Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 28

Ba Mukakafu nti Olina Amazima

Ba Mukakafu nti Olina Amazima

“Weeyongere okutambulira mu bintu bye wayiga era bye wakkiriza nti bituufu.”​—2 TIM. 3:14.

OLUYIMBA 56 Nyweza Amazima

OMULAMWA *

1. Bwe twogera ku “mazima” tuba tutegeeza ki?

“WAYIGA otya amazima?” “Wakulira mu mazima?” “Omaze bbanga ki mu mazima?” Oyinza okuba nga wali obuuziddwako ebibuuzo ng’ebyo oba nga wabibuuzaako abalala. Bwe twogera ku “mazima” tuba tutegeeza ki? Okutwaliza awamu bwe twogera ku mazima tuba tutegeeza ebyo bye tukkiririzaamu, engeri gye tusinzaamu, n’engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Abantu abali mu “mazima” bamanyi ebyo Bayibuli by’eyigiriza era bakolera ku bulagirizi obugirimu. Ekyo kibayambye obutaba mu buddu bw’obulimba bw’amadiini era kibayambye okuba n’obulamu obusingayo obulungi omuntu atatuukiridde bw’asobola okuba nabwo.​—Yok. 8:32.

2. Okusinziira ku Yokaana 13:34, 35, kiki mu kusooka ekiyinza okusikiriza omuntu okuyiga amazima?

2 Kiki ekyasooka okukusikiriza okuyiga amazima? Oboolyawo yali nneeyisa ennungi ey’abantu ba Yakuwa. (1 Peet. 2:12) Oba kuyinza okuba okwagala kwe balaga. Bangi abajja mu nkuŋŋaana zaffe omulundi ogusooka balaba okwagala okwo era bakujjukira okusinga ebintu ebirala byonna ebyali mu lukuŋŋaana olwo. Ekyo tekyewuunyisa kubanga Yesu yagamba nti abayigirizwa be bandibadde bategeererwa ku kwagala kwe balina buli omu eri munne. (Soma Yokaana 13:34, 35.) Naye okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu waliwo ebintu ebirala bye twetaaga okukola.

3. Kiki ekiyinza okubaawo singa okukkiriza kwaffe kwesigamye ku kwagala abantu ba Katonda kwe balaga kwokka?

3 Okukkiriza kwaffe tekulina kwesigama ku kwagala okuli mu bantu ba Katonda kwokka. Lwaki? Watya singa mukkiriza munno, oboolyawo omukadde oba payoniya, akola ekibi eky’amaanyi? Oba watya singa ow’oluganda oba mwannyinaffe akola ekintu ekikulumya? Oba watya singa omuntu omu mu kibiina afuuka kyewaggula n’atandika okugamba nti bye tukkiririzaamu si ge mazima? Singa ebintu ng’ebyo bibaawo, oneesittala n’olekera awo okuweereza Yakuwa? Eky’okuyiga kye kino: Singa ozimba okukkiriza kwo ng’osinziira ku ngeri abalala gye beeyisaamu yokka mu kifo ky’okukuzimba ng’osinziira ne ku nkolagana yo ne Yakuwa, okukkiriza kwo tekuba kunywevu. Bw’oba ozimba ennyumba yo ey’okukkiriza, tolina kukozesa bintu binafu byokka, gamba ng’enneewulira gy’olina eri abalala, naye olina n’okukozesa ebintu ebigumu gamba ng’amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Ggwe kennyini olina okuba omukakafu nti Bayibuli erimu amazima agakwata ku Yakuwa.​—Bar. 12:2.

4. Okusinziira ku Matayo 13:3-6, 20, 21, abamu beeyisa batya bwe boolekagana n’ebintu ebigezesa okukkiriza kwabwe?

4 Yesu yagamba nti abantu abamu bandikkirizza amazima “n’essanyu” naye okukkiriza kwabwe ne kusaanawo nga bafunye ebigezo. (Soma Matayo 13:3-6, 20, 21.) Oboolyawo baba tebaakirowoozaako nti okugoberera Yesu kyandibaddemu okusoomooza n’ebizibu ebitali bimu. (Mat. 16:24) Oba bayinza okuba nga baali balowooza nti omuntu bw’afuuka Omukristaayo aba takyafuna bizibu, wabula mikisa gyokka. Naye mu nsi ya Sitaani eno, tulina okwolekagana n’ebizibu. Embeera zisobola okukyuka, essanyu lyaffe ne likendeera okumala ekiseera.​—Zab. 6:6; Mub. 9:11.

5. Baganda baffe ne bannyinaffe abasinga obungi bakiraze batya nti bakakafu nti bye bakkiriza ge mazima?

5 Abasinga obungi ku bakkiriza bannaffe bakiraze nti bakakafu nti bye bakkiriza ge mazima. Lwaki tugamba bwe tutyo? Okukkiriza kwabwe kusigala kunywevu, mukkiriza munnaabwe ne bw’akola ekintu ekibalumya oba ne bwe yeeyisa mu ngeri etasaana. (Zab. 119:165) Buli lwe boolekagana n’ebigezo, okukkiriza kwabwe kweyongera kunywera, so si kunafuwa. (Yak. 1:2-4) Oyinza otya okuzimba okukkiriza okunywevu ng’okwo?

FUNA “OKUMANYA OKUTUUFU OKUKWATA KU KATONDA”

6. Abayigirizwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka baazimbira ku ki okukkiriza kwabwe?

6 Abayigirizwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka baazimba okukkiriza kwabwe nga basinziira ku kumanya kwe baalina okukwata ku Byawandiikibwa ne ku njigiriza za Kristo, kwe kugamba, “amazima g’amawulire amalungi.” (Bag. 2:5) Amazima ago bye bintu byonna Abakristaayo bye tukkiriza, nga mwe muli amazima agakwata ku kinunulo Yesu kye yawaayo awamu n’okuzuukira kwe. Omutume Pawulo yali mukakafu nti ebintu ebyo byali bituufu. Lwaki? Kubanga yakozesa Ebyawandiikibwa “okulaga nti Kristo yalina okubonaabona n’okuzuukizibwa mu bafu.” (Bik. 17:2, 3) Abayigirizwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bakkiriza enjigiriza ezo era beesigama ku mwoyo omutukuvu okubayamba okutegeera Ekigambo kya Katonda. Baafuna obukakafu obulaga nti enjigiriza ezo za mu Byawandiikibwa. (Bik. 17:11, 12; Beb. 5:14) Okukkiriza kwabwe tebaakuzimbira ku nneewulira zokka, era tebaaweerezanga Yakuwa olw’okuba baawuliranga bulungi nga bakuŋŋaaniddeko wamu ne bakkiriza bannaabwe. Mu kifo ky’ekyo, okukkiriza kwabwe kwali kwesigamiziddwa ku ‘kumanya okutuufu okukwata ku Katonda.’​—Bak. 1:9, 10.

7. Okukkiririza mu mazima agali mu Bayibuli kituyamba kitya?

7 Amazima agali mu Kigambo kya Katonda tegakyuka. (Zab. 119:160) Ng’ekyokulabirako, amazima ago tegakyuka mukkiriza munnaffe ne bw’akola ekintu ekitunyiiza oba ekibi eky’amaanyi. Era tegakyuka ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu. N’olwekyo kitwetaagisa okumanya obulungi enjigiriza eziri mu Bayibuli n’okuba abakakafu nti ge mazima. Bwe tuzimbira okukkiriza kwaffe ku mazima agali mu Bayibuli kujja kutusobozesa okusigala nga tuli banywevu nga tugezesebwa, ng’ennanga bw’enyweza eryato nga waliyo omuyaga ogw’amaanyi. Oyinza otya okwongera okuba omukakafu nti by’okkiririzaamu ge mazima?

BA MUKAKAFU NTI BY’OKKIRIZA GE MAZIMA

8. Okusinziira ku 2 Timoseewo 3:14, 15, Timoseewo yatuuka atya okuba omukakafu nti bye yali akkiririzaamu ge gaali amazima?

8 Timoseewo yali mukakafu nti bye yali akkiririzaamu ge gaali amazima. Ekyo yakimanya atya? (Soma 2 Timoseewo 3:14, 15.) Maama we ne jjajjaawe be baasooka okumuyigiriza enjigiriza eziri mu ‘byawandiikibwa ebitukuvu.’ Kyokka naye kennyini ateekwa okuba nga yawaayo ebiseera n’amaanyi okwekenneenya Ebyawandiikibwa ebyo. Ekyo kyamuyamba okuba omukakafu nti bye yali akkiririzaamu ge mazima. Oluvannyuma, Timoseewo, maama we, ne jjajjaawe baayiga enjigiriza z’Ekikristaayo. Kya lwatu nti Timoseewo ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo olw’okwagala abagoberezi ba Kristo kwe baali balaga era yali ayagala nnyo okukuŋŋaana nabo n’okubayamba. (Baf. 2:19, 20) Naye okukkiriza kwe teyakuzimbira ku nneewulira ng’ezo ze yalina eri bakkiriza banne, wabula yakuzimbira ku njigiriza ez’omu Byawandiikibwa ze yali akakasizza nti ge mazima era ezaamuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Naawe olina okwekenneenya Bayibuli obe mukakafu ku ebyo by’eyigiriza ku Yakuwa.

9. Mazima ki ag’emirundi esatu g’olina okwekakasiza?

9 Okusookera ddala, olina okuba omukakafu waakiri ku njigiriza ezisookerwako ssatu. Esooka, olina okuba omukakafu nti Yakuwa Katonda ye Mutonzi w’ebintu byonna. (Kuv. 3:14, 15; Beb. 3:4; Kub. 4:11) Ey’okubiri, olina okuba omukakafu nti Katonda ye yawandiisa obubaka obuli mu Bayibuli ng’ayagala abantu babumanye. (2 Tim. 3:16, 17) Ey’okusatu, olina okuba omukakafu nti Yakuwa alina ekibiina ky’abantu ekitegeke abamusinza nga bakulemberwa Kristo, era nti Abajulirwa ba Yakuwa kye kibiina ekyo. (Is. 43:10-12; Yok. 14:6; Bik. 15:14) Okusobola okukakasa amazima ago tekikwetaagisa kusooka kumanya buli kimu ekiri mu Bayibuli. Olina okuba n’ekiruubirirwa eky’okukozesa ‘obusobozi bwo obw’okulowooza’ okuba omukakafu nti by’okkiririzaamu ge mazima.​—Bar. 12:1.

BA MWETEGEFU OKUYAMBA ABALALA OKUKAKASA AMAZIMA

10. Ng’oggyeeko okumanya amazima, kiki kye tulina okuba nga tusobola okukola?

10 Bw’omala okuba omukakafu ku mazima ago ag’emirundi esatu agakwata ku Katonda, ku Bayibuli, ne ku bantu ba Katonda, olina okuba ng’osobola okukozesa Ebyawandiikibwa okuyamba abalala nabo okuba abakakafu nti ge mazima. Lwaki? Kubanga Abakristaayo tulina obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza amazima abo abeetegefu okutuwuliriza. * (1 Tim. 4:16) Bwe tufuba okuyamba abalala okuba abakakafu ku mazima agali mu Bayibuli, naffe tweyongera okugakakasa.

11. Omutume Pawulo yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye yayigirizangamu abantu?

11 Omutume Pawulo bwe yalinga ayigiriza abantu yagezangako “okubasendasenda okukkiriza Yesu ng’akozesa Amateeka ga Musa n’ebyo ebyawandiikibwa bannabbi.” (Bik. 28:23) Tuyinza tutya okukoppa Pawulo nga tuyigiriza abalala amazima? Tetulina kukoma ku kubabuulira bubuulizi ekyo Bayibuli ky’egamba. Tusaanidde okubayamba okufumiitiriza ku Byawandiikibwa kibayambe okusemberera Yakuwa. Twagala tubayambe okukkiriza amazima, si lwa kuba nti batwagala oba batussaamu ekitiibwa, naye lwa kuba nti bo bennyini bakakasizza nti bye bayiga ge mazima agakwata ku Katonda waffe atwagala ennyo.

Abazadde, muyambe abaana bammwe okufuna okukkiriza okunywevu nga mubayigiriza ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba’ (Laba akatundu 12-13) *

12-13. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okunywerera mu mazima?

12 Abazadde, kya lwatu nti mwagala abaana bammwe okunywerera mu mazima. Muyinza okuba nga mulowooza nti bwe baba n’emikwano emirungi mu kibiina bajja kukulaakulana mu by’omwoyo. Naye abaana bammwe okusobola okuba abakakafu nti bye bakkiririzaamu ge mazima, okuba n’emikwano emirungi ku bwakyo tekimala. Balina okuba n’enkolagana eyaabwe ku bwabwe ne Katonda n’okuba abakakafu nti ebyo Bayibuli by’eyigiriza ge mazima.

13 Abazadde bwe baba ab’okuyigiriza abaana baabwe amazima agakwata ku Katonda, balina okussaawo ekyokulabirako ekirungi nga bo bennyini banyiikira okusoma Bayibuli. Balina okuwaayo akadde okufumiitiriza ku ebyo bye bayiga. Bwe bakola bwe batyo, baba basobola okuyamba abaana baabwe okukola kye kimu. Nga bwe bakola ne ku bayizi baabwe aba Bayibuli, abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okumanya engeri y’okukozesaamu ebintu bye tukozesa okunoonyereza. Mu ngeri eyo bajja kuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa n’okuba abakakafu nti Yakuwa akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutuyamba okutegeera Bayibuli. (Mat. 24:45-47) Abazadde, temukoma ku kuyigiriza baana bammwe enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Mubayambe okufuna okukkiriza okunywevu nga mubayigiriza ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba’ okusinziira ku myaka gyabwe n’obusobozi bwabwe​—1 Kol. 2:10.

NOONYEREZA KU BUNNABBI OBULI MU BAYIBULI

14. Lwaki tulina okwekenneenya obunnabbi obuli mu Bayibuli? (Laba n’akasanduuko “ Osobola Okunnyonnyola Obunnabbi Buno?”)

14 Obunnabbi obuli mu Bayibuli butuyamba nnyo okuzimba okukkiriza okunywevu. Bunnabbi ki obunywezezza okukkiriza kwo? Oboolyawo oyinza okwogera ku bunnabbi obukwata ku “nnaku ez’enkomerero.” (2 Tim. 3:1-5; Mat. 24:3, 7) Naye bunnabbi ki obulala obutuukiriziddwa obusobola okunyweza okukkiriza kwo? Ng’ekyokulabirako, osobola okunnyonnyola engeri obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 2 oba mu Danyeri essuula 11 gye bwatuukirizibwamu n’engeri gye bweyongera okutuukirizibwamu kati? * Okukkiriza kwo bw’okuzimbira ku mazima agali mu Bayibuli, kuba kunywevu nnyo era tekusobola kusaanawo. Lowooza ku baganda baffe abaayigganyizibwa ennyo mu Bugirimaani mu kiseera kya Ssematalo II. Wadde nga baali tebannategeera bulungi obunnabbi bwa Bayibuli obukwata ku nnaku ez’enkomerero, baalina okukkiriza okw’amaanyi mu Kigambo kya Katonda.

Bwe twesomesa Bayibuli, nga mw’otwalidde n’obunnabbi obugirimu kisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne mu biseera ebizibu (Laba akatundu 15-17) *

15-17. Okwesomesa Bayibuli kyanyweza kitya baganda baffe abaali bayigganyizibwa Abanazi?

15 Mu kiseera ky’obufuzi bw’Abanazi mu Bugirimaani, baganda baffe ne bannyinaffe nkumi na nkumi baatwalibwa mu nkambi z’abasibe. Hitler ne Heinrich Himmler eyali omukungu w’ekitongole ekyali kiyitibwa SS baali tebaagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa. Mwannyinaffe omu yagamba nti, Himmler yagamba bannyinaffe abaali mu nkambi emu ey’abasibe nti: “Yakuwa wammwe asobola okufuga mu ggulu, naye wano ku nsi ffe tufuga! Tujja kubalaga b’ani abagenda okubaawo okumala ekiseera kiwanvu, mmwe Abajulirwa ba Yakuwa oba ffe Abanazi!” Kiki ekyayamba abantu ba Yakuwa okusigala nga beesigwa?

16 Abayizi ba Bayibuli abo baali bakimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914. N’olwekyo tekyabeewuunyisa nti baali boolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Naye abantu ba Yakuwa baali bakakafu nti tewali gavumenti ya bantu esobola kulemesa kigendererwa kya Yakuwa kutuukirira. Hitler yali tasobola kusaanyaawo kusinza okw’amazima era yali tasobola kussaawo gavumenti esinga Bwakabaka bwa Katonda maanyi. Baganda baffe baali bakakafu nti mu ngeri emu oba endala, ekiseera kyali kigenda kutuuka obufuzi bwa Hitler bukome.

17 Ebyo baganda baffe ne bannyinaffe abo bye baali bakkiriza byali bituufu. Waayita emyaka mitono, obufuzi bw’Abanazi ne bugwa, era Heinrich Himmler, omusajja eyagamba nti “wano ku nsi ffe tufuga,” yalina okudduka okusobola okutaasa obulamu bwe. Bwe yali ng’adduka yasisinkana Ow’oluganda Lübke, eyaliko omusibe mu nkambi y’abasibe era ng’amujjukira. Nga yenna asobeddwa, Himmler yabuuza Ow’oluganda Lübke nti: “Omuyizi wa Bayibuli, kati kiki ekiddako?” Ow’oluganda Lübke yagamba Himmler nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bakimanyi nti obufuzi bw’Abanazi bwandigudde era nti bandinunuddwa. Himmler omusajja edda eyayogereranga ennyo Abajulirwa ba Yakuwa ebisongovu, kati yali talina kya kwogera. Waayita akaseera katono ne yetta. Ekyo kituyigiriza ki? Bwe twesomesa Bayibuli, nga mw’otwalidde n’obunnabbi obugirimu, okukkiriza kwaffe kunywera era kituyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne mu biseera ebizibu.​—2 Peet. 1:19-21.

18. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 6:67, 68, lwaki twetaaga okuba “n’okumanya okutuufu era n’okutegeera mu bujjuvu” amazima nga Pawulo bwe yagamba?

18 Buli omu ku ffe asaanidde okwoleka okwagala, nga kano ke kabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima. Naye era twetaaga okuba “n’okumanya okutuufu era n’okutegeera mu bujjuvu” amazima. (Baf. 1:9) Ekyo bwe tutakikola kiba kyangu okutwalirizibwa “embuyaga eya buli njigiriza eziyitira mu bukuusa bw’abantu,” omuli ne bakyewaggula. (Bef. 4:14) Mu kyasa ekyasooka, abayigirizwa bangi bwe baalekera awo okugoberera Yesu, omutume Peetero yakyoleka nti yali mukakafu nti Yesu alina “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Soma Yokaana 6:67, 68.) Wadde nga mu kiseera ekyo Peetero yali tategeera ebimu ku bigambo ebyo, yasigala nga mwesigwa kubanga yali ategedde amazima agakwata ku Kristo. Naawe osobola okwongera okunyweza okukkiriza kw’olina mu ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Bw’okola bw’otyo, okkiriza kwo kujja kusigala nga kunywevu ka kibe ki ekibaawo, era ojja kuyamba abalala okuba n’okukkiriza okunywevu.​—2 Yok. 1, 2.

OLUYIMBA 72 Okubunyisa Amazima g’Obwakabaka

^ lup. 5 Ekitundu kino kigenda kutuyamba okwongera okusiima amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Era kigenda kulaga engeri gye tuyinza okwongera okuba abakakafu nti bye tukkiririzaamu ge mazima.

^ lup. 10 Okusobola okulaba engeri gy’oyinza okukubaganyaamu ebirowoozo n’abalala ku mazima agasookerwako agali mu Bayibuli, laba ekitundu “Okukubaganya Ebirowoozo,” ekyafulumiranga mu Omunaala gw’Omukuumi okuva mu 2010 okutuuka mu 2015. Ebimu ku bibuuzo ebiddibwamu mu kitundu ekyo bye bino “Yesu Ye Katonda?,” “Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga?,” ne “Katonda Abonereza Abantu mu Muliro Ogutazikira?”

^ lup. 14 Okumanya ebikwata ku bunnabbi obwo, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 15, 2012, n’ogwa Maayi 2020.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Mu kusinza kw’amaka abazadde basoma n’abaana baabwe obunnabbi obuli mu Bayibuli obukwata ku kibonyoobonyo ekinene.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Ekibonyoobonyo ekinene bwe kiba kigenda mu maaso, ab’omu maka ago tebeewuunya olw’ebyo ebibaawo.