Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 29

“Mugende Mufuule Abantu . . . Abayigirizwa”

“Mugende Mufuule Abantu . . . Abayigirizwa”

“Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.”​—MAT. 28:19.

OLUYIMBA 60 Tutaase Obulamu Bwabwe

OMULAMWA *

1-2. (a) Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 28:18-20, mulimu ki omukulu ekibiina Ekikristaayo gwe kirina okukola? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

ABATUME abaali bakuŋŋaanidde ku lusozi bateekwa okuba nga baali beesunga nnyo bye baali bagenda okuwulira. Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yali abagambye bakuŋŋaanire mu kifo ekyo gye yali agenda okubasisinkana. (Mat. 28:16) Kirabika ogwo gwe mulundi lwe “yalabikira ab’oluganda abasukka mu 500 omulundi gumu.” (1 Kol. 15:6) Lwaki Yesu yali ayise abayigirizwa be? Yali agenda kubakwasa omulimu. Yabagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.”​—Soma Matayo 28:18-20.

2 Abayigirizwa abo abaaliwo ku olwo be bamu ku abo abaali mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka. Omulimu omukulu ekibiina ekyo gwe kyalina okukola gwali gwa kufuula abantu abayigirizwa ba Kristo. * Leero ekibiina Ekikristaayo kirimu ebibiina bingi nnyo, era omulimu gwakyo omukulu gukyali gwe gumu. Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bina: Lwaki omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa mukulu nnyo? Guzingiramu ki? Abakristaayo bonna beenyigira mu kufuula abantu abayigirizwa? Era lwaki twetaaga okuba abagumiikiriza nga tukola omulimu ogwo?

LWAKI OMULIMU GW’OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA MUKULU NNYO?

3. Okusinziira ku Yokaana 14:6 ne 17:3, lwaki omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa mukulu nnyo?

3 Lwaki omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa mukulu nnyo? Kubanga abayigirizwa ba Kristo be bokka abasobola okuba mikwano gya Katonda. Ate era abo abatambulira mu bigere bya Kristo baba n’obulamu obulungi kati era baba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso. (Soma Yokaana 14:6; 17:3.) Mazima ddala Yesu yatukwasa omulimu omukulu ennyo. Naye omulimu ogwo tetugukola ffekka. Bwe yali yeeyogerako awamu ne Bakristaayo banne, omutume Pawulo yagamba nti: “Tukolera wamu ne Katonda.” (1 Kol. 3:9) Mu butuufu, eyo nkizo ya maanyi Yakuwa ne Kristo gye batuwadde ffe abantu abatatuukiridde!

4. Kiki kye tuyigira ku Ivan ne Matilde?

4 Omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa gusobola okutuleetera essanyu lingi. Lowooza ku Ivan ne mukyala we Matilde ababeera mu Colombia. Baabuulira omusajja ayitibwa Davier, eyabagamba nti: “Njagala okukyusa obulamu bwange naye sisobola.” Davier yali mukubi wa bikonde, yakozesanga ebiragalalagala, yeekatankiranga omwenge, era yali abeera wamu n’omukazi ayitibwa Erika gwe yali tawasanga mu mateeka. Ivan agamba nti: “Twatandika okumuyigiriza Bayibuli. Yali abeera ku kyalo ekyali ewala ennyo nga tulina okuvugawo eggaali okumala essaawa nnyingi nga tuyita mu nguudo ezaali zijjudde ebisooto. Erika bwe yalaba nga Davier agenda akyusa mu nneeyisa ye ne mu ndowooza ye, naye yakkiriza okutandika okuyiga Bayibuli.” Oluvannyuma lw’ekiseera, Davier yalekera awo okukozesa ebiragalalagala, okunywa omwenge, n’okukuba ebikonde. Ate era yawasa Erika mu mateeka. Matilde agamba nti: “Davier ne Erika bwe baabatizibwa mu 2016, twajjukira ebigambo bino Davier bye yateranga okwogera, ‘Njagala okukyusa obulamu bwange naye sisobola.’ Twasanyuka nnyo ne tukaaba n’okukaaba.” Tewali kubuusabuusa nti bwe tuyamba abantu okufuuka abayigirizwa ba Kristo tufuna essanyu lingi.

BIKI EBIZINGIRWA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA?

5. Ekintu kisooka kye tusaanidde okukola okusobola okufuula abantu abayigirizwa kye kiruwa?

5 Ekintu ekisooka kye tulina okukola okusobola okufuula abantu abayigirizwa kwe ‘kunoonya’ abantu ab’emitima emirungi. (Mat. 10:11) Tukiraga nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa nga tubuulira abantu bonna be tusanga ebikwata ku Yakuwa. Bwe tugondera ekiragiro Kristo ekiragiro Kristo kye yatuwa eky’okubuulira, tuba tukiraga nti tuli Bakristaayo ab’amazima.

6. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuleetera abantu okwagala okutuwuliriza?

6 Abantu abamu be tusanga nga tubuulira baba baagala nnyo okuyiga amazima agali mu Bayibuli, naye abasinga obungi mu kusooka baba tebaagala. Kiyinza okutwetaagisa okubaagazisa okuyiga. Okusobola okuleetera abantu okwagala okutuwuliriza, tusaanidde okweteekateeka obulungi. Londa ensonga z’omanyi nti ziyinza okusikiriza abo b’onoosanga. Tegeka engeri gy’onooyanjulamu ensonga ezo.

7. Oyinza otya okutandika emboozi n’omuntu, era lwaki kikulu okuwuliriza abantu n’okussa ekitiibwa mu ndowooza yaabwe?

7 Ng’ekyokulabirako, oyinza okugamba omuntu nti: “Nnandyagadde okufuna endowooza yo ku nsonga eno. Bingi ku bizibu bye tulina bikosa n’abantu abalala mu nsi yonna. Olowooza kyetaagisa gavumenti emu okufuga ensi yonna okusobola okugonjoola ebizibu ebyo?” Oluvannyuma oyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku Danyeri 2:44. Oba oyinza okubuuza omuntu nti: “Olowooza kiki ekiyinza okutuyamba okukuza obulungi abaana? Nnandyagadde okumanya endowooza yo.” Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku Ekyamateeka 6:6, 7. K’ebe nsonga ki gy’oba osazeewo okwogerako, lowooza ku bantu abanaakuwuliriza. Lowooza ku ngeri gye banaaganyulwa mu kumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Bw’oba ng’oyogera nabo, kikulu okubawuliriza n’okussa ekitiibwa mu ndowooza yaabwe. Bw’okola bw’otyo, kijja kukuyamba okubategeera era nabo kijja kubanguyira okukuwuliriza.

8. Lwaki tusaanidde okunyiikira okuddangayo eri abantu be tuba twabuulira?

8 Omuntu nga tannakkiriza kutandika kuyiga Bayibuli, kiyinza okutwetaagisa okuddayo enfunda n’enfunda. Lwaki? Kubanga oluusi bwe tuddayo eri abantu be tuba twabuulira, tetubasangawo. Ate era kiyinza okukwetaagisa okuddayo eri omuntu enfunda eziwerako omuntu oyo okusobola okukkiriza okutandika okuyiga Bayibuli. Kijjukire nti ekimera okusobola okukula kiba kyetaaga okufukirirwa obutayosa. Mu ngeri y’emu, okwagala omuntu kw’alina eri Yakuwa ne Kristo kugenda kukula bwe tukubaganya naye ebirowoozo ku Kigambo kya Katonda obutayosa.

ABAKRISTAAYO BONNA BEENYIGIRA MU KUFUULA OMUNTU OMUYIGIRIZWA?

Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna beenyigira mu kunoonya abantu ab’emitima emirungi (Laba akatundu 9-10) *

9-10. Lwaki tuyinza okugamba nti buli mubuulizi yeenyigira mu kuzuula omuntu ayagala okufuuka omuyigirizwa wa Yesu?

9 Buli mubuulizi yeenyigira mu kunoonya abantu ab’emitima emirungi. Omulimu ogwo tuyinza okugugeraageranya ku kunoonya omwana aba abuze. Mu ngeri ki? Lowooza ku kyokulabirako kino ekyaliwo ddala: Omwana ow’emyaka esatu yabula okuva awaka. Abantu nga 500 be beenyigira mu kunoonya omwana oyo. Oluvannyuma nga wayise essaawa nga 20, omu ku bantu abaali banoonya omwana oyo, yazuula omwana oyo mu musiri gwa kasooli. Omuntu oyo yagaana abantu okumutendereza olw’okuzuula omwana oyo. Yagamba nti: “Omwana yazuuliddwa olw’okuba abantu bangi beenyigidde mu kumunoonya.”

10 Abantu abasinga obungi balinga omwana oyo eyali abuze. Tebalina ssuubi, era baagala okuyambibwa. (Bef. 2:12) Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde omunaana twenyigidde mu kunoonya abantu abo ab’emitima emirungi. Ggwe oyinza obutafuna muntu ayagala kuyiga Bayibuli. Naye ababuulizi abalala ababuulira mu kitundu ky’obuuliramu bo bayinza okufuna abantu abaagala okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Ow’oluganda oba mwannyinaffe bw’azuula omuntu era oluvannyuma omuntu oyo n’afuuka omuyigirizwa wa Kristo, buli aba yeenyigira mu kunoonya omuntu oyo asanyuka.

11. Ne bw’oba nga tolina gw’oyigiriza Bayibuli, ngeri ki endala gy’oyinza okuyambamu mu kufuula abantu abayigirizwa?

11 Ne bw’oba nga mu kiseera kino tolina muntu gw’oyigiriza Bayibuli, osobola okuyambako mu kufuula abantu abayigirizwa mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, osobola okwaniriza abapya ababa bazze mu nkuŋŋaana era n’obakolako omukwano. Mu ngeri eyo obayamba okukiraba nti okwagala kwe kutwawulawo ng’Abakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:34, 35) By’oddamu mu nkuŋŋaana bisobola okuyamba abapya okuyiga engeri gye bayinza okwatulamu okukkiriza kwabwe. Era osobola okubuulirako awamu n’omubuulizi omupya n’omuyamba okuyiga okukubaganya ebirowoozo n’abantu ng’akozesa Bayibuli. Bw’okola bw’otyo, oba omuyigiriza okukoppa Kristo.​—Luk. 10:25-28.

12. Tulina kuba na busobozi obw’enjawulo okusobola okufuula abantu abayigirizwa? Nnyonnyola.

12 Tetusaanidde kulowooza nti tulina okuba n’obusobozi obw’enjawulo okusobola okufuula abantu abayigirizwa. Lwaki? Lowooza ku Faustina, abeera mu Bolivia. We yatandikira okukuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa yali tasobola kusoma. Naye kati amanyiimuko okusoma. Kati yabatizibwa era ayagala nnyo okuyigiriza abalala Bayibuli. Buli wiiki ayigiriza abantu bataano. Wadde nga Faustina tasobola kusoma bulungi ng’abasinga obungi ku bayizi be, ayambye abantu mukaaga okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa.​—Luk. 10:21.

13. Ne bwe tuba nga tulina eby’okukola bingi nnyo, birungi ki bye tufuna mu kwenyigira mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?

13 Abakristaayo bangi balina eby’okukola bingi. Wadde kiri kityo, bafunayo akadde okuyigiriza abantu Bayibuli era ekyo kibaleetera essanyu lingi. Lowooza ku mwannyinaffe Melanie ow’omu Alaska. Yali muzadde ali obwannamunigina, ng’alina muwala we ow’emyaka munaana. Yali akola omulimu ogw’ekiseera kyonna ng’ate mu kiseera kye kimu alina omulwadde wa kookolo gwe yali alabirira. Melanie ye Mujulirwa wa Yakuwa yekka eyali mu kabuga mwe yali abeera. Olw’okuba yali ayagala okufunayo omuntu gw’ayigiriza Bayibuli, yasabanga Yakuwa amuwe amaanyi asobole okugendanga okubuulira, wadde ng’obudde bwabanga bunnyogovu nnyo. Oluvannyuma yasisinkana omukyala ayitibwa Sara eyasanyuka ennyo okukimanya nti Katonda alina erinnya. Oluvannyuma lw’ekiseera, Sara yakkiriza okuyiga Bayibuli. Melanie agamba nti: “Wadde nga ku Lwokutaano akawungeezi twabanga bakoowu nnyo, nze ne muwala wange twagendanga okuyigiriza omukyala oyo era twaganyulwanga nnyo. Twanyumirwanga nnyo okunoonyereza eby’okuddamu mu bibuuzo bya Sara era kyatusanyusa nnyo okulaba ng’afuuka mukwano gwa Yakuwa.” Sara yagumira okuyigganyizibwa, yava mu ddiini gye yalimu, era n’abatizibwa.

LWAKI OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA KYETAAGISA OBUGUMIIKIRIZA?

14. (a) Omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa gufaananako gutya n’ogw’okuvuba? (b) Okwatibwako otya bw’osoma ebigambo bya Pawulo ebiri mu 2 Timoseewo 4:1, 2?

14 Ne bwe kiba nti tonnazuula muntu ayagala kufuuka muyigirizwa, weeyongere okunoonya. Kijjukire nti omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa, Yesu yagugeraageranya ku mulimu gw’okuvuba. Oluusi abavubi bamala essaawa nnyingi nga tebannakwasa kyennyanja na kimu. Batera okukola omulimu gwabwe mu matumbi budde oba ku makya ennyo, era oluusi basaabala eŋŋendo mpanvu. (Luk. 5:5) Mu ngeri y’emu, abamu ku babuulizi bamala essaawa nnyingi nga “bavuba” mu biseera eby’enjawulo era mu bifo eby’enjawulo. Lwaki? Baba baagala okusisinkana abantu bangi nga bwe kisoboka. Abo abanyiikirira omulimu gw’okubuulira mu ngeri eyo batera okuzuula abantu abaagala okuwuliriza obubaka bwaffe. Osobola okugezaako okubuulira mu kiseera oba mu kifo mw’oyinza okusangira abantu abawerako?​—Soma 2 Timoseewo 4:1, 2.

Ba mugumiikiriza ng’oyamba abayizi bo okukulaakulana mu by’omwoyo (Laba akatundu 15-16) *

15. Lwaki okuyigiriza abantu Bayibuli kyetaagisa obugumiikiriza?

15 Lwaki okuyigiriza abantu Bayibuli kyetaagisa obugumiikiriza? Ensonga emu eri nti kitwetaagisa okuyigiriza omuntu amazima agali mu Bayibuli n’okumuyamba okugaagala. Era tulina okuyamba omuyizi okumanya Yakuwa Katonda eyawandiisa Bayibuli n’okumwagala. Ate era ng’oggyeeko okuyigiriza omuntu ebyo Yesu bye yeetaagisa abayigirizwa be, tulina okumuyamba okumanya engeri gy’ayinza okukolera ku ebyo by’ayiga. Tulina okuba abagumiikiriza nga tumuyamba okuyiga okukolera ku misingi gya Bayibuli. Abamu bakyusa endowooza yaabwe era balekayo emize emibi mu bbanga ttono, naye abalala kibatwalira ebbanga ggwanvu okukola enkyukakyuka.

16. Kiki ky’oyigidde ku Raúl?

16 Omuminsani omu ow’omu Peru yafuna ebibala olw’okuba yali mugumiikiriza. Agamba nti: “Nnali nsomye obutabo bubiri n’omuyizi wa Bayibuli ayitibwa Raúl. Naye yali akyalina ebimusoomooza bingi mu bulamu bwe. Yalina ebizibu bingi mu bufumbo bwe, ng’akozesa olulimi oluvuma, era abaana be baali tebamussaamu kitiibwa olw’emize emibi gye yalina. Naye olw’okuba yajjanga mu nkuŋŋaana obutayosa, nneeyongera okugendanga ewuwe okumuyamba n’okuyamba ab’omu maka ge. Nga wayise emyaka egisukka mu esatu okuva lwe nnasooka okumusisinkana, yatuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa.”

17. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Yesu yatugamba ‘okugenda okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.’ Okusobola okutuukiriza omulimu ogwo, emirundi mingi tulina okwogera n’abantu abalina endowooza ey’enjawulo ennyo ku yaffe, nga mwe muli n’abo abatalina ddiini gye balimu oba abayinza okuba nga tebakkiriza nti Katonda gy’ali. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri gye tuyinza okubuulira abantu ng’abo amawulire amalungi.

OLUYIMBA 68 Okusiga Ensigo y’Obwakabaka

^ lup. 5 Ekibiina Ekikristaayo kirina omulimu omukulu, ogw’okuyamba abantu okufuuka abayigirizwa ba Kristo. Ekitundu kino kirimu amagezi agasobola okutuyamba okukola obulungi omulimu ogwo.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Abayigirizwa ba Kristo bayiga ebyo Yesu bye yayigiriza era ne babikolerako. Bafuba okutambulira mu bigere bya Yesu, oba okumukoppa.​—1 Peet. 2:21.

^ lup. 52 EBIFAANANYI: Omusajja ali ku lugendo afuna ebitabo byaffe ku baganda baffe ababuulirira ku kisaawe ky’ennyonyi. Oluvannyuma ng’alambula ekitundu gy’alaze, alaba Abajulirwa ba Yakuwa abalala nga babuulira mu kifo ekya lukale. Bw’akomawo ewuwe, ababuulizi bajja awaka we ne bamubuulira.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Omusajja oyo akkiriza okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma atuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa.