Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abajulirwa ba Yakuwa bandikozesezza emikutu gya Intaneeti egiteekebwawo abantu basobole okunoonyezaako be banaafumbiriganwa nabo?

Yakuwa ayagala omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa babe basanyufu era babe n’enkolagana ey’oku lusegere era ey’olubeerera. (Mat. 19:4-6) Bw’oba oyagala okuwasa oba okufumbirwa, oyinza otya okufuna omuntu omutuufu ow’okufumbiriganwa naye? Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Mutonzi waffe, amanyi bye twetaaga okukola okusobola okuba n’obufumbo obw’essanyu. N’olwekyo, bw’okolera ku magezi agali mu Bayibuli, ebivaamu biba birungi. Ka tulabeyo agamu ku magezi ago.

Ekisooka, tusaanidde okumanya ekintu kino: “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo.” (Yer. 17:9) Abantu ababiri abaagala okufumbiriganwa bwe basisinkana ne batandika okwogerezeganya, emirundi mingi bafuna enneewulira ez’amaanyi buli omu eri munne era ekyo bwe kibaawo kibabeerera kizibu okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omusajja n’omukazi bwe basalawo okufumbiriganwa, ng’okusingira ddala basinziira ku nneewulira buli omu gy’alina eri munne, oluvannyuma bayinza okwejjusa. (Nge. 28:26) Eyo y’ensonga lwaki si kya magezi omusajja n’omukazi buli omu okutandika okubuulira munne enneewulira ez’omunda z’amulinako oba okubaako bye beesuubiza nga tebanneetegeera bulungi.

Engero 22:3 wagamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka, naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.” Mutawaana ki oguli mu kukozesa emikutu abantu kwe banoonyeza ab’okufumbiriganwa nabo? Eky’ennaku, abantu abamu balina abantu be basanze ku mikutu egyo ne batandika okwogerezeganya nabo, naye oluvannyuma ne bakizuula nti abantu abo babadde babalimba. Ate era, abantu abatali beesimbu bateekawo emikutu ng’egyo kwe basobola okubuzaabuliza abantu abakkiriza buli kye babagambye ne bababba ssente. Ate ebiseera ebimu, abantu abo abatali beesimbu bagamba nti Bajulirwa ba Yakuwa.

Lowooza ne ku kabi akalala akakirimu. Egimu ku mikutu ng’egyo bagiteekako programu za kompyuta ze bagamba nti ziyamba omuntu okumanya omuntu omutuufu gw’asobola okufumbiriganwa naye. Kyokka, tewali bukakafu bulaga nti programu za kompyuta ezo bye ziraga biba bituufu. Naye ddala kiba kya magezi okwesiga programu za kompyuta ezaakolebwa abantu nga tusalawo ku bintu ebikulu gamba ng’okulonda oyo gwe tunaafumbiriganwa naye? Amagezi agali mu Bayibuli geesigika nnyo, tetusobola kugageraageranya ku programu za kompyuta.​—Nge. 1:7; 3:5-7.

Ate Engero 14:15 wagamba nti: “Atalina bumanyirivu akkiriza buli kye bamugamba, naye omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.” Nga tonnasalawo obanga omuntu mutuufu okufumbiriganwa naye, kikulu nnyo okusooka okumutegeera obulungi. Naye ekyo kizibu okukikola okuyitira ku mikutu gya Intaneeti. Ne bwe kiba nti buli omu ku mwe asobola okulaba ebyo munne by’ateeka ku mukutu gwe, oba nga mumala ebiseera bingi nga mwogera, ddala osobola okugamba nti omuntu oyo omutegeera bulungi? Abantu abamu abaali balowooza nti bazudde omuntu omutuufu ow’okufumbiriganwa naye, baakubwa enkyukwe bwe baasisinkana omuntu maaso ku maaso.

Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Sibeera na bantu balimba, era nneewala abo abakweka kye bali.” (Zab. 26:4) Abantu bangi bateeka ebintu ebitali bituufu ku mikutu gyabwe, okusobola okuleetera abalala okubeegomba. Basobola okukweka ekyo kye bali nga boogerezeganya n’abalala ku Intaneeti. Wadde nga abamu ababa ku mikutu egyo bagamba nti Bajulirwa ba Yakuwa, naye ddala beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa? Ddala bakulu mu by’omwoyo? Balina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? Bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kibiina kyabwe? Oba kyandiba nti ‘mikwano mibi’? (1 Kol. 15:33; 2 Tim. 2:20, 21) Bakkirizibwa okuwasa oba okufumbirwa okusinziira ku byawandiikibwa? Weetaaga okumanya ebintu ebyo, naye kizibu okubimanya nga toyogedde na Bajulirwa ba Yakuwa balala abamanyi omuntu oyo obulungi. (Nge. 15:22) Ate era, omuweereza wa Yakuwa Katonda omwesigwa, tayinza na kulowooza ku kya kufumbiriganwa oba ‘okwegattanga awamu’ n’omuntu atali mukkiriza.​—2 Kol. 6:14; 1 Kol. 7:39.

Olw’okuba kya kabi okukozesa emikutu egyassibwawo okunoonyezaako ow’okufumbiriganwa naye, waliwo engeri endala ennungi ze tusobola okukozesa okufuna ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Wa w’oyinza okusanga omuntu omutuufu ow’okufumbiriganwa naye? Bwe kiba kikkirizibwa okukuŋŋaana awamu, Abajulirwa ba Yakuwa basobola okusisinkana bannaabwe mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu nkuŋŋaana ennene, ne mu nkuŋŋaana endala.

Gye mukoma okufunayo akadde okubeerako awamu, gye mujja okukoma okumanya obanga ebiruubirirwa byammwe n’ebyo bye mwagala bikwatagana

Bwe kiba nga tekikkirizibwa kukuŋŋaana wamu, gamba nga mu kiseera kya COVID-19, Abajulirwa ba Yakuwa tukuŋŋaana nga tukozesa amasimu oba kompyuta era mu nkuŋŋaana ng’ezo oba osobola okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa abalala abatali bafumbo. Osobola okulaba engeri gye beenyigira mu nkuŋŋaana n’engeri gye boolekamu okukkiriza kwabwe. (1 Tim. 6:11, 12) Ate era, musobola okunyumyako oluvannyuma lw’enkuŋŋaana mu bubinja obw’enjawulo obuba buteekeddwawo. Ekyo kisobola okukuyamba okumanya engeri omuntu oyo gw’oyagala gy’akolaganamu n’abalala, ekisobola okukuyamba okumanya ekyo ky’ali. (1 Peet. 3:4) Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ne mweyongera okumanyagana, kibayamba okumanya obanga ebiruubirirwa byammwe n’ebyo bye mwagala bye bimu era obanga munaakwatagana.

Abatali bafumbo bwe bakolera ku magezi agali mu Bayibuli nga banoonya ow’okufumbiriganwa naye, balaba obutuufu bw’ebigambo bino: “Oyo afuna omukyala [oba omwami] omulungi aba afunye ekintu ekirungi, era Yakuwa amusiima.”​—Nge. 18:22.