Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ddi Yesu lwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu, era waliwo enjawulo wakati wa ddi endagaano empya lwe yakakasibwa na ddi lwe yatongozebwa?

Obukakafu bulaga nti Yesu yafuuka Kabona Asinga Obukulu bwe yabatizibwa mu mwaka gwa 29 E.E. Ekyo tukimanya tutya? Yesu bwe yabatizibwa, yakiraga nti yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe ku kyoto eky’akabonero, ekikiikirira “ebyo Katonda by’ayagala.” (Bag. 1:4; Beb. 10:5-10) Olw’okuba ekyoto ekyo kyatandika okubaawo okuva Yesu lwe yabatizibwa, yeekaalu ey’eby’omwoyo, ng’eno ye nteekateeka ey’okusinza okulongoofu eyeesigamiziddwa ku kinunulo, nayo eteekwa okuba nga yatandika okubaawo mu kiseera ekyo. Ekyoto ekyo kintu kikulu nnyo mu yeekaalu ey’eby’omwoyo.​—Mat. 3:16, 17; Beb. 5:4-6.

Okuva bwe kiri nti yeekaalu ey’eby’omwoyo yali etandiseewo, waali walina okubaawo kabona asinga obukulu okuweereza mu yeekaalu eyo. Yakuwa ‘yafuka omwoyo omutukuvu ku Yesu era n’amuwa amaanyi,’ bw’atyo n’amulonda okuba Kabona Asinga Obukulu. (Bik. 10:37, 38; Mak. 1:9-11) Naye tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yesu yalondebwa okuba Kabona Asinga Obukulu nga tannafa era nga tannazuukira? Ebikwata ku Alooni ne bakabona abasinga obukulu abaamuddirira bisobola okutuyamba okuddamu ekibuuzo ekyo.

Okusinziira ku Mateeka Katonda ge yawa Musa, kabona asinga obukulu ye yekka eyayingiranga mu Awasinga Obutukuvu mu weema entukuvu oba mu yeekaalu. Waaliwo olutimbe olwali lwawula Awasinga Obutukuvu ku Awatukuvu. Kabona asinga obukulu yayitanga mu lutimbe olwo ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi kwokka. (Beb. 9:1-3, 6, 7) Okuva bwe kiri nti Alooni ne bakabona abasinga obukulu abaamuddirira baalondebwanga okuba bakabona abasinga obukulu nga tebannayita “mu lutimbe” lwa weema entukuvu, Yesu ateekwa okuba nga yalondebwa okuba Kabona Asinga Obukulu owa yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo nga tannafa. Yamala kufa n’alyoka ayita “mu lutimbe, kwe kugamba, omubiri gwe” n’agenda mu ggulu. (Beb. 10:20) Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yagamba nti Yesu yajja “nga kabona asinga obukulu” n’ayita “mu weema esinga obukulu era esinga obulungi, etaakolebwa na mikono,” kwe kugamba, “mu ggulu mmwennyini.”​—Beb. 9:11, 24.

Tewaliiwo njawulo wakati wa ddi endagaano empya lwe yakakasibwa na ddi lwe yatongozebwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Yesu bwe yagenda mu ggulu n’awaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye ku lwaffe, yatuukiriza omutendera ogusooka ku mitendera esatu egyalina okuyitibwamu okusobola okukakasa endagaano empya. Emitendera egyo era gye gyaviirako endagaano eyo okutongozebwa, oba okutandika okukola. Mitendera ki egyo?

Ogusooka, Yesu yalabika mu maaso ga Yakuwa; ogw’okubiri, Yesu yawaayo eri Yakuwa omuwendo gwa ssaddaaka ye; n’ogw’okusatu, Yakuwa yakkiriza omuwendo gw’omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Emitendera egyo gyamala kuggwaayo endagaano empya n’eryoka etandika okukola.

Bayibuli tetubuulira ddi lwennyini Yakuwa lwe yakkiriza omuwendo gwa ssaddaaka ya Yesu. N’olwekyo tetusobola kusonga ku kiseera kyennyini endagaano empya lwe yakakasibwa era n’etandika okukola. Naye tukimanyi nti Yesu yagenda mu ggulu ng’ebula ennaku kkumi olunaku lwa Pentekooti lutuuke. (Bik. 1:3) Mu bbanga ery’ennaku ezo, Yesu yawaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye eri Yakuwa era Yakuwa n’agukkiriza. (Beb. 9:12) Ku Pentekooti waaliwo obukakafu obwalabwako obwalaga nti endagaano empya yali etandise okukola. (Bik. 2:1-4, 32, 33) Kyeyoleka bulungi nti endagaano empya kati yali weeri era ng’etandise okukola.

Mu bufunze, endagaano empya yakakasibwa era n’etongozebwa oluvannyuma lwa Yakuwa okukkiriza omuwendo gw’omusaayi gwa Yesu era n’ayingiza abaafukibwako amafuta mu ndagaano eyo. Endagaano eyo yatandika okukola era Yesu, Kabona Asinga Obukulu, ye Mutabaganya waayo.​—Beb. 7:25; 8:1-3, 6; 9:13-15.