Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Fuba Okusaasira “Abantu aba Buli Ngeri”

Fuba Okusaasira “Abantu aba Buli Ngeri”

YESU bwe yagamba abayigirizwa be okubuulira amawulire amalungi, yakiraga nti abantu abamu tebandisiimye bubaka obwo. (Luk. 10:3, 5, 6) Bwe tuba tubuulira, tuyinza okusanga abantu abatuyisa obubi oba abatuvuma. Ekyo kiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okusaasira abantu be tubuulira.

Omuntu omusaasizi alaba obwetaavu bw’abalala n’ebizibu bye balina n’abalumirirwa era n’ayagala okubaako ky’akolawo okubayamba. Bwe tulekera awo okusaasira abantu be tubuulira, kiyinza okutuleetera okulekera awo okubuulira n’obunyiikivu oba okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Naye bwe tufuba okuba abasaasizi tuba ng’abongera enku mu muliro, kwe kugamba, tukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira!​—1 Bas. 5:19.

Tuyinza tutya okwoleka obusaasizi ne bwe kiba nga si kyangu kubwoleka? Ka tulabe engeri gye tuyinza okukoppa Yakuwa, Yesu, n’omutume Pawulo.

YOLEKA OBUSAASIZI NGA YAKUWA

Wadde ng’erinnya lye limaze emyaka mingi nga livumibwa, Yakuwa ayolese obugumiikiriza. Yakuwa “wa kisa eri abateebaza n’ababi.” (Luk. 6:35) Ekisa kya Yakuwa kyeyolekera mu kuba nti mugumiikiriza. Yakuwa ayagala “abantu aba buli ngeri” okulokolebwa. (1 Tim. 2:3, 4) Wadde nga Katonda akyawa ebintu ebibi, abantu bonna abatwala nga ba muwendo era tayagala bafiirwe obulamu bwabwe.​—2 Peet. 3:9.

Yakuwa amanyi engeri Sitaani gy’azibyemu amaaso g’abo abatakkiriza. (2 Kol. 4:3, 4) Abantu abamu bayigiriziddwa ebintu ebikyamu era baateekebwamu endowooza enkyamu okuviira ddala mu buto. Ekyo kikifuula kizibu gye bali okukkiriza amazima. Yakuwa ayagala okuyamba abantu ng’abo. Ekyo tukimanya tutya?

Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yali atunuuliramu abantu b’omu Nineeve. Wadde nga baali bakola ebikolwa eby’obukambwe, Yakuwa yagamba Yona nti: “Kale nze sandisaasidde Nineeve ekibuga ekikulu ekirimu abantu abasukka mu 120,000 abatasobola kwawula kituufu ku kikyamu?” (Yon. 4:11) Yakuwa yakwatirwa abantu b’e Nineeve ekisa kubanga baali tebamanyi mazima gamukwatako. Bwe kityo yatuma Yona okubalabula.

Okufaananako Yakuwa, naffe tusaanidde okutwala abantu nga ba muwendo. Tusobola okukoppa Yakuwa nga tufuba okuyamba abantu okuyiga ebimukwatako ne bwe baba nga balabika ng’abataayige mazima.

YOLEKA OBUSAASIZI NGA YESU

Okufaananako Yakuwa, Yesu yasaasiranga abantu abaali mu bwetaavu obw’eby’omwoyo. “Bwe yalaba ekibiina ky’abantu n’abasaasira, kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Yesu yakiraba nti abo abajjanga gy’ali okumuwuliriza baali bayigiriziddwa ebintu eby’obulimba era abakulembeze b’eddiini baali babayisa bubi. Wadde nga yali akimanyi nti bangi ku bo bandikkiriza ebintu ebitali bimu okubalemesa okufuuka abagoberezi be, Yesu yeeyongera “okubayigiriza ebintu bingi.”​—Mak. 4:1-9.

Toggwaamu maanyi singa mu kusooka omuntu alaga nti tasiima bubaka bwaffe

Embeera z’abantu zikyuka era n’endowooza gye balina ku mazima ekyuka

Abantu bwe batawuliriza bubaka bwaffe, tulina okwebuuza ensonga lwaki beeyisizza bwe batyo. Abamu bayinza okuba n’endowooza enkyamu ku Bayibuli, oba ku Bukristaayo olw’enneeyisa embi ey’abo abeeyita Abakristaayo. Oboolyawo abamu baabuulirwa eby’obulimba ku nzikiriza zaffe. Ate abalala, abantu mu bitundu gye babeera oba ab’eŋŋanda zaabwe bayinza okubasekerera bwe batuwuliriza.

Abantu abamu be tusanga nga tubuulira bayinza okuba nga baayita mu mbeera eyabakosa ennyo. Omuminsani ayitibwa Kim agamba nti: “Mu kitundu ekimu mwe tubuulira abantu baamu baakosebwa nnyo olutalo era ne bafiirwa ebintu byabwe byonna. Tebalina ssuubi lyonna. Beetamwa nnyo era tebalina muntu yenna gwe beesiga. Mu kitundu kino tusangamu abantu bangi abatayagala kutuwuliriza. Lumu bwe nnali mbuulira waliwo omuntu eyannumba n’ayagala okuntuusaako obulabe.”

Kiki ekiyambye Kim okusigala ng’alaga abantu b’omu kitundu ekyo obusaasizi? Agamba nti: “Bwe bampisa obubi, nzijukira ebigambo ebiri mu Engero 19:11, awagamba nti: ‘Obutegeevu bw’omuntu bukkakkanya obusungu bwe.’ Okulowooza ku mbeera abantu b’omu kitundu kino ze bayiseemu kinnyamba okwongera okubalaga obusaasizi. Ate era tekiri nti buli omu mu kitundu kino atuyisa bubi. Mulimu abantu abatuwuliriza.”

Tusaanidde okwebuuza, ‘Nnandyeyisizza ntya singa mbadde mu mbeera y’abantu be mbuulira?’ Ng’ekyokulabirako, watya singa waliwo abazze bakubuulira eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa? Mu mbeera ng’eyo oboolyawo naawe tewandiwulirizza Bajulirwa ba Yakuwa era wandibadde weetaaga okulagibwa obusaasizi. Bwe tujjukira nti Yesu yatugamba okuyisa abalala nga naffe bwe twandyagadde okuyisibwa, kituleetera okusaasira abantu abalala ne bwe kiba nga si kyangu kukikola.​—Mat. 7:12.

YOLEKA OBUSAASIZI NGA PAWULO

Omutume Pawulo yalaga obusaasizi n’eri abantu abaali bamuyigganya. Lwaki? Kubanga teyeerabira ekyo kye yali edda. Yagamba nti: “Nnali muvvoozi, ayigganya abalala, era atawa balala kitiibwa. Naye nnasaasirwa kubanga nnabikolanga mu butamanya era nga sirina kukkiriza.” (1 Tim. 1:13) Pawulo yakiraba nti Yakuwa ne Yesu baali bamulaze obusaasizi bungi. Era yakiraba nti abamu ku abo be yali abuulira baali beeyisa nga ye bwe yeeyisanga edda.

Oluusi Pawulo yasanganga abantu abaali bakkiririza mu njigiriza enkyamu ezaali zaasimba edda amakanda. Pawulo yawulira atya? Ebikolwa 17:16 wagamba nti bwe yali mu Asene, ‘yayisibwa bubi bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde ebifaananyi.’ Wadde kyali kityo, Pawulo yakozesa ekintu kyennyini ekyamuyisa obubi okuwa obujulirwa. (Bik. 17:22, 23) Yatuukanyanga obubaka bwe n’embeera z’abantu abatali bamu ‘asobole okulokola abamu.’​—1 Kol. 9:20-23.

Naffe bwe tusanga abantu abatuyisa obubi oba abalina endowooza enkyamu, okufaananako Pawulo, tusaanidde okubakwata mu ngeri ey’amagezi tusobole okubatuusaako “amawulire amalungi ag’ekintu ekisingako obulungi.” (Is. 52:7) Mwannyinaffe ayitibwa Dorothy agamba nti: “Mu kitundu mwe tubuulira, abantu bangi bazze bayigirizibwa nti Katonda mukambwe era atunoonyamu nsobi. Nsiima abantu abo olw’okukkiririza mu Katonda era oluvannyuma ne nkozesa Bayibuli okubalaga nti Yakuwa atwagala nnyo era nti atutegekedde ebiseera eby’omu maaso ebirungi.”

“WANGULANGA EBINTU EBIBI NG’OKOLA EBIRUNGI”

‘Ng’ennaku ez’enkomerero’ zikyagenda mu maaso, abantu ababi “bajja kweyongerera ddala okuba ababi.” (2 Tim. 3:1, 13) Naye ekyo tetusaanidde kukikkiriza kutuleetera kulekera awo kulaga balala busaasizi oba kutumalako ssanyu. Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ne tweyongera ‘okuwangula ebintu ebibi nga tukola ebirungi.’ (Bar. 12:21) Payoniya ayitibwa Jessica agamba nti: “Ntera okusanga abantu abatali beetoowaze, abatunyooma, era abatassa kitiibwa mu bubaka bwaffe. Ekyo kinyiiza. Bwe mba ŋŋenda okutandika okwogera n’omuntu nsaba Yakuwa mu kasirise annyambe okutunuulira omuntu oyo nga ye bw’amutunuulira. Ekyo kinnyamba okuggya ebirowoozo ku nneewulira yange ne mbimalira ku ngeri gye nnyinza okuyambamu omuntu oyo.”

Tweyongera okunoonya abantu abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo

Bwe tuba abagumiikiriza, ekiseera bwe kigenda kiyitawo abantu abamu basobola okukkiriza obubaka bwaffe

Ate era tulina okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. Jessica agamba nti: “Omu ku bakkiriza bannange abantu bwe bamuyisa obubi ng’abuulira, nfuba okumuyamba obutakimalirako birowoozo. Nfuba okukyusa emboozi, ne twogera ku bintu ebizimba gamba ng’ebirungi ebiva mu mulimu gw’okubuulira gwe tukola wadde ng’abantu abamu batuyisa bubi.”

Yakuwa amanyi bulungi ebizibu bye tuyitamu nga tubuulira. Nga kiteekwa okuba nga kimusanyusa nnyo bw’alaba nga tufuba okulaga abantu obusaasizi nga ye bw’akola! (Luk. 6:36) Kya lwatu nti Yakuwa tajja kusaasira bantu babi mirembe na mirembe. Tuli bakakafu nti amanyi bulungi ekiseera ekituufu lw’agenda okuzikiriza ensi ya Sitaani. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tulina okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. (2 Tim. 4:2) Bwe tukola tutyo, tuba tulaga “abantu aba buli ngeri” obusaasizi.