Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 30

Okutuuka ku Mitima gy’Abo Abatalina Ddiini

Okutuuka ku Mitima gy’Abo Abatalina Ddiini

“Nfuuse byonna eri abantu aba buli ngeri nsobole okulokola abamu.”​—1 KOL. 9:22.

OLUYIMBA 82 “Ekitangaala Kyammwe Kyakirenga Abantu”

OMULAMWA *

1. Nkyukakyuka ki ebaddewo mu nsi ezimu mu myaka egiyise?

OKUMALA enkumi n’enkumi z’emyaka, abantu abasinga obungi mu nsi baabanga balina eddiini gye bakkiririzaamu. Naye mu myaka egiyise wabaddewo enkyukakyuka ey’amaanyi. Abantu abagamba nti tebalina ddiini beeyongedde obungi. Mu butuufu, mu nsi ezimu, abantu abasinga obungi bagamba nti tebalina ddiini. *​—Mat. 24:12.

2. Lwaki abantu bangi tebakyettanira bya ddiini?

2 Lwaki abantu abagamba nti tebalina ddiini beeyongedde obungi? * Abamu beemalidde ku by’amasanyu oba ku bizibu byabwe. (Luk. 8:14) Abamu tebakyakkiririza mu Katonda. Abamu bakkiririza mu Katonda naye balowooza nti eddiini yava dda ku mulembe, tegasa, era nti tekwatagana na ssaayansi. Bayinza okuba nga bawulira mikwano gyabwe, abasomesa baabwe, oba abantu ku mikutu gy’empuliziganya nga bagamba nti ebintu tebyatondebwa, naye tebatera kuwulira bantu nga bawa ensonga ezirimu eggumba eziraga nti Katonda gy’ali. Abalala beetamwa eddiini olw’abakulu b’amadiini abalina omululu gwa ssente era abaagala ennyo ebitiibwa. Mu nsi ezimu gavumenti zikugira amadiini.

3. Ekigendererwa ky’ekitundu kino kye ki?

3 Yesu yatulagira okufuula “abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” (Mat. 28:19) Tuyinza tutya okuyamba abantu abatalina ddiini okwagala Katonda n’okufuuka abayigirizwa ba Kristo? Tusaanidde okukimanya nti engeri omuntu gy’atwalamu obubaka bwaffe eyinza okusinziira ku wa gye yakulira. Ng’ekyokulabirako, engeri abantu abaakulira mu Bulaaya gye bakwatibwako nga bawulidde obubaka bwaffe eyinza obutaba y’emu n’engeri abantu abaakulira mu Asiya gye bakwatibwako. Lwaki? Mu Bulaaya abantu bangi balina kye bamanyi ku Bayibuli era baali bawuliddeko nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Naye mu Asiya, abantu abasinga obungi bamanyi kitono nnyo oba tebalina kye bamanyi ku Bayibuli, era bayinza okuba nga tebakkiririza mu Mutonzi. Ekitundu kino kiwandiikiddwa okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okutuuka ku mitima gy’abantu bonna be tusanga nga tubuulira, ka babe nga baakulira wa.

SIGALA NG’OLINA ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

4. Lwaki tusaanidde okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu?

4 Ba n’Endowooza Ennuŋŋamu. Buli mwaka wabaawo abantu abataalina ddiini abafuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Bangi ku bo bayinza okuba nga baali beeyisa bulungi era nga beetamwa obunnanfuusi bw’amadiini. Abalala bayinza okuba nga baali tebeeyisa bulungi era nga baalina emize emibi gye baalina okulekayo. Yakuwa atuyamba okuzuula abo abalina “endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.”​—Bik. 13:48; 1 Tim. 2:3, 4.

Tuukanya ennyanjula yo n’abantu abatakkiririza mu Bayibuli (Laba akatundu 5-6) *

5. Kiki ekitera okuleetera abantu okuwuliriza obubaka bwaffe?

5 Ba wa Kisa era Kozesa Amagezi. Emirundi mingi, ekireetera abantu okutuwuliriza si bwe bubaka bwe tubabuulira wabula ye ngeri gye tubabuuliramu obubaka obwo. Basiima nnyo bwe tubalaga ekisa, bwe twogera nabo mu ngeri ey’amagezi, era bwe tubalaga nti tubafaako. Tetubawaliriza kuwuliriza ebyo bye tubagamba. Mu kifo ky’ekyo, tugezaako okumanya ekyabaviirako okuba n’endowooza gye balina ku ddiini. Ng’ekyokulabirako, abamu tebaagala kwogera ku bya ddiini n’omuntu gwe batamanyi. Abalala bakitwala nti ziba mpisa mbi okubuuza omuntu ky’alowooza ku Katonda. Ate abamu bawulira nga kibaswaza abalala bwe babalaba nga basoma Bayibuli, nnaddala nga bagisoma n’Abajulirwa ba Yakuwa. K’ebe nsonga ki, tusaanidde okufaayo ku nneewulira yaabwe.​—2 Tim. 2:24, obugambo obuli wansi.

6. Omutume Pawulo yakiraga atya nti yali atuukana n’embeera, era tuyinza tutya okumukoppa?

6 Kiki kye tusaanidde okukola singa tukizuula nti omuntu tekimuyisa bulungi bwe tukozesa ebigambo, gamba nga “Bayibuli,” “ebitonde,” “Katonda,” oba “eddiini”? Tusobola okukoppa omutume Pawulo ne tukyusa mu bigambo bye tukozesa. Pawulo bwe yali ayogera n’Abayudaaya, yakubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa. Naye bwe yali ayogera n’abafirosoofo Abayonaani mu Aleyopaago, teyabagamba nti bye yali ayogera byali biva mu Byawandiikibwa. (Bik. 17:2, 3, 22-31) Tuyinza tutya okukoppa Pawulo? Bwe tusanga omuntu atakkiririza mu Bayibuli, kiba kirungi ne tutagyogerako butereevu nga tukubaganya naye ebirowoozo. Bw’okiraba nti omuntu tayagala balala kumulaba ng’asoma Bayibuli naawe, oyinza okumulaga Ebyawandiikibwa mu ngeri abalala gye bataategeere nti asoma Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukozesa essimu.

7. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo, nga bwe tusoma mu 1 Abakkolinso 9:20-23?

7 Fuba Okutegeera Abalala era Wuliriza. Tusaanidde okutegeera ekyaviirako abantu be tusanga okuba n’endowooza gye balina. (Nge. 20:5) Ddamu olowooze ku Pawulo. Yakulira mu Bayudaaya. N’olwekyo, yalina okukyusaamu ng’abuulira ab’amawanga abaali bamanyi ekitono ennyo oba abaali batalina kye bamanyi ku Yakuwa n’Ebyawandiikibwa. Kiyinza okutwetaagisa okunoonyereza n’okwebuuza ku balala mu kibiina abalina obumanyirivu tusobole okumanya endowooza n’enneewulira z’abantu mu kitundu mwe tubuulira.​—Soma 1 Abakkolinso 9:20-23.

8. Engeri emu gye tuyinza okutandikamu okunyumya n’abantu ku Bayibuli y’eruwa?

8 Bwe tuba tubuulira, tuba tunoonya abo ‘abagwanira.’ (Mat. 10:11) Ekyo okusobola okukikola, tusaanidde okusaba abantu okutubuulira endowooza yaabwe era ne tubawuliriza bulungi. Ow’oluganda omu mu Bungereza asaba abantu bamubuulire kye balowooza ku ngeri abantu gye basobola okuba n’obufumbo obulimu essanyu, engeri y’okukuzaamu abaana, n’engeri y’okwaŋŋangamu obutali bwenkanya. Bw’amala okuwuliriza kye baddamu, ababuuza nti, “Olowooza ki ku magezi gano agaawandiikibwa emyaka nga 2,000 emabega?” Oluvannyuma nga takozesezza kigambo “Bayibuli,” abalaga ebyawandiikibwa ebituukirawo ng’akozesa essimu.

TUUKA KU MITIMA GY’ABANTU

9. Tuyinza tutya okuyamba abantu abataagala kwogera bikwata ku Katonda?

9 Tusobola okutuuka ku mitima gy’abantu abataagala kwogera ku Katonda nga twogera nabo ku bintu ebibakwatako. Ng’ekyokulabirako, bangi bawuniikirira bwe batunuulira obutonde. Bwe tusanga abantu ng’abo tuyinza okugamba nti: “Oyinza okuba nga naawe okiraba nti ebintu bingi bannassaayansi bye bakoze babikoppye ku bintu ebibaddewo okuva edda n’edda. Ng’ekyokulabirako, abakola emizindaalo bakoppa engeri amatu gye gakolamu, ate abo abakola kamera bakoppa engeri amaaso gye gakolamu. Kiki ekikujjira mu birowoozo bw’olowooza ku bintu ebyo bye bakoppa ebibaddewo okuva edda n’edda? Olowooza byajjawo byokka, waliwo eyabikola, oba waliwo ekirala ky’olowooza?” Oluvannyuma lw’okuwuliriza obulungi ky’addamu, tuyinza okugamba nti: “Bayinginiya bwe bakoppa ebintu, gamba ng’amatu oba amaaso nga balina bye bakola, tuyinza okwebuuza ani gwe baba bakoppa. Waliwo ebigambo ebyankwatako ennyo ebyawandiikibwa omuwandiisi omu ow’ebitontome ow’edda. Yagamba nti: ‘Oyo eyakola okutu, tasobola kuwulira? Oyo eyakola eriiso, tasobola kulaba? . . . Oyo y’awa abantu amagezi!’ Bannassaayansi abamu bakkiriziganya n’ebigambo ebyo era bakkiriza nti ebintu byatondebwa.” (Zab. 94:9, 10) Oluvannyuma tuyinza okumulaga vidiyo eziri ku jw.org® wansi wa “Interviews and Experiences” eziri wansi w’omutwe “Viewpoints on the Origin of Life.” (Genda wansi wa PUBLICATIONS > VIDEOS.) Oba osobola okumuwa brocuwa Was Life Created? oba The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking.

10. Tuyinza tutya okutandika okunyumya n’omuntu atayagala kwogera bikwata ku Katonda?

10 Abantu abasinga obungi baagala ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Naye bangi batya nti ensi ejja kusaanawo oba nti ekiseera kijja kutuuka tube nga tetukyasobola kugibeerako. Omulabirizi omu akyalira ebibiina mu Norway agamba nti abantu abatatera kwagala kwogera bikwata ku Katonda emirundi mingi baagala nnyo okwogera ku mbeera eziriwo mu nsi. Bw’amala okubuuza omuntu, amugamba nti: “Olowooza tunaasobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi? Olowooza bannabyabufuzi, bannassaayansi, oba omuntu omulala yenna y’anaatusobozesa okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?” Oluvannyuma lw’okuwuliririza obulungi ky’addamu, asoma oba ajuliza ekyawandiikibwa ekyogera ku biseera eby’omu maaso ebirungi. Abantu abamu bakwatibwako nnyo okumanya ekyo Bayibuli ky’egamba nti ensi ejja kubeerawo emirembe gyonna era nti abantu abalungi bajja kugibeerako emirembe gyonna.​—Zab. 37:29; Mub. 1:4.

11. Lwaki tusaanidde okukyusakyusa mu nnyanjula zaffe, era tuyinza tutya okukoppa Pawulo nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 1:14-16?

11 Kirungi okutuukanya ennyanjula yaffe n’abantu be tusanga. Lwaki? Kubanga abantu balina endowooza ya njawulo. Ekintu ekisikiriza omu, omulala kiyinza obutamusikiriza. Abantu abamu tebalina buzibu kwogera bikwata ku Katonda oba ku Bayibuli, ate abalala bo baba baagala kusooka kwogera ku bintu birala. Mu mbeera zonna, tusaanidde okufuba okwogera n’abantu aba buli ngeri. (Soma Abaruumi 1:14-16.) Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa y’akuza amazima mu mitima gy’abantu ab’emitima emirungi.​—1 Kol. 3:6, 7.

OKUBUULIRA ABANTU ABAVA MU ASIYA

Ababuulizi bangi bafaayo ku abo abava mu nsi omuli abantu abangi abatakkiririza mu Yesu ne babalaga engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gayambamu abantu (Laba akatundu 12-13))

12. Tuyinza tutya okubuulira abantu abava mu Asiya, abatakirowoozangako nti eriyo omutonzi?

12 Okwetooloola ensi, ababuulizi bangi basanga abantu abava mu mawanga g’omu Asiya, omuli n’abo abava mu mawanga gavumenti gye zikugira amadiini. Abantu bangi ab’omu Asiya tebafangayo kunoonyereza obanga waliyo omutonzi oba nedda. Abamu baba baagala okuyiga ebiri mu Bayibuli era bakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli, ate abalala mu kusooka baba tebaagala kuyiga bintu bipya. Tuyinza tutya okubayamba? Ababuulizi abamu abalina obumanyirivu bakirabye nti kiba kirungi okusooka okunyumya n’abantu abo ku bintu ebirala, okubalaga nti babafaako, awo oluvannyuma bwe kiba kituukirawo ne bababuulira engeri gye baganyuddwa mu kukolera ku magezi agali mu Bayibuli.

13. Kiki ekiyinza okuyamba abantu okwagala okuyiga ebiri mu Bayibuli? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

13 Abantu bangi bakwatibwako bwe balaba engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gayambamu omuntu mu bulamu obwa bulijjo. (Mub. 7:12) Mwannyinaffe omu abeera mu New York atera okubuulira Abacayina agamba nti: “Nfuba okulaga abantu nti mbafaako era nfuba okubawuliriza obulungi. Bwe nkimanya nti baakajja mu ggwanga, ntera okubabuuza nti: ‘Embeera ogisanze otya? Wafuna omulimu? Abantu bakuyisa bulungi?’” Oluusi ekyo kimusobozesa okutandika okukubaganya n’omuntu ebirowoozo ku Bayibuli. Bwe kiba kituukirawo, mwannyinaffe oyo agattako nti: “Olowooza kiki ekisobola okutuyamba okukolagana obulungi n’abalala? Nkulageyo olugero olumu okuva mu Bayibuli? Lugamba nti: ‘Okutandika olutalo kuba nga kuggulira mazzi. Ovangawo ng’oluyombo terunnabalukawo.’ Olowooza amagezi gano gasobola okutuyamba okukolagana obulungi n’abalala?” (Nge. 17:14) Okunyumya n’abantu mu ngeri ng’eyo kisobola okutuyamba okumanya abo abaagala okumanya ebisingawo.

14. Ow’oluganda omu mu Asiya ayamba atya abantu abagamba nti tebakkiririza mu Katonda?

14 Ate bo abantu abagamba nti tebakkiririza mu Katonda? Ow’oluganda alina obumanyirivu mu kubuulira abantu abatalina ddiini mu nsi emu ey’omu Asiya agamba nti: “Wano omuntu bw’agamba nti, ‘Sikkiririza mu Katonda,’ aba ategeeza nti takkiririza mu kusinza bakatonda abantu abasinga obungi mu ggwanga lino be basinza. Ntera okukkiriziganya naye nti bakatonda abasinga obungi baakolebwa bantu era si ba ddala. Era ntera okubasomera Yeremiya 16:20, awagamba nti: ‘Omuntu asobola okwekolera bakatonda? Baaba akoze tebaba bakatonda ba ddala.’ Oluvannyuma mbuuza omuntu nti: ‘Oyinza otya okwawulawo Katonda ow’amazima ku bakatonda abaakolebwa abantu?’ Mmuwuliriza bulungi oluvannyuma ne nsoma Isaaya 41:23, awagamba nti: ‘Mutubuulire ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso, tulyoke tumanye nti muli bakatonda.’ Oluvannyuma mmulaga ebimu ku bintu Yakuwa bye yayogera nga bya kubaawo mu biseera eby’omu maaso.”

15. Kiki kye tuyigira ku w’oluganda omu mu Asiya?

15 Ow’oluganda omu mu Asiya alina enkola gy’akozesa ng’azzeeyo eri abantu b’aba yayogerako nabo. Agamba nti: “Mbalaga amagezi agali mu Bayibuli agayambye abantu, obunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirira, era njogera ne ku mateeka agafuga obwengula. Oluvannyuma mbalaga engeri ebyo byonna gye biraga nti Omutonzi gy’ali era nti wa magezi nnyo. Omuntu bw’atandika okukkiriza nti Katonda ayinza okuba nga gy’ali, ntandika okumulaga ebyo Bayibuli by’eyogera ku Yakuwa.”

16. Okusinziira ku Abebbulaniya 11:6, lwaki abayizi ba Bayibuli beetaaga okukkiririza mu Katonda ne mu Bayibuli, era tuyinza tutya okubayamba okukulaakulanya okukkiriza okwo?

16 Bwe tuba tuyiga Bayibuli n’abantu abatalina ddiini, tulina okweyongera okubayamba okuba abakakafu nti Katonda gy’ali. (Soma Abebbulaniya 11:6.) Era kitwetaagisa okubayamba okukkiririza mu Bayibuli. Kino oluusi kiyinza okutwetaagisa okuddamu ensonga y’emu enfunda eziwerako. Buli mulundi gwe tusoma nabo, kiyinza okutwetaagisa okukubaganya nabo ebirowoozo ku bukakafu obulaga nti Bayibuli Kigambo kya Katonda. Ekyo tuyinza okukikola nga mu bumpimpi tukubaganya nabo ebirowoozo ku bunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirizibwa, ku ebyo ebiraga nti Bayibuli by’eyogera ebikwata ku ssaayansi ne ku byafaayo bituufu, oba tuyinza okubalaga amagezi agali mu Bayibuli agayambye ennyo abantu.

17. Bwe tulaga abantu okwagala kiyinza kubakolako ki?

17 Bwe tulaga abantu okwagala, ka babe nga balina eddiini oba nedda, basobola okufuuka abayigirizwa ba Kristo. (1 Kol. 13:1) Bwe tuba tubayigiriza, twagala tubayambe okukiraba nti Katonda atwagala era nti ayagala tumwagale. Buli mwaka, abantu abaali batettanira nnyo bya ddiini oba abataalina ddiini babatizibwa olw’okuba baba bayize okwagala Katonda. N’olwekyo, beera n’endowooza ennuŋŋamu era faayo ku bantu aba buli ngeri. Bawulirize. Fuba okubategeera. Okuyitira mu kyokulabirako ky’obateerawo, bayigirize okuba abayigirizwa ba Kristo.

OLUYIMBA 76 Owulira Essanyu Lingi

^ lup. 5 Ennaku zino tusanga nnyo abantu abatettanira bya ddiini. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okubuuliramu abantu abo amazima agali mu Bayibuli, n’engeri gye tuyinza okubayambamu okukkiririza mu Bayibuli ne mu Yakuwa Katonda.

^ lup. 1 Okusinziira ku kunoonyereza okumu, ezimu ku nsi ezo ze zino: Albania, Australia, Austria, Azerbaijan, Canada, China, Czech Republic, Denmark, Bufalansa, Bugirimaani, Hong Kong, Ireland, Isirayiri, Japan, Netherlands, Norway, South Korea, Spain, Sweden, Switzerland, Bungereza, ne Vietnam.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu kitundu kino, ebigambo abantu abatalina ddiini bitegeeza abantu abatalina ddiini gye bakkiririzaamu oba abatakkiririza mu Katonda.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ng’abuulirako munne gwe bakola naye mu ddwaliro, oluvannyuma mukozi munne oyo agenda ku mukutu gwaffe ku kitundu ekigamba nti Okuyigira Bayibuli ku Intaneeti.