Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 30

Weeyongere Okutambulira mu Mazima

Weeyongere Okutambulira mu Mazima

“Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.”​—3 YOK. 4.

OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”

OMULAMWA *

1. Nga bwe kiragibwa mu 3 Yokaana 3, 4, kiki ekituleetera essanyu?

LOWOOZA ku ssanyu omutume Yokaana lye yafuna bwe yawulira nti abo be yali ayambye okuyiga amazima baali bakyeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Baali boolekagana n’ebizibu bingi era Yokaana yali afuba okunyweza okukkiriza kw’Abakristaayo abo abeesigwa be yali atwala ng’abaana be ab’eby’omwoyo. Naffe kitusanyusa nnyo abaana baffe, ka babe abo be tuzaala oba ka babe ba bya mwoyo, bwe beewaayo eri Yakuwa era ne beeyongera okumuweereza n’obwesigwa.​—Soma 3 Yokaana 3, 4.

2. Amabaluwa Yokaana ge yawandiika gaalina kigendererwa ki?

2 Mu mwaka gwa 98 E.E., Yokaana ayinza okuba nga yali abeera mu Efeso oba okumpi nakyo. Kirabika eyo yagendayo oluvannyuma lw’okusumululwa okuva ku kizinga ky’e Patumo gye yali awaŋŋangusiddwa. Kirabika mu kiseera ekyo omwoyo gwa Yakuwa lwe gwamuluŋŋamya okuwandiika ebbaluwa ze essatu. Ekigendererwa ky’ebbaluwa ezo kyali kya kukubiriza Abakristaayo abeesigwa okweyongera okukkiririza mu Yesu n’okweyongera okutambulira mu mazima.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Yokaana ye mutume yekka eyali akyasigaddewo, era yali mweraliikirivu olw’engeri abayigiriza ab’obulimba gye baali bagezaako okuwabya ebibiina. * (1 Yok. 2:18, 19, 26) Bakyewaggula abo baali bagamba nti bamanyi Yakuwa Katonda, naye baali tebagondera mateeka ge. Ka twekenneenye ebyo Yokaana bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika. Ekyo kijja kutuyamba okuddamu ebibuuzo bino bisatu: Kitegeeza ki okutambulira mu mazima? Biki ebiyinza okutulemesa okweyongera okutambulira mu mazima? Tuyinza tutya okuyambagana tusobole okusigala mu mazima?

KITEGEEZA KI OKUTAMBULIRA MU MAZIMA?

4. Okusinziira ku 1 Yokaana 2:3-6 ne 2 Yokaana 4, 6, biki ebizingirwa mu kutambulira mu mazima?

4 Okusobola okutambulira mu mazima, tulina okumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Okugatta ku ekyo, tulina “okukwata ebiragiro” bya Yakuwa, kwe kugamba, tulina okumugondera. (Soma 1 Yokaana 2:3-6; 2 Yokaana 4, 6.) Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kugondera Yakuwa. N’olwekyo, engeri emu enkulu gye tugonderamu Yakuwa kwe kufuba okutambulira mu bigere bya Yesu.​—Yok. 8:29; 1 Peet. 2:21.

5. Tulina kuba bakakafu ku ki?

5 Okusobola okweyongera okutambulira mu mazima, tulina okuba abakakafu nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima era nti buli ky’atugamba mu Kigambo kye Bayibuli kituufu. Era tulina okuba abakakafu nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa. Bangi leero babuusabuusa nti Yesu yalondebwa okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Yokaana yagamba nti waaliwo “abalimba bangi,” abaali basobola okubuzaabuza abo abaali batalina kukkiriza kunywevu mu mazima agakwata ku Yakuwa ne Yesu. (2 Yok. 7-11) Yokaana yawandiika nti: “Ani mulimba? Si y’oyo agamba nti Yesu si ye Kristo?” (1 Yok. 2:22) Engeri yokka gye tuyinza okwewala okulimbibwa kwe kwekenneenya Ekigambo kya Katonda. Ekyo bwe tukikola, tujja kusobola okutegeera Yakuwa ne Yesu. (Yok. 17:3) Era ekyo kijja kutuyamba okuba abakakafu nti tulina amazima.

BIKI EBIYINZA OKUTULEMESA?

6. Ekimu ku bintu ebiyinza okuleetera abavubuka okulekera awo okutambulira mu mazima kye kiruwa?

6 Abakristaayo balina okwekuuma baleme kubuzaabuzibwa njigiriza z’abantu. (1 Yok. 2:26) Okusingira ddala, abavubuka Abakristaayo balina okwekuuma omutego ogwo. Mwannyinaffe Alexia, * ow’emyaka 25, agamba nti: “Bwe nnali nkyasoma, enjigiriza z’abantu gamba ng’eyo egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa, zandeetera okubuusabuusa amazima. Oluusi enjigiriza ezo nnalaba ng’ezikola amakulu. Naye nnakiraba nti kyali kikyamu okumala gakkiriza bye njigirizibwa ku ssomero awatali kwekenneenya ebyo Yakuwa by’agamba mu Kigambo kye.” Alexia yasoma akatabo Life​—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? Mu wiiki ntono, okubuusabuusa kwe yalina kwaggwaawo. Alexia agamba nti: “Nze kennyini nnakakasa nti Bayibuli by’eyogera ge mazima. Era nnakiraba nti okukolera ku mitindo egiri mu Bayibuli kyandindeetedde essanyu n’emirembe.”

7. Kiki kye tulina okwewala, era lwaki?

7 Abakristaayo bonna, abato n’abakulu, balina okwewala okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. Yokaana yagamba nti tetusobola kutambulira mu mazima ate mu kiseera kye kimu ne tuba nga twenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (1 Yok. 1:6) Katonda okusobola okutusiima kati ne mu biseera eby’omu maaso, buli kye tukola tulina okukikola nga tulinga abakikolera mu maaso ge. Mu ngeri endala, teriiyo kibi kya mu kyama, kubanga buli kimu kye tukola Yakuwa aba akiraba.​—Beb. 4:13.

8. Kiki kye tulina okwewala?

8 Tulina okwewala endowooza ensi gy’erina ku kibi. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Bwe tugamba nti, ‘Tetulina kibi,’ tuba twerimba.” (1 Yok. 1:8) Mu kiseera kya Yokaana, bakyewaggula baali bagamba nti omuntu yali asobola okukola ebintu ebibi mu bugenderevu naye n’asigala ng’alina enkolagana ne Katonda. Ne leero abantu bangi balina endowooza ng’eyo. Bangi bagamba nti bakkiririza mu Katonda, naye tebakkiriza ekyo ky’ayogera ku kibi, naddala bwe kituuka ku nsonga ezikwatagana n’okwegatta. Waliwo ebikolwa eby’okwegatta Yakuwa by’atwala nti bikyamu, naye abantu abo bagamba nti kikkirizibwa omuntu okwenyigira mu bikolwa ebyo kasita aba ng’awulira nti ye ky’ayagala.

Abavubuka, mufeeyo okumanya ensonga lwaki ebintu ebimu Yakuwa agamba nti bituufu ate ebirala nti bikyamu. Awo mujja kusobola okunnyonnyola abalala lwaki temwenyigira mu bintu bibi (Laba akatundu 9) *

9. Abavubuka baganyulwa batya mu kunywerera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza?

9 Kiyinza obutaba kyangu eri abavubuka Abakristaayo okunywerera ku kituufu bwe kituuka ku bikolwa eby’okwegatta, naddala bwe kiba nti bayizi bannaabwe oba bakozi bannaabwe tebakkiririza mu ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku nsonga eyo. Ekyo kye kyatuuka ku Aleksandar. Agamba nti: “Waliwo abawala ku ssomero abaagezaako okumpikiriza okwegatta nabo. Baŋŋamba nti okuva bwe kiri nti saalina muwala gwe njagala, nteekwa okuba nga ndi musiyazi.” Bw’ofuna ebigezo ng’ebyo, kijjukire nti bw’onywerera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza, ojja kusigaza ekitiibwa kyo, ojja kuba n’obulamu obulungi, ojja kwewala okulumirizibwa omutima, era ojja kusigala ng’olina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Era buli lw’oziyiza ebikemo kyeyongera okukubeerera ekyangu okukola ekituufu. Ate era kijjukire nti endowooza enkyamu ensi gy’erina ku by’okwegatta eva eri Sitaani. N’olwekyo, bwe weewala endowooza y’ensi, ‘owangula omubi.’​—1 Yok. 2:14.

10. Ebiri mu 1 Yokaana 1:9 bituyamba bitya okuweereza Yakuwa nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo?

10 Tukkiriza nti Yakuwa y’alina okutulaga ekyo ekitwalibwa nti kibi. Era tufuba okwewala okukola ekibi. Naye bwe tukola ekibi, twetondera Yakuwa mu kusaba. (Soma 1 Yokaana 1:9.) Ate bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tutuukirira abakadde Yakuwa b’ataddewo okutuyamba. (Yak. 5:14-16) Naye tetusaanidde kweyongera kulumirizibwa mutima olw’ebibi bye twakola emabega. Lwaki? Kubanga Kitaffe atwagala, yawaayo Omwana we okutufiirira tusobole okusonyiyibwa ebibi. Yakuwa bw’agamba nti asonyiwa aboonoonyi abeenenya, aba akitegeeza. N’olwekyo tewali kirina kutulemesa kuweereza Yakuwa nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo.​—1 Yok. 2:1, 2, 12; 3:19, 20.

11. Tuyinza tutya okwewala enjigiriza eziyinza okunafuya okukkiriza kwaffe?

11 Tulina okwewala enjigiriza za bakyewaggula. Okuviira ddala ekibiina Ekikristaayo lwe kyatandikawo, Omulyolyomi azze akozesa abantu abalimba okuleetera Abakristaayo okubuusabuusa. N’olwekyo tulina okukulaakulanya obusobozi bw’okwawulawo amazima ku bulimba. * Abalabe baffe bayinza okukozesa Intaneeti oba emikutu emigattabantu okugezaako okutuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa n’okwagala baganda baffe. Bulijjo jjukiranga oyo ali emabega w’obulimba obwo era obwewale!​—1 Yok. 4:1, 6; Kub. 12:9.

12. Lwaki tulina okwongera okunyweza okukkiriza kwe tulina mu mazima ge tuyize?

12 Okusobola okuziyiza Sitaani, tulina okwongera okunyweza okukkiriza kwe tulina mu Yesu n’ekifo ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Ate era tulina okwesiga omukutu gwokka Yakuwa gw’akozesa leero. (Mat. 24:45-47) Tusobola okunyweza okukkiriza kwaffe nga twesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa. Olwo nno okukkiriza kwaffe kujja kuba ng’omuti ogulina emirandira egyakkira ddala wansi mu ttaka. Pawulo yayogera ekintu ekifaananako bwe kityo mu bbaluwa gye yawandiikira ekibiina ky’e Kkolosaayi. Yagamba nti: “Nga bwe mukkirizza Mukama waffe Kristo Yesu, mweyongere okutambulira wamu naye, nga muli banywevu, nga muzimbibwa mu ye, nga temusagaasagana mu kukkiriza.” (Bak. 2:6, 7) Tewali kintu kyonna Sitaani oba abo b’akozesa kye basobola kukola kuggya mu mazima Abakristaayo abalina okukkiriza okunywevu.​—2 Yok. 8, 9.

13. Kiki kye tusaanidde okusuubira, era lwaki?

13 Tulina okusuubira okukyayibwa ensi. (1 Yok. 3:13) Yokaana yagamba nti “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yok. 5:19) Ng’enkomerero egenda esembera, Sitaani yeeyongera okuba omusunguwavu. (Kub. 12:12) Ng’oggyeeko okukozesa obutego obwekusifu, gamba ng’okutusendasenda okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oba obulimba bwa bakyewaggula, oluusi Sitaani atulumba butereevu. Sitaani akimanyi nti asigazza akaseera katono okugezaako okutulemesa okubuulira oba okusaanyaawo okukkiriza kwaffe. N’olwekyo tekitwewuunyisa nti omulimu gwaffe gukugiddwa oba guwereddwa mu nsi eziwerako. Wadde kiri kityo, bakkiriza bannaffe mu nsi ezo beeyongera okutambulira mu mazima. Bakiraga nti, ka kibe ki Sitaani ky’atukola, tusobola okusigala nga tuli beesigwa!

TULINA OKUYAMBAGANA TUSOBOLE OKUSIGALA MU MAZIMA

14. Engeri emu gye tuyinza okuyamba bakkiriza bannaffe okusigala mu mazima y’eruwa?

14 Okusobola okuyamba bakkiriza bannaffe okusigala mu mazima, tulina okubalaga obusaasizi. (1 Yok. 3:10, 11, 16-18) Tulina okwagalana, si olwo lwokka ng’ebintu bitambula bulungi, naye ne mu biseera nga wagguddewo ebizibu. Ng’ekyokulabirako, omanyiiyo omuntu eyafiirwa omuntu we eyeetaaga okubudaabudibwa oba okuyambibwa mu ngeri endala? Oba waliwo bakkiriza banno abakoseddwa obutyabaga era nga beetaaga okubayambako okuddamu okuzimba Ebizimbe byabwe eby’Obwakabaka oba amayumba gaabwe? Tulaga bakkiriza bannaffe okwagala n’obusaasizi, si mu bye twogera byokka, naye okusingira ddala mu bye tukola.

15. Nga bwe kiragibwa mu 1 Yokaana 4:7, 8, kiki kye tulina okukola?

15 Tusobola okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu nga tulagaŋŋana okwagala. (Soma 1 Yokaana 4:7, 8.) Engeri emu gye tulagamu okwagala kwe kusonyiwagana. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okukola ekintu ekitulumya naye ne yeetonda. Tulaga okwagala nga tumusonyiwa era ng’ensonga tugireka. (Bak. 3:13) Embeera ng’eyo yatuuka ku w’oluganda ayitibwa Aldo, bwe yawulira ow’oluganda omu gwe yali assaamu ekitiibwa ng’ayogera bubi ku ggwanga lye. Aldo agamba nti, “Nnasaba Yakuwa enfunda n’enfunda annyambe nneme kuba na ndowooza mbi ku w’oluganda oyo.” Naye waliwo ekirala Aldo kye yakola. Yasaba ow’oluganda oyo babuulireko wamu. Bwe baali babuulira, Aldo yamunnyonnyola engeri bye yayogera gye byamuyisaamu. Aldo agamba nti: “Ow’oluganda oyo bwe yawulira engeri ebigambo bye gye byali bimpisizzaamu, yanneetondera. Eddoboozi lye yakozesa lyalaga nti yejjusa ebyo bye yayogera. Twaddamu okuba ab’omukwano.”

16-17. Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola?

16 Omutume Yokaana yali ayagala nnyo bakkiriza banne era ng’ayagala babe n’okukkiriza okunywevu, era ekyo kyeyolekera mu bbaluwa essatu ze yabawandiikira. Nga kituzzaamu amaanyi okuba nti abasajja n’abakazi abalinga Yokaana baafukibwako amafuta era bajja kufugira wamu ne Kristo!​—1 Yok. 2:27.

17 Ka tufube okukolera ku kubuulirira kwe tulabye mu kitundu kino. Ka tube bamalirivu okutambulira mu mazima, nga tugondera Yakuwa mu mbeera zaffe zonna ez’obulamu. Tulina okwesomesa Ekigambo kya Katonda n’okukyesiga. Tulina okuba n’okukkiriza okunywevu mu Yesu. Tulina okwewala okutwalirizibwa enjigiriza z’abantu n’obulimba bwa bakyewaggula. Tulina okwewala okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri, n’okwekkiriranya okukola ekibi. Tulina okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Era tulina okuyamba baganda baffe okusigala nga banyweredde mu mazima nga tubasonyiwa era nga tuyamba abo ababa mu bwetaavu. Bwe tukola tutyo, tujja kweyongera okutambulira mu mazima wadde nga twolekagana n’embeera enzibu.

OLUYIMBA 49 Okusanyusa Omutima gwa Yakuwa

^ lup. 5 Tuli mu nsi efugibwa Sitaani, kitaawe w’obulimba. N’olwekyo, kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okutambulira mu mazima. Abakristaayo abaaliwo ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka nabo baalina okusoomooza kwe kumu. Okusobola okubayamba era naffe okutuyamba, Yakuwa yaluŋŋamya omutume Yokaana okuwandiika ebbaluwa ssatu. Ebiri mu bbaluwa ezo bigenda kutuyamba okumanya ebintu ebiyinza okutulemesa okweyongera okutambulira mu mazima n’engeri gye tuyinza okubivvuunuka.

^ lup. 6 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 11 Laba ekitundu “Omanyi Byonna Ebizingirwamu?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 2018.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe bw’aba ali ku ssomero, awulira era alaba ebintu ebitali bimu ebireetera ekikolwa eky’okulya ebisiyaga okulabika ng’ekitali kikyamu. (Mu buwangwa obumu, langi za musoke zikozesebwa ng’akabonero k’abalyi b’ebisiyaga.) Oluvannyuma yeesomesa okusobola okwongera okunyweza okukkiriza kw’alina mu njigiriza z’Ekikristaayo. Ekyo kimuyamba okusalawo mu ngeri entuufu.