukuwa obulagirizi, weetegereze engeri gy’addamu essaala yo. Ng’ekyokulabirako, singa obula ng’ogenze omu kitundu ekimu, oyinza okusaba omuntu abeera mu kitundu ekyo okukuyamba. Naye onootambula butambuzi nga tannabaako ky’akugamba? Kya lwatu nedda. Ojja kuwuliriza n’obwegendereza ng’akulagirira. Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa okukuwa amagezi, fuba okutegeera engeri gy’addamu okusaba kwo ng’onoonya amateeka oba emisingi gya Bayibuli egikwata ku mbeera yo. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’osalawo obanga onoogenda ku kabaga akoogeddwako waggulu, oyinza okufumiitiriza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku binyumu, ku mikwano emibi, ne ku bukulu bw’okukulembeza Obwakabaka mu kifo ky’okukulembeza ggwe by’oyagala.—Mat. 6:33; Bar. 13:13; 1 Kol. 15:33.

8. Kiki ky’olina okukola ng’oliko bye weetaaga okumanya? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Kyokka era ebiseera ebimu oyinza okwetaaga abalala okukuyambako okuzuula ebyo bye weetaaga okumanya. Mukkiriza munno alina obumanyirivu ayinza okubaako amagezi g’akuwa. Naye ojja kuganyulwa nnyo singa naawe kennyini onoonyereza. Waliwo ebintu bingi by’osobola okuzuula ng’okozesa ebitabo byaffe bye tukozesa okunoonyereza, gamba ng’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza ne Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu. Kijjukire nti ekiruubirirwa kyo kya kusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa.

Fumiitiriza ku ndowooza ya Yakuwa (Laba akatundu 8) b


9. Tuyinza tutya okukakasa nti tusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa? (Abeefeso 5:17)

9 Tuyinza tutya okukakasa nti ekyo kye tusalawo kijja kusanyusa Yakuwa? Okusookera ddala, tulina okumumanya obulungi. Bayibuli egamba nti: “Okumanya Oyo Asingayo Okuba Omutukuvu kwe kutegeera.” (Nge. 9:10) Okumanya okutuufu kuva mu kumanya engeri za Yakuwa, ekigendererwa kye, n’ebyo by’ayagala oba by’akyawa. Weebuuze, ‘Okusinziira ku ebyo bye mmanyi ku Yakuwa, nnyinza ntya okusalawo mu ngeri emusanyusa?’—Soma Abeefeso 5:17.

10. Lwaki okukolera ku misingi gya Bayibuli kikulu nnyo okusinga okugoberera obuwangwa oba ekyo ab’eŋŋanda zaffe kye baagala?

10 Oluusi okusobola okusanyusa Yakuwa, kitwetaagisa okukola ekintu ekitajja kusanyusa balala. Ng’ekyokulabirako, abazadde bayinza okwagala muwala waabwe afumbirwe omusajja alina ssente, oba oyo anaaleeta ebintu ebingi ku kwanjula wadde nga si munywevu mu by’omwoyo. Kyo kituufu nti baagala muwala waabwe alabirirwe mu by’omubiri, naye ani anaamuyamba okuba omunywevu mu by’omwoyo? Ensonga eyo Yakuwa agitunuulira atya? Eky’okuddamu kiri mu Matayo 6:33. Mu kyawandiikibwa ekyo, Abakristaayo bakubirizibwa ‘okusooka okunoonyanga Obwakabaka.’ Wadde nga twagala nnyo bazadde baffe, era nga tussa ekitiibwa mu bantu b’omu kitundu gye tubeera, ekiruubirirwa kyaffe ekikulu kwe kusanyusa Yakuwa.

FUMIITIRIZA KU EBYO BY’OSOBOLA OKULONDAKO

11. Ngeri ki eyogerwako mu Abafiripi 1:​9, 10 eneekuyamba okumanya ekituufu eky’okusalawo?

11 Bw’omala okuzuula emisingi gya Bayibuli egikwata ku ekyo ky’oyagala okusalawo, kikwetaagisa okufumiitiriza ku ebyo by’oyinza okulondako. (Soma Abafiripi 1:​9, 10) Okutegeera kujja kukuyamba okumanya ebiyinza okuva mu buli kimu ku ebyo by’osobola okulondako. Oluusi kiba kyangu okusalawo, naye ebiseera ebimu tekiba kyangu. Okutegeera kujja kukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ne mu mbeera enzibu.

12-13. Okutegeera kunaakuyamba kutya kusalawo mu ngeri ey’amagezi ng’oliko omulimu gw’oyagala okukola?

12 Fumiitiriza ku mbeera eno. Onoonya omulimu okusobola okulabirira ab’omu maka go. Waliwo emirimu ebiri gy’osobola okulondako. Olowooza ku byonna ebizingirwamu; emirimu egyo gya ngeri ki, biseera ki by’olina okukoleramu, lugendo lwenkana wa lw’olina okutambula okugenda okukola, n’ebirala. Emirimu egyo gyombi tegikontana na Byawandiikibwa. Oboolyawo owulira nga wandyagadde ogumu ku gyo okusinga omulala olw’ebyo ebyetaagisa okugukola, oba olw’okuba ojja kusasulwa omusaala oguwerako. Naye waliwo ebirala by’osaanidde okufumiitirizaako nga tonnasalawo.

13 Ng’ekyokulabirako, oyinza okwebuuza nti, ‘Omulimu ogwo gunaayingirira ebiseera byange eby’enkuŋŋaana? Gunannemesa okufuna ebiseera okubaako awamu n’ab’omu maka gange n’okukola ku byetaago byabwe eby’omwoyo?’ Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kijja kukuyamba okukulembeza “ebintu ebisinga obukulu,” kwe kugamba, okusinza Yakuwa, okukola ku byetaago by’ab’omu maka go, mu kifo ky’okukulembeza ebintu eby’omubiri. Awo ojja kuba osobola okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa.

14. Okutegeera n’okwagala binaatuyamba bitya okwewala okwesittaza abalala?

14 Okutegeera era kutuyamba okulowooza ku ngeri ekyo kye tusalawo gye kiyinza okukwata ku balala tuleme ‘okubeesittaza.’ (Baf. 1:10) Ekyo kikulu nnyo bwe tuba nga tusalawo ebintu ebitukwatako kinnoomu, gamba ng’ennyambala n’okwekolako. Ng’ekyokulabirako, wayinza okuba nga waliwo omusono gw’olugoye gwe twagala, oba nga twagala okwekolako mu ngeri emu. Naye watya singa abamu mu kibiina oba ebweru w’ekibiina banaayisibwa bubi nga tulonzeewo omusono ogwo? Okutegeera kujja kutuyamba okufaayo ku nneewulira yaabwe. Okwagala kujja kutuleetera okunoonya ebigasa “abalala” n’okubeera abeetoowaze. (1 Kol. 10:​23, 24, 32; 1 Tim. 2:​9, 10) Awo tujja kusobola okusalawo mu ngeri eraga nti twagala abalala era nti tubassaamu ekitiibwa.

15. Kiki ky’olina okukola nga tonnassa mu nkola ekyo ky’osazeewo?

15 Bw’oba nga ky’osalawo kikulu nnyo, lowooza ku ebyo ebyetaagisa okusobola okukituukiriza. Yesu yatukubiriza ‘okubalirira ebyetaagisa.’ (Luk. 14:28) N’olwekyo, fumiitiriza ku biseera by’onoomala, ebintu ebyetaagisa, n’okufuba kw’onootekamu okusobola okutuukiriza ekyo ky’oyagala okusalawo. Mu mbeera ezimu, kiyinza okukwetaagisa okwogerako n’ab’omu maka go okumanya buli omu ky’anaakola okusobola okutuukiriza ekyo ky’oyagala okusalawo. Lwaki kya magezi okukola bw’otyo? Kiyinza okukuyamba okukitegeera nti weetaaga okukyusaamu okusobola okutuukiriza ekyo ky’oyagala kusalawo, oba nti weetaaga kusalawo mu ngeri ndala. Era bwe weebuuza ku b’omu maka go n’owuliriza bye bakugamba, bajja kuba beetegefu okukolera awamu naawe okusobola okutuukiriza ky’osazeewo.—Nge. 15:22.

SALAWO MU NGERI ENEEKUGANYULA

16. Biki by’osaanidde okukola okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi? (Laba n’akasanduuko “ Engeri gy’Oyinza Okusalawo Obulungi.”)

16 Bw’oba ng’okoze ebintu byonna bye tulabye mu kitundu kino, osobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Otegedde byonna ebizingirwamu, era olowoozezza ku misingi gya Bayibuli egijja okukuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. Kati osobola okusaba Yakuwa akuyambe okutuukiriza ekyo ky’osazeewo.

17. Kiki ekituyamba okusalawo obulungi?

17 Ne bwe kiba nti bulijjo obaddenga osalawo bulungi, kijjukire nti okwesiga Yakuwa so si okwesiga amagezi go oba obumanyirivu bw’olina, kye kisobola okukuyamba okusalawo obulungi. Yakuwa yekka y’asobola okukuwa okumanya okutuufu n’okutegeera, ebikuyamba okuba n’amagezi. (Nge. 2:​1-5) Asobola okukuyamba okusalawo mu ngeri emusanyusa.—Zab. 23:​2, 3.

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

a EBIFAANANYI: Ab’oluganda ne bannyinaffe abavubuka boogera ku kabaga ke bayitiddwa okugendako.

b EBIFAANANYI: Omu ku b’oluganda anoonyereza nga tannasalawo kugenda ku kabaga ako.