Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Kye Nkoze Kye Mbadde Nteekeddwa Okukola

Kye Nkoze Kye Mbadde Nteekeddwa Okukola

OKUMALA emyaka egisukka mu 30, Donald Ridley yakola nga munnamateeka w’Abajulirwa ba Yakuwa. Yakola kinene mu kuyamba abantu okukitegeera nti abalwadde balina eddembe okugaana okuteekebwako omusaayi. Yayamba ekibiina kya Yakuwa okuwangula emisango mingi mu kkooti enkulu ez’omu Amerika. Mikwano gye bangi baali bamuyita Don, era yali mukozi munyiikivu, mwetoowaze, era nga mwetegefu okwefiiriza ku lw’abalala.

Mu 2019, Don yazuulwamu obulwadde obukosa obusimu bw’omubiri, obutasobola kuvumulwa. Obulwadde obwo bwakula mangu era ne bumutta nga Agusito 16, 2019. Bino bye bimukwatako.

Nnazaalibwa mu St. Paul, Minnesota, Amerika, mu 1954. Bazadde bange baali Bakatuliki era nga ba nfuna nsaamusaamu. Baatuzaala abaana bataano era nze nnali omwana ow’okubiri. Nnasomera mu ssomero ly’Abakatuliki, era nnaweerezanga ku wolutaali. Wadde kyali kityo, nnali mmanyi kitono nnyo ku Bayibuli. Wadde nga nnali nzikiriza nti eriyo Katonda eyatonda ebintu byonna, nnali sikkiriza nti eddiini gye nnalimu yandinnyambye okumusinza obulungi.

NJIGA AMAZIMA

Bwe nnali mu mwaka gwange ogusooka nga nsoma eby’amateeka mu ttendekero eriyitibwa William Mitchell College of Law, omwami ne mukyala we Abajulirwa ba Yakuwa bajja ne bambuulira. Bansanga njoza ngoye zange era bansuubiza okudda. Bwe baakomawo nnababuuza ebibuuzo bibiri: “Lwaki abantu ababi baba bulungi mu nsi okusinga abantu abalungi?” era “Kiki ekisobola okuyamba abantu okuba n’essanyu erya nnamaddala?” Bampa akatabo The Truth That Leads to Eternal Life ne Bayibuli, Enkyusa ey’Ensi Empya, eyalina eddiba erya kiragala. Era nnakiriza okuyigirizibwa Bayibuli. Nnayiga ebintu ebipya bingi. Nnakwatibwako nnyo bwe nnakimanya nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ejja okufuga ensi. Nnali nkiraba nti obufuzi bw’abantu bulemereddwa era nti buviiriddeko ensi okubaamu okubonaabona, obulumi, obutali bwenkanya, n’ebizibu ebirala.

Nneewaayo eri Yakuwa ku ntandikwa ya 1982 era nga wayise emyezi mitono nnabatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olwalina omutwe “Amazima g’Obwakabaka” olwali mu kizimbe ekinene mu kibuga St. Paul. Wiiki eyaddako, nnakomawo mu kifo ekyo kye kimu okutuula ebigezo mu by’amateeka. Mu Okitobba, nnakitegeera nti nnali mpise ebigezo ebyo era nti kati nnali nsobola okukola nga munnamateeka.

Ku lukuŋŋaana olwo olunene, nnasisinkana Mike Richardson, eyali aweereza ku Beseri y’omu Brooklyn, era yaŋŋamba nti baali batandiseewo ekitongole ekikola ku by’amateeka ku kitebe kyaffe ekikulu. Nnajjukira ebigambo by’Omwesiyopiya omulaawe ebiri mu Ebikolwa 8:36 ne nneebuuza nti, ‘Kiki ekiŋŋaana okusaba okuweereza mu kitongole ekyo eky’eby’amateeka?’ Bwe ntyo nnasaba okuweereza ku Beseri.

Bwe nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, bazadde bange tekyabasanyusa. Taata yambuuza obanga okukolera ekitongole kya Watchtower kirina engeri gye kyandiŋŋanyudde mu mulimu gwe nnasomerera ogw’eby’amateeka. Nnamugamba nti nnali ŋŋenda kukola nga nnakyewa. Era nnamugamba nti nnali nja kuweebwanga ddoola 75 buli mwezi, nga zino ze ssente ze baawanga Ababeseri okukola ku byetaago byabwe.

Olw’okuba nnali nnakkiriza okukola mu kkooti emu, saagenderawo ku Beseri. Nnatandika okuweereza ku Beseri y’omu Brooklyn, New York, mu 1984. Nnasabibwa okukola mu kitongole ky’eby’amateeka. Obumanyirivu bwe nnafuna nga nkola mu kkooti, bwannyamba okweteekerateekera emirimu gye nnandikoze mu kitongole ekyo.

EKIZIMBE EKIYITIBWA STANLEY KIDDAABIRIZIBWA

Ekizimbe Stanley bwe kyali kifaanana nga kyakagulibwa

Mu Noovemba 1983, ekibiina kya Yakuwa kyagula ekizimbe ekiyitibwa Stanley ekisangibwa mu kibuga Jersey. Ab’oluganda baasaba ab’obuyinza babakkirize okuddaabiriza eby’amasannyalaze n’eby’amazzi ebiri mu kizimbe ekyo. Baategeeza ab’obuyinza nti ekizimbe ekyo kyali kigenda kufunirwangamu enkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kyaleetawo obuzibu. Okusinziira ku mateeka g’ekibuga ekyo, ebifo eby’okusinzizaamu byalina kuba mu bitundu ebisulwamu byokka. Kyokka olw’okuba ekizimbe Stanley kyali mu kitundu omukolerwa bizineesi, ab’oluganda baabamma olukusa okukiddaabiriza. Ab’oluganda baajulira naye era ne bagaanibwa.

Mu wiiki yange eyasooka ku Beseri, ekibiina kya Yakuwa kyawaaba omusango mu kkooti nga kiwakanya eky’okummibwa olukusa okuddaabiriza ekizimbe ekyo. Olw’okuba nnali mmaze emyaka ebiri nga nkola mu kkooti y’e St. Paul, Minnesota, emisango egy’engeri eyo nnali ngimanyi bulungi. Omu ku bannamateeka baffe yagamba nti ekizimbe ekyo kyalinga kikozesebwa mu bintu ebitali bimu, gamba ng’okulagiramu firimu n’ebivvulu by’abayimbi. Kati olwo lwaki kyali kitwalibwa nti kimenya mateeka okufuniramu enkuŋŋaana ez’eddiini? Kkooti yeekenneenya ensonga eyo era n’esalawo nti ab’obuyinza mu kibuga Jersey baalinnyirira eddembe lyaffe ery’okusinza. Kkooti yalagira ab’obuyinza mu kibuga ekyo okutuwa olukusa okuddaabiriza ekizimbe ekyo, era nnatandika okulaba engeri Yakuwa gy’awaamu ekibiina kye omukisa nga kikozesa amateeka okutwala mu maaso omulimu gwe. Kyansanyusa nnyo okuba nti nnange nnina kye nnakolawo mu kulwanirira omulimu gwa Yakuwa.

Ab’oluganda baatandika omulimu omunene ogw’okuddaabiriza ekizimbe ekyo, era amatikkira g’essomero lya Gireyaadi aga 79 gaali mu kizimbe ekyo nga Ssebutemba 8, 1985, nga tewannayita na mwaka bukya omulimu gw’okuddaabiriza gutandikibwa. Nnalaba nga nfunye enkizo ya maanyi okuwagira omulimu gw’Obwakabaka nga ndi omu ku bannamateeka b’ekibiina, era essanyu lye nnafuna lyali lingi okusinga eryo lye nnafuna nga nkyakola mu kkooti nga sinnatandika kuweereza ku Beseri. Nnali simanyi nti waaliwo emirimu emirala mingi Yakuwa gye yali agenda okunkozesa.

OKULWANIRIRA EDDEMBE LY’ABALWADDE OKUGAANA OKUTEEKEBWAKO OMUSAAYI

Mu myaka gya 1980, abasawo n’amalwaliro baateranga obutassa kitiibwa mu ddembe ly’Abajulirwa ba Yakuwa abakulu okugaana okuteekebwako omusaayi. Abakazi ab’embuto be baasinganga okwolekagana n’obuzibu mu nsonga eyo, kubanga abalamuzi baalinga bakitwala nti omukazi teyalina ddembe kugaana kuteekebwako musaayi. Baagambanga nti singa omukazi teyateekebwangako musaayi kyalinga kisobola okuviirako omwana okukula nga talina maama.

Nga Ddesemba 29, 1988, Mwannyinaffe Denise Nicoleau yavaamu omusaayi mungi oluvannyuma lw’okuzaala mutabani we. Olw’okuba yali asigazza omusaayi mutono nnyo, omusawo eyali amukolako yamugamba akkirize okuteekebwako omusaayi. Mwannyinaffe Nicoleau yagaana. Ku lunaku olwaddako, eddwaliro lyasaba kkooti ewe abasawo olukusa okussa omusaayi ku mwannyinaffe oyo. Omulamuzi teyawa Mwanyinaffe Nicoleau n’omwami we kakisa kunnyonnyola kusalawo kwabwe era teyabategeeza nti yali awadde eddwaliro olukusa okussa ku mwannyinaffe oyo omusaayi.

Ku Lwokutaano, nga Ddesemba 30, abasawo bassa omusaayi ku Mwannyinaffe Nicoleau wadde nga ye n’omwami we n’ab’eŋŋanda zaabwe abaali mu ddwaliro baali bakigaanye. Ku lunaku olwo lwennyini olw’eggulo, ab’eŋŋanda za mwannyinaffe abawerako awamu n’omukadde omu oba babiri baakwatibwa nga babalanga okugezaako okulemesa abasawo okussa omusaayi ku mwannyinaffe oyo. Enkeera ku Lwomukaaga nga Ddesemba 31, empapula z’amawulire, ttivi, ne leediyo zaayogera ku kukwatibwa kwabwe.

Nga ndi ne Philip Brumley

Ku Bbalaza ku makya, nnayogerako ne Milton Mollen eyali omulamuzi wa kkooti esingako. Nnamunnyonnyola ebikwata ku musango ogwo, era ne mmulaga nti omulamuzi oli yali ayisizza ekiragiro eky’okussa omusaayi ku mwannyinaffe nga tasoose kumuwuliriza wadde omwami we. Omulamuzi Mollen yaŋŋamba okugenda ku ofiisi ye olweggulo olwo twongere okwogera ku nsonga eyo ne ku mateeka agagikwatako. Ow’oluganda Philip Brumley, eyali akulira ekitongole kyaffe eky’eby’amateeka yamperekerako nga ŋŋenda mu ofiisi y’Omulamuzi Mollen. Omulamuzi oyo yayita ne munnamateeka w’eddwaliro okubaawo. Okukubaganya ebirowoozo kwali kwa maanyi. Ekiseera kyatuuka Ow’oluganda Brumley n’abaako w’ampandiikira mu katabo ke n’aŋŋamba nti “kkakkana.” Ago gaali magezi malungi kubanga nnali ntandise okuva mu mbeera nga ngezaako okukakasa munnamateeka w’eddwaliro nti yali mukyamu.

Okuva ku kkono okudda ku ddyo: Richard Moake, Gregory Olds, Paul Polidoro, Philip Brumley, nze, ne Mario Moreno​—bannamateeka b’ekibiina mu musango ogwawulirwa kkooti ey’oku ntikko eya Amerika ogwali gukwata ku Watchtower v. Village of Stratton.​—Laba Awake! eya Jjanwali 8, 2003

Oluvannyuma lw’essaawa ng’emu, Omulamuzi Mollen yagamba nti omusango ogwo gwe gwali gugenda okusooka okuwulirwa enkeera. Bwe twali tufuluma mu ofiisi ye, Omulamuzi Mollen yagamba nti munnamateeka w’eddwaliro yali ayolekedde “olusozi gambalagala.” Ekyo kyali kitegeeza nti munnamateeka w’eddwaliro yali agenda kusanga akaseera akazibu okukakasa nti eddwaliro lyali ttuufu okussa omusaayi ku mwannyinaffe nga teyeeyagalidde. Muli nnawulira nti Yakuwa yali atukakasa nti omusango ogwo twali tujja kuguwangula. Kyankwatako nnyo okulaba engeri Yakuwa gye yali atukozesaamu okutuukiriza ky’ayagala.

Twamala essaawa nnyingi ekiro nga tuteekateeka empoza yaffe. Olw’okuba kkooti yali kumpi ne Beseri y’e Brooklyn, bangi ku bannamateeka baffe baatambula butambuzi okugendayo. Oluvannyuma lw’Abalamuzi abana okuwuliriza empoza yaffe, baalaga nti kyali kikyamu eddwaliro okuweebwa olukusa okussa ku Mwannyinaffe Nicoleau omusaayi. Era kkooti yalaga nti kityoboola eddembe ly’obuntu eddwaliro okuweebwa olukusa okussa ku muntu omusaayi nga tabasoose kufuna ndowooza ye.

Waayita ekiseera kitono ne kkooti ey’oku ntikko ey’omu New York nayo n’eraga nti Mwannyinaffe Nicoleau yalina eddembe okusalawo okujjanjabwa nga tateekeddwako musaayi. Ogwo gwe musango ogwasooka ku misango ena egikwata ku kuteekebwako omusaayi egyasalibwawo kkooti ez’oku ntikko gye nnafuna enkizo okwenyigiramu. (Laba akasanduuko “ Obuwanguzi mu Kkooti ez’Oku Ntikko.”) Ate era nnakolera wamu ne bannamateeka abalala ab’oku Beseri ku misango egikwata ku kugattululwa, ku muzadde okuba n’obuvunaanyizibwa ku mwana, ne ku nkozesa y’ettaka n’ebizimbe.

OBUFUMBO BWANGE

Nga ndi ne mukyala wange, Dawn

Lwe nnasooka okusisinkana Dawn, oluvannyuma eyafuuka mukyala wange, yali yagattululwa mu bufumbo era ng’alina abaana basatu. Yali alina omulimu gw’akola okweyimirizaawo era ng’aweereza nga payoniya. Yali ayise mu bizibu bingi, era nnakwatibwako nnyo olw’obumalirivu bwe yalina okuweereza Yakuwa. Mu 1992, bwe twali ku lukuŋŋaana olumu olunene olwali mu kibuga New York, nnamusaba mmwogereze. Oluvannyuma lw’omwaka gumu twafumbiriganwa. Okuba n’omukyala akulembeza eby’omwoyo era atera okusaaga kibadde kirabo kirungi nnyo okuva eri Yakuwa. Dawn ankoledde ebirungi emyaka gyonna gye mmaze naye.​—Nge. 31:12.

We twafumbiriganirwa, omwana omu yali wa myaka 11, omulala 13, ate omulala nga wa myaka 16. Nnali njagala okuba taata omulungi, era bwe ntyo nnasoma n’obwegendereza era ne nfuba okukolera ku magezi agali mu bitabo byaffe agakwata ku kuba muzadde w’abaana b’otozaala. Wabaddewo okusoomooza okutali kumu naye kinsanyusa okuba nti abaana abo banjagadde era bantwala nga kitaabwe abaagala era gwe beesiga. Twasembezanga mikwano gy’abaana baffe mu maka gaffe era kyatusanyusanga nnyo okuba n’abavubuka bangi awaka.

Mu 2013, nze ne Dawn twagenda okubeera mu Wisconsin okusobola okulabirira bazadde baffe abaali bakaddiye. Kyanneewuunyisa okuba nti nneeyongera okuweereza ku Beseri. Nnasabibwanga okuyambako ekibiina kya Yakuwa mu nsonga ezitali zimu ezikwata ku by’amateeka.

ENKYUKAKYUKA GYE TWALI TUTASUUBIRA

Mu Ssebutemba 2018, nnatandika okuba nga buli kiseera ngogola emimiro. Omusawo yankebera naye n’atazuula buzibu kwe buva. Oluvannyuma omusawo omulala yaŋŋamba ndabe omusawo omukugu mu busimu bw’omubiri. Mu Jjwanwali 2019, omusawo oyo yankebera n’aŋŋamba nti kirabika nnalina obulwadde obutatera kulabika obukosa obusimu bw’omubiri.

Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, bwe nnali nzannya omuzannyo ogumu, nnamenyeka omukono ogwa ddyo. Omuzannyo ogwo nnali nguzannyidde emyaka mingi era nga ngukuguseemu. Ekyo bwe kyabaawo, nnakimanya nti ebinywa byange obulwadde bwali bubikosezza. Nneewuunya nnyo engeri obulwadde gye bukuze amangu ne bunviirako okuzibuwalirwa okwogera, okutambula, n’okumira.

Nfunye enkizo ya maanyi okukozesa obukugu bwe nnafuna mu by’amateeka okubaako kye nkolawo okutwala mu maaso omulimu gw’Obwakabaka. Era nfunye enkizo okuwandiika ebitundu bingi mu magazini ezisomebwa abasawo, bannamateeka, n’abalamuzi. Ate era njogedde eri abantu mu misomo egitali gimu okwetooloola ensi nga mbayamba okukiraba nti abantu ba Yakuwa balina eddembe okusalawo okujjanjabibwa awatali kuteekebwako musaayi. Wadde kiri kityo, nnange njogera ebigambo ebifaananako ebyo ebiri mu Lukka 17:10 nti: ‘Ndi muddu atalina mugaso. Kye nkoze kye mbadde nteekeddwa okukola.’