Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddala Yesu Yanfiirira?

Ddala Yesu Yanfiirira?

BAYIBULI erimu ebigambo ebyayogerwa ‘abantu nga ffe’ abaali batatuukiridde. (Yak. 5:17) Ng’ekyokulabirako, tutegeera bulungi ekyo Pawulo kye yali ategeeza bwe yayogera ebigambo ebiri mu Abaruumi 7:21-24. Yagamba nti: “Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange. . . . Nze nga ndi muntu munaku!” Bwe tuba nga tulwanyisa obutali butuukirivu bwaffe, kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti n’abantu abeesigwa nga Pawulo nabo baali balwana n’obutali butuukirivu bwabwe.

Waliwo n’ebigambo ebirala Pawulo bye yayogera ng’ayoleka enneewulira ye. Yagamba nti: ‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’ (Abaggalatiya 2:20) Pawulo yali mukakafu ku ekyo. Naawe bw’otyo bw’owulira? Oboolyawo oluusi si bw’owulira.

Bwe tuba nga tuwulira bubi olw’ebibi bye twakola emabega, kiyinza okutuzibuwalira okukikkiriza nti Yakuwa atwagala oba nti yatusonyiwa, era kiyinza okutubeerera ekizibu okutwala ssaddaaka ya Yesu ng’ekirabo ekyaffe kinnoomu. Ddala Yesu ayagala tutwale ssaddaaka ye ng’ekirabo kyaffe kinnoomu? Bwe kiba kityo, kiki ekiyinza okutuyamba okugitwala ng’ekirabo kyaffe kinnoomu? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo ebibiri.

ENGERI YESU GY’ATWALAMU SSADDAAKA YE

Yesu ayagala tutwale ssaddaaka ye ng’ekirabo kyaffe kinnoomu. Ekyo tukikakasiza ku ki? Fumiitiriza ku ebyo ebiri mu Lukka 23:39-43. Omusajja awanikiddwa ku muti ogw’okubonaabona okumpi ne Yesu. Omusajja oyo akikkiriza nti alina ekintu ekibi kye yakola. Ekintu ekyo kiteekwa okuba nga kyali kibi nnyo, kubanga ekibonerezo ekyamuweebwa kyaweebwanga abantu abaabaanga bazzizza emisango egya nnaggomola. Ng’ali mu nnaku ey’amaanyi, omusajja oyo yagamba Yesu nti: “Onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.”

Kiki Yesu kye yakola? Lowooza ku bulumi obw’amaanyi bwe yalina ng’akyusa omutwe gwe okutunuulira omusajja oyo. Wadde nga Yesu yali mu bulumi bwa maanyi, yassaako akamwenyumwenyu n’agamba omusajja oyo nti: “Mazima nkugamba leero nti, oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” Yesu yali asobola okugamba obugambi omusajja oyo nti, ‘Omwana w’omuntu yajja okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Mat. 20:28) Naye weetegerezza nti Yesu yakiraga nti ssaddaaka ye yali egenda kuganyula omusajja oyo kinnoomu? Ng’akozesa eddoboozi ery’ekisa yagamba omusajja oyo nti, “Oliba nange.” Era yagamba omusajja oyo nti yali ajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.

Awatali kubuusabuusa Yesu yali ayagala omusajja oyo akitegeere nti ssaddaaka gye yali agenda okuwaayo yali egenda kumuganyula kinnoomu. Bwe kiba nti Yesu bw’atyo bwe yali ayagala omumenyi w’amateeka oyo, ataafuna na kakisa kuweereza Katonda atwale bw’atyo ssaddaaka ye, ate olwo kiri kitya eri Omukristaayo omubatize aweereza Katonda? Kiki ekiyinza okutuyamba okukikkiriza nti ssaddaaka ya Yesu etuganyula kinnoomu wadde nga tulina ebibi bye twakola mu biseera eby’emabega?

EKYAYAMBA PAWULO

Obuweereza bwa Pawulo bwamuyamba okukitegeera nti ddala Yesu yamufiirira kinnoomu. Mu ngeri ki? Yagamba nti: “Nneebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi, kubanga yantwala okuba omwesigwa n’ankwasa obuweereza wadde ng’edda nnali muvvoozi, ayigganya abalala, era atawa balala kitiibwa.” (1 Tim. 1:12-14) Olw’okuba Yesu yawa Pawulo omulimu ogwo wadde nga Pawulo yali yakola ebintu ebibi, kyaleetera Pawulo okuba omukakafu nti Yesu yamusaasira, yali amwagala, era nti yali amwesiga. (Mat. 28:19, 20) Naawe omulimu ogw’okubuulira gusobola okukuyamba okukimanya nti Yesu yakufiirira?

Albert, eyakomezebwawo mu kibiina gye buvuddeko wo, oluvannyuma lw’okumala emyaka 34 ng’agobeddwa, agamba nti: “Ebibi byange biba mu maaso gange buli kiseera. Naye bwe mba nkola omulimu gw’okubuulira, okufaananako omutume Pawulo, nange mpulira nti Yesu yampa omulimu guno. Ekyo kinzizaamu amaanyi, era kindeetera okuwulira essanyu n’okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.”​—Zab. 51:3.

Bw’oba ng’oyigiriza abantu aba buli ngeri Bayibuli, bakakase nti Yesu abasaasira era abaagala

Allan, eyali omumenyi w’amateeka era ng’akola ebikolwa eby’obukambwe nga tannayiga mazima agamba nti: “N’okutuusa kati nkyalowooza ku bintu ebibi bye nnakolanga abantu. Oluusi kindeetera okwennyamira. Naye nneebaza Yakuwa okuba nti akkiriza omwonoonyi nga nze okubuulira abantu amawulire amalungi. Engeri abantu gye batwalamu amawulire amalungi endaga nti Yakuwa mulungi nnyo era atwagala nnyo. Nkiraba nti ankozesa okuyamba abo abakola ebintu bibi nga bye nnali nkola.”

Bwe tuba tukola omulimu gw’okubuulira, amaanyi gaffe tuba tugamalira ku kintu ekirungi era tuba tulowooza ku bintu ebirungi. Omulimu ogwo era gutusobozesa okukiraba nti Yesu atusaasira, atwagala, era atwesiga.

YAKUWA ASINGA EMITIMA GYAFFE

Ng’ensi ya Sitaani ya Sitaani tennaggibwawo, emitima gyaffe giyinza okweyongera okutulumiriza olw’ebibi bye twakola emabega. Kiki ekinaatuyamba okulwanyisa enneewulira eyo?

Jean, alumirizibwa omutima olw’okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri bwe yali ng’akyali muvubuka, agamba nti: “Kinzizaamu amaanyi okukimanya nti ‘Katonda asinga emitima gyaffe,’” (1 Yok. 3:19, 20) Okufaananako Jean, naffe kiyinza okutuzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa ne Yesu bakimanyi nti tuli boonoonyi. Kijjukire nti ekinunulo tebaakiweerayo bantu abatuukiridde, wabula baakiweerayo aboonoonyi abeenenya.​—1 Tim. 1:15.

Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yayisaamu abantu abatatuukiridde, era ne tufuba okukola omulimu gwe yatuwa, kituyamba okuba bakakafu nti ekinunulo kituganyula kinnoomu. Bwe tukola bwe tutyo, naffe tusobola okugamba nga Pawulo nti: Yesu ‘yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’