Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Myanmar

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Myanmar

“EBY’OKUKUNGULA bingi naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.” (Luk. 10:2) Ebigambo ebyo ebyayogerwa Yesu emyaka nga 2,000 emabega, byoleka bulungi embeera eri mu Myanmar leero. Lwaki? Mu Myanmar, mulimu abantu ng’obukadde 55, kyokka ababuulizi abaliyo bali nga 4,200 bokka.

Kyokka Yakuwa, “Nnannyini makungula,” aleetedde baganda baffe ne bannyinaffe bangi okuva mu nsi ezitali zimu okugenda okuweereza mu Myanmar, ensi esangibwa mu Asiya. Kiki ekyabaleetera okuva mu nsi zaabwe? Baayambibwa batya ne basobola okugenda okuweereza mu Myanmar? Era mikisa ki gye bafunye? Ka tulabe.

“MUJJE, TWETAAGA BAPAYONIYA BANGI!”

Emyaka egiwerako emabega, payoniya omu ow’omu Japan ayitibwa Kazuhiro yagwa ensimbu, n’azirika, era n’atwalibwa mu ddwaliro. Omusawo yamulagira obutavuga mmotoka okumala emyaka ebiri. Kazuhiro yasoberwa. Yeebuuza nti: ‘Nnaasobola ntya okweyongera okuweereza nga payoniya?’ Yasaba Yakuwa n’amwegayirira amuyambe yeeyongere okuweereza nga payoniya.

Kazuhiro ne Mari

Kazuhiro agamba nti: “Nga wayise omwezi gumu, mukwano gwange eyali aweereza mu Myanmar yawulira ebyali bintuuseeko. Yankubira essimu n’aŋŋamba nti: ‘Mu Myanmar bbaasi ze zisinga okukozesebwa mu by’entambula. Bw’ojja eno osobola okweyongera okubuulira wadde nga tovuga mmotoka!’ Nnabuuza omusawo obanga embeera yange yali ensobozesa okugenda mu Myanmar. Kyanneewuunyisa nnyo omusawo bwe yaŋŋamba nti waliwo omusawo w’obwongo ow’omu Myanmar eyali ajja okukyalako mu Japan era nti yali ajja kumundaga. Yaŋŋamba nti bwe nziramu okugwa ensimbu, omusawo oyo yali asobola okunnyamba. Ebyo omusawo oyo bye yaŋŋamba byandaga nti Yakuwa yali azzeemu essaala yange.”

Amangu ddala Kazuhiro yawandiikira ofiisi y’ettabi ey’omu Myanmar n’abagamba nti ye ne mukyala we baali baagala okuweereza nga bapayoniya mu Myanmar. Oluvannyuma lw’ennaku ttaano zokka, ofiisi y’ettabi yabaddamu nti, “Mujje, twetaaga bapayoniya bangi!” Kazuhiro ne mukyala we, Mari, baatunda emmotoka zaabwe ne bafuna visa era ne bagula ne ttikiti z’ennyonnyi. Leero Kazuhiro ne mukyala we baweereza mu kibinja ekikozesa olulimi lwa bakiggala mu Mandalay era basanyufu nnyo. Kazuhiro agamba nti: “Tweyongedde okukkiririza mu kisuubizo kya Katonda ekiri mu Zabbuli 37:5 awagamba nti: ‘Amakubo go gakwasenga Yakuwa; mwesigenga, era naye ajja kukuyamba.’”

YAKUWA AGGULAWO EKKUBO

Mu 2014, Abajulirwa ba Yakuwa mu Myanmar baafuna olukuŋŋaana olunene olw’enjawulo. Abajulirwa ba Yakuwa bangi okuva mu nsi enz’enjawulo baagenda ku lukuŋŋaana olwo. Omu ku abo abaagenda ku lukuŋŋaana olwo yali mwannyinaffe ayitibwa Monique, eyava mu Amerika era ng’alina emyaka 34. Monique agamba nti: “Bwe nnava ku lukuŋŋaana olwo nnasaba Yakuwa annyambe okumanya kye nsaanidde okukola. Era nnayogerako ne bazadde bange ku biruubirirwa eby’omwoyo bye nnalina. Ffenna twakiraba nti nnali nneetaaga okugenda okuweerereza mu Myanmar, naye ekyo kyantwalira ebbanga okukituukako era nnasaba nnyo Yakuwa ampe obulagirizi nga sinnasalawo kya nkomeredde.” Monique alaga ensonga lwaki ekyo kyamutwalira ebbanga.

Monique ne Li

“Yesu yagamba abagoberezi be ‘okubalirira ebyetaagisa.’ Bwe kityo nneebuuza nti: ‘Nnina ebyetaagisa okusobola okugenda mu Myanmar? Nnaasobola okweyimirizaawo nga simalira biseera bingi ku mulimu ogunannyamba okweyimirizaawo?’” Monique agamba nti: “Nnakiraba nti saalina ssente zimala kugenda kubeera mu Myanmar.” Kati olwo yasobola atya okugendayo?​—Luk. 14:28.

Monique agamba nti: “Lumu, mukama wange ku mulimu yagamba nti yali ayagala kundaba. Nneeraliikirira nnyo nga ndowooza nti yali agenda kungoba ku mulimu. Naye mu kifo ky’ekyo, mukama wange yanneebaza olw’okukola obulungi emirimu gyange, era yaŋŋamba nti yali agenda kumpa akasiimo. Akasiimo ke yampa ze ssente zennyini ze nnali nneetaaga!”

Monique abadde aweereza mu Myanmar okuva mu Ddesemba 2014. Awulira atya ku ky’okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako? Agamba nti: “Ndi musanyufu nnyo okuweereza mu nsi eno. Nnina abayizi ba Bayibuli basatu. Omu ku bo alina emyaka 67. Buli lwe ŋŋenda okumusomesa, ambuuza ng’ataddeko akamwenyumwenyu era angwa mu kifuba. Bwe yayiga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, yakaaba. Yagamba nti: ‘Guno gwe mulundi gwe nsoose okukiwulira nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Oli muto nnyo ku nze, naye onjigirizza ekintu ekikulu ennyo.’ Nange nnakaaba. Ebyokulabirako ng’ebyo bireetera abo abaweerereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako essanyu lingi.” Gye buvuddeko awo Monique yafuna enkizo ey’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka.

Ekintu ekirala ekyaleetera ababuulizi mu nsi endala okugenda okuweerereza mu Myanmar, by’ebyo ebyafulumira mu Yearbook eya 2013 ebyali bikwata ku nsi eyo. Lowooza ku mwannyinaffe Li ali mu myaka 30, eyali abeera mu nsi endala ey’omu Asiya. Yalina omulimu ogw’ekiseera kyonna, naye ebyo bye yasoma mu Yearbook eyo byamuleetera okulowooza ku ky’okugenda okuweerereza mu Myanmar. Agamba nti: “Mu 2014 bwe nnagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’enjawulo olwali mu Yangon, nnasisinkana ow’oluganda ne mukyala we abaali baweerereza mu Myanmar mu kibiina eky’Olukyayina omwali obwetaavu. Okuva bwe kiri nti mmanyi Olukyayina, nnasalawo okugenda mu Myanmar okuyambako mu kibinja eky’Olukyayina. Nnakwatagana ne Monique, ne tugenda e Mandalay. Yakuwa yatuyamba ne tufuna omulimu ogw’okusomesa ogutali gwa kiseera kyonna mu ssomero lye limu, era ne tufuna n’ennyumba okumpi awo. Wadde ng’ebbugumu lingi mu Myanmar era nga twolekagana n’okusoomooza okutali kumu, nnyumirwa nnyo okuweerereza mu nsi eno. Abantu mu Myanmar tebalina bintu bingi naye bawaayo akadde okuwuliriza amawulire amalungi. Kisanyusa nnyo okulaba engeri Yakuwa gy’ayanguyaamu omulimu gwe. Ndi mukakafu nti Yakuwa yali ayagala mpeerereze mu Mandalay.”

YAKUWA AWULIRA OKUSABA

Waliwo ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abaweerereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako abalabye obukulu bw’okusaba. Lowooza ku Jumpei ne mukyala we Nao, abali mu myaka 30. Baali baweereza mu kibiina ekikozesa olulimi lwa bakiggala mu Japan. Lwaki baagenda e Myanmar? Jumpei agamba nti: “Nze ne mukyala wange twalina ekiruubirirwa eky’okuweereza mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Ow’oluganda omu okuva mu kibiina kyaffe mu Japan yagenda mu Myanmar. Wadde nga twalinawo obusente butono, mu Maayi 2010 naffe twagenda mu Myanmar. Ab’oluganda ne bannyinaffe mu Myanmar baatwaniriza nnyo!” Jumpei awulira atya ku ky’okuweerereza mu Myanmar, mu kibiina ekikozesa olulimi lwa bakiggala? Agamba nti: “Abantu bangi baagala obubaka bwaffe. Bwe tulaga bakiggala vidiyo mu lulimi lwabwe, basanyuka nnyo. Tuli basanyufu okuba nti twasalawo okuweerereza Yakuwa mu Myanmar!”

Nao ne Jumpei

Jumpei ne Nao basobodde batya okweyimirizaawo? Agamba nti: “Oluvannyuma lw’emyaka esatu, kumpi twali tukozesezza ssente zonna ze twalina era tetwalina ssente zipangisa nnyumba omwaka ogwali guddako. Nze ne mukyala wange twasaba nnyo Yakuwa. Nga tetukisuubira, twafuna ebbaluwa okuva ku ofiisi y’ettabi nga batulonze okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera! Twesiga Yakuwa, era naye teyatwabulira. Atulabiridde mu buli kimu.” Gye buvuddeko awo, Jumpei ne Nao nabo baagenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri ey’Obwakabaka.

YAKUWA AZZAAMU BANGI AMAANYI

Kiki ekyaleetera Simone, enzaalwa ya Italy ali mu myaka 40, ne mukyala we Anna enzaalwa ya New Zealand ali mu myaka 30 okugenda e Myanmar? Anna agamba nti: “Ebyo ebyali mu Yearbook eya 2013 ebikwata ku Myanmar bye byatuleetera okugendayo.” Simone agamba nti: “Nkizo ya maanyi okuweereza mu Myanmar. Obulamu mu nsi eno si bukalubo nnyo era nfuna ebiseera bingi okwenyigira mu mulimu gwa Yakuwa. Kituleetera essanyu lingi okulaba engeri Yakuwa gy’atulabiriramu nga tuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako.” (Zab. 121:5) Anna agamba nti: “Ndi musanyufu okusinga bwe nnali. Tetulina bintu bingi. Mmala ebiseera bingi nga ndi wamu n’omwami wange era ekyo kituyambye okwongera okunyweza enkolagana yaffe. Era tufunye emikwano mingi. Abantu bangi baagala nnyo Abajulirwa ba Yakuwa, era tufuna ebibala bingi mu mulimu gw’okubuulira.” Lowooza ku bino wammanga.

Simone ne Anna

Anna agamba nti: “Lumu, nnabuulira omwana wa yunivasite gwe nnasanga mu katale era ne nkola enteekateeka okumuddira. Bwe nnaddayo, nnasanga aleese mukwano gwe. Bwe nnaddayo omulundi omulala, yali aleeseeyo banne abalala. Ate bwe nnaddayo ku mulundi ogwaddako yali ayongeddeyo n’abalala. Kati bataano ku bo nsoma nabo Bayibuli.” Simone agamba nti: “Abantu mu kitundu kino bafaayo ku bantu era baagala okuyiga ebiri mu Bayibuli. Ebiseera bye tulina tebitusobozesa kuyiga na buli omu ayagala okuyiga Bayibuli.”

Sachio ne Mizuho

Ate biki abamu bye baakola okusobola okweteekateeka okugenda okuweerereza mu Myanmar? Mizuho eyava mu Japan agamba nti: “Nze n’omwami wange Sachio twali twagala okuweereza mu nsi awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako naye nga twebuuza wa gye tuyinza okugenda okuweerereza? Ebyo bye twasoma ku Myanmar mu Yearbook ya 2013, byatukwatako nnyo ne tutandika okulowooza ku ky’okugenda okuweerereza mu nsi eyo.” Sachio agamba nti: “Twasalawo okusooka okugenda okulambula ekibuga kya Myanmar ekikulu ekiyitibwa Yangon okumala wiiki emu. Twakiraba nti twali tusobola okugenda okuweerereza mu nsi eyo.”

NAAWE OSOBOLA OKUGENDA OKUWEEREZA?

Jane, Danica, Rodney, ne Jordan

Rodney ne mukyala we Jane, abali mu myaka 50 era abaava mu Australia, awamu ne mutabani waabwe Jordan ne muwala waabwe Danica, babadde baweerereza mu Myanmar okuva mu 2010. Rodney agamba nti: “Twakwatibwako nnyo bwe twalaba enjala ey’eby’omwoyo abantu b’omu nsi eyo gye baalina. Nkubiriza n’ab’oluganda abalala okugenda okuweerereza mu nsi eziri nga Myanmar.” Lwaki? “Okuweerereza awali obwetaavu obusingako kyongedde okunyweza enkolagana yaffe ng’amaka. Abavubuka bangi beemalidde ku kwenoonyeza bintu. Naye abaana baffe bafuba okuyiga olulimi olupya basobole okubuulira amawulire amalungi. Bafuba okumanya engeri gye bayinza okuyambamu abantu okuyiga Bayibuli n’engeri gye bayinza okuddamu mu nkuŋŋaana nga bakozesa olulimi olwogerwa mu kitundu, era beenyigira ne mu bintu ebirala bingi eby’omwoyo.”

Oliver ne Anna

Oliver, ow’oluganda anaatera okuweza emyaka 40 eyava mu Amerika, alaga ensonga lwaki yandyagadde abalala nabo beenyigire mu buweereza nga buno. Agamba nti: “Okuweerereza Yakuwa mu kitundu kye mbadde simanyidde kiŋŋanyudde nnyo. Okuva mu nsi yange ne ŋŋenda mu nsi endala kindeetedde okwongera okwesiga Yakuwa mu buli mbeera gye nneesangamu. Okuweerereza awamu ne baganda bange be nnali simanyi naye ng’ate tukkiririza mu bintu bye bimu kindeetedde okwongera okukiraba nti tewali kisinga kibiina kya Yakuwa.” Leero, Oliver ne mukyala we Anna, bakyaweereza n’obunyiikivu mu kibiina ekikozesa Olukyayina.

Trazel

Trazel, mwannyinaffe ali mu myaka 50 eyava mu Australia, abadde aweerereza mu Myanmar okuva mu 2004. Agamba nti: “Nkubiriza abo embeera be zisobozesa, okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako. Nkirabye nti bw’oba oyagala okuweereza, Yakuwa akuwa emikisa. Nnali sikirowoozanganako nti nsobola okuweereza mu ngeri eno. Okuweereza awali obwetaavu obusingako kindeetedde essanyu lingi.”

Ka ebigambo bya bakkiriza bannaffe abo abaweerereza mu Myanmar, awali obwetaavu obusingako, bikukubirize okulowooza ku ky’oyinza okukola okusobola okuyamba abantu abali mu bitundu ebitatera kubuulirwamu. Mu butuufu, ababuulizi abo bagamba nti, “Jjangu e Myanmar otuyambe!”