Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nfunye Essanyu Lingi mu Kuweereza Yakuwa

Nfunye Essanyu Lingi mu Kuweereza Yakuwa

OMULIMU gwe nnasooka okuweebwa ku Beseri mu Canada gwali gwa kwera mu kizimbe omwali ekyuma ekikuba ebitabo. Ku Beseri nnagendayo mu 1958, era nnalina emyaka 18. Obulamu bwali bulungi era mu kiseera kitono nnatandika okukola ku kyuma ekyali kikomola magazini ezaabanga zaakakubibwa. Nnali musanyufu nnyo okubeera ku Beseri!

Omwaka ogwaddirira, baalanga ku Beseri nti bannakyewa baali beetaagibwa okugenda okuweereza ku ttabi ly’e South Africa gye baali bagenda okuteeka ekyuma ekipya ekikuba ebitabo. Nnawaayo erinnya lyange, era nnasanyuka nnyo bwe bannonda okugenda. Ababeseri bano abalala basatu nabo baalondebwa​—Dennis Leech, Bill McLellan, ne Ken Nordin. Baatugamba nti e South Africa twali tugenda kulwayo!

Nnakubira maama essimu ne mmugamba nti: “Maama, nnina amawulire. Ŋŋenda South Africa!” Maama wange yali mukazi musirise naye yalina okukkiriza okw’amaanyi era nga munywevu mu by’omwoyo. Teyayogera bingi, naye nnali nkimanyi nti ampagira. Ye ne taata tebaawakanya ekyo kye nnasalawo, wadde nga kyabanakuwaza okukimanya nti nnali ŋŋenda kubeera wala nnyo okuva we bali.

ŊŊENDA E SOUTH AFRICA!

Nga ndi wamu ne Dennis Leech, Ken Nordin, ne Bill McLellan mu ggaali y’omukka eyatuggya mu Cape Town okugenda e Johannesburg mu 1959

Ffenna abana nga tuzzeemu okusisinkana oluvannyuma lw’emyaka 60 ku ttabi ly’e South Africa mu 2019

Ffenna abana, twagenda ku Beseri y’omu Brooklyn, ne tutendekebwa okumala emyezi esatu ku ngeri y’okukozesaamu ekyuma ekimu ekikuba ebitabo. Oluvannyuma twalinnya emmeeri enneetissi y’emigugu eyali egenda e Cape Town, mu South Africa. Mu kiseera ekyo nnali nnaakaweza emyaka 20. Okuva e Cape Town okutuuka e Johannesburg twalinnya ggaali ya mukka, era twasimbula kawungeezi. Eggaali y’omukka yasooka kuyimirirako mu kabuga akali mu kitundu eky’eddungu ekiyitibwa Karoo, era awo twatuukawo ng’obudde bwakakya. Ekitundu ekyo kyalimu enfuufu nnyingi n’ebbugumu lingi. Ffenna abana twatunula mu ddirisa ne twewuunya ekifo kye twali tuzzeemu. Twawulira nga tweraliikiriddemuko. Naye oluvannyuma lw’emyaka bwe twakyalako mu kitundu ekyo, twakiraba nti obubuga obwo bulungi era bulimu emirembe.

Okumala emyaka, nnakolanga ku kimu ku byuma ebikuba magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ne Zuukuka! Ettaba ly’e South Africa lyali likuba magazini mu nnimi nnyingi ezoogerwa mu South Africa n’ezoogerwa mu mawanga amalala mangi ag’omu Africa. Kyatusanyusa nnyo okuba nti ekyuma ekyo ekyatutambuza olugendo oluwanvu okuva e Canada kyali kikozesebwa mu bujjuvu!

Oluvannyuma, nnatandika okukola mu ofiisi evunaanyizibwa ku kukuba ebitabo, okubitambuza, ne ku mulimu gw’okuvvuunula. Nnalina eby’okukola bingi, nga ndi musanyufu, era nga nnina obulamu obw’amakulu.

MPASA ERA MPEEBWA OBUVUNAANYIZIBWA OBULALA

Nze ne Laura nga tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu 1968

Mu 1968, nnawasa mwannyinaffe ayitibwa Laura Bowen, eyali aweereza nga payoniya owa bulijjo era ng’abeera kumpi ne Beseri. Yayambangako ne mu kuyingiza mu kompyuta ebyo ebyabanga bivvuunuddwa. Mu kiseera ekyo, abantu bwe baabanga baakafumbiriganwa, tebaasigalanga ku Beseri. Bwe kityo, twasindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Nneeraliikiriramuko. Ku Beseri we nnali mmaze emyaka kkumi, nnalina aw’okusula era nga mpeebwa emmere. Nneebuuza nti, Tunaasobola tutya okwebeezaawo ku nsako entono eyali eweebwa bapayoniya ab’enjawulo? Mu kiseera ekyo, buli omu yaweebwanga rand 25 buli mwezi (ddoola 35), kasita yawezanga essaawa ezeetaagibwa, emirundi gy’okuddiŋŋana egyetaagibwa, era n’agaba n’omuwendo gw’ebitabo ogwetaagibwa. Ku ssente ezo kwe twalina okuggya ez’okupangisa enju, okugula emmere, okukola ku by’entambula, okusasulira obujjanjabi, awamu n’ebyetaago ebirala.

Twasindikibwa okuweereza mu kibinja ekitono ekyali okumpi n’ekibuga Durban, ku lubalama lw’Oguyanja Indian. Ekitundu ekyo kyalimu Abayindi bangi nnyo era nga bangi ku bo baasibuka mu Bayindi abaaleetebwa okukola mu makolero ga sukaali mu myaka gya 1800. Naye kati baali bakola mirimu mirala, wadde nga baali bakyagoberera obuwangwa bw’Abayindi n’engeri gye bafumbamu emmere, omuli n’eyo omuba ebirungo ebingi. Era olw’okuba baali boogera Lungereza, kyatwanguyiranga okubabuulira.

Mu kiseera ekyo bapayoniya ab’enjawulo baalinanga okubuulira essaawa 150 buli mwezi. Bwe kityo, nze ne Laura twasalawo okukola essaawa mukaaga ku lunaku olwasooka. Obudde bwali bwa bbugumu nnyo. Tetwalina muyizi wa Bayibuli n’omu, wadde omuntu ow’okuddira. Twalina okumala essaawa ezo omukaaga nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Oluvannyuma lw’ekiseera nga tutandise okubuulira, nnatunula ku ssaawa yange ne ndaba nga twakabuulira eddakiika 40 zokka! Nneebuuza obanga twandisobodde okutuukiriza obuweereza bwaffe?

Mu kiseera kitono twekolera enteekateeka ennungi. Buli lunaku, twateekateekanga eky’okulya era twatwaliranga ssupu oba kkaawa mu fulasika. Bwe twabanga twagala okuwummulamu, twasimbanga emmotoka yaffe wansi w’omuti, era oluusi abaana b’Abayindi baakuŋŋaaniranga we tuli okututunuulira. Oluvannyuma lw’ennaku ntono, twakiraba nti bwe twabuuliranga okumala essaawa bbiri oba ssatu, essaawa ezisigadde zaddukanga mangu.

Twafuna essanyu lingi okubuulira abantu abaali mu kitundu ekyo amazima agali mu Bayibuli! Twakiraba nti Abayindi bantu abawa abalala ekitiibwa, ba kisa, basembeza abagenyi, era baagala Katonda. Abahindu bangi baawuliriza obubaka bwe twababuulira. Baali baagala nnyo okumanya ebikwata ku Yakuwa, ku Yesu, ku Bayibuli, ku nsi empya ejja okubeeramu emirembe, ne ku kuzuukira. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, twalina abayizi ba Bayibuli 20. Buli lunaku twalyanga ekijjulo mu gamu ku maka g’abo be twayigirizanga. Twafuna essanyu lingi nnyo.

Kyokka waayita ekiseera kitono, ne tugambibwa okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina mu bitundu ebiri ku lubalama lw’Oguyanja Indian. Buli wiiki, bwe twabanga tukyalidde ekibiina, twasembezebwanga mu maka ag’enjawulo era twakoleranga wamu n’ababuulizi okubazzaamu amaanyi. Twanyumirwanga okubeerangako wamu nabo, awamu n’abaana baabwe era n’ebisolo byabwe. Bwe twali twakamala emyaka ebiri nga tukola omulimu ogwo, baatukubira essimu okuva ku ofiisi y’ettabi. Baatugamba nti, “Twagala mukomewo ku Beseri.” Nnabaddamu nti, “Tuli basanyufu nnyo eno.” Naye twali beetegefu okuweereza wonna we twandisindikiddwa.

TUDDAYO KU BESERI

Bwe nnaddayo ku Beseri nnakola mu Kitongole ky’Obuweereza, era nnafuna enkizo ey’okukolera awamu n’ab’oluganda abaalina obumanyirivu. Mu kiseera ekyo, ofiisi y’ettabi yaweerezanga buli kibiina ebbaluwa, ng’esinziira ku lipoota gye yabanga efunye okuva eri omulabirizi w’ekitundu. Ebbaluwa ezo zaawandiikibwanga okusobola okuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubawa obulagirizi obwabanga bwetaagisa. Abawandiisi baffe baalinanga omulimu munene nnyo ogw’okuvvuunula amabaluwa ago okuva mu Lukosa, mu Luzulu, ne mu nnimi endala okugazza mu Lungereza, ate n’okuvvuula ago agaabanga mu Lungereza okugazza mu nnimi ezo. Nnasiima nnyo abavvuunuzi abo abaali bakola n’obunyiikivu, era bannyamba okumanya ebizibu baganda baffe ne bannyinaffe abaddugavu bye baali boolekagana nabyo.

Mu kiseera ekyo, mu South Africa mwalimu obusosoze bungi mu langi. Amateeka gaali tegakkiriza abantu aba langi ez’enjawulo okubeera awamu. Baganda baffe abaddugavu baayogeranga nnimi zaabwe, baabuuliranga mu nnimi zaabwe, era baakuŋŋaananga bokka mu bibiina byabwe.

Nnali mmanyi ab’oluganda abaddugavu batono nnyo, olw’okuba nnalinga mpeerereza mu bibiina ebyogera Olungereza. Naye kati nnali nfunye akakisa okumanya ebikwata ku b’oluganda abaddugavu n’obuwangwa bwabwe. Nnamanya ku kusoomoozebwa ab’oluganda abo kwe baali boolekagana nakwo olw’okugaana okwenyigira mu bulombolombo n’enzikiriza z’amadiini ezikontana n’ebyawandiikibwa. Ab’oluganda abo baayoleka obuvumu bwe baalekayo obulombolombo obukontana n’ebyawandiikibwa, era bwe baayolekagana n’okuyigganyizibwa okuva eri ab’eŋŋanda zaabwe n’abantu abalala ku kyalo olw’okugaana okwenyigira mu by’obusamize. Mu bitundu eby’omu byalo waaliyo obwavu bungi. Abantu bangi baali baasomako kitono nnyo, naye baali bassa ekitiibwa mu Bayibuli.

Nnafuna enkizo ey’okukolera awamu n’ab’oluganda okulwanirira eddembe lyaffe mu mateeka, ery’okusinza n’obutabaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi. Okulaba abaana abaagobebwa ku masomero olw’okuba baayoleka obuvumu ne bagaana okusaba n’okuyimba ennyimba z’eddiini, kyanyweza nnyo okukkiriza kwange.

Ab’oluganda mu nsi endala, mu kiseera ekyo eyali eyitibwa Swaziland, nabo baayolekagana n’okusoomooza okulala. Kabaka w’ensi eyo eyali ayitibwa Sobhuza II bwe yafa, abantu bonna baalagirwa okubaako obulombolombo bwe bakola okulaga nti baali bamukungubagira. Abasajja baalina okumwako enviiri zaabwe, ate abakazi baalina okuzisala ne ziba nnyimpi. Ab’oluganda ne bannyinaffe bangi baayiganyizibwa olw’okugaana okukola akalombolombo ako akaalina akakwate n’okusinza bajjajja abaafa. Obwesigwa bwabwe bwatukwatako nnyo! Tulina bingi bye twayigira ku baganda baffe abaddugavu, ebikwata ku bwesigwa n’obugumiikiriza, ebyanyweza ennyo okukkiriza kwaffe.

NZIRAMU OKUKOLA MU KITONGOLE EKIKUBA EBITABO

Mu 1981, nnaddamu okukola mu kitongole ekikuba ebitabo nga nnyambako mu kukozesa kompyuta okukuba ebitabo. Nnanyumirwa nnyo ekiseera ekyo! Engeri ebitabo gye byali bikubibwamu yali ekyuse nnyo. Kitunzi wa kampuni emu yawa ofiisi y’ettabi ekyuma ekikuba ebitabo n’atukkiriza okukigezesa ku bwereere awatali kakwakkulizo konna. N’ekyavaamu, twakyusa ebyuma mwenda ebikuba ebitabo bye twalina ne tuzzaawo ebyuma ebipya bitaano ebyali ku mulembe. Ekyo kyayongera sipiidi mu kukuba ebitabo.

Okukozesa kompyuta kyatuyamba okuyiiya programu ya kompyuta eyitibwa MEPS (Multilanguage Electronic Publishing System) gye tukozesa okuteekateeka ebigambo n’ebifaananyi nga bwe birabika mu bitabo byaffe. Tekinologiya yali akulaakulanye nnyo okuva lwe twava e Canada okugenda mu South Africa okukola mu kyuma ekikuba ebitabo! (Is. 60:17) Mu kiseera ekyo ffenna abana twali tuwasizza bannyinaffe abanywevu mu by’omwoyo abaali baweereza nga bapayoniya. Nze ne Bill twali tukyaweereza ku Beseri. Ken ne Dennis baali bafunye abaana era nga tebabeera wala nnyo okuva ku Beseri.

Emirimu gyeyongera obungi ku ofiisi y’ettabi. Ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli byali byeyongedde okuvvuunulwa n’okukubibwa mu nnimi nnyingi, era nga biweerezebwa ne ku matabi amalala. Ekyo kyaleetawo obwetaavu bw’okuzimba Beseri empya. Beseri empya yazimbibwa e bugwanjuba bwa Johannesburg, era yaweebwayo mu 1987. Yali nkizo ya maanyi okwenyigira mu mirimu egyo gyonna era n’okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi ly’e South Africa okumala emyaka mingi.

TUWEEBWA ENKIZO ENDALA!

Mu 2001, nneewuunya nnyo bwe nnayitibwa okugenda okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi lya Amerika akaali kaakatandikibwawo. Wadde nga kyatunakuwaza nnyo okuleka obuweereza bwaffe ne mikwano gyaffe mu South Africa, twasanyuka nnyo okwegatta ku Beseri y’omu Amerika.

Kyokka, kyatweraliikiriza okuleka maama wa Laura eyali akaddiye. Twali tetulina kinene kye twali tusobola kukola kumuyamba nga tuli mu New York, naye baganda ba Laura abasatu beewaayo okumulabirira. Baagamba nti, “Tetusobola kubeera mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Naye bwe tulabirira maama, kijja kubasobozesa okweyongerayo mu buweereza obwo.” Mazima ddala tubasiima nnyo.

Mu kiseera ekyo, muganda wange ne mukyala we abaali babeera mu kibuga Toronto e Canada, nabo baali balabirira maama wange eyali nnamwandu. Mu kiseera ekyo baali bamaze emyaka 20 nga babeera naye. Tusiima nnyo okwagala kwe baamulaga n’engeri gye baamulabiriramu okutuusa lwe yafa oluvannyuma lw’ekiseera kitono nga twagenda mu New York. Nga kirungi okuba n’ab’eŋŋanda abeetegefu okukola enkyukakyuka okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obulala oluusi obutaba bwangu!

Ku ttabi ly’Amerika nnamala emyaka egiwera nga nkola mu kitongole ekikuba ebitabo, era tweyongedde okukozesa tekinologiya ali ku mulembe. Kati nkola mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kugula eby’okukozesa. Nga nkizo ya maanyi okumala emyaka 20 nga mpeerereza ku ttabi lino eddene kati eririmu Ababeseri nga 5,000 n’ab’oluganda abalala nga 2,000 abayambako ku mirimu egikolebwa ku Beseri!

Emyaka nkaaga emabega, nnali siyinza kukirowoozaako nti ndiweerereza mu kifo kino. Emyaka gino gyonna Laura abadde ampagira n’omutima gwe gwonna. Mazima ddala nfunye essanyu mu bulamu! Tusiima nnyo obuweereza obutali bumu bwe tusobodde okwenyigiramu, n’abantu bonna be tukozeeko nabo nga mw’otwalidde n’abo abali ku ofiisi z’amatabi nnyingi mu bitundu ebitali bimu mu nsi ze tukyalidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu. Olw’okuba kati nnina emyaka egisukka mu 80, emirimu gyange gyakendeezebwa olw’okuba waliwo ab’oluganda abavubuka abasobola okutuukiriza emirimu egyo.

Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Lirina essanyu eggwanga eririna Yakuwa nga Katonda waalyo.” (Zab. 33:12) Ndabye obutuufu bw’ebigambo ebyo! Ndi musanyufu nnyo okuba nti nsobodde okuweereza Yakuwa nga ndi wamu n’abantu be abasanyufu.